Author: aznimi

  • Hymn 218: YESU,BWE NNAKUSENGA Lyrics

    Oluyimba 218: YESU,BWE NNAKUSENGA Lyrics

     

    OLUYIMBA 295: MUKAMA BWE YAMGGAMBA NTI
    1
    MUKAMA bwe yamggamba nti
    Jja,osembere gye ndi;
    Owummule ggwe-akooye-ennyo
    Ennaku z’omu nsi;
    Ne nsembera nga bwe nnali
    Nga nnakuwadde nze;
    N’angabira-okuwummula,
    Kaakano nsanyuse.

    2
    Mukama bwe yamgamba nti
    Kye nkuwa kya buwa;
    Amazzi g’obulamu,nywa,
    Ggwe-alumiddwa-ennyonta;
    Ne nnywa amazzi-ago,
    Ne nzikuta;-omwoyo gyange
    Ne gufuna-amaanyi.

    3
    Mukama bwe yamgamba nti
    Ensi-eno-ekutte nnyo;
    Tunuulira nze,ofune
    -Omusana bulijjo;
    Ne mutunuulira Yesu,
    Ye ye njuba yange:
    So saagala njuba ndala
    Kunjakiranga nze.

  • Hymn 219: YESU AJJA! ABALABE Lyrics

    Oluyimba 219: YESU AJJA! ABALABE Lyrics

     

    OLUYIMBA 296: OMPISE,MUKAMA
    1
    OMPISE,Mukama,
    Okujjanga gy’oli,
    Onnanze n’omusaayi gwo
    Ogusinga byonna.

    Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli:
    Nnaaza,nnaaza n’omusaayi

    2
    Nange ndi munafu;
    Omubi-omwereere:
    Ajja gye ndi simugoba
    Bwe bwesige bwange.

    Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli:
    Nnaaza,nnaaza n’omusaayi

    3
    Yesu,wanfiirira
    Nze alina-ebibi
    Okwagala kumpaludde,
    Laba,nzize gy’oli.

    Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli:
    Nnaaza,nnaaza n’omusaayi

    4
    Katonda Kitaffe,
    Katonda Omwana,
    N’Omwoyo Omutukuvu,
    Tweyanze bulijjo!
    Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli:
    Nnaaza,nnaaza n’omusaayi

  • Hymn 220: KALE GGYE LYA YESU, MUGOLOKOKE Lyrics

    Oluyimba 220: KALE GGYE LYA YESU, MUGOLOKOKE Lyrics

     

    OLUYIMBA 297: BYE TUKUWA BIVA GY’OLI
    1
    BYE tukuwa biva gy’oli,
    Newankubadde nga bingi;
    Bibyo byonna bye tulina,
    Birabo by’otuteresa.

    2
    -Otuwe-ekisa tubeerenga
    -Abawanika bo-abeesigwa;
    Nga twesolooza n’omwoyo
    Ku bintu bye tuli nabyo.

    3
    -Amawanga gonna-ag’omu nsi
    Geetaaga nnyo-Omulokozi
    Abantu be yafiirira
    Bawaba-era basaasaana.

    4
    Gy’emirimu gyaffe fenna,
    -Okukomyawo abakyama;
    -Okunoonya-ababula,era
    -Okujjanjaba-abafiiriddwa.

    5
    Bw’atyo Yesu bwe yakola,
    Ne yeewaayo-okubawonya;
    Naffe tumugoberere,
    Aboonoonyi balokoke.

    6
    Yesu otuyigirize,
    Ebyo bwe bikukolerwa;
    Fenna-otunyiikize wonna
    -Okugoba n’okwesolooza

  • Hymn 221: BALWANYI BA YESU MWESIBE-ENKOLA Lyrics

    Oluyimba 221: BALWANYI BA YESU MWESIBE-ENKOLA Lyrics

     

    OLUYIMBA 298: MUKAMA,NZE NNINA-EBIBI
    1
    MUKAMA,nze nnina-ebibi;
    Naye ekisa kyo kingi;
    Ompise okujja gy’oli;
    Yesu,njija.

