s.1 luganda exam eot

ACADEMIC WORLD HIGH SCHOOL
END OF TERM ONE LUGANDA EXAM
S.1

ESSAAWA:
1:30MINS
EBIGOBERERWA: EBIBUUZO BYONNA BYABUWAZE
GOBERERA EMPANDIIKA ENTONGOLE
1. Soma ekitundu ekyo wammanga n’oluvanyuma oddemu ebibuuzo ebikubuziiddwa.

Emisinde abantu kwe bazaalira mu Yuganda

Yuganda y’emu ku nsi obungi bw’abantu gye businga okweyongera mu nsi yonna. Mu
Yuganda omukyala asuubira okuzaala abaana mukaaga bw’ogeraageranya ku mawanga
amalala. Mu Ddisiturikiti y’e Muyenga eriyo omusajja omu agambibwa okubeera
n’abakyala 12 ate abaana 61.

We twogerera, Yuganda esuubirwa okubeera n’abantu abakunnukiriza mu bukadde
amakumi asatu mu mwenda. Singa buli mussajja mu Yuganda abeera nga oli ow’e
Muyenga ng’alina abaana 61 omuwendo gwabantu mu yuganda gwandibadde
gweraliikiriza.

Kino kitegeeza nti mu buli katikiti akayitawo, na buli ddakiika na buli ssaawa, nabuli
kiseera abantu bazaala. Buli wiki eyitawo okuva ku Bbalaza okutuuka ku ssande okuva
mu Gatonnya okutuuka mu Ntenvu obungi bw’abantu bweyongera buli mwaka
ebitagambika.

Abantu okweyongera obungi kirina obulungi n’obubi bwakyo. Naye okusoomoozebwa
kusinga emiganyulo egikirimu okugeza omusajja ow’abaana 61 oyinza obutasobola

kubatuusako byetaago bimala n’okubayimirizaawo obulungi. Mumaka nga gano abaana
baba balya bubi, basula bubi, bambala bubi, era omuzadde ng’oyo ayinza obutasomesa
baana abo bulungi mu ngeri esaanidde.

N’olwensonga eyo gavumenti ky’eva ekubiriza abantu okwettanira enkola ya kizaala
ggumba/ entegeka y’amaka ennungamu. Abantu basaanidde bazaala abaana be
bebasobola okulabirira obulungi kino kitegeeza omuntu obutazaalira kumukumu
kitegeeza nti omuntu asana ayiseewo emyaka esatu oba ena nga tannaba kuzza ku
mwana.
Ebibuuzo
(i)
Ekitundu kikwata ku ki?

(obubonero 2)
(ii)
Okusinziira ku kitundu ekyo obungi bw’abantu mu Yuganda bwenkana ki?
(obubonero2)
(iii)
Omuntu eyazaala abaana 61 ava mu Ddisituliki ki?

(Obubonero 2)
(iv)
Okusinziira ku kitundu kizaalaggumba kitegeezaki?

(Obubonero2)

2. (a). Wandiika walifu y’oluganda n’ey’olungereza
(obubonero 10)
(i)
Laga ennukuta ezifanagana mu walifu zombi

(obubonero 5)
(ii)
Walify y’oluganda erimu ennukuta mmeka?

(Obubonero 2)

3. (a) Maliriza engero zino wamanga.
(i)
Bbugubbugu simuliro…………………………………….(akabonero1)
(ii)
Basajja mivule…………………………………………..(akabonero1)
(iii)
Gw’owola otudde…………………………………………(akabonero1)
(iv)
Omukadde wawano tayomba…………………………………(akabonero1) (v)
Kamu kamu……………………………………………….(akabonero 1)
(b) Wandiika kasibannimi taano zomanyi……………………………(Obuubonero 5)

4. Wandiika emiwendo gino mu bigambo.

(obubonero 5)
(i)
50………………………………………
(ii)
1,000,000………………………………
(iii)
22………………………………………
(iv)
44 ……………………………………… (v)
9………………………………………..

b) Kyusa ebigambo bino obizze mu luganda (obubonero butano)

(i) Book…………………………………………
(ii) Director …………………………………….. (iii)Origin
……………………………………….
(iv) Religion……………………………………..
(v) Communication …………………………….
5) Wandiika ebisolo ebisangibwa ewaka bitaano ebisangibwa mu nsiko bitano
(obubonero 10)
BIKOMYE AWO

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *