Author: aznimi

  • Hymn 322: YESU-OMULOKOZI,OTUWULIRE Lyrics

    Oluyimba 322: YESU-OMULOKOZI,OTUWULIRE Lyrics

     

    OLUYIMBA 389: KATONDA BYASIMA YE BIRIKOLERWA DALA
    1
    Katonda byasima birikolerwa dala,
    Nebyo byateseza byoka,biritukirizibwa,
    Ate bulijo lusembera olunaku-olukulu-enyo,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    2
    Okuva-obukikanobukika abantu webabunye Mu-
    mimwa gyaba tume be basindise,ekigambokye kyogedwa,
    Nti mumpulirenga mwena-abatula kubizinga ne munsi zona,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    3
    Fe-abanabe tunakola ki okukomekereza
    Emirimu egyobutukirivu,gyeyatandika-Omwami?
    Fe tunayanguirizatutya olunaku-olukulu-enyo?
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    4
    Tuimuse-ebenderaye mumasogamawanga,
    Fe-abomu gyerye tutambulenga mu buinzabwa mazima.
    Twe yongerenga-okuwangula obwononefu obwensi,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

  • Hymn 320: KINO KYE NSIIMA-ENNYO Lyrics

    Oluyimba 320: KINO KYE NSIIMA-ENNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 387: OMWANA GW’ENDIGA
    1
    OMWANA gw’endiga,
    Gwe-eyatufiirira,
    Twesigenga okufa kwo okw’omuwendo;
    -Omulokozi waffe,
    Ne mu mibiriizi zo,
    -Enfumite mwe muli-obuddukiro waffe.

    2
    Omwana gw’endiga
    Mu musaayi gwo-omwo,
    Mwe tuteekera ddala-emitima gyaffe,
    -Otutukuzenga
    Tube balongoofu,
    Mu nsi-efuukafuuka-otuwanirirenga.

    3
    Omwana gw’endiga
    Ggwe eyatufiirira
    Wazuukira n’oddira mu kitiibwa kyo
    Ggwe mmere-ey’obulamu
    -Otuliisenga fenna,
    Obeerenga mu ffe,naffe tube mu ggwe.

    4
    Omwana gw’endiga
    Ggwe-osaanide wekka,
    Ku Nnamulondo ya Katonda Kitaffe
    Okuva-edda n’edda,
    Wabeeranga bumu
    N’Omwoyo Omutukuvu bwe Busatu.

  • Hymn 321: BWE NTAMBULIRA MU KKUBO Lyrics

    Oluyimba 321: BWE NTAMBULIRA MU KKUBO Lyrics

     

    OLUYIMBA 388: ENSI ZONNA ZIYIMBE
    1
    ENSI zonna ziyimbe
    Okumanyisa
    Obukama bwa Yesu,
    N’obulungi bwe
    Buli bantu bayimbe
    Ennyimba-ez’ettendo lye.

    2
    Ensi zonna ziyimbe,
    Mu buvanjuba,
    Mwe muviira bulijjo
    Enjuba yaffe,
    Amatendo ga Yesu
    Gabune mu nsi zonna.

    3
    Ensi zonna ziyimbe,
    Mu nsalo zaazo,
    Mu bizinga wala nnyo,
    Ne mu bibira;
    Mu musana n’empewo,
    Munaalanga-amatendo.

    4
    Ensi zonna ziyimbe
    Yesu Kabaka.
    Wonna wonna wabune,
    Ettutumu lye:
    Tumusinze ye yekka
    Ow’emirembe gyonna.

  • Hymn 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI Lyrics

    Oluyimba 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI Lyrics

     

    OLUYIMBA 379: KATONDA ABEERENGA NAAWE
    1
    KATONDA abeerenga naawe
    Akuwenga omukisa,
    Akubalire mu babe,
    Akukuume-okutuusa-okufa.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    2
    Katonda abeerenga naawe,
    Akukwate mu ngalo ze,
    Akuwe-emmere y’omwoyo,
    Akukuume-okutuusa-okufa

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    3
    Katonda abeerenga naawe,
    Entiisa bw’erikujjira,
    Akwetoolooze ekisa,
    Abeerenga naawe bulijjo.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    4
    Katonda abeeranga naawe,
    Akuwe okwagala kwe,
    Akuyise mu mayengo,
    Akutuuse mu kisulo kyo.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

  • Hymn 326: ABANTU BA YESU ABALOKOLE Lyrics

    Oluyimba 326: ABANTU BA YESU ABALOKOLE Lyrics

     

    OLUYIMBA 392: SIMANYI BINABAAWO
    1
    Simanyi binabaawo,
    Katonda abinkweka
    Ennaku ze ndiraba-edda
    Ankweka lwa kisa;
    N’essanyu ly’atusuubiza
    Lye lituwoomera

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

    2
    Obutamanya obwo
    Bwe nsinga okwagala;
    Ankute n’omukono gwe
    Yesu-annywezeza
    Ampummuza buwummuza,
    Kubanga mwesiga.

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

    3
    Ka ntambule ne Yesu
    Yonna gy’aba-antwala
    Awali ye mu nzikiza
    Nyinza okulaba
    Era muzibe-amwesiga
    Tayinza kubula.

