Author: aznimi
-
OLUYIMBA 370: MU BUYINIKE-OBUNGI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 370: MU BUYINIKE-OBUNGI 1 MU buyinike-obungi Bwe tuba tufiiriddwa, Bannaffe be twagala, Otusanyuse Yesu. 2 Naye-oluusi tukaaba; Olw’obunafu-obungi Essuubi litubuze; Otuyimuse Yesu. 3 Bwe tweraliikirira Ne tuggwaamu amaanyi, Byonna nga kizikiza, Otusaasire Yesu 4 Oluusi bwe tukuvuma Era nga twerabidde, Okwagala kwo-okungi, Otusonyiwe Yesu. 5 Ka tuyimuse-emyoyo Era…
-
OLUYIMBA 371: KABAKA W’EGGULU N’ENSI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 371: KABAKA W’EGGULU N’ENSI 1 KABAKA w’eggulu n’ensi Tukuwe-ekitiibwa kingi, Tusuuta n’essanyu lingi Ggwe-Omugabi. 2 Olw’obulamu n’essanyu N’emirembe gyaffe gyonna, Leero twebaza nnyo nnyini Ggwe-Omugabi. 3 Omwaka ggwe ogwengeza Ne byonna-ebitusanyusa Emmere n’eby’okwambala Ggwe-obigaba. 4 Omwana wo omu yekka Tewamugaana na kufa Ku lwaffe abatasaana, Abajeemu 5 Olw’emyoyo-emirokole,…
-
OLUYIMBA 372: KATONDA TUMWEBAZE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 372: KATONDA TUMWEBAZE 1 KATONDA tumwebaze N’ennyimba-ez’amatendo Ku lw’ekisa ky(e) ekingi, Ekitajjulukuka. 2 Tutende-era-amaanyi ge Agaatonda-enjuba-eyo; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 3 Naye yatonda-omwezi Ogwaka nga buzibye. Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 4 Naye yatuwa-enkuba Okumerusa ensigo; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 5 Era-olw’okukungula Ne byonna bye tulina; Twebaz(e) ekis(a) ekingi,…
-
OLUYIMBA 373: OMWANA WO NKUKOOWOOLA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 373: OMWANA WO NKUKOOWOOLA 1 OMWANA wo nkukoowoola; Era wansuubiza Okutuusa ekyengera Byonna ggwe-obigaba. 2 Tutunuulira ggwe wekka Ekyeya bwe kijja; Era ne ttoggo bw’atuuka, Tukulindirira. 3 Enkuba-ebaza-ebibala Era n’omusana; Bwe bireeta ekyengera Naffe tumalibwa. 4 Naye byetulina bibyo Otuwe-olw’ekisa; Tuwe tukwesige wekka Kubanga-otwagala. 5 Kaakano ffe tukusaba…
-
OLUYIMBA 374: TUTENDE NNYO MUKAMA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 374: TUTENDE NNYO MUKAMA 1 TUTENDE nnyo Mukama -Olw’okutulabirira; Ye nsibuko y’essanyu, Tumwebaze Mukama. 2 Laba-eby’okukungula Byengedde mu nnimiro; Naffe ka tusanyuke -Okutuusa bulijjo. 3 Emmere gye tusiga, Tutunuulira oyo Afukirira-ettaka Okukuza-ebibala. 4 Ka tukutendereze Ggwe nannyini kwagala; Kubanga mu ggwe wekka Mwe tufuna-obulamu.
-
OLUYIMBA 375: TUSIGA-ENSIGO-ENNUNGI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 375: TUSIGA-ENSIGO-ENNUNGI 1 TUSIGA-ensigo-ennungi Mu nnimiro zaffe, Naye Katonda-azikuzaza N’azifukirira. Ayasa omusana N’atonnyesa-enkuba Empewo ne zikunta, Ebimeza-ensigo. Byonna bye tulina, (E)bitwetoolodde Katonda olw’ekisa kye, Ye atugabira. 2 KAtonda ye yatonda. Byonna bye tulaba; -Ebimuli n’ebimera Byonna byonna ku nsi; Empewo-era n’ennyanja, N’ebirimu byonna, Ennyonyi-ez’omu bbanga N’ensolo-ez’omu nsi. Byonna…
-
OLUYIMBA 376: KATONDA LWE LWAZI LWAFFE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 376: KATONDA LWE LWAZI LWAFFE 1 KATONDA lwe Lwazi lwaffe: Ge maanyi-agataggwaawo-: Tutya ki ffe bannannyini Mukwano-ogwenkanaawo-? 2 Obwedda abatukuvu Baakwesiganga ggwe; -Omukono gwo gwamala-abo; Gunaatumala ffe. 3 Ensi nga tennatondebwa, Ebintu nga mpaawo; Edda n’edda ggwe-oba bumu, Katonda-atavaawo. 4 Emyaka-olukumi gy’oli Lwe lunaku lumu; Gikulukuta ng’amazzi Agayita-amangu.…
-
OLUYIMBA 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO 1 NSANYUKIRA ekigambo kino Yesu Mukama atwagala nnyo: Alina bingi ebisanyusa; Naye-ekisinga nti Nze kwagala. Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala. 2 Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira, Yesu tandeka kubula ddala: Ampita mangu-okumweyuna ye; Era-anjijukiza-okwagala kwe; Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a)…
-
OLUYIMBA 344: ABAANA-ABATO EDDA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 344: ABAANA-ABATO EDDA 1 ABAANA-abato edda Bwe bajja-eri Yesu, Yabalaga-okwagala, N’abawa-omukisa. 2 Naffe Mukama Yesu, Tuzze mu maaso go; Ng’abaaba-abato edda, Tuwe-omukisa gwo. 3 Ggwe nnannyini kwagala, Tuwe-okwagala kwo; Naffe tukwagalenga Wamu ne bannaffe. 4 Tukweyanza ggwe Yesu, Olw’obulungi bwo; N’olw’okwagala-abaana Era n’abakulu.
-
OLUYIMBA 345: AYI MUKAMA WAFFE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 345: AYI MUKAMA WAFFE 1 AYI Mukama waffe, tuzze mu maaso go; Tusembeze n’ekisa kyo Ffe-abaana bo-abato. 2 Tuwaayo ssaddaaka -Ey’okwebaza kwaffe; Okkirize-ettendo lyaffe Lye tuleeta gy’oli. 3 Tujjuze-okwagala Mu buzibu byaffe; Era-otuyigirizenga Twagale-erinnya lyo.