1
GERSHIBON CHRISTIAN HIGH SCHOOL
LUGANDA
(Okusoma Bwino, Ebyobuwangwa ne Litulica) Olupapula
Olwokubiri
Essaawa bbiri n’ekitundu (2½)
EBIGOBERERWA:
Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu: A, B ne C.
Ddamu ebibuuzo bitaano (5) awamu.
Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B.
Mu kitundu C, ddamu ebibuuzo bisatu (3) byokka.
EKITUNDU A
Q.1 Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
Bw’oyogera ku Kabaka wa Buganda, Mwanga II abasinga mu nsi yonna bamumanyiiko kya
kulagira kutta bantu be abaamujeemera, nga batinkiza n’Abazungu abaaleeta eddiini mu
Buganda. Abantu bano abattibwa olw’okujeemera Kabaka be baafuuka Abajulizi ba Yuganda
Abatuukirivu mu ddiini y’Ekikulisitaayo n’Abakatoliki abajjukirwa buli nga 3, ssebaaseka.
Ennyanja eno yasimibwa Ssekabaka Basammula Mwanga II, mu 1886, n’ekigendererwa
ky’okutuuka e Munyonyo, wabula tekyatuukirira. Naye newankubadde guli gutyo, naye ennyanja
eno y’emu ku nnyanja ezaasimibwa abantu ezisinga obunene ku ssemazinga wa Afirika ate era nga
ekwata kya ku mwanjo nnyo mu nnyanja ensime mu nsi yonna.
Ennyanja eno eri mu lusenyi edda olwayitibwanga Nsiike, kati nga luyitibwa Ndeeba,
olw’endeeba abaagisima kwe baanyweranga omwenge nga bawumuddemu.
Okumanya obulungi obunene bw’ennyanja eno, ogeraageranya obuwanvu bw’ekitundu
ky’osobola okutambula mu budde bwa ddakiika 10-17, bw’oba oyanguwa oba eddakiika 23-30
mu ntambula eya bulijjo. Buno bwe budde bw’otwala okwetoloola ennyanja eno.
Ennyanja eno eriko ebizinga bisatu ebitongole; Kayiira era kino kisulwako, ekizinga ekiri
wakati ye Nambi, ate ekirala kye ky’Abannakinsige.
Kyabulambuzi eri obwakabaka bwa Buganda ne Yuganda yonna okutwalira awamu. Mu kiseera
kino ennyanja eno tekugirwa muntu yenna kugirambula. Abantu bangi abalambula ennyanja eno
buli lunaku okulaba ebinyonyi eby’enjawulo n’okufumiitiriza Kabaka Mwanga.
Abalala bajja kuwummulirayo nga bwe bafuna ku mpewo empeweevu egivaamu ekiseera
kyonna olw’amayengo n’emiti egigyetoolodde.
2
Akawewo akalungi akagivaamu tekakoma kuweweeza bakyalayo bokka, wabula n’abantu abalala
abaliraanyeewo abali mu buwanvu bwa mayiro nga bbiri okuva ku nnyanja eno. Eno y’emu ku
nsonga ezisikiriza abantu okwettanira ebifo ebiwummulirirwamu ebiri ekinnya n’empindi
n’ennyanja ya Kabaka.
Abantu abaliraanye ennyanja eno, n’ebyobutonde ebirala ng’ebimera n’ebisokolo bifuna amazzi
agivaamu, awatali kukubwa ku mukono.
Eteekebwako empaka z’amaato, okuvubamu ate n’okusaabalirako ng’abantu banyumirwa
obulamu n’okuwummuza ebirowoozo.
Abantu beeyongera buli lukedde okwesenza ku nnyanja eno, nga bazimbawo n’ebizimbe
eby’obuwangaazi. Kino bakikola nga bayiwa ettaka mu nnyanja eno okufuna we bakolera emirimu
gyabwe. Mu ngeri y’emu ekitoogo ekyandibadde kisengejja amazzi nga tegannatuuka mu nnyanja
kimaliddwawo, era amazzi amajama gayiika butereevu mu nnyanja nga tegasengejjeddwa.
