Author: aznimi

  • Hymn 81: EWALA MU BUYUDAAYA Lyrics

    Oluyimba 81: EWALA MU BUYUDAAYA Lyrics

     

    OLUYIMBA 171: OMUSUMBA WANGE MUKAMA
    1
    -OMUSUMBA wange Mukama,
    -Obulungi bwe tebuggwawo-
    Seetaagenga nga ndi wuwe,
    Naye nga wange bulijjo.

    2
    Antwala ye ku mabbali
    Ag’amazzi-amateefu;
    Mu ddundiro eddungi-ennyo
    Eyo gy’anaadiisizaanga.

    3
    Edda nali nga mpabye nnyo,
    N’annoonya lwa kisa kye,
    N’anteeka mu mikono gye,
    N’antwala-ewuwe n’essanyu.

    4
    Mu kiwonvu eky’okufa
    Siritya-akabi konna;
    Omuggo gwe n’oluga lwe,
    Ebyo bye birinsanyusa.

    5
    Ansembeza ku mmeeza ye,
    Ne nnywa ku kikompe kye;
    Era-ansiga-amafuta ge,
    N’ampa-emikisa gye gyonna.

    6
    Bwe butyo obulungi bwo,
    Mukama tebuliggwaawo;
    Nnakwebazanga bulijjo,
    Ggwe oli-omusumba

  • Hymn 89: ALERUUYA! ALERUUYA! ALERUUYA Lyrics

    Oluyimba 89: ALERUUYA! ALERUUYA! ALERUUYA Lyrics

     

    OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA
    1
    ENNAKU bwe zifumita
    Omwoyo gw’omuntu
    Omu,eyafumitibwa
    Ye-anyita ekiwundu.

    2
    Omwoyo bwe gunyolwa-ennyo,
    -Amaziga ne gajja,
    Ayinza-omu,eyanyolwa,
    Okugusanyusa.

    3
    -Ebibi bwe tubijjukira
    Ebitanaazika;
    Omugga gumu-,ogw’omusaayi,
    Guyinza-okunaaza.

    4
    Ogwa Yesu gwe gunaaza
    Gunaaliza ddala;
    Era y’ayinza-okunyiga
    N’okutusanyusa.

    5
    Kale,otusanyusa Yesu
    -Otunyige-ebiwundu
    -Otunaaze n’omusaayi gwo
    Ogunaaza gwokka.

  • Hymn 88: LEERO LWA SSANYU, NNYO Lyrics

    Oluyimba 88: LEERO LWA SSANYU, NNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA
    1
    NNAATEEKANGA ku Yesu Omwana gw’endiga,
    Ebibi byange byonna ebitasinika;
    Agwetisse ye yekka omugugu gwange:
    Ka ntambule n’essanyu,kubanga-agwetisse,

    2
    Yatwala ennaku zange n’ebibi bingi nnyo,
    Yatwala-,Omulokozi,endwadde z’omyoyo:
    Ne nfuna n’emirembe mu linnya lya Yesu;
    Ayagala nga Yesu,Mukama aluwa?
    3
    Yesu Mukama wange,Yesu Mulokozi;
    Erinnya lyo lisinga gonna ag’omu nsi.
    Erinnya lyo liwooma,lireeta-essanyu nnyo:
    Tewali alokoka-,awatali linnya aluwa?

    4
    Nze njagala-okubeera n’omwoyo-omuwombeefu;
    -Okufaanana nga Yesu omutuuukirivu:
    Nze njagala-okutuula mu ggulu ne Yesu,
    -Okuyiga-ennyimba-ennungi-eza bamalayika

  • Hymn 87: KU LUNAKU OLUKULU Lyrics

    Oluyimba 87: KU LUNAKU OLUKULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 177: YESU MULOKOZI WANGE
    1
    YESU Mulokozi wange
    Leero nze wuwo wekka;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Yesu Mwana gw’endiga

    Tukutendereza,Yesu:
    Yesu Mwana gw’endiga;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Nkwebaza,Mulokozi.

