Author: aznimi

  • Hymn 194: YESU EKISA KYO-EKINGI Lyrics

    Oluyimba 194: YESU EKISA KYO-EKINGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 273: MUKAMA WAFFE-OW’EKISA
    1
    MUKAMA waffe-ow’ekisa,
    Tusonyiwe fenna;
    -Ebirowoozo-ebitukuvu
    N’empisa ezisaanira
    -Otujjuzenga fenna.

    2
    Ku nnyanja,abtume bo
    Baakuwuliranga;
    Fenna fenna tusituke
    Era tukugoberere
    Amangu nga bali.

    3
    Tujjukira ennyanja eyo
    N’ensozi ennungi;
    Yesu kwe yafukamira
    Ng’asba-eri Katonda we
    Atwagala fenna.

    4
    Otereeze-emyoyo gyaffe
    Ennaku ziggweewo;
    -Emitima nga giteredde
    gijjukire-emirembe gyo
    Egitasingika.

    5
    Era okwegomba kwaffe
    Kumalibwe mu ggwe;
    Eby’omubiri n’eby’ensi
    Bisirike,tuwulire,
    By’oyogera naffe.

  • Hymn 195: OMWOYO OMUTUKUVU Lyrics

    Oluyimba 195: OMWOYO OMUTUKUVU Lyrics

     

    OLUYIMBA 274: SIYINZA,AYI-OMULOKOZI
    1
    SIYINZA,Ayi-Omulokozi
    Ow’ekitiibwa-ennyo
    Siyinza,nze-omuntu-omubi
    Kusuuta-erinnya lyo:
    Mu ggulu bamalayika
    N’abaanunulibwa
    Basinza bulijjo,naye
    Simanyi,nsirika.

    2
    Jjangu,-Omwoyo-Omutukuvu,
    Onjigirize nze
    Ekitibwa kyo n’okutya,
    N’obutuukirivu;
    Bwe ntyo bwe nsaanira ddala
    -Okuyimba-ettendo lyo
    Awamu n’abatukuvu
    Ne bamalayika.

  • Hymn 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Lyrics

    Oluyimba 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Lyrics

     

    OLUYIMBA 284: SIYINZA N’AKATONO
    1
    SIYINZA n’akatono
    Yesu nga toliiwo;
    Okulwana-akaseera
    Mu maaso g’ekibi;
    -Abalabe bange bonna
    Bantaayiza bubi;
    Omulokozi wange,
    Ombeere n’amaanyi.

    2
    Nze ndi munafu ddala.
    -Amaanyi gampweddemu;
    So sirina magezi,
    Ekkubo limbuze.
    Beera-Omusaale wange,
    Mu masamganzira,
    Bw’onkwata n’omukono
    Ndituuka-emirembe.

    3
    Siyinza n’akatono,
    Kutambula nzekka;
    Ggwe-oli Mubeezi wange
    Mu biro-eby’ennaku:
    Ggwe tonjabuliranga,
    Nneme-okubungeeta,
    Siritya kabi konna,
    Mu ntuuko-ez’okufa

  • Hymn 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Lyrics

    Oluyimba 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 283: ONNUMIRIZE OLW’EBIBI
    1
    -ONNUMIRIZE olw’ebibi
    Mwoyo Mutukuvu;
    Eby’omu bulamu bwange
    Byerulibwe mangu.

    2
    Yesu amaanyi ebyama,
    N’esulo-ez’omu nda
    Ez’ebirowoozo bynge,
    Ozimbikkulire.

    3
    Onjakize-omusana gwo,
    Ommulise mu nda,
    Ommanyise-ebibi byange
    Byonna-ebikisibwa.

    4
    Naweerezanga Ssetaani,
    Mu nnaku ez’edda;
    Ekisa kyo kye kyansenza;
    Yesu anjagla.

    5
    Bwe ntyo bwe ndifukamira
    Mu maaso ga Yesu,
    Naakwebalizanga ddala,
    Nga neewombeese nnyo

  • Hymn 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Lyrics

    Oluyimba 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Lyrics

     

    OLUYIMBA 281: YESU,LEERO NKUKOOWOOLA
    1
    YESU,leero nkukoowoola
    Ombeere nkwegayirira,
    Obulokozi bwo ndaga;

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    2
    -Obujeemu bwange n’obubi,
    Ggwe-omanyi ddala bwe biri:
    Ka nkwesige ggwe bwesizi;

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    3
    Siyinza kweteekateeka,
    Siyinza kwegendereza;
    Olw’erinnya lyo ndokola:

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    4
    Nze nkuvuunamidde leero
    Neewaayo mu mikono gyo:
    Mukama,nze ndi muddu wo:

    Yesu nkusenze ggwe:
    Yesu nkusenze ggwe:
    (O)musaa(yi) gwo gwe gundokodde:
    Yesu nkusenze ggwe.

  • Hymn 202: MUKAMA TWAGALA Lyrics

    Oluyimba 202: MUKAMA TWAGALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 280: AYI KATONDA WAFFE
    1
    AYI Katonda waffe
    Ggwe watonda ffe,
    Naye twakuvaako
    Dda,ne twonoona.

