Author: aznimi

  • Hymn 121: ALIJJA:ESSUBI ERYO Lyrics

    Oluyimba 121: ALIJJA:ESSUBI ERYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 207: MUGENDE MU NSI ZONNA
    1
    MUGENDE mu nsi zonna,

    Mubuulire-Enjiri
    Eri-amawanga gonna
    Agabeera mu nsi,
    Balyoke bategeere
    Yesu gwe tusinza
    Bw’ali Katonda ddala,
    Bw’alokola bonna.

    2
    Mukama waffe Yesu
    -Otunyiikize fenna
    Tukolerenga ddala
    Ebitusaanira;
    Tweweeyo gy’oli leero
    -Emibiri n’emyoyo
    Tuleetenga-ebirabo
    N’essanyu lingi nnyo

    3
    Okugaba kwa mukisa

    -Okusinga-Okutoola
    Byonna bye tuli nabyo
    Biva-eri Katonda;
    Otukkirizise-ebyo,
    Tukwegayiridde
    Tuleme okugamba nti
    Bye byaffe ku bwaffe.

    4
    Ayi Katonda Kitaffe,
    Oyimuse mu ffe
    Abakunguzi-abangi,
    Balyoke bagende
    Banyiikirenga wonna
    -Okubunya-Enjiri yo,
    Babuulirenga bonna,
    -Abakulu n’abato

    5
    Yesu Mukama waffe,
    -Otuwe ku maanyi go,
    Tukwatirenga ddala
    Empisa-ennungi-ennyo
    Tuleme-okugayaala,
    Naye tufube nnyo
    Mu mirimu gyo gyonna
    Olw’omukisa gwo.

  • Hymn 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO Lyrics

    Oluyimba 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 214: MUWULIRE MMWE-ABANTU BE
    1
    MUWULIRE mmwe-abantu be
    Abamukiriza;
    Mubunye ebigambo bye
    Kristo wa Katonda.

    2
    Mubuulire wonna wonna,
    Mu mawanga gonna;
    Banabbi ye gwe baalanga
    Ye musana gw’ensi.

    3
    Katonda-ow’olubeerera,
    Eyeefuula omuntu,
    Eyatwala omubiri,
    Ye Katonda ddala.

    4
    Katonda-ava mu Kitaffe
    Asinzibwa bonna,
    Eyatuwonya mu kufa
    N’atufuula abaana.

    5
    Fenna abamukkiriza
    Atuwe-omwoyo gwe;
    Bwe tuba tataataagana,
    Ye atulumgamya

  • Hymn 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

    Oluyimba 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

     

    OLUYIMBA 213: MMWE-ENSOZI-EMPANVU-ENNYO
    1
    MMWE-ensozi-empanvu-ennyo,
    Mujaguze mwenna!
    -Ensenyi n’ebiwonvu,
    Mumutendereze.
    Muwulire-eddoboozi lye
    Libuulira-eby’okujja kwe.

    2
    Kale mmwe-ebizinga
    Ebiri mu nnyanja;
    Empewo-ennyingi-ennyo
    Zikuntira ku mmwe;
    Zirongoosa ekkubo lye
    Kabaka ow’ekitiibwa.

    3
    Mmwe-amawanga mwenna,
    Muzuukuke mangu;
    -Abantu bammwe bonna
    Beefunire-eddembe
    Ery’Omwana wa Katonda
    Ly’abaleetera kaakano.

    4
    Amawanga gonna
    Agali-ewala ennyo,
    Agatamanyanga
    Mulokozi w’ensi;
    Kale,mwenna mujje gy’ali,
    Oyo eyakomererwa.

    5
    Mwenna muyimbe nnyo,
    Nga mugenda gy’ali;
    Mwenna mukumgaane
    -Okuva mu nsi zonna;
    Tuyingire mu kibuga,
    Ekyaffe,-eky’olubeerera.

  • Hymn 126: LABA-EMMEZA YANGE Lyrics

    Oluyimba 126: LABA-EMMEZA YANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 211: KATONDA WAFFE,WA KISA, WA MAANYI
    1
    KATONDA waffe,wa kisa ,wa maanyi
    Kabaka-afuga amawamga gonna:
    Ggwe-eyatumuliisa mu nzikiza ekutte,
    Ggwe watusaasira mu nnaku ez’edda.

    2
    Twali tunyoomebwa,twali banaku;
    Bangi ku lulwo n’okufa ne bafa;
    Ggwe watubeera,n’atuwonnya mu kabi
    Tuwe-emirembe gyo mu biro byaffe.

    3
    Tukutendereza;tukwebazizza,
    Tukugulumiza,ne tukusaba:
    Ggwe-eyatubeeranga mu nnaku ezayita;
    Otuyambenga emirembe gyonna.

  • Hymn 125: YESU-OMUBIRI GWO Y’EMMERE Lyrics

    Oluyimba 125: YESU-OMUBIRI GWO Y’EMMERE Lyrics

     

    OLUYIMBA 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE
    1
    BULI muntu yenna awulire
    Ebigambo by’Omulokozi w’ensi,
    Bunya wonna wonna nti Akkiriza
    Alirokoka mu ye.

    Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
    Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
    Buli muntu ajja naamwaniriza,
    Siimugobere bweru.

    2
    Buli muntu yenna asembere
    Oluggi lw’omu ggulu lugguddwaawo,
    Yesu ge mazima,lye kkubo lyaffe;
    Ekibalwisa kiki?

    Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
    Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
    Buli muntu ajja naamwaniriza,
    Siimugobere bweru.

