Author: aznimi

  • Hymn 39: MU KUJAGUZA OKUNGI Lyrics

    Oluyimba 39: MU KUJAGUZA OKUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 133: NYWEZA-,AYI KATONDA,-EMIKONO
    1
    NYWEZA-,Ayi Katonda,-emikono
    Egikutte-emmere yo:
    Abawulidde-ennyimba zo
    Tebaasuubire bibi.

    2
    Ffe abayimbye Mutukuvu
    Tuleme okulimba;
    Abalabye-okwagala kwo
    -Essuubi lyo tulirabe.

    3
    Ffe abazze mu yeekaalu yo
    Tuleme okukyama;
    -Abaliisibwa Omwoyo wo
    Otuwe obulamu

  • Hymn 40: MU KIBUGA KYA DAWUDI Lyrics

    Oluyimba 40: MU KIBUGA KYA DAWUDI Lyrics

     

    OLUYIMBA 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA
    1
    MUJJE,nga mwetereereka
    Mwenna-eriKatonda,
    Okwagala kwe kujjuze
    -Emyoyo gyammwe.

    2
    Wulira:ggwe-alindirira
    -Omugole wo leero,
    Mu kwagalana-okutaggwaawo
    Mugattibwe.

    3
    Naawe akkiriza wano
    Okumufumbirwa,
    Laba Kitaffe awulira
    -Obweyamo bwo!

    4
    Nammwe ababeetoolodde
    Okubaasabira,
    Katonda waffe-akakasa
    -Ebirayiro.

    5
    Mujje nga mwetereereka;
    Mukama waffe-ajja,
    Okubasembeza gy’ali,
    -Abagole be

    6
    Bwe mutyo mwetereereke
    Agabire bonna
    Omwaoyo-Omutukuvu
    Abasaba.

  • Hymn 41: OMWANA YAZAALIBWA Lyrics

    Oluyimba 41: OMWANA YAZAALIBWA Lyrics

     

    OLUYIMBA 135: TUZZE GY’OLI,AYI KATONDA
    1
    TUZZE gy’oli,Ayi Katonda,
    Katonda ow’okwagala;
    Nga tubasabira bano
    Obagatte wamu.

    2
    Bwe baba nga basanyuka
    Olugendo nga lulungi,
    Bakwesigenga ggwe wekka,
    Mu ggwe babenga-omu.

    3
    Ne mu biro eb’ennaku,
    Omuyaga bga gukunta;
    Era bakwesigenga ggwe,
    Obeerenga nabo.

    4
    Byonna ebiribajjira
    Oba ssanyu oba nnaku,
    Obawenga ekisa kyo
    Obeerenga nabo.

    5
    Mu ndwadde ne mu bulamu,
    Mu bwavu ne mu bugagga;
    Okwagala kwo okungi
    Kubeetooloolenga.

  • Hymn 42: LEERO BAMALAYIKA Lyrics

    Oluyimba 42: LEERO BAMALAYIKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 136: AYI GGWE KWAGALA,GGWE ASINGA BYONNA
    1
    AYI ggwe kwagala,ggwe asinga byonna
    Tufukamidde okukusaba,
    Abo b’ogasse okubeera-obumu
    Babeerenga naawe ennaku zonna.

    2
    Ayi ggwe bulamu,obabikkulire
    Okwagala okw’ekisa-ekingi;
    Okukkiriza okunywevu ddala,
    N’okwesiga ng’okw’omwana-omuto.

    3
    -Obasanyusenga bwe baba mu nnaku,
    -Obawe-emirembe egitakoma;
    Obawe-emikisa mu bulamu bwabwe,
    Baagalanenga-emirembe gyonna

  • Hymn 43: MU BIRO-EBY’EMPEWO Lyrics

    Oluyimba 43: MU BIRO-EBY’EMPEWO Lyrics

     

    OLUYIMBA 137: ABANTU BONNA AB’ENSI
    1
    ABANTU bonna ab’ensi,
    Mukama mumuyimbire!
    Mumutye,mumuwulire,
    Mujje mumusanyukire.

    2
    Mukama Katonda waffe
    Ye yekka eyatutonda ffe;
    ffe yatulonda,ffe babe,
    Ffe ndiga z’oku ttale lye.

    3
    Muyingire mu nzigi ze;
    Musemberere n’empya ze;
    Erinnya lye lisinzibwe,
    Mujje mumuvuunamire.

    4
    Mujje mweyanze bulijjo:
    Kubanga ye mulungi nnyo;
    Tegaliggwa-amazima ge,
    Newnkubadde-ekisa kye.

  • Hymn 44: OWANGE MUNNANGE, JJUKIRA,JJUKIRA Lyrics

    Oluyimba 44: OWANGE MUNNANGE, JJUKIRA,JJUKIRA Lyrics

     

    OLUYIMBA 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA
    1
    AYI Katonda bwe ndowooza
    Ku bingi bye wampa,
    -Emmeeme yange ne yeewuunya,
    Era n’ekutenda.

    2
    Ne bwe nali nkyatondebwa,
    Essanyu lyo-eringi
    Walissa mu mwoyo gwange,
    Ng’olimpa nze buwa.

    3
    -Omokono gwo gunnywezenga
    Nga bwe nkyali-omuto,
    Mpite mu buzibu bwonna,
    Ntuuke mu bukulu.