Abasenze okumpi n’ennyanja eno bata kazambi okuva mu kaabuyonjo, n’akulukuta butereevu mu
nnyanja, ne kyongera okwonoona amazzi agaalikozeseddwa abantu n’ebitonde ebirala.
Buli kimu ku bika bya Buganda kyalinako ekibanja kye kivunaanyizibwako okulongoosa naye
olw’okubulawo abakunga, tekikyakolebwa ne kiviirako ennyanja okuzika n’obulabe obukivaamu.
Abantu abalala bakozeeko bbiizinensi ezikosezza ennyanja eno n’ebiramu ebisangibwamu,
okugeza: ebyennyanja, ebikere, ensiriŋŋanyi n’ebirala. Aboolezaawo mmotoka ne ppikipiki,
ssaako galagi z’emmotoka ezeetoolodde ennyanja eno, bayiwa ebifuta mu nnyanja, ne
kitasobozesa biramu bigirimu kwetaaya.
Abakubirako amatafaali basuula mu nnyanja agatundutundu ga bbulooka enjokye, abamu
batema ettaka nga balissa mu nnyanja. Kino kikendeeza ku bwagaagavu bw’ennyanja eno
n’obuwanvu bw’ayo.
Nga bwe tukuuma ekitiibwa kya Buganda, tukuume ekitiibwa ky’ennyanja ya Kabaka.
kisimbuddwa mu ENTANDA YA BUGANDA (2013) omuzingo ogusooka nnamba 24
EBIBUUZO:
(a) Lwaki Kabaka Mwanga II talyerabirwa? (obubonero 2)
(b) Lwaki ennyanja eno yasimibwa? (akabonero 1)
(c) Bintu ki ebireetera ennyanja eno okumanyika wonna? (obubonero 4). (d) Abantu
baganyulwa batya mu nnyanja eno? (obubonero 8)
(e) Omuwandiisi atwolese atya embeera ezityoboola ekitiibwa ky’ennyanja eno?
(obubonero3)
(f) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu kitundu kino.
(obubonero 3)
–
Batinkiza.
–
Ssemazinga.
–
Tekugirwa.
3
Okuva ku (g-j) koppolola ekisingako obutuufu . (obubonero 4) (g)
Ekitundu kino kisaana omutwe guno.
i.
Eddiini mu Yuganda. ii.
Kabaka wa Buganda. iii.
Obulambuzi mu Yuganda.
iv.
Ennyanja ya Kabaka.
(h) Ennyanja eyogerwako mu kitundu kino ekwatagana etya n’obwakabaka bwa Buganda?
i.
Abantu bagirambula.
ii.
Esangibwa mu
Buganda. iii. Egatta
ebika bya Buganda.
iv.
Okukolerako bbiizinensi.
(i) Omuwandiisi awa magezi ki okutaasa ennyanja eno?
i.
Okuzimbako
amayumba.
ii.
Okugyesonyiwa. iii.
Okugiwa ekitiibwa.
iv.
Okugikyawa.
(j) Ennyanja eno yasimwa bantu mu;
i.
Myanga. ii. Ndeeba.
iii. 1786 iv. Nsangi
zino.
EKITUNDU B
Ddamu nnamba 2(a) ne 2(b)
Q.2(a) Maliriza engero zino nga bwe zoogerebwa (obubonero 10)
(i) Ssekirembwe kitaakule, ———–
(ii) Ne gwozadde, ————-
(iii)
Obwayiise, ———- (iv) Ekyekango, ————–
(v) Wambwa aludde okudda, ————-
(vi) ————— zaawukanya emibala.
(vii) ————— tebulamu zziika.
(viii) ————— avumya nnyina.
(ix) ————— nga tonnawulira gwa kasajja.
(x)
————– si kubulya.
Q.2(b) Engero zino zituyigiriza ki mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. (obubonero 5).