    2
    Edda nafyba bufubi
    Okufuna-emirembe;
    Leero mmaliridde ddala,
    Okweyabiza Yesu.

    Tukutendereza,Yesu:
    Yesu Mwana gw’endiga;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Nkwebaza,Mulokozi.

    3
    Nnaababuuliranga-abantu
    Obulokozi bwonna,
    Obutali bwa kitundu
    Obulamba-ob’obuwa.

    Tukutendereza,Yesu:
    Yesu Mwana gw’endiga;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Nkwebaza,Mulokozi.

    4
    Nnaategeezanga-ebya Yesu
    N’obuvuumu ne sitya;
    Eyanzigya mu busibe
    N’okuwonya-eyamponya.

    Tukutendereza,Yesu:
    Yesu Mwana gw’endiga;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Nkwebaza,Mulokozi.

    5
    Neebaza-eyannunula nze;
    Eyamponya wa kisa!
    Yesu-ankuuma ansanyusa-era,
    Bulijjo yeebazibwe.

    Tukutendereza,Yesu:
    Yesu Mwana gw’endiga;
    Omusaayi gwo gunnaazizza,
    Nkwebaza,Mulokozi.

  • Hymn 86: ALERUUYA! ALERUUYA! ALEERUYA! Lyrics

    Oluyimba 86: ALERUUYA! ALERUUYA! ALEERUYA! Lyrics

     

    OLUYIMBA 176: OLWAZI LW’EDDA N’EDDA GWE
    1
    -OLWAZI lw’edda n’edda gwe,
    Olwanjatikira nze;
    Omwo mwe neekweka-,era
    Omusaayi gwe mwe gwava.
    Ebibi binzigyeko,
    Mponya mu maanyi gaabyo.

    2
    Emirimu gy’engalo
    N’okufuba kw’omwoyo
    N’amaziga agajja-ennyo
    Emisana n’ekiro;
    Byonna tebiggyawo bibi;
    Ggwe wekka Mulokozi.

    3
    Sirina nze bulungi
    Nkwesize ggwe bwesizi;
    Omwereere nnyambaza;
    Omunaku mpa-ekisa;
    Laba bwe ndi omubi,
    Nnaaza Yesu,nfa bufi.

    4
    Nze nga nkyali mulamu,
    Bwe ndituuka mu ggulu;
    Bwe nidiraba ggwe,Yesu,
    Emisango ng’osala,
    Yesu-olwasi olwase,
    Ka neekwekenga mu ggwe.

  • Hymn 85: YESU EYALI MU NVUBA Lyrics

    Oluyimba 85: YESU EYALI MU NVUBA Lyrics

     

    OLUYIMBA 175: YESU,SSANYU LYANGE
    1
    YESU,ssanyu lyange
    Ddundiro ly’omwoyo
    Ka nkusinze ggwe!
    Ennaku z’omwoyo
    Ze zimpaliriza
    Ndi wuwo naawe wange,
    Nkwagala-okusinga bonna
    Ggwe Mukama wange!

    2
    Olw’okukuuma kwo
    Abalabe bange
    Banafu gyendi;
    Ssetaani bw’annumba,
    Nsaba-ompe amaanyi,
    Tombeera wala!
    Neetoolooleddwa-obubi
    N’okufa kwa ntiisa, naye
    Yesu ggwe onkuuma.

    3
    Ka tugonze-emyoyo,
    Ka tumuwe-ekifo
    Omusanyusa.
    Yesu k’atufuge,
    Tumuwulirenga,
    Tujjule-essanyu
    Mu buyinike bwonna:
    Atuwenga-essanyu lino,
    Okubeera naffe.

  • Hymn 84: YESU WAALI! OKUFA Lyrics

    Oluyimba 84: YESU WAALI! OKUFA Lyrics

     

    OLUYIMBA 174: YESU, GGWE-OLI SSANYU LYAFFE
    1
    YESU,ggwe-oli ssanyu lyaffe,
    Ggwe-oli musana gw’obulamu;
    Twaleka-eby’omu nsi muno,
    Ne tusanyukira mu ggwe.

