Author: aznimi
-
Hymn 260: KITAAWE WA BONNA-ERI GGWE Lyrics
OLUYIMBA 332: NNINA-OMUKWANO GWANGE,YE 1 NNINA-omukwano gwange,ye Yasooka-okwagala nze N’ampalula mu kisa kye, Kye kyakkirizisa nze. Leero ndi muddu we,naye Abaddu be ba ddembe; Nze ndi wuwe,naye wange. -Emirembe n’emirembe. 2 Nnina-omukwano gwange,ye Yafa-okundokola nze, Kubanga obulamu bwe Ye bwe yagabira nze. Nange sikyalina byange, Ebyange bibye byonna; Neewaayo mu mikono gye, Mukwano gwange…
-
Hymn 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE Lyrics
OLUYIMBA 333: OMUKWANO GWA YESU 1 OMUKWANO gwa Yesu Tegutegeerekeka; Omwoyo-Omutukuvu Y’anjigiriza yekka; Emirembe gijuza Bwe gityo-omwoyo gwange, Era gikulukuta Bulijjo-okunsanyusa. 2 Byonna-ebitalabika Kaakano mbirengedde; Bibikkuliddwa gye ndi Ku lw’ekisa kya Yesu; Era-ebinafu by’ensi Katonda yabironda, Alyoke-akwase-ensonyi Eby’amaanyi mangi nnyo. 3 Eby’entiisa sibitya; Nvumbudde-ekiwummulo; Sikyayengetana,so Sikyataagana nate. Nnina-ennono y’obulamu, Kwe kukkiriza Yesu, Era nnyimba…
-
Hymn 262: ENSUNU NGA BW’EWEEVUUMA Lyrics
OLUYIMBA 334: NAKOLA NNYO NAYE SAAGASIBWA 1 NAKOLA nnyo naye saagasibwa; Nafuba nnyo naye saawummula; Yesu kaakano-ampadde-ekisa kye. Ampummuzizza mu mikono gye. Gy’ali gye njagala-okutuuka-eyo Nze ndi wuwe naye wange ddala. 2 Byonna birungi ye by’ampeereza, Newankubadde sibisaanira; Bw’abeera nange nfuuse-omugagga, Bw’atabaawo mba mwavu lunkupe. Mukama jjo ne leero-aba bumu Nze ndi wuwe naye…
-
Hymn 263: MUKAMA-OTUYIGIRIZE Lyrics
OLUYIMBA 335: YESU BYONNA ABIMANYI 1 YESU byonna abimanyi, Kinsanyusa; Antwala yekka mu kkubo, Seetaaga mukulembezi, Wabula ye,wabula ye. 2 Ebiribaawo sibitya, Ng’antwala nze; Yesu yekka-ankulembera Nange ka mugoberere, Kinsaanidde,kinsaanidde. 3 Siyinza kwerabirira Ndi munafu; Ankutte-omukono gwange Antambuza mu bulabe, N’emirembe,n’emirembe. 4 Nnina-ekiddukiro gy’ali, Kya maanyi nnyo; Ekitalumbika babi Ekirimu bye neetaaga, Ne mpummula,ne…
-
Hymn 264: AYI YESU MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 336: NGA BEESIIMYE-ABAKWAGALA 1 NGA beesiinye-abakwagala Abakukkiriza; Mu musaalaba gwo Yesu Mwe bawummulira. 2 Nga kulungi okuyimba Nga batendereza; N’okwegayirira kwabwe Kuwulirwa Yesu. 3 Baweereddwa emirembe Bonna-abakwagala Balifuga wamu nawe Ggwe Katonda wabwe. 4 Tetwalina ssanyu lyona Nga tujjudde-ebibi Ekkubo erituuka-ewuwo, Nga tetuliraba, 5 Otwoleke okwagala Naffe tukwagale; Newankubadde okufa; Tekulitwawula.
-
Hymn 265: YIMIRIRA MU FFE Lyrics
OLUYIMBA 337: YESU MUKAMA OMULOKOZI 1 YESU Mukama Omulokozi Yajja mu nsi okunoonya- ababi; Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonye nze, Yajja okunnoonya-nze, Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonya nze. 2 Yesu Mukama Omulokozi Bwe nnali mu nvuba ya Ssetaani, Yannunula n’omusaayi gwe ye, Yesu yanfiirira. Yesu yanfiirira, Yesu yanfiirira, Yannunula n’omusaayi gwe ye;…
-
Hymn 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA Lyrics
OLUYIMBA 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE 1 NALYOKA ne nkusenga ggwe, Omulokozi Katonda: Kyenvudde nsanyuka nnyini, Ne njatula bwe nsanyuse Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by’ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 2 Namusenga n’atangoba, Nze ndi wuwe,naye wange Yampita ne nditegeera, -Eddoboozi lye nga lya Yesu Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e)…
-
Hymn 267: KATONDA-ONSEMBEZE Lyrics
OLUYIMBA 339: KATONDA MUSUMBA WANGE 1 KATONDA Musumba wange Era ye andiisa; Nze ndi wuwe naye wange, Byonna-ebibye byange. 2 Andiisa-omuddo-omulungi, Nzikuta,mpummula; N’awali-emigga-emirungi, Annywea lwa kisa. 3 Bwe nkyama ye ankomyawo N’amggumya omwoyo; So si lwa bulungi bwange, Lwa linnya lye lyokka. 4 Mu kiwonvu eky’okufa Ndiyita nga sitya; Oluga lwo n’omuggo gwo Bye…
-
Hymn 268: YESU EYASOOKA Lyrics
OLUYIMBA 34: MMWE MWENNA-ABALONDE 1 MMWE mwenna-abalonde, Mujje musanyuke Mujje tugende e Beesirekemu, Gy’azaaliddwa Omwana wa Katonda Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 2 Katonda, Katonda; Ye musana gwa nsi: Teyagaana kufuuka omuntu; Katonda ddala,-Omwana si mutonde. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 3 Mmwe mwenna…
-
Hymn 269: OMUYAGA GWALI GUWUUMA Lyrics
OLUYIMBA 340: LABA-OMUSUMBA-OMULUNGI 1 LABA-Omusumba-omulungi Bw’ayita-endiga ze: Ennafu azisitula, Ento azirisa. 2 Azitwala ku mabbali -Ag’amazzi g’obulamu-; Era n’awali omuddo -Omulungi omuto. 3 Bwe zikyama nga zireka Ekkubo lye-effunda; -Omusumba oyo-omwesigwa Azigoberera. 4 Bwe tutyo ffe tutambule, Tugende n’essanyu; Ye ng’atukuuma bulijjo Mu kkubo lye-eddungi.