1
335/2
LUGANDA
Paper 2
(2
HRS)
ACEITEKA JOINT MOCK EXAMINATIONS 2023
UGANDA CERTIFICATE OF EDUCATION
LUGANDA PAPER 2
(Okusoma bwino,eby’obuwanga ne litulica)
Olupapula olwokubiri
Essaawa bbiri n’ekitundu (2
)
EBIGOBERERWA:
− Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu A, B ne C.
− Ddamu ebibuuzo bitaano awamu.
− Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B
− Mu kitundu C, ddamu ebibuuzo bisatu byokka.
2
EKITUNDU A
Soma ekitundu ekikuweereddwa n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
Tolabanga kirungi ate ekibi ng’okuzaalibwa omulenzi omu mu luggya ate nga ggwe osooseemu!
Ebirungi byonna ebisaanira abaana abalenzi biba bibyo omu. Naye ate n’ebisobyo byonna ebikolebwa
bato bo, abakulu babisiba ku ggwe, nga bagamba nti ggwe abalagirira okubikola. Bato bo bwe
basobya n’obakuba, abakulu ate bakuyita wa lugono; bayinza n’okukuba.
Dadi ne mami bye bankolera era nange bye nnakola nga sinnaweza myaka mukaaga si bimanyi
okuggyako bo bennyini bye bantegeeza nga nkuze era n’ebyantegeezebwa abantu abalala.Bangamba
nti mu buto nali mulalu nnyo, nga buli kiseera mbula ne bannoonya nga tebandaba. Baansiba n’endege
ku magulu ez’abagambanga gye ndaze. Bampaatiikako erinnya lya Muwaguza olw’okwagalanga
okubuuka emmere nga balya. Bwe nakulamu nentamwa okuzannyanga ne bannyinaze kubanga bwe
nabakoonangako nga bampawaabira nti, “Yakobo atukubye”
Okubasindikako obusindisi nakwo baakuyitanga kubakuba naddala Fulo eyali omutono ng’ensiri ate
ng’alwalaalwala nnyo.
Emirundi egisinga obungi nazannyanga nzekka. Omuzannyo gwe nasinga okwagala gwe
gw’okuzimbazimba obuyumba. Obuyumba bwange, dadi ne mami baabwagalanga nnyo nga tebayinza
kubungaana oba okubumenyawo. Abawala bo baasiŋŋanga kwagala kuzaala baana. Baasalanga
emizingoonyo oba emiteteme ne bagisiba obuwero bwe’ngoye, mbu ng’olwo bazadde abaana. Abaana
baabwe baabassanga mu buliri bwabwe, mu luggya, mu kiyungu, leero buli wantu. Kyokka mami ne
dadi tebaabasuulanga ne bwebaabasanganga mu ntebe. Baabagambanga bugambi nti, “Abazzukulu
mubalabire ebifo ebirungi mu basseemu, naye temubabunya nju.” Dadi era ne mami baayagalanga
nnyo tuyige emirimu gy’omumaka gyonna. Twayeranga ennyumba, ne twoza essowaani n’ebikopo,
Oluggya nze eyasinganga okulwera. Abawala mami yabayigirizanga okuwaata emmere n’okugifumba.
Teyabalekanga kutiguka ng’akola emmere oba nga’agifumba. Mu kiyungu nze nasinga kuyigayo gwa
kusekula binyeebwa.
Okulima nakwo baakutuyigirizanga wamu n’okunoga emmwanyi kubanga ogwo gwe gwali omulimu
gw’abazadde baffe omukulu. Enku twazironderanga mu nsiko okumpi n’amaka gaffe. Okukima
amazzi emugga kumpi gwali mulimu gwaffe gwa buli lunaku, naye ha! Nagufunamu ekyekango
kyesigenda kwerabira.
Lwali lumu, mu ttuntu, nga dadi atugamba nti, “yu boyizi andi galozi, mugende ku luzzi,
mundeetereyo saamu woota njoze engoye zange”
Mami olw’awulira, n’abuuza dadi nti, “Ggwe tomanyi nga kyabanaku lwakalira,abaana amazzi
banaagaggya wa? Ko dadi nti, “Bagende ku kamirangoma.” Awo mami weyakangulira ku ddoboozi
nti, “kiki ddala ekibatwala ku kamirangoma mu ttuntu?
Bwe banaasangawo nnyiniwo?”