    2
    Yesu,Omwana gw’endiga,
    Olw’ebibi byange wafa;
    -Omusaayi gwo ngukkiriza;
    Yesu,njija.

    3
    Ajja gyendi simugoba,
    -Ekigambo kyo nkikkiriza,
    Kuba okulimba toyinza;
    Yesu,njija.

    4
    Okwagala kwo okunene
    N’ekisa kyo bimpaludde;
    Kye njagula,kusenga ggwe;
    Yesu,njija.

  • Hymn 222: MULWANYI WA YESU OLINA-ENNAKU Lyrics

    Oluyimba 222: MULWANYI WA YESU OLINA-ENNAKU Lyrics

     

    OLUYIMBA 299: YESU WANFIIRIRA MU KWAGALA KWO
    1
    YESU wanfiirira mu kwagala kwo,
    Nnyinza ntya okukumma by’onooyagala?
    Byonna mbikuwa ggwe,ka nfuuke-omuddu wo,
    Obuddu ggwe gy’oli lye ddembe ddala.

    2
    Ku ntebe-ey’ekisa ompolereza,
    Ompe-emirembe gyo Yesu nkwesiga;
    Ka mbuulire wonna ettendo lyo lyonna,
    Mu bulamu-,mu kufa,bw’onondokola.

    3
    Kye njagala kyokka kukufaanananga,
    Nzire mu kkubo lyo nga nkuweereza;
    Emirimu gyange gyonna gikolebwe,
    Okwebazanga ggwe eyanjagala.

  • Hymn 223: MMWE MWENNA-ABOOLUGANDA Lyrics

    Oluyimba 223: MMWE MWENNA-ABOOLUGANDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 3: BWE BUKEDDE-OLWA LEERO
    1
    NGA bwe bukedde-olwa leero,
    Bwe tuyimusa bwe tutyo;
    -Emitima gyaffe,tusaba,
    Otukuume olwa leero.

    2
    Tuyambe-obutayogera,
    Bya kuyombagana byonna;
    Kuuma,wunjula-amaaso go;
    Okulaba-ebitasaana.

    3
    Kka,emyoyo gyaffe gibe,
    Mirongoofu nnyo mu byonna;
    -Emibiri gyaffe-eminafu,
    Biweebwe-emmere y’obulamu.

    4
    Bye tukoze byonna leero,
    Bitendereze Katonda,
    -Ekiro ne bwe kinaatuuka
    Tetuutye entiisa yonna.

    5
    Otenderezebwenga nnyo;
    Ggwe Kitaffe-era n’Omwana,
    Naawe Omwoyo-Omutukuvu;
    Ggwe-afuga-emirembe gyonna.

  • Hymn 225: GGWE KIBUGA KYA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 225: GGWE KIBUGA KYA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 300: OMWOYO N’OMUBIRI
    1
    OMWOYO n’omubiri,
    Yesu ka mbikuwe;
    Neewaayo nga ssaddaaka;
    Omuliro gujje.

    Omwoyo n’oomubiri,
    Yesu ka mbikuwe;
    Neewaayo nga ssaddaaka;
    Omuliro gujje.

    2
    Yesu Omulokozi,
    Neesiga-erinnya lyo;
    Era nga bwe wagamba,
    Kibeere bwe kityo.

    Omwoyo n’oomubiri,
    Yesu ka mbikuwe;
    Neewaayo nga ssaddaaka;
    Omuliro gujje.

    3
    Toola-ebitundu byange
    Bye waggya mu nvuba;
    Nnwanenga ne Ssetaani
    N’okumuwangula.

    Omwoyo n’oomubiri,
    Yesu ka mbikuwe;
    Neewaayo nga ssaddaaka;
    Omuliro gujje.

  • Hymn 226: BATUULA MU GGULU Lyrics

    Oluyimba 226: BATUULA MU GGULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 301: KATONDA WANGE BYE NKYAMA
    1
    KATONDA wange bye nkyama,
    Ewala mu kkubo lyange,
    -onjigirize-okkukiriza
    Byonna, byonna, by’oyagala.