    2
    -Amazima go gabeerera,
    Olokola-abakwesiga,
    Abakunoonya beesiima,
    Abakulaba bakkuta.

    3
    Tulya ku mmere y’obulamu-,
    Twettanira-okuliisibwa;
    Tunywa ne ku musaayi gwo,
    Gutuwonya-ennyonta yaffe.

    4
    Wonna tukyukira gyoli,
    Ggwe-oli Kiwummulo kyaffe;
    Bw’otusiima,tusanyuka,
    Bw’obeera naffe tulama

    5
    Jangu-otubeesebeese ffe,
    Tuleme-okubulubuuta,
    Goba-ekizikiza-eky’ensi
    Otwakize amaaso go.

  • Hymn 83: YESU AZUUKIDDE OLWA LEERO, ALERUUYA Lyrics

    Oluyimba 83: YESU AZUUKIDDE OLWA LEERO, ALERUUYA Lyrics

     

    OLUYIMBA 173: OMUZIRA WAFFE,OMWANA W’OMUNTU
    1
    OMUZIRA waffe,Omwana w’omuntu
    Abazira bonna ab’ensi babo:
    Twewaayo gy’oli nga ssaddaaka ennamu,
    Gwe oli wamu naffe mu byonna.

    2
    Wakwatanga ekkubo eryalagirwa,
    -Ebigambo byo bya mazima ddala,
    -Obulungi bw’ebimuli bwakusanyusa,
    Omwoyo gw’abato wagutegeeranga.

    3
    Wayimusanga emyoyo gy’abavubuka;
    Abantu bonna wabaweereza;
    Newakubadde ggwe oli Kabaka wawu,
    Naye oli kiddukiro kyaffe.

    4
    Tweyunenga ggwe mu nnaku zaffe zonna,
    Era n’essanyu litwagaze ggwe,
    Oba mugagga,Sseekimu mu ssanyu lye,
    Omwavu,agume ku lw’omukwano gwo.

  • Hymn 82: EKIBI KIRUWA KYE WALI-OKOZE? Lyrics

    Oluyimba 82: EKIBI KIRUWA KYE WALI-OKOZE? Lyrics

     

    OLUYIMBA 172: OKWAGALA-OKUTAGGWAAWO
    1
    OKWAGALA-okutaggwaawo
    Okw’olubeerera,
    Kukulukuta n’amaanyi,
    Ge mazzi agataggwaawo-.

    2
    Ffe tetuyinza kulinnya,
    Mukama Kristo-akke:
    Ye abeera wonna-wonna,
    Tewali w’abula.

    3
    Naye ye Mubeezi waffe
    -Atubeera bulijjo;
    Alabwa mu kizikiza
    Ne mu kwagala-era.

    4
    Ebyambalo bye byawonya,
    Endwadde z’abantu;
    tumweyune bwe tulumwa,
    Tuwonere ddala.

    5
    -Okwagala-okutagambika,
    -Erinnya lyo liwonya,
    Okukugaana kwe kufa,
    Ggwe-olina obulamu-

  • Hymn 80: OKWAGALA OKWO Lyrics

    Oluyimba 80: OKWAGALA OKWO Lyrics

     

    OLUYIMBA 170: MUKAMA WAFFE MULOKOZI!
    1
    MUKAMA waffe Mulokozi!
    Ggwe owummuza bonna-abakooye
    Ggwe osanyusa-abalina-ennaku
    Ggwe-asaasira-abali mu kabi.

    2
    Ggwe-osaasira anatera okufa
    Yesu wekka, ggwe kkubo lyaffe,
    Empeera yaffe eva gyoli,
    Mukama waffe Mulokozi!

    3
    Bwe nnaabanga njagala-okugwa
    Nnaakuyitanga-ombeere Yesu,
    Ne bwe ndikyama tolindeka;
    Mukama waffe Mulokozi!

    4
    Nkwatudde Yesu -Omulokozi,
    Siirekenga kukweyanza nnyo;
    Ggwe-osaatiidde ettendo lyonna
    Mukama waffe Mulokozi!