    4
    Obulamu bwange mu nsi
    Leero mbukwasa ggwe,
    Era nga mmaze okufa
    Ntuule-eyo mu ggulu.

    5
    Ggwe,Ayi ow’olubeerera,
    Bwe ntyo nkuyimbira;
    Kuba-ekitiibwa kyo kingi
    Ekitatendeka

  • Hymn 45: BAANI ABAYIMBA TOBAWULIRA Lyrics

    Oluyimba 45: BAANI ABAYIMBA TOBAWULIRA Lyrics

     

    OLUYIMBA 139: BAMALAYIKA BAYIMBA
    1
    BAMALAYIKA bayimba
    Batendereza
    Nga bakuba ennanga zaabwe,
    Tebawummula;
    Eggye lyonna-ery’omu ggulu
    Bayimbira Katonda.

    2
    Batendereza Mukama
    Eyo mu ggulu
    Abatuukirivu bonna
    Abaawangula
    Eyo bonna banaazibwa
    Bonna batuukirivu.

    3
    Singa-abantu tumwagala
    Eyatutonda
    Tetwandyeyonoonye nebyo
    Ebitagasa
    Ka tubirekere ddala
    Anti -ebyo bya Ssetaani!

    4
    Mu bifo-ebyo by’omu ggulu
    Gye tulibeera
    Nga tumutendereza-oyo
    Eyatwagala;
    Nga fenna tumuyimbira
    N’essanyu eringi-ennyo.

    5
    Oweebwe nnyo ekitiibwa
    Ayi ggwe Kitaffe;
    Naawe-Omwana,naawe-Omwoyo
    Omutukuvu;
    Obusatu -Obutukuvu
    Otenderezebwenga.

  • Hymn 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

    Oluyimba 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU
    1
    -EBINTU-ebirungi n’bintu-ebikulu
    Eby’amagezi,n’ebituukirivu;
    -Ebintu ebinene n’ebintu-ebitono
    Byonna byakolerwa ddala Katonda.

    2
    Nate-ebigambo ebiri mu kyama,
    Bye tulowooza-era ne bye twogera
    Bwe tubikisa mu mwoyo-abimanyi
    Ebyo-ebikweke,byonna abiraba.

    3
    -Abantu ba wano n’abantu b’ewala,
    -Abantu abasiru n’abantu-abagezi;
    -Abaana ba Adanu bonna-abalamu,
    Bonna bakuumibwa Yesu Mukama.

    4
    -Abantu-abgaga n’abantu abanaku,
    -Abantu ba wano n’abava-e Bulaaya;
    -Abaana b’abaddu n’abaana b’Abaami
    Bonna benkana mu maaso ga Yesu.

    5
    Mu nsi tewali na mwana wa muntu,
    Atayagalwa Katonda-Omuyinza;
    Bonna abalina-omwoyo-omuwombeefu,
    Ogumuwulira,abakkiriza.

    6
    Kale,tweyanze Katonda-ow’ekisa;
    Ffe abanaku twakyama twabula:
    Tumweyanze,alokolera ddala
    Bonna-abakkiriza Yesu Mukama.

  • Hymn 48: YE KIGAMBO WA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 48: YE KIGAMBO WA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 141: EGGULU LIKUSINZA
    1
    EGGULU likusinza
    Mukama,Mutonzi!
    Ebbanga likusuuta
    N’ebirimu byonna.
    Tebikoowa kutenda
    -Emisana n’ekiro
    -Amagezi go,n’amaanyi
    -Ekitiibwa n’ekisa.

    2
    Enjuba-ey’ekitiibwa,
    Etenda-amaanyi go;
    Omwezi n’emmunyeenye
    Bisinza-erinnya lyo;
    Bibuulira-amawanga
    Agatannalaba,
    Bulungi bwa Mukama
    Bibuulira-amawanga
    Agatannalaba,
    Bulungi bwa Mukama
    Eyatonda byonna.

    3
    Kigambo kya mazima
    Kye watuweereza,
    Ktukuvu,kirungi,
    Kisanyusa ddala.
    -Amateeka ge watuwa
    Malungi,ga kisa;
    Gagaggawaza-abaavu,
    Galeeta-amagezi.

    4
    Tewali n’omu-ayinza
    Kwekuumira ddala,
    N’okutuusa-amateeka,
    N’obutayonoona.
    Katonda,ombeerenga!
    Nneme-okwerabira,
    N’okukunakuwaza
    Nga nkyamu bulijjo.

    5
    Eggye er’omu ggulu
    -Ebitonde-eby’omu nsi,
    Byonna bitendereza
    Erinnya lyo-eddungi:
    Nange Mukama wange
    Ka neeweeyo gy’oli;
    Omwoyo n’omubiri,
    Okukuweereza.

  • Hymn 49: KU LUNAKU LUNO Lyrics

    Oluyimba 49: KU LUNAKU LUNO Lyrics

     

    OLUYIMBA 142: ENKYA BWE NZUUKUKA
    1
    ENKYA bwe nzuukuka,
    Bwe mba ngolokose;
    Nnasuutanga Katonda
    Ng’amaaso galaba
    Enjuba evuddeyo
    Nnaasuutanga Katonda.

    2
    Ng’engoma-entukuvu
    Ez’akawungeezi
    Bwe ziyita-okusaba,
    Kyenva njijukira
    Obulungi bwe bwonna
    Ne nsuutanga Katonda.

    3
    Bwe nkola-omulimu
    Ogundagirirwa,
    Nnaasuutanga Katonda;
    Nga ntoowolokoka,
    Nga nzannya-,oba nga ndya,
    Nnaasuutanga Katonda.

    4
    Mmwe-abantu b’omu nsi,
    Mmwe mwenna, bulijjo
    Musuutenga Katonda
    Bw’asaanidde yekka
    -Okutenderezebwa;
    Katonda-Ayinza byonna.