    2
    Mu nzikiza bwe ntambula,
    Onjakize-omusana gwo;
    Nneme-okubulira ddala;
    Beera nange, Mulokozi.

    3
    -Obuyinike bwe bunsanga,
    Nga nfiiriddwa be njagala,
    Oyimuse-omwoyo gwange
    Onnyimuse, onnyimuse,

    4
    Bw’obanga-ompita-okuleka
    Bye nsinga-okwagala, byonna
    Bitwale, si byange, bibyo;
    Nzikiriza, nzikiriza.

    5
    Kino kye neetaaga kyokka,
    Omwoyo wo-okuyingira
    Mu mutima gwange mu nda,
    Ayingire, ayingire.

    6
    Bwe ndituuka-eyo mu ggulu
    Ndikwakaliriza-amaaso;
    Ne ntendereza-amaaso;
    Ne ntendereza ggwe-eyampa,
    Obulamu obutaggwaawo-.

  • Hymn 227: BULIJJO TUTENDEREZA Lyrics

    Oluyimba 227: BULIJJO TUTENDEREZA Lyrics

     

    OLUYIMBA 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA
    1
    EKISA kyo tekitegeerekeka;
    Mukama wannge, naye njagala
    -Okuyiga bulijjo n’okwongera
    Okutegeera mu mwoyo gwange
    Bwe kyenkana.

    2
    Okwagala kwo kukira byonna
    Bye tulowooza ffe-abantu, naye
    Neegomba nnyo-okubuulira wonna
    Ekisa kyo-ekinene bwe kiri
    Eri bonna.

    3
    Ekisa kyo kinnemedde ddala
    Okukitendereza-obulungi:
    Naye emimwa gyannge gyagala,
    Mukama okuyimba ettendo lyo
    -Ennaku zonna.

    4
    Newankubadde nga nnemwa leero
    Okutegeera-oba-okubuulira
    Oba kukweyanza nga bw’osaana,
    Naye nzize gy’oli onjijuze
    Okwagala.

    5
    Sirina akanaakusanyusa
    Mukama wange, nze munaku wo;
    Edda nali seewangayo gy’oli,
    Naye leero mpoza kino kyokka;
    onjagala.

    6
    Mukama onjijuze-okwagala,
    Ntwala awali oluzzi olwo
    -Olw’obulamu, nneme-okuluvaako
    Okunoonya-amazzi gonna-amalala
    -Ennaku zonna.

    7
    Era bwe ndikulaba n’amaaso
    Ndiyiga-okukutendereza-ennyo;
    Kubanga-okwagala-okwenkanaawo
    Nga bwe kuli okw’ekitalo-ennyo,
    Kumpalula.

  • Hymn 229: WALIWO-ENSI ESINGA-ENO Lyrics

    Oluyimba 229: WALIWO-ENSI ESINGA-ENO Lyrics

     

    OLUYIMBA 304: YESU,NEESIGA GGWE OKUNDOKOLA
    1
    YESU,neesiga ggwe okundokola
    Mu musango gwonna ne mu kwonoona:
    Ali mgganga ggwe mu ggulu taliwo;
    Ne mu nsi ggwe wekka ggwe Mulokozi.

    Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja
    Nkwebaza,nkusinz(a) olw’okusaasira.
    Yesu,neesiga ggwe okundokola,
    Mu musango gwonna ne mu kwonoona.

    2
    Yesu,nkwesiga n’olw’ekigambo kyo,
    Naakawulira-omwo eddoboozi lyo:
    Omwoyo-omulungi bw’anjigiriza,
    Ka ntuule nga njija-era nga nsanyuka.

    Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja
    Nkwebaza,nkusinz(a) olw’okusaasira.
    Yesu,neesiga ggwe okundokola,
    Mu musango gwonna ne mu kwonoona.

    3
    Yesu,neesiga ggwe,Omulokozi;
    Toyinza kugoba yenna-akkiriza
    Ekyo kya mazima,nange nsanyuka
    Olw’obulokozi bwo,obw’obuwa.

    Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja
    Nkwebaza,nkusinz(a) olw’okusaasira.
    Kyeva neesiga ggwe,kyenza nsanyuka
    Yesu (O)mulokozi,era Katonda.