(i) “Gunsinze”, aliwa bitono.
(ii) Akamwa akangu, kakuyitabya ow’ebbanja.
(iii)
Gw’owonya eggere, y’alikusambya. (iv) Akamira eyiye, tagiseera mata.
(v) Tokiiya ŋŋonge nto, bw’ekula ogyambalako olukoba.
4
EKITUNDU C
Ddamu ebibuuzo bisatu (3) byokka ng’obiggya mu butabo obw’enjawulo. Toddamu bibuuzo
bisukka mu kimu ku buli katabo.
C.Kalinda: Pawulo Kirimuttu. Ddamu
nnamba (3a) oba 3(b)
Q.3 (a) Nyonnyola engeri Pawulo gy’alemererwa okulaga obugunjufu mu lugero luno
(obubonero 20)
Q.3(b) “ Weeranze ki baze wange wandimbuuliddeko munnange”
(i) Ani ayogera ebigambo ebyo era kiki ekyali kiguddewo? (obubonero 2)
(ii) Olowooza ayogerwako yali yeeranze ki okutuuka ku ekyo? (obubonero 18)
Robert. G. Mukasa: Tokiiya ŋŋonge nto. Ddamu
nnamba 4(a) oba 4(b)
Q.4(a) Nyonnyola engeri omuwandiisi w’olugero luno gy’alambuludde obulamu bw’essomero.
(obubonero 20)
OBA
Q.4(b) “——— okuva ku olwo nga bwe bakutuma Tokiiya oli gwe wali omanyi mu ssomero
ng’akubula kubanga yakyusiza ddala ku nneeyisa.”
(i)
Tokiiya eyasooka yali yeeyisa atya mu ssomero? (obubonero 8)
(ii)
Tokiiya yakyusa atya enneeyisa okufuuka ekitonde ekiggya? (obubonero 12)
Wycliffe Kiyingi: Gw’osussa emmwanyi.
Ddamu nnamba 5(a) oba 5(b)
Q.5(a) ——— ani azzeeko wano?
——— kyenkana tewazze (ng’amwenyamwenya)
——- kyenkana tewazze. Ani oyo gw’oyita kyenkana tewazze?
(i)
Baani abo abakubaganya ebirowoozo mu kaseera ako? (obubonero 2)
(ii)
Ani oyo ayogerwako nga “ kyenkana tewazze?” (obubonero 2)
(iii)
Ng’oggyeko “kyenkana tewazze” nyonnyola mu bimpimpi, obuvunaanyizibwa
bw’abantu abalala abakooneddwako mu muzannyo guno. (obubonero 16) OBA
Q.5(b) Nyonnyola ebintu ebikooneddwako mu muzannyo guno by’olowooza nga Kiyingi
yabikyawa. (obubonero 20)
F. Masagazi ne banne: Balya n’enseekeezi.
Ddamu nnamba 6(a) oba 6(b)
5
Q.6(a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
OBUDDE BUWUNGEERA.
Obudde buwungeera,
Ssaawa zeewereekerera, Wanjuba
mmulaba akkirira,
Wa, Nabikande gy’alya ebiwata.
Kitangaala basindiikiriza,
Kasana kakomekkereza,
Mmunyeenye zirindirira,
N’akeezi kasemberera,
Ng’obudde buwungeera.
Obudde buwungeera,
Batambuze basaayirira,
Ow’emmwanyi ayanuulirira,
Bakomazi bafundikira, Ab’ensejjere
banoonyereza, Ng’obudde
buwungeera.
Obudde buwungeera,
Ekyoto batindikira,
Emimuli gizingululwa,
Kyeggulo kirangirirwa, Buliri
butinkuulwa,
Ez’otulo zisemberera, Obudde
bwe buwungeera.
Obudde buwungeera,
Nsowera ziwummuzibwa,
Ensiri zeekaaliisa, N’ebiku
bimwenyerera, Nkukunyi
zeesungirira, Emmese
zisooberera,
Ng’obudde buwungeera.
