Author: aznimi

  • Hymn 282: YESU NJIJA GY’OLI Lyrics

    Oluyimba 282: YESU NJIJA GY’OLI Lyrics

     

    OLUYIMBA 352: KIGAMBO KYA MAGERO NNYO
    1
    KIGAMBO kya magero nnyo
    Eky’Omwana wa Katonda;
    Okuva mu ggulu n’akka
    Alokole-abaana nga nze.

    2
    Kya mazima yayagala
    Abaana n’abanyoomebwa;
    Yayagala-abamukyawa
    Yattibwa balokolebwe.

    3
    Okwagala kwe kungi nnyo
    Okutayogerekeka,
    Okwagala-omubi nga nze,
    Nange kirungi mwagale.

    4
    Oluusi nfumiitiriza
    Ne ndowooza-omusaalaba,
    Emisumaali n’amaggwa
    Yesu nga bw’afa ku lwange.

    5
    Singa nnaliwo ng’attibwa,
    Sandiyinzizza kumanya
    Okwagala kwe-okungi-ennyo
    Kwe yalina mu mwoyo gwe.

    6
    Kaakano nnyinza-okumanya
    Nga bw’anjagalira ddala,
    Naye ekinkwasa-ensonyi
    Ye-engeri nze gye mwagala.

    7
    Ggwe Mukama wange Yesu,
    Ombeere mu mwoyo gwange
    Nnyongere-ennyo-okukwagala
    Emirembe n’emirembe.

  • Hymn 287: EKITIIBWA KYO KINENE Lyrics

    Oluyimba 287: EKITIIBWA KYO KINENE Lyrics

     

    OLUYIMBA 357: TULEETA EBIRABO
    1
    TULEETA ebirabo
    N’essanyu lingi;
    Tukutendereza,
    Omulokozi.

    2
    Birabo bitono
    Obikkirize;
    Buli kye tuleeta
    Ggwe tokigaana.

    3
    Yesu tukuwadde
    N’essanyu lingi
    Otuyigirize
    Okugabanga.

  • Hymn 283: ONNUMIRIZE OLW’EBIBI Lyrics

    Oluyimba 283: ONNUMIRIZE OLW’EBIBI Lyrics

     

    OLUYIMBA 353: MUKAMA WANGE NKWEBAZA
    1
    MUKAMA wange nkwebaza
    Okundabirira;
    Emmere n’eby’okwambala
    Byonna biva gy’oli.

    2
    ggwe wekka-onkuume mu kabi,
    Era ne mu kufa;
    Obulamu bwange bwonna
    Buli mu galo zo.

    3
    Ontumire malayika
    Ankuumire ddala;
    Nneme-okuva mu maaso go
    -Emisan n’ekiro.

    4
    Ggwe wampa bakadde bange
    Ne baganda bange;
    Wampa n’emikwano gyange,
    Bonna baava gy’oli.

    5
    Sirina kya kusasula,
    Naye kye nkusaba,
    Nkwagale-era nkuwulire
    Emirembe gyonna.

  • Hymn 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI Lyrics

    Oluyimba 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI Lyrics

     

    OLUYIMBA 358: TULINA KABAKA WAFFE
    1
    TULINA Kbaka waffe
    Eyava mu ggulu:
    Kale fenna abaana be
    Tumugoberere.

    2
    Okwagala kwe kungi nnyo
    Eri-abantu bonna;
    Naffe twagale bannaffe
    Nga bwe kiyinzika.

    3
    Yesu tayagala kibi
    Na kwerowoozaako;
    Ye omulabe we y’ani,
    Amulyamu-olukwe?
    4
    Ayagala tulongoose
    Emibiri gyaffe;
    Abatali batukuvu
    Tebaliba naye.

    5
    Tuli kibiina kitono,
    Naye tusaanidde
    Okutwalira Katonda
    -Emyoyo-emirongoofu.

  • Hymn 285: GGWE-OMANYI YESU OBUKOOWU BWAFFE Lyrics

    Oluyimba 285: GGWE-OMANYI YESU OBUKOOWU BWAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 355: OMUTAMBUZE-OMUTO NZE
    1
    -OMUTAMBUZE-omuto nze
    Natandise leero;
    Nnumggamya okumala
    -Olugendo lwo lwonna.

    2
    Mulwanyi wo-omuto nze,
    Atalina maanyi;
    Mbeeranga ggwe-ow’amaanyi
    Nnwanenga n’ebibi.

    3
    Omwana wo-omto nze,
    Nkweyabiza wekka;
    Mulokozi,ompenga
    -Ekisa kyo kye nsabye.

    4
    Mmanyi bwe ndi-omunafu
    Naye ntunuulira;
    Ompe-okukuweereza
    Leero ne bulijjo.

  • Hymn 281: YESU,LEERO NKUKOOWOOLA Lyrics

    Oluyimba 281: YESU,LEERO NKUKOOWOOLA Lyrics

     

    OLUYIMBA 351: KATONDA WANJAGALA
    1
    KATONDA wanjagala
    N’ompa-Omwana wo Yesu
    Abe mukwano gwange
    Annyambe mu bizibu.

