Author: aznimi

  • Hymn 100: MUMUYIMBIRE MUKAMA Lyrics

    Oluyimba 100: MUMUYIMBIRE MUKAMA Lyrics

     

    OLUYIMBA 189: OMUKULU W’EKKANISA
    1
    -OMUKULU w’Ekkanisa
    Ffe tukutendereza;
    Nga tonnaba kulabika,
    Tukulindirire ggwe.
    Tuyimuse-eddoboozi
    Ery’okwebaza kwaffe,
    Tujaguza nga twewaayo
    Gyoli Katonda waffe.

    2
    Nga tukyalumwa-ennaku,
    Omuliro bwe gwaka;
    Tusanyukira-okwagala
    Yesu kwe watulaga.
    Edda twali basibe
    Mu kkomera-ery’amaanyi
    Watujjira,n’enjegere
    Zaakutuka mangwago.

    3
    Abantu bo bayita
    Mu migga si mitnde,
    Egy’okukemebwa, naye
    Tebatya ng’obatwala;
    Amaanyi ga Ssetaani,
    N’ag’ekibi,n’ag’ensi,
    Galemeddwa,tuwangula,
    Ku bwa Mukama waffe.

    4
    tunyooma-eby’ensi byonna,
    Tunoonya-eby’onu ggulu,
    Engule etawotoka,
    Etutegekeddwa-eri.
    Mu nsi tulaba-ennaku,
    Naye gyoli mu ggulu,
    Essanyu lituukirira
    Mirembe n’emirembe.

  • Hymn 109: KATONDA YAGABA EGGYE Lyrics

    Oluyimba 109: KATONDA YAGABA EGGYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 197: GGWE-OLI MUTUKUVU,MUKAMA KATONDA
    1
    GGWE-oli Mutukuvu,Mukama Katonda;
    Enkya tukusuuta,tuyimbaa-ettendo lyo.
    Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi;
    Katonda omu,mu Busatu.

    2
    Ggwe-oli Mutukuvu,bakusinza bonna,
    Abali mu ggulu bakuvuunamira;
    Kkerubi ne Sseraafi bakutendereza,
    Eyali,aliwo-,alibeerawo.

    3
    Mutukuvu wekka,tewali mulala;
    Ffe-ab’omu kizikiza,tetukulaba;
    Ggwe-oli Mutukuvu,obasinga bonna,
    -Amaanyi,-amagezi,era n’ekisa.

    4
    Ggwe-oli Mutukuvu,Mukama Katonda;
    Byonna bye watonda biraga-ettendo lyo.
    Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi,
    Katonda omu,mu Busatu.

  • Hymn 108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU Lyrics

    Oluyimba 108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 196: KABAKA W’EGGULU
    1
    KABAKA w’eggulu,
    Jjangu-Omusanyusa,
    Omwoyo abeere naffe
    Atubeere.

    2
    Ggwe-ensalo y’obulamu-
    Otugaggawaze,
    Otuwe emirembe gyo
    -Ennaku zonna.

    3
    Kka-okuva mu ggulu
    Obeerenga naffe;
    Otwetoolooze-okwagala
    -Ennaku zonna.

  • Hymn 106: OLWA LEERO MBAGA:OLUNAKU LUNO LUKULU! Lyrics

    Oluyimba 106: OLWA LEERO MBAGA:OLUNAKU LUNO LUKULU! Lyrics

     

    OLUYIMBA 194: YESU EKISA KYO-EKINGI
    1
    YESU ekisa kyo-ekingi
    Kinjiike ku mwoyo,
    Guleme-okukyama nate
    Gunywerere ku ggwe.

    2
    Omuliro gwa Katonda
    Gwake mu nze leero;
    Gwokye-amasengere gonna,
    Guntukuze-omwoyo.

    3
    Eyakka-edda ku baddu bo,
    Omwoyo,kka ku nze;
    Omwana wo nkukoowoola,
    Ebyonoono-obyokye.

    4
    Omuliro-ogutukuza,
    Gunjiike ku mwoyo:
    Leeta-omnusana n’obulamu,
    Byake bintukuze.

    5
    Ne ndyoka nfuna-amaayi go,
    Obutasirika;
    -Obugagga bwange,Mukama,
    -Obulamu bwange-era.

  • Hymn 105: OMWOYO OMUTUKUVU Lyrics

    Oluyimba 105: OMWOYO OMUTUKUVU Lyrics

     

    OLUYIMBA 193: MUGABI W’EBIRABO-EBIRUNGI
    1
    MUGABI w’ebirabo-ebirungi,
    Ebiva-eri Katonda Kitaffe,
    Otuwe ffe-abeetaaga okwagala;
    Kye kirabo ekitenkanika.

    2
    Engabo yaffe kwe kukkiriza,
    N’effumu kye Kigambo kya Yesu;
    Ekyo ku kifuba butukuvu,
    Tunaanika mu bigere-ekisa.

    3
    Naye-ekirabo kyo tukyetaaga,
    Ekisinga-ebirala-obulungi,
    Kwe kwagalana,nga bw’otwaga
    Yesu,bwe tutyo twagalanenga

    4
    Okwagala kugumiikiriza,
    Kulina ekisa so si buggya;
    Tekunoonya byakwo,tekunyiiga
    Tekwegulumiza,tekukoowa.