    2
    Ayi Katonda waffe,
    Twakujeemera;
    Naye tukusinza
    Tuli baana bo.

    3
    Ayi Katonda waffe,
    Watusaasira;
    Twebaze ggwe leero,
    -Olw’okutwagala.

    4
    Ayi Mukama waffe.
    watununula;
    Twagala-okukusenga
    Tukuweereze.

    5
    Ayi Mukama waffe,
    Twali bajeemu;
    Naye otusenze,
    Tube-abaddu bo.

    6
    Ayi Katonda-,Omwoyo
    Omutukuvu,
    Fenna otukuume,
    Leero mu bibi.

  • Hymn 201: GGWE MUKULU WEKKA Lyrics

    Oluyimba 201: GGWE MUKULU WEKKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 28: YESU ALIJJA N’EBIRE
    1
    YESU alijja n’ebire
    Eyafiirira-abanyu;
    Abatukuvu be bangi
    Wamu naye bayimba,
    Aleruuya!
    Ajja wansi-okufuga.

    2
    Bonna baliraba Yesu
    Ng’ali mu kitiibwa kye:
    N’abo-abaamuyigganya
    N’abo-abaamufumita
    Balikaaba,
    Yesu bw’alirabika.

    3
    Wansi ne waggulu wonna
    N’ebirimu biriggwaawo-:
    Abaamulyamu olukwe
    Baliwulira Yesu
    Bw’alisala,
    Gubasinze,muveewo.

    4
    Abeegendereza bonna
    Abamulindirira
    Balitwalibwa mu bbanga,
    Balisangayo Yesu.
    Eyeewayo,
    Okuleeta-obulamu.

    5 Bonna bonna bakusinza
    Yesu, mu kitiibwa kyo;
    Jjangu,Mulokozi waffe
    Olye-Obwakabaka bwo
    Tukusuute;
    Jjangu,Mukama waffe.

  • Hymn 200: NZE NZIKIRIZA DDALA Lyrics

    Oluyimba 200: NZE NZIKIRIZA DDALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 279: MUKAMA GGWE NGABO YAFFE
    1
    MUKAMA ggwe ngabo yaffe,
    Ggwe musana gw’ensi;
    Ggwe wekka okeesa-obudde
    Era ggwe-obuzibya.

    2
    Tuwaayo gy’oli ssadddaaka-,
    Ey’okwebaza kwaffe;
    Era tusaba-otukuume
    Okuzibya obudde.

    3
    Tusonyiwe bye tusobya,
    ffe-abaana b’abantu;
    Tuma Omwoyo-ow’ekisa
    Ajje mu nda zaffe.

  • Hymn 198: KA TUSUUTE KITAFFE Lyrics

    Oluyimba 198: KA TUSUUTE KITAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 277: OTUKULEMBERE,MUSUMBA WAFFE
    1
    -OTUKULEMBERE,Musumba waffe
    Tukwetaaga bulijjo;
    -Otugalamize mu ddundiro lyo
    Ery’omuddo omuto.
    Watugula n’omusaayi-gwo
    Otukuume mu kabi;
    Watugula n’omusaayi-gwo
    Otukuume mu kabi.

    2
    Tuli baana bo-otuzibirenga
    Mu balabe ab’-amaanyi
    Otuyingize mu kisibo kyo
    Mwe tubeera-obulungi.
    Nga bwe tukaabirira ggwe
    Otuwulire mangu.

    3
    Ajja gye ndi;bwe wagamba bw’otyo
    Siimugobere bweru,
    Okomyewo emitima gyaffe
    Otunaaze mu bibi.
    -Otulumgaamye mu makubo
    Ag’obutuukirivu;
    -Otulumgamye mu makubo
    Ag’obutuukirivu.

  • Hymn 199: TUKWEBAZA KITAFFE Lyrics

    Oluyimba 199: TUKWEBAZA KITAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 278: MUKAMA GGWE-OMUFUZI WA BYONNA
    1
    MUKAMA ggwe-Omufuzi wa byonna,
    Bye wakola bikusuuta byonna.
    Ggwe-Omukuumi w’amawanga gonna,
    Ogamulisizza-omusana gwo.
    Fuga-emyoyo gyaffe,Ayi Mukama,
    Tukuume-era-otuwe amaanyi go.

    2
    Ffe-abaana bo b’oyagala ennyo,
    B’ogaase awamu n’Omwana wo,
    Naawe-Omwoyo-Omutukuvu jjangu
    Tugatte fenna mu mwoyo gyaffe
    Tubeerenga mu ggwe omu wekka;
    Fenna twagalanenga bulijjo.

    3
    Tuwe tukyawe obubi bwonna,
    Twagalenga-ebyo ebisaanira.
    Essanyu lyaffe lituukirire,
    -Obuyinike bwaffe-obumalewo.
    Gabira-abaana bo amaanyi go
    Tukugoberere n’amazima.

    4
    Ayi Mukama,-otwambaze amaanyi go
    Tube-abasserikale bo leero.
    Tujjuze-amaanyi g’ekigambo kyo
    Tuwangule mu lutalo lwaffe
    Wanirira obuzibu bwaffe.
    Tuleme oktya entiisa yonna.