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

  • Hymn 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE Lyrics

    Oluyimba 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 39: MU KUJAGUZA OKUNGI
    1
    MU kujaguza okungi
    Muyimbe n’essanyu lingi;
    Yesu ssanyu lyaffe
    Ali mu kisibo,
    Yenna amasamasa
    Ku mubiri gwa nnyina,
    Yesu okusooka,
    N’enkomerero.

    2
    Ayi Yesu, Omwana omuto
    Ggwe gwe neegomba bulijjo
    Nsaasira siraba,
    -Omwana asinga bonna;
    Ku lw’obulungi bwonna,
    Ggwe ow’ekitiibwa;
    Nsembeza gy’oli,
    Nsembeza gyoli.

    3

    Obulungi bwa Kitaffe!

    Ekisa ky’Omwana Yesu;

    Ffe endiga twakyama;

    -Olw’ebibi byaffe byonna;

    Naye fenna watuwa

    -Essanyu ery’omu ggulu.

    Singa gye tuli,

    Singa gye tuli.

    4

    Essunyu liri ludda wa

    Oba nga teriri eyo?

    Bamalayika be

    Bayimba ennyimba empya

    N’eng’oma nga zivuga;

    Mu maaso ga Kabaka.

    Singa gye tuli,

    Singa gye tuli.

  • Hymn 317: ABATAMBUZE,BAYITA Lyrics

    Oluyimba 317: ABATAMBUZE,BAYITA Lyrics

     

    OLUYIMBA 384: SIKUKULU EYASOKA YAJIRA ABASUMBA ABALUNDA
    1
    Sikukulu eyasoka yajira abasumba abalunda,
    Ekisibo kyabwe ekyendinga,Malayika naja ekiro nagamba:
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

    2
    Batunula nebalaba Emunyenye eyaka mubuvanjuba,
    Emunyenye ku nsi ekitibwa kingi,Era nomusana nga gwaka mungi:
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

    3
    Bwebala emunyenye eyo,Abagegezi nebava wala nyo,
    Emunyenye kugigoberera,Kabaka oyo okumusinza:
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

    4
    Emuyenye eyasembera Ebeserekemu neimirira,
    Era oluvo kweyaberera, Mukifo Yesu weyazazikibwa:
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

    5
    Nebaingira abasatu abo,Nebamutonera ebirabo byabye,
    Zabu nobubane nomugavu,Nga bavunama nobuwombefu:
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

    6
    Kale nafe tumusinze,Tumutendereze Mukama wafe
    Eyakola egulu nensi,Eyanunula abantu nomusai
    Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.

  • Hymn 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE Lyrics

    Oluyimba 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 378: MUKAMA TUFUKAMIDDE
    1
    MUKAMA tufukamidde,
    Tukwegayirira leero,
    Olwa baganda baffe-abo,
    Kaakano-abali mu ntalo
    Sembera kumpi gye bali,
    Mukama obakuumenga.

    2
    Era-n’eri abakyala,
    N’abo bannyina b’abaana,
    -Abalindiridda nga batya
    -Okuwuliza-abantu baabwe;
    Katonda Omusanyusa,
    Nabo obasanyusenga.

    3
    Tunuulira-ab’ebiwundu;
    Wonya obulumi bwabwe;
    N’emyoyo-egitaataagana
    Egya baganda baabwe-eka;
    Katonda nnannyini kisa
    Sembera kumpi gye bali.

    4
    Sonyiwa Mukama waffe
    Okwonoona kwaffe kwonna;
    Okutuleetedde-ennaku,
    Ffe abazibe b’amaaso;
    KAtonda-ow’okusaasira,
    Saasira emyoyo gyaffe.

  • Hymn 329: GYE MIREMBE NGA TULI MU BIBI? Lyrics

    Oluyimba 329: GYE MIREMBE NGA TULI MU BIBI? Lyrics

     

    OLUYIMBA 395: BERA,AI YESU,MUKUTEGERA KWANGE
    1
    Bera,ai Yesu,mu kutegera kwange,
    Bera,ai Yesu,mu maso gange,
    Bera,ai Yesu,mu kamwa kange,
    Bera,ai Yesu,mu mwoyo gwange,
    Bera mu kufa okunsanyusanga.

  • Hymn 318: MMWE MUGENDA WA BANNANGE Lyrics

    Oluyimba 318: MMWE MUGENDA WA BANNANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 385: OJE,OMWOYO,OMUTUKUVU OMULISE EMITIMA GYAFFE
    1
    Oje-,Omwoyo-Omutukuvu,Omulise-emitima gyaffe;
    Gwe weka Omusanyusa,Otuwe-ebirabo byo bingi;
    Tuzemu bulamu-okuva mu gulu,Amanyi,-esanyu nemirembe Nomuliro-ogwokwagala.

    2
    Jangu-ozibulire dala Amasoagatalaba;
    Otukuze fe-abononefu Nekisa kyo ekitakoma:
    Tuwanguze abalabe bafe; Bwobanga obera Musale wafe Tewali kibi kitutukako-

    3
    Tulage Kitafe Nomwana Wamu Nawe Katonda omu;
    Tulyoke tutendereze Lero nemirembegyona
    -Obulungi bwo obutakoma,Tiriniti Omutukuvu,Tiriniti Omutukuvu