Oluyimba 168: YESU ALIFUGA WONNA Lyrics
OLUYIMBA 25: KITAFFE TWEWAAYO
1
KITAFFE twewaayo
Emibiri gyaffe:
Tukuume-ekiro omu tulo
Okukeesa obudde.
2
Era Tukwebaza
Olw’ekigambo kyo
Kyewatusuubiza fenna
Nti tolituleka
OLUYIMBA 25: KITAFFE TWEWAAYO
1
KITAFFE twewaayo
Emibiri gyaffe:
Tukuume-ekiro omu tulo
Okukeesa obudde.
2
Era Tukwebaza
Olw’ekigambo kyo
Kyewatusuubiza fenna
Nti tolituleka
OLUYIMBA 246: MUJJE MWENNA ABAKOOYE
1
MUJJE mwenna abakooye
N’okutegana kw’ensi,
Yesu ye-anaabaaniriza
N’okusaasira-okungi.
Mujje mwenna!
Abayita temutya.
2
Temutya,newankubadde
Ng’ebibi byammwe bingi.
Ky’abakuutira kye kino-
Mwenenye musonyiyibwe;
Omwoyo we
Ye anaabatukuza.
3
Laba! Omwana wa Katonda
Leero-abawolereza,
Lwa musaayi-gwe munaawona
Bwe mwesigira ddala:
Ekisa kye
Ekirokola kyokka.
4
Abatukuvu be bonna
Bamusinza n’essanyu;
Ab’ensi n’ab’omu ggulu
Bayimba-amatendo ge:
Aleruuya!
Yesu Omulokozi.
OLUYIMBA 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE
1
MUJJE mwenna-abakooye
Nze naabawummuza:
-Eddoboozi nga lya kisa
Ery’Omulokozi:
Litutegeeza bw’ali
Ow’ekisa kyonna,
Bw’ayagala-okuwonya
Emyoyo gy’abantu
2
Mujje mwenna-abakyamye
Nze naabamulisa:
-Eddoboozi nga lya ssanyu
Mu nzikiza-ekutte.
Mu nsiko ey’omu nsi
Twali tuwabye nnyo,
Mu kkubo lye yatuzza,
Ffe ne tusanyuka
3
Mujje mwenna-abafudde
Naabawa obulamu-:
-Eddoboozi lye lya manyi,
Lituzzaamu-omwoyo.
Entalo zaffe nzibu;
-Omulabe mukambwe;
Amaanyi g’okulwana
Gava eri Yesu.
4
Era-anajjanga gye ndi
Nze siimugobenga:
-Eddoboozi lya Mukama
Lye litugumya-ennyo:
Ekisa-ekyenkanaawo
Tewali-asaanidde,
Ye ye-atusembezezza
Kale tumwebaze
OLUYIMBA 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO
1
MUJJE-eri Yesu,temulwawo,
Atudde mu ffe wano leero,
Fenna-atuyita-okusembera;
AyogeraMujje.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
2
Mujje abazitoowereddwa,
Mwenna abakooye n’ebibi:
Mujje mwenna naabawummuza
Mujje mwenna gye ndi.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
3
Abantu bonna kiyinzika
Leero-okusonyiyrwa ddala;
Kuba-ebibi by’abakkiriza
Byatwalibwa Yesu.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
OLUYIMBA 240: WULIRA MU LUYOOGAANO
1
WULIRA mu luyoogaano
Eddoboozi lya Yesu,
Bw’akuyita omunaku
Okumugoberera.
2
Nga basuula obutimba
Mu nnyanja-abatume be,
Yabayita ng’abagamba
Bw’ati:Muyite nange.
3
Bo ne balekawo mangu
Obutimba,ne bajja,
Bwe baawulira-eddoboozi
Erya Yesu ntiMujje.
4
Bw’atyo Yesu bw’atuyita
Okuleka-ebyonoono,
Era n’okutambulanga
Mu makubo g’obulamu-.
5
Mu ssanyu era mu nnaku,
Mu ndwadde ne mu bulamu-;
Tukyawulira-eddoboozi
Ly’Omulokozi waffe.
6
Mwana wange tosuulanga
Bye nkugabira buwa,
Laba bwe nnafiirira ggwe,
Mpa-omutima gwo gwonna
OLUYIMBA 24: OMUKISA GWA KITAFFE
1
OMUKISA gwa Kitaffe,
N’ogw’Omwana we Yesu
N’ogw’Omwoyo-Omutukuvu.
Gukke ku myoyo gyaffe.
2
Ffe tubeere fenna wamu,
Nga tujjudde-okwagala,
Bwe tusseekimu n’essanyu
N’emirembe bulijjo.
OLUYIMBA 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI
1
JJANGU munnange owulire-enjiri
Y’okwagala kwa Yesu,
Bwe yaleka ennyumba y’ekitiibwa
N’ebintu byonna eby’essanyu,
Yesu yafa,Yesu yatufiirira.
2
Ffe fenna tulina ebibi,
Katonda atunuulira,
Ebyonoono byaffe abimanyi byonna,
Ye wa kisa yatutumira Yesu.
3
Ababi abaamukyawa Yesu,
Baamuwanika ku muti,
Naye okufa kwe kutuwa eddembe,
Okuva mu musango-omubi.
4
Kale omulenzi,ne mwannyina,
Mukkirize kaakano Yesu;
Tewali bulokozi mu mulala,
Mu nsi zonna oba mu ggulu
OLUYIMBA 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI
1
LABA nnyimiridde w’oli,
Neeyanjula ku luggi lwo,
-Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
2
Ku lulwo nnakomererwa,
Tojjukira kufa kwange?
Essanyu lyo liddirira;
Oyingire,oyingire.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
3
Tomggaana,laba nkwolesa,
Mu maaso go enkovu zange:
Nneemale omutima ggwo?
Onsembeze,onsembeze.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
4
Nkuleetedde-ebirabo byo
-Emirembe,-essanyu,n’obulamu
Ka nkulokolere ddala,
Ayi mwana wange-,onnyingize
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
OLUYIMBA 235: WULIRA-EDDOBOOZI
1
WULIRA-eddoboozi
Erijja gy’oli
Genda Yesu gy’ali
Akugamba nti:
2
Mpa omutima gwo,
Nnakufiirira,
Nze,nze nkuyita ggwe,
Sembera gye ndi
3
Bw’onoobanga-onoonya
Ekiddukiro;
Ddukira-eri Yesu,
Omulokozi.
4
Eddoboozi ttono
Naye lya maanyi;
Laba-okwagala kwe,
Ggwe omwonoonyi.
5
Muwe omwoyo gwo
Yakufiirira;
Ye akuyita ggwe,
Genda mangu nnyo.
OLUYIMBA 234: BWE TUSIIBULA-ABANTU
1
BWE tusiibula-abantu
Mu nsi,tulaba-ennaku:
so nga-,eri mu ggulu,
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
2
Bonna-abaagala Yesu
Bonna balikumggaana,
Obutasiibula.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
3
Tulibeera n’essanyu
Bwe tuliraba Yesu
-Omulokozi waffe.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
4
Mu ggulu tuliyimba
Amatendo ga Yesu
Emirembe gyonna.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.