Author: aznimi

  • Hymn 174: YESU, GGWE-OLI SSANYU LYAFFE Lyrics

      OLUYIMBA 255: MU NSI Y’ABAGENYI 1 MU nsi y’abagenyi, Gye wagenda ggwe, Wulira-eddoboozi -Enkuyita: Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 2 Enjala-ey’omwoyo Ekuluma nnyo Tolina mukwano, Oli muyi. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 3 Ebibi byo byonna Lekera ddala, Gye ndi kye kitiibwa, N’essanyu nnyo. Komaw(o) omutambuze…

  • Hymn 175: YESU,SSANYU LYANGE Lyrics

      OLUYIMBA 256: AYI YESU-OW’EKISA 1 AYI Yesu-ow’ekisa Ggwe bulamu-obw’abantu, Omutonzi wa byonna, Otuwulire. 2 Ebibi bwe byabunya Ku bantu bonna-okufa Ggwe eyabalokola, Otusonyiwe. 3 Ggwe-eyalinnya mu ggulu -Okulya-obwakabaka bwo, Mukama w’abakama, Otuwulire. Ggwe-olikomawo nate Okusala-omusango Gw’abalamu n’abafu, Otulokole

  • Hymn 176: OLWAZI LW’EDDA N’EDDA GWE Lyrics

      OLUYIMBA 257: NZE NKUTUNUULIDDE 1 NZE nkutunuulidde N’amaaso g’omwoyo, Mulokozi. Ompulire leero, Onnaazeko-ebibi, Ontuule-omwana wo Omwesigwa. 2 Ekisa kyo kimpe, Kindeetere-amaanyi Ag’omwoyo. Ggwe eyafiirira, Onjijukizenga -Ekisa kyo bwe kiri Ekinkuuma. 3 Bwe mba nkyatambula, Mu nsi,neetooloddwa -Ebibi bingi: Naye ggwe-onsaasire Mu nzikiza muno: -Onjakize lwa kisa Omusana. 4 Era ne bwe ndiba Nga ntuusiza-okufa,…

  • Hymn 177: YESU MULOKOZI WANGE Lyrics

      OLUYIMBA 258: KA NKWAGALE KATONDA;SIYINZA 1 KA nkwagale Katond;siyinza Kwerokola lwa kwagala kwange; Kuba-ebibi byange nnakusobya So ne sisaanira mukisa gwo. 2 Naye ggwe-oli wange,nange wuwo; Nze mwonoonyi,ggwe Katonda ddala; Onnyweze kumpi mu kifuba kyo, N’emikono gyo gye baafumita. 3 -Obulumi bwo tebulowoozeka, So tewali mu baana b’abantu Ayinza-okwelesa-obuyinike Newankubadde-ennaku zo zonna. 4 Bye…

  • Hymn 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA Lyrics

      OLUYIMBA 259: MU BIRO-EBY’ENNAKU 1 MU biro-eby’ennaku Yesu-onnyambenga Nneme-okugwa wansi, Nga nkwerabidde. Bwe mba mbuusabuusa, Ontunuulire, Ompanirirenga Olw’amaanyi go. 2 Enkwe za Ssetaani Ze zinnumba-ennyo, Obugagga-obw’ensi Businza-omwoyo Ka njijukireggwe Eyafiirira: Ggwe-oli kigo kyange Mwe neekweka nze. 3 Yesu bw’onoobanga Onkangavvula, Byonna-ebijja ku nze Ka mbikkirize; Neewaayo nze gy’oli Ndi wuwo wekka, -Ontukuze,ombeere, Ennaku zonna.…

  • Hymn 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA Lyrics

      OLUYIMBA 26: JJANGU GGWE OMUNUNUZI WAFFE 1 JJANGU ggwe Omununuzi waffe, Ggwe Emmanueri,Kabaka waffe; Onunule Abaisirayiri, Abaakyamira-edda ewala-ennyo. Tusanyuke! Yesu(O)mulokozi Alikomawo mu nsi gye tuli. 2 Jjangu,jjangu,Omwana wa Dawudi, Olokole ffe-abali mu kibi; Tuwonye mu mikono gy’omubi, Eyatujooga mu bukuusa bwe. Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi Alikomawo mu nsi gye tuli 3 Jjangu ggwe Musana-ogusanyusa; Oyingire…

  • Hymn 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA Lyrics

      OLUYIMBA 260: KITAAWE WA BONNA-ERI GGWE 1 KITAAWE wa bonna-eri ggwe, Tuyimusa-emitima gyaffe: Ku bwa Yesu,lye-ekkubo lyaffe Eritutuusa mu maaso go; Ofuke emikisa gyo Ku ffe abafukamidde. 2 Kitaawe wa bonna-eri ggwe, Tuyimusa emyoyo gyaffe, Abeenenyezza-ebibi byaffe, Abatamanya kukutenda; Otujjuze Omwoyo wo, Tukuyimbire-amatendo. 3 Kitaawe wa bonna-eri ggwe, Tukuleetera-okutya kwaffe, Okutalabibwa bannaffe Naye okumanyibwa…

  • Hymn 181: GGWE EYATONDA-OLW’A-OKWAGALA KWO Lyrics

      OLUYIMBA 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE 1 ZUUKUKA mwoyo gwange, Katonda-akusembeza, Taakugobere bweru, Akwagalira ddala. 2 Gw’osaba ye Kabaka Omuyinza wa byonna, -Okumukooyesa teri Olw’ekisa kye-ekingi. 3 Yesu,sooka-ontikkule Omugugu ogw’ebibi, Ogunzitoowerera, Gwe sijja kusobola. 4 Mu musaayi-ogwayiika Edda ku musaalaba; Ku lw’abalina-ebibi, Yesu,-onnaalize ddala. 5 Nkooye nnyo,ompummuze Weemale-omwoyo gwange, Njagala-Omulokozi Anammalamu-ebibi. 6 Bwe ntyo bwe…

  • Hymn 182: YESU,MWANA W’OMUNTU! Lyrics

      OLUYIMBA 262: ENSUNU NGA BW’EWEEVUUMA 1 ENSUNU nga bw’eweevuuma, Ne yeegomba amazzi, Bwe bagiyigga ewala-ennyo, Bwe ntyo bwe nsinda nze. 2 Neegomba-amzzi g’obulamu Agava waggulu; Omwoyo ne gunnuma nnyo Okunywa,nzikute. 3 Ka ngume omwoyo;Yesu Ye wa kisa kyonna; Taalemenga kunsanyusa, Bwe ngumiikiriza. 4 Eri Katonda Kitaffe, N’Omwana we Yesu, N’Omwoyo Omutukuvu, Esaanidde ettendo

  • Hymn 183: YESU,-OBUYINIKE BWAFFE Lyrics

      OLUYIMBA 263: MUKAMA-OTUYIGIRIZE 1 MUKAMA-otuyigirize -Okusaba-n’okutya, Twang’anga-abaana b’enfuufu, -Okukusemberera. 2 Tufudde bwe tutasaba; Yesu,otusabire; Bwe tuba tugenda gy’oli, Ggwe otwanirize.