Author: aznimi
-
Hymn 255: MU NSI Y’ABAGENYI Lyrics
OLUYIMBA 328: EDDA NALI MBUUSABUUSA 1 EDDA nali mbuusabuusa, Mu bigambo bya Yesu; -Oluusi ssanyu,-oluusi nnaku, Oluusi kukanakana. Emirembe gya Yesu Gye ginsanyusa leero: Era ye wa maanyi nnyo- Mwesize ye bwesizi. 2 Yampita okusembera, N’okuleka okutya; Bwe namala nze-okwewaayo Emirembe n’agimpa. Emirembe gya Yesu Gye ginsanyusa leero: Era ye wa maanyi nnyo- Mwesize…
-
Hymn 256: AYI YESU-OW’EKISA Lyrics
OLUYIMBA 329: GYE MIREMBE NGA TULI MU BIBI? 1 GYE mirembe nga tuli mu bibi? Olw’omusaayi-gwa Yesu gye giri. 2 Mu miteeru tuwummule tutya? Aweereza Yesu ye-awummula. 3 Mirembe banaffe bwe babula? Yesu akuuma bo naffe era. 4 Waali Ssetaani-omulabe waffe? Yesu yamusinga n’amaanyi ge. 5 Tetumanyi ebiritubaako; Yesu,tukumanyi n’ekisa kyo. 6 Wonna wonna…
-
Hymn 258: KA NKWAGALE KATONDA;SIYINZA Lyrics
OLUYIMBA 330: YESU MUKAMA WANGE 1 YESU Mukama wange. Mweyamba bulijjo; Yesu Mukuumi wange, Yesu gwe neesiga. Nange ntegeera Yesu Ye y’alindokola, Mmanyi tulitugoba Abamukkiriza. Yesu Mukama wange Mweyamba bulijjo; Yesu Mukuumi wange, Yesu gwe neesiga 2 Yesu Mukama wange, Mpummulire mu ggwe; Sisingibwa Ssetaani, Bwe nkukaabirira. Gy’oli tebakyakoowa, Bonna bawummula, Beerabidde-okukaaba, Balina-essanyu lyo.…
-
Hymn 259: MU BIRO-EBY’ENNAKU Lyrics
OLUYIMBA 331: NKWESIGA YESU MUKAMA 1 NKWESIGA Yesu Mukama, Nkwesiga wekka: Laba,ntodde-obulokozi Bwa buwa. 2 Nkwesiga okunzigyako Ebibi byonna: Nkuvuunamidde,Mukama -Omuddu wo. 3 Nkwesiga-okunnongoosanga N’omusaayi gwo; Emisana nkwesigenga N’ekiro. 4 Nkwesiga-okunnumggamyanga Gye mggenda yonna; Bulijjo naawuliranga Ggwe wekka. 5 Nkwesiga-okumpanga amaanyi Nze ndi munafu. Olina gonna ggwe,mu nsi N’eggulu. 6 Nkwesiga ggwe,Yesu,nneme Okuzirika; Mu…
-
Hymn 260: KITAAWE WA BONNA-ERI GGWE Lyrics
OLUYIMBA 332: NNINA-OMUKWANO GWANGE,YE 1 NNINA-omukwano gwange,ye Yasooka-okwagala nze N’ampalula mu kisa kye, Kye kyakkirizisa nze. Leero ndi muddu we,naye Abaddu be ba ddembe; Nze ndi wuwe,naye wange. -Emirembe n’emirembe. 2 Nnina-omukwano gwange,ye Yafa-okundokola nze, Kubanga obulamu bwe Ye bwe yagabira nze. Nange sikyalina byange, Ebyange bibye byonna; Neewaayo mu mikono gye, Mukwano gwange…
-
Hymn 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE Lyrics
OLUYIMBA 333: OMUKWANO GWA YESU 1 OMUKWANO gwa Yesu Tegutegeerekeka; Omwoyo-Omutukuvu Y’anjigiriza yekka; Emirembe gijuza Bwe gityo-omwoyo gwange, Era gikulukuta Bulijjo-okunsanyusa. 2 Byonna-ebitalabika Kaakano mbirengedde; Bibikkuliddwa gye ndi Ku lw’ekisa kya Yesu; Era-ebinafu by’ensi Katonda yabironda, Alyoke-akwase-ensonyi Eby’amaanyi mangi nnyo. 3 Eby’entiisa sibitya; Nvumbudde-ekiwummulo; Sikyayengetana,so Sikyataagana nate. Nnina-ennono y’obulamu, Kwe kukkiriza Yesu, Era nnyimba…
-
Hymn 265: YIMIRIRA MU FFE Lyrics
OLUYIMBA 337: YESU MUKAMA OMULOKOZI 1 YESU Mukama Omulokozi Yajja mu nsi okunoonya- ababi; Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonye nze, Yajja okunnoonya-nze, Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonya nze. 2 Yesu Mukama Omulokozi Bwe nnali mu nvuba ya Ssetaani, Yannunula n’omusaayi gwe ye, Yesu yanfiirira. Yesu yanfiirira, Yesu yanfiirira, Yannunula n’omusaayi gwe ye;…
-
Hymn 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA Lyrics
OLUYIMBA 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE 1 NALYOKA ne nkusenga ggwe, Omulokozi Katonda: Kyenvudde nsanyuka nnyini, Ne njatula bwe nsanyuse Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by’ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 2 Namusenga n’atangoba, Nze ndi wuwe,naye wange Yampita ne nditegeera, -Eddoboozi lye nga lya Yesu Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e)…
-
Hymn 267: KATONDA-ONSEMBEZE Lyrics
OLUYIMBA 339: KATONDA MUSUMBA WANGE 1 KATONDA Musumba wange Era ye andiisa; Nze ndi wuwe naye wange, Byonna-ebibye byange. 2 Andiisa-omuddo-omulungi, Nzikuta,mpummula; N’awali-emigga-emirungi, Annywea lwa kisa. 3 Bwe nkyama ye ankomyawo N’amggumya omwoyo; So si lwa bulungi bwange, Lwa linnya lye lyokka. 4 Mu kiwonvu eky’okufa Ndiyita nga sitya; Oluga lwo n’omuggo gwo Bye…
-
Hymn 268: YESU EYASOOKA Lyrics
OLUYIMBA 34: MMWE MWENNA-ABALONDE 1 MMWE mwenna-abalonde, Mujje musanyuke Mujje tugende e Beesirekemu, Gy’azaaliddwa Omwana wa Katonda Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 2 Katonda, Katonda; Ye musana gwa nsi: Teyagaana kufuuka omuntu; Katonda ddala,-Omwana si mutonde. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 3 Mmwe mwenna…