Author: aznimi
-
Hymn 235: WULIRA-EDDOBOOZI Lyrics
OLUYIMBA 31: YESU OMULINDWA, JJANGU! 1 YESU omulindwa, jjangu! Ffe tukulindirira; Ebibi byonna-otuggyeko Otuwummuze mangu. 2 Ggwe ssuubi ly’abantu bonna, Ggwe ssanyu ly’aboonoonyi. Amawanga gonna gonna, Gakwetaaga Katonda. 3 Baakutuuma-erinnya Yesu Eyanunula-abantu, Wazaalibwa nga Kabaka Era ng’omwana omuto. 4 Olw’omwoyo wa Katonda Otufugire ddala; Beera mu ffe-otuwe-amaanyi Otutuuse mu ggulu.
-
Hymn 236: OMUZIBE W’AMAASO EDDA Lyrics
OLUYIMBA 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE 1 AYI Katonda,onnumggamye Okumpisa mu ddungu; Ndi munafu:ggwe w’amaanyi, Nnyweza mu mikono gyo. Ggwe-oli mmere y’omu ggulu, Ondisenga,nzikute. 2 Omusaayi gwo-ogunaaza Gunnaaze,guntukuze; Empagi ey’omuliro Ggwe Mubeezi ow’amaanyi Onkuume n’engabo yo. 3 Bwe ndituuka ku Yoludaani Ombeere nneme-okutya. Ggwe-eyawangula okufa Ontuuse mu kanani. Nnyimbe-ennyimba-ez’amatendo Bulijjo nga ndi naawe.
-
Hymn 239: MWOYO GWANGE, WULIRA Lyrics
OLUYIMBA 313: NG’EMPEEWO BW’EWEJJAWEJJA 1 NG’EMPEEWO bw’ewejjawejja. Olw’amazzi-ewummule Abayizzi gye bagoba -Ewala nnyo mu kibira, Bw’atyo omutambuze Ye bw’awejjawejjera Ggwe,amazzi g’obulamu, Ggwe,omugga-ogutaggwaawo. 2 -Emmeeme yange-erumwa-enjala Ku lw’Oyo-Omutukuvu, -Emmere yange ge maziga Emisana n’ekiro; Abayigganya bonna Nga banvuma-edda n’edda Nti -Omulokozi yeekweka. Ali ludda wa Katonda? 3 Kiki-ekikukutamizza, Ky’ozitoowereddwa ggwe? Kiki,ggwe emmeeme yange, -Ekikweraliikiriza? Weesige-Omulokozi…
-
Hymn 240: WULIRA MU LUYOOGAANO Lyrics
OLUYIMBA 314: MUJJE MWEKKA KYAMA MUWUMMULE 1 MUJJE mwekka kyama muwummule, Nange,mu kifo eteri bantu, Emitawaana gibayinzeeko, Oluyoogaano lubakooyezza. 2 Muleke byonna-ensi by’yagala, Munoonye-ebitanoonyezeka nsi, Awamu nange-era ne Kitange So temuli mwekka,tuli nammwe. 3 Mumbuulire byonna bye mukola, Bye mwogera-era bye muwangula, Mu nnaku zammwe bwe mulemeddwa, Bimanyibwa-Atakisika byama. 4 Ekkubo lya wala,muwummule, Olugendo…
-
Hymn 241: YESU ABAKKIRIZA Lyrics
OLUYIMBA 315: KWATA-OMUKONO GWANGE,NDI MUNAFU 1 KWATA-omukono gwange,ndi munafu; Sirina maanyi,nafuwadde nnyo. Naye bw’onkwata,siriiko kye naatya. Naasobolanga byonna-eby’entiisa. 2 Mulokozi,kwata-omukono gwange, Onsembeze kumpi n’omwoyo gwo Enzikiza-ekutte,onjakire nze, Nneme-okukyamanga mu kkubo lyo 3 Kwata-omukono gwange,ggwe-otegeera, Enkwe n’obulimba bwa Ssetaani; Bw’obeeera nange naafuna-emirembe, Naatambulanga n’essanyu lingi. 4 Kwata-omukono gwange,mu bulwadde, Nga nzirika nga sissa mukka nnyo;…
-
Hymn 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO Lyrics
OLUYIMBA 316: OTUKULEMBERE 1 -OTUKULEMBERE Mu kkubo lyaffe; Yesu tujja kwanguwako Okukugobereranga; Kwata-omukono -Otutuuse-ewuwo! 2 Mu buyinike Ka tugumenga Newankubadde nga tuli Mu kabi kanene katya, Tujjukirenga Ggwe watusooka. 3 Bwe wanajjanga, -Ekigambo kyonna Ekirumya-emyoyo gyaffe Ekimalamu amaanyi, Yimusa-amaaso Tukulabenga. 4 Tulongooseze -Olugendo lwaffe; Tulagirirenga-ekkubo, Tuwe-entanda y’omu mwoyo, N’oluvannyuma -Otutuuse-ewuwo.