    2
    Yesu tolekangayo
    -Okuba mukwano gwange;
    Bulijjo beera nange
    Era n’okunnumggamya.

    3
    Naakwagala ntya Yesu?
    Nze naakutonera ki?
    Siraba kye mba nkuwa
    Anti byonna bintu byo.

    4
    Naye kye nnina kimu
    Nkuwadde-omwoyo gwange;
    Naakugobereranga,
    Ondagirire-ekkubo.

  • Hymn 278: MUKAMA GGWE-OMUFUZI WA BYONNA Lyrics

    Oluyimba 278: MUKAMA GGWE-OMUFUZI WA BYONNA Lyrics

     

    OLUYIMBA 349: GGWE MUSUMBA-OMULUNGI
    1
    GGWE Musumba-omulungi
    Ggwe-okuuma endiga zo;
    Tewali-ekiriyinza
    Kuzikusikulako.

    2
    -Omulokozi wawaayo
    -Obulamu bwo ku lwaffe;
    Mu ngalo zo mulimu
    -Enkovu z’emisumaali.

    3
    Naakutenderezanga
    Nga mpulira by’omggamba;
    Ndyoke nfaanane ng’abo
    B’oli nabo mu ggulu.

    4
    Ayi-Musumba-omulungi
    Beeranga kumpi nange,
    Njige eddoboozi lyo,
    Nkwatenga ekkubo lyo.

    5
    Naakugobereranga
    Buli wonna w’oyita;
    Olintuusa mu ggulu
    Mu maaso ga Kitaffe.

  • Hymn 286: GGWE-ASUUTIBWA BULI MUNTU Lyrics

    Oluyimba 286: GGWE-ASUUTIBWA BULI MUNTU Lyrics

     

    OLUYIMBA 356: TEMUYONOONANGA
    1
    TEMUYONOONANGA,
    Temuyombanga;
    Muli ba Mukama,
    Muli ba Yesu.

    2
    Kristo muwombeefu,
    Alina-ekisa;
    Era n’abaana be
    Bamufaanane.

    3
    Waliwo Ssetaani
    Abateganya;
    Abasendasenda
    Mulokle-ebibi.

    4
    Mumujeemerenga,
    Ne bw’abakema;
    Musabe Mukama
    Mube balungi.

    5
    Edda mwasuubiza
    Nga muli bato;
    -Okugaana Ssetaani,
    N’amakubo ge.

    6
    Muli Bakristaayo
    Mulwanyise nnyo
    Buli kibi kyonna,
    Mube balungi.

    7
    Kristo abafuga,
    Ye wa mazima;
    Era n’abaana be
    Bamufaanane.

  • Hymn 280: AYI KATONDA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 280: AYI KATONDA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 350: KATONDA TUSIIBULE NNO
    1
    KATONDA tusiibule nno:
    Kkiriza-ettendo lyaffe
    Sonyiwa bonna-abeenenya,
    Abakweka ttalanta;
    Tulemenga
    Okunyiiza-Omwoyo wo

    2
    Otubeere tulemenga
    Okwesanyusa fekka;
    Tukuza essanyu lyaffe
    Mu kuwummula kwaffe:
    Naawe beera
    Ssanyu lingi gye tuli.

    3
    Byonna bye tuyize wano,
    Bituukirze mu ffe;
    Naye byonna-ebitasaana,
    Otwerabize mangu:
    tunoonyenga
    Amagezi-amalungi.

    4
    Ayi Kitaffe-obukuume
    Abatalidda nate;
    -Ebiro byabwe-eby’okusiga
    Bireete-okukungula,
    Abalidda
    Bakolenga n’amaanyi.

  • Hymn 277: OTUKULEMBERE,MUSUMBA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 277: OTUKULEMBERE,MUSUMBA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 348: EKIRO NGA NEEBASE
    1
    EKIRO nga neebase,
    Malayika ankuumye;
    Nkwebaza,Ayi-Mukama,
    Okumpisa mu kiro.

    2
    Mu njuyi zonna-ez’ensi
    -Erinnya lyo lyebazibwe;
    Bye bakola mu ggulu
    Bikolebwe ne mu nsi.

    3
    Ompe-emmere-eya leero,
    Nsonyiwa-ebibi byange;
    Onkuume nze-omwana wo
    Olunaku lwa leero.