    3
    Buli muntu yenna amwagala
    Kye kigambo kya Katonda-atalimba;
    Kale bannange,tubunye-ettendo lye,
    Atugabidde buwa.

    Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
    Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
    Buli muntu ajja naamwaniriza,
    Siimugobere bweru.

  • Hymn 124: KABAKA-OW’EKISA,TUNUULIRA Lyrics

    Oluyimba 124: KABAKA-OW’EKISA,TUNUULIRA Lyrics

     

    OLUYIMBA 21: AYI MUSUMBA OMUTEEFU
    1
    AYI Musumba omuteefu,
    Yesu-,olw’obulungi bwo
    Ekiro beeranga nange,
    Nkuuma mu kizikiza.

    2
    Ggwe ampa entanda yange
    N’amaka n’ebyambalo;
    Ne mu b’emikwano bonna,
    Otuwenga ekisa.

  • Hymn 127: GGWE-OMWOYO GWANGE,WEEYONJE Lyrics

    Oluyimba 127: GGWE-OMWOYO GWANGE,WEEYONJE Lyrics

     

    OLUYIMBA 212: BULIJJO TUMUSUUTENGA
    1
    BULIJJO tumusuutenga
    Mukama waffe Yesu,
    Tumwebaze-olw’okukuuma
    Kw’akuumye-Ekkanisa ye
    Okuva mu nnaku ezo,
    -Enjiri bwe yaleetebwa,
    Mu nsi yaffe y’e Uganda
    N’eyigganyizibwa nnyo.

    2
    Bulijjo tukitendenga,
    Ekitiibwa kye kyokka
    Bw’abawangudde-abalabe
    Ab’amaanyi-,ab’entiisa;
    Tugobererenga abo
    Abaasooka-okutiibwa
    Ne batamwegaana Yesu,
    Mu nnimi z’omuliro.

    3
    Bulijjo ka twewengayo
    Yesu-okumuweereza;
    Okusooka-emyoyo gyaffe
    Gifuuke nga ssaddaaka;
    Ate tumutonerenga,
    -Ebintu,n’abaana baffe
    Atuggyemu obukodo,
    Atuwe ku ssanyu lye.

    4
    Bulijjo twewombeekenga,
    Tusabenga Mukama
    Atuggyemu obunafu,
    Agabenga-Omwoyo we;
    Mu mawanga-agaliraana
    -Ensi yaffe-enjuyi zonna,
    Ebika bikkirizenga,
    -Eddiini ebune mu-Africa.

    5
    Bulijjo tweyongerenga
    Yesu-okumufaanana,
    Tuyige-okutuukiriza
    -Empisa z’obuwombeefu
    Nga tusuubira-okujja kwe,
    Nga tumwesiga yekka;
    Nga tukola,nga tusuuta,
    Nga tumulindirira

  • Hymn 123: MUJJE MUWEEBWE EKIJUKIZO Lyrics

    Oluyimba 123: MUJJE MUWEEBWE EKIJUKIZO Lyrics

     

    OLUYIMBA 209: OBWAKABAKA BWO BUJJE
    1
    OBWAKABAKA bwo bujje
    Kaakano tukyogedde:
    Yesu onjigirize
    -Okukisabira ddala.

    2
    Yesu,sooka oyigire
    Muno mu mwoyo gwange:
    Naakusembeza gye ndi,
    Ongobemu ebibi.

    3
    Ombeerenga bulijjo
    Mbuulire-ekigambo kyo;
    Olyoke ojje nate,
    Mu mwoyo gya bannange.

    4
    Ebiro bwe biriggwaawo-;
    Kitaawo bye yalaga,
    Olijja n’ettendo lyo,
    N’olya-obwakabaka bwo

  • Hymn 122: ENJALA N’ENNYONTA Lyrics

    Oluyimba 122: ENJALA N’ENNYONTA Lyrics

     

    OLUYIMBA 208: OBWAKABAKA BWO
    1
    OBWAKABAKA bwo,
    Yesu,bujje mu nsi;
    Menya n’omuggo gwo,
    Obuddu bw’ekibi.

    2
    Twetaaga-emirembe
    N’obutuukirivu
    -Okukyawagananga
    -Otumalemu mangu.

    3
    Ebyasuubizibwa
    Bye tulindirira;
    Bituukirizibwe,
    Ayi Yesu Mukama.

    4
    Tukwegayiridde,
    Okutusaasira;
    Tukemgentererwa,
    Jjangu otubeere.

    5
    Enzikiza-ekutte
    Ebuna-ensi zonna;
    Musana gw’obulamu,
    Yaka-obutaggwaawo.

  • Hymn 112: AYI KITAFFE ATWAGALA Lyrics

    Oluyimba 112: AYI KITAFFE ATWAGALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 2: YESU MUKAMA W’EGGULU
    1
    YESU Mukama w’eggulu,
    Ggwe kitiibwa kya Kitaffe,
    Ggwe musana gw’emirembe,
    Ogumalawo-enzikiza.

    2
    Jjangu Njuba y’omu ggulu,
    Tumulise n’ekisa kyo;
    Omwoyo wo-Omutukuvu,
    Atuule mu myoyo gyaffe.

    3
    Nyweza-okukkiriza mu ffe,
    Ofuge-emibiri gyaffe,
    Tuwe-emirembe n’essanyu,
    Bukuusa bwonna buggweewo.

    4
    Otukuze-essanyu lyange,
    Mu lunaku lwaffe luno;
    Tuwe fenna-okukwebaza
    Obudde nga buwungedde.

    5
    Tukusaba kino kyokka,
    Otuwe-okukujjukira;
    Buli nkya na buli kiro,
    Tukusuute Mulokozi.