    5
    Mwoyo-Omutukuvu,otuwenga
    Okwagala kwa Yesu yennyini
    Alyoke atubale mu babe,
    Eby’omu nsi-eno bwe biriggwaawo.

  • Hymn 104: JJANGU MWOYO WA YESU Lyrics

    Oluyimba 104: JJANGU MWOYO WA YESU Lyrics

     

    OLUYIMBA 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE
    1
    GGWE-ekkubo lyaffe,-era mu ggwe
    Mwe twekweka-okufa
    Tuyita mu ggwe,Mukama
    -Okulaba Kitaffe.

    2
    Ggwe ow’amazima ddala
    Ggwe-ogaba-okumanya;
    Omatiza-ebirowoozo
    Onaaza emitima.

    3
    Ggwe bulamu ggwe-ow’amaanyi;
    Wawangula-okufa;
    Abo bonna-abakwesiga
    Bawonye okufa.

    4
    Tuwe-okumanya,ggwe kkubo;
    Era ggwe mazima.
    -Obulamu bwo bwe twetaaga,
    Obw’essanyu-eringi.

  • Hymn 103: EDDA KATONDA BWE YAKKA Lyrics

    Oluyimba 103: EDDA KATONDA BWE YAKKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 191: MWENNA MUSANYUKE
    1
    MWENNA musanyuke
    Yesu ye Kabaka;
    Ebitonde byonna,
    Biyimbe n’essanyu:
    Muyimuse emitiima,
    Musanyuke,mujaguze.

    2
    Yesu-Omulokozi,
    Ye-afuga n’ekisa;
    Eyatufiirira
    Ye-atudde ku ntebe;
    Muyimuse emitiima,
    Musanyuke,mujaguze.

    3
    Obwakabaka bwe
    Bwe butaliggwaawo;
    Alina-obuyinza,
    Mu nsi ne mu ggulu.
    Muyimuse emitiima,
    Musanyuke,mujaguze.

    4
    Ali ku mukono
    Gwa ddyo gwa Katonda;
    -Abalabe be bonna
    Balikungubaga.
    Muyimuse emitiima,
    Musanyuke,mujaguze.

  • Hymn 107:- ABATUKUVU BA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 107:- ABATUKUVU BA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 195: OMWOYO OMUTUKUVU
    1
    OMWOYO Omutukuvu,
    Omugabi w’obulamu;
    Jjangu,tukwegayiridde,
    Jjangu-,okke mu myoyo gyaffe.

    2
    Tutegeeze ffe bwe tuli,
    Tunakuwalire-ebibi:
    Tutegeeze Yesu bw’ali,
    Tumwebaze-obulokozi.

    3
    Twewadde mu mikono gyo;
    Twesiga amagezi go.
    Tumaleemu-ebibi byaffe;
    Twewaddeyo-,otulokole.

    4
    Eddagala bwe likaawa,
    akmbe ko bwe kasala,
    Twesiga-,Omusawo waffe;
    Endwadde yaffe-etuyinze.

    5
    Kale,omuliro gujje,
    Gummalemu-amasengere,
    -Amalala,-ettima,ne byonna
    Ebitasiimibwa Yesu.

    6
    Tujjuze-amaanyi n’ekisa,
    -Emirembe n’okusanyuka
    N’okwewombeeka,twagale
    Bannaffe okukira ffe.

  • Hymn 101: YESU NG’ADDAYO GYE YAVA Lyrics

    Oluyimba 101: YESU NG’ADDAYO GYE YAVA Lyrics

     

    OLUYIMBA 19: MULOKOZI WAFFE GWE TWAGALA
    1
    MULOKOZI waffe gwe twagala,
    Tuyimiridde okusuuta ggwe:
    Tukwegayiridde tusiibule,
    N’emirembe,nga tufukamidde.

    2
    Tuwerekere n’emirembe gyo,
    Tubeere naawe,nga bwe twakedde;
    Tukuumenga,tuleme-okwonoona,
    Ffe abasabidde mu nnyumba yo.

    3
    Tuwe-emirembe,Mukama waffe
    Mu budde bw’ekiro-otumulise:
    Tukuume lwa kisa ffe-abaana bo:
    Enzikiza gwe musana gy’oli.

    4
    Tuwe-emirembe buli lunaku
    Lwe tuteganyizibwa eby’ensi;
    Gitujjuze,era bwe tulifa
    Tuwe-emirembe egitakoma.

  • Hymn 102: OMWOYO OMUTUKUVU JJANGU Lyrics

    Oluyimba 102: OMWOYO OMUTUKUVU JJANGU Lyrics

     

    OLUYIMBA 190: KATONDA-EYANNONDA NZE
    1
    KATONDA-eyannonda nze
    Si lwa bulungi bwange,
    Eyannonda-obulonzi
    N’anzigyako ebibi.
    Nnyinza ntya-okumalayo
    -Ebbanja lyange-eryenkanaawo-?

    2
    Yanzigya mu balabe,
    N’anfuula omwana we;
    Yanzigya mu bujeemu
    N’anfuula-omutukuvu;
    Nnyinza ntya-okumalayo
    -Ebbanja lyange-eryenkanaawo-?

    3
    Bwe ndituuka mu ggulu
    Olw’obutuukirivu;
    Obwa Yesu,si bwange,
    Bwe ndiraba-amaaso ge;
    Ne ndyoka ntegeereraawo-
    -Ebbanja bwe litaggwaayo.