Obudde buwungeera,
Omusezi asalinkiriza,
Ne kkondo afumiitiriza,
Omubbi alabinkiriza,
6
Musiguze abuguumirira, Omulogo
asanyuukirira,
Ng’obudde buwungeera.
Obudde buwungeera,
Nnyaanyaagize zikungiriza,
Bunyenyenkule busaakaanya,
N’ennyonyi zitendereza, Biwuugulu
biringiriza,
Binyira bisambagala,
Enkoko zisoonooka, Enfo
zizeesooka,
Ng’obudde buwungeera.
Obudde buwungeera,
Ke kade akalangirira,
Lunaku lufundikirwa,
Kawamigero yabiyiiyiriza,
Emisana biyenjeera, Ekiro
bibondeera,
Awo ng’obudde buwungeera.
Ebibuuzo:
(i)
Wa ebyokulabirako ng’olaga ebibeerawo akawungeezi. (obubonero 8) (ii)
Ggyayo ebifaananyi by’atukubidde mu sitanza ebbiri ezisooka. (obubonero 4). (iii)
Obukugu mu kutontoma bwoleseddwa butya? (obubonero 5)
(iv) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu kitundu
ky’osomye. (obubonero 3) – Basaayirira.
–
Batindikira.
–
Bimwenyerera.
OBA
Q.6(b) Abawandiisi ba “Balya n’enseekeezi” bagiisa batya omuvubuka mu nsi nga bayita mu
bitontome byabwe eby’enjawulo? (obubonero 20)
P.Mukasa: Jjangu tutontome.
Ddamu nnamba 7(a) oba 7(b).
7
Q.7(a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuama oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
OLUMBE
Olumbe, olumbe, Olumbe
nze ndifa ndulojja!
Olumbe nze ndifa ndutenda! Anti
terutaliza, anti teruboola, Bonna
lubakamula.
Olumbe, olumbe, Olumbe
lugetaageta abantu, Nze
ndifa ndukungiriza!
Ddala terwerabira, ddala teruloboza,
Omuwere n’omuvubuka, Bonna
lubaguuya.
Olumbe, olumbe,
Olumbe lutugumbula abataka,
Nze ndifa ndulojja,
Ggwe ate terwemotya, ggwe ate terwewalwa,
Omukadde bukuku, Naye lumupecca.
Olumbe, olumbe,
Olumbe lutanganjula abamaanyi,
Nze ndifa ndutendereza,
Mazima teruteesa, mazima teruzannya,
Omukulu atuuludde, Naye
lumunyoola.
Tunaakola tutya olumbe olutaddukwa?
Tanaddukira wa olumbe nantamanyiirwa!
Tukaabe bukaabi?
Tuyimbe buyimbi?
Tusaage busaazi?
Byonna nga kutegana!
Tunaaluweera ki olumbe olutasosola!
Tanaaluwongera biruwa olutawulira!
Tutuule butuuzi?
Tunyumyenga mboozi?
Nga tulinda walumbe!
Byonna nga bya bwereere.
8
Olumbe, olumbe,
Olumbe nze ndifa ndumuumuunya,
Nga bwe lutataliza nga bwe lutaboola,
Omusajja n’omukazi, Twesigenga
Mutonzi!
Ebibuuzo:
(i)
Bw’osoma ekitontome kino owulira otya? (obubonero 2)
(ii)
Omuwandiisi azimbye atya amaloboozi mu kitontome kino? (obubonero 4)
(iii)
Nyonnyola ky’ategeeza mu kifaananyi ky’atusiigidde mu sitanza eyookubiri
(obubonero 4)
(iv)
Nyonnyola obukugu bw’omutontomi mu kitontome kino.(obubonero 10)
OBA
Q.7(b) Nyonnyola engeri omuntu anyumirwa okumanya obutonde gy’aganyulwamu.
(obubonero 20)
BIKOMYE WANO.
Leave a Reply