Oluyimba 144: GGWE KATONDA-ATAGGWAAWO Lyrics
OLUYIMBA 228: MU NSI Y’OMU GGULU
1
MU nsi y’omu ggulu
Tewabaawo kiro,
Emirimu tegikoya
Bakoza-okwagala.
2
Eri teri nnaku,
Essanyu lingi nnyo:
Katonda waffe-asangula
Amaziga gonna.
3
Eri teri kibi:
Abaliyo bonna
Bambadde-engoye-entukuvu,
Bayimbira Yesu.
4
Eri teri kufa:
Abaayingira-eyo,
Baamala bo okusikira
Obulamu-obutaggwaawo.
5
Yesu,musaale ggwe,
Otukulembere;
-Otuyise mu kabi konna
Otutuuse mu ggulu