-
Hymn 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE Lyrics
OLUYIMBA 317: ABATAMBUZE,BAYITA 1 ABATAMBUZE ,bayita Mu kiro ek’ennaku, Nga bayimba eby’essuubi Nga bagenda mu ggulu. 2 Tewali kutya nzikiza Baakirwa omusana; Bakwatagana mu ngalo Ne gubakulembera. 3 Abalonde ba Katonda, Atuwa-omusana gwe -Okutubeera mu lugendo, Twekkaanye-ekkubo lyaffe. 4 Ffe tugenderera kimu N’okukkiriza kumu; Katonda fenna atuwa -Essubi limu eddamu. 5 Tulina-oluyimba lumu Nga…
-
Hymn 244: GGWE OKOOYE-,ONAFUWADDE- Lyrics
OLUYIMBA 318: MMWE MUGENDA WA BANNANGE 1 MMWE mugenda wa bannange Be ndaba ng’abayise? Ffe tukutte nno-olugendo, Lwe yalagira Yesu. Olugrndo nno luwanvu, Ffe tugenda ku kibuga: Ffe tugenda ku kibuga: Mu ns(i) eyoesinga ennyo. 2 Mutugambe kye mwetaaga, Mu nsi-eyo ennungi ennyo: Ebirungi-n’ekitiibwa, By’alituwa Mukama. Tulituula ne Katonda Tuliraba-Omulokozi; Tuliraba-Omulokozi: Mu ns(i) eyo…
-
Hymn 245: MUJJE MWENNA,MUJJE GYE NDI Lyrics
OLUYIMBA 319: MU NZIKIZA GGWE-oMUSANA OGWAKA 1 MU nzikiza ggwe-Omusana ogwaka, Onjakire. -Obudde bukutte nange ntidde nnyo, Onjakire. Nkulembera,siraba gye mggenda, Naye ggwe omanyi byonna,Ayi Yesu. 2 Edda saakwagala ggwe kunnumggamya, Nakukyawa. Nali njagala-okweronderanga -Ekkubo lyange Naye leero-onsaasire-olw’ekisa, Tojjukira byonoono byange-eby’edda. 3 -Ekisa kyo ekintuusizza kaakano Tekiggwaawo; Tekiiremenga kunneetooloolanga -Ennaku zonna; Era ne mu…
-
Hymn 246: MUJJE MWENNA ABAKOOYE Lyrics
OLUYIMBA 32: MULOKOZI WAFFE YATUGAMBA 1 MULOKOZI waffe yatugamba, Ndikomawo ku nsi,mwetegeke. Tetumanyi biro w’alijjira; Naye tusuubiranga tulinda. 2 Era-essubi eryo lye yatuwa Liritusanyusa-ennaku zonna. Abaagalwa baffe batuleka; Naye-essuubi eryo litugumya. 3 Abamuweereza mu nsi muno Baweereddwa-empeera mu maaso go Era baweereddwa n’omukisa, Emirimu gyabye nga giwedde. 4 Ku lunaku luli kw’alijjira Aliyita bonna…