3
Dadi yamuddamu nti, “Twala eri eby’obukafiiri”
Dadi ng’amaze okukkaanyaamu bwatyo tetwalina kyakukola kirala wazira okugenda ku luzzi kubanga
twamuwuliranga nnyo era nga tumutya. Tewali muntu atatya misambwa okuva eka twagenda
amameeme gatukubagana! Twali tumalako olusuku lwaffe, n’emmenya ekiwogo nenkiraga bannange
nga bwembagamba nti, “Omusambwa bwe gunajja nga ngukuba.” Sitiina yansekerera busekerezi nga
bwagamba nti,”Omusambwa nagwo gukubwa! Ye bw’ogukuba tofa oba omukono tegukala!
Ku luzzi twagendayo basatu. Ssaala yasigala ne mami. Nze natwala kata, Sitiina seffuluya, Fulo
kaleku. Amazzi twagasena tumaga. Sitiina nze namutikka. Bwetwamala okussa amazzi ku mitwe
n’eamba bannange nti, “Mukulembere mbaveeko e mabega .”
Olwo nno nali mpeza emyaka nga mwenda. Twali twakakuba oluzzi amabega ne tuwulira eddoboozi
mu kibira okumpi n’oluzzi nga ligamba nti, “ŋŋaŋŋa, ŋŋaŋŋa” ate nga n’eddala ligamba nti, “ Aoo-
goo-goo.”
Ee-, kyetwatuukako tekirojjeka! Bye twali tutwaliramu amazzi twabimegguza lutali luno wansi, ne
tuduma nga tudda eka. Ekiwogo ekyali ekyokukuba omusambwa gye kyagwa saamanyayo! Twagenda
okutuuka eka ng’omukka tubaka mubake. Abakulu baatubuuzanga kye tubadde nga tetusobola
nakuddamu, olwensisi gye twalina. Mami bwe yalaba ng’ebintu bye twali tututte okuleeteramu amazzi
tetubirina n’ayongera okutya. Kyeyava agamba dadi nti, “olabye abaana bw’obasudde ku musambwa
gw’omukamirangoma?”
Dadi teyaddamu, mami teyalwa n’akwata ekkubo erigenda ku kamirangoma nga ne dadi amugoberera.
Ye nno ku luzzi balina kyebaalabayo okuggyako ebintu bye twalekayo, bye baasanga bigudde
amagalangajja!
Bwe baakomawo eka ne bongera okutubuuza ekitugobye ku luzzi. Nze kwekugamba nti, “twawulidde
nannyini luzzi nga’agamba nti, “ŋŋa-ŋŋa,ŋŋ-ŋŋa” ate nga waliwo ekimuddamu nti, “aoo-
goo!”kyetwavudde tutya nga tulowooza nti nannyini luzzi tayagala tusene mazzi ge mu ttuntu”
Awo dadi weyagambira mami nti,” abakazi mukola bubi nnyo okuyigiriza abaana okutya ebitaliimu
nga bakyali bato. Kale ezo tebaawulidde ŋŋaaŋŋa n’ebikere nga by’ebikaabira mu kibira!”
mami yamuddamu nti,”naawe owakana nnyo! Ggwe olowooza abaali balabye ku musambwa
gw’omukamiraŋŋoma batono! Ka nneme na kugwogerako tegumpulira”
Okuva ku lunaku olwo tetwaddayo kukima mazzi ku kamiraŋŋoma nga tetuli na bakulu, bwe nakula
ne mmanya ng’okutya okuyitiridde kukola bubi abato era n’abakulu.
(kisimbuddwa mu “Bwali butamanya” M.B. NSIMBI)
Ebibuuzo
1 a) Mutwe ki ogutuukira ku kitundu ky’osomye? (obubonero 2)
b) Olowooza lwaki abazadde bayigirizanga abaana baabwe emirimu egy’enjawulo? (obubonero 4)
4
c) Enzizzi ebbiri ezoogerwako ze ziruwa? (obubonero 2)
d) Omusomi w’ekitundu kino ssomo ki ly’aggya mu kitundu kino? (obubonero 6)
e) Bintu ki omwana oyo ayogerwako mu kitundu ekyo byeyakola nga tannaweza myaka mukaaga
ebyamugambibwa obugambibibwa? (obubonero 2)
f) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu kitundu ky’osomye.
(obubonero 5)
i) Okupaatiika
ii) Okuwaguza
iii) Olugono
iv) Amagalangajja
v) Okumegguza
Ku buli kibuuzo (g,h,I,j) koppolola eky’okuddamu ekisingako obutuufu.
g) abaana baabateekanga mu bifo eby’enjawulo nga
(i)
Mu luguudo
(ii)
Mu ddwaliro
(iii)
Mu nnyumba
(iv)
Mu buliri
h) lwaki omwana oyo baamupaatiikako erinnya lya muwaguza?
(i)
Yali mukambwe
(ii)
Yali tayagala kukola
(iii)
Olw’okwagalanga okubuuka emmere nga balya
(iv)
Yali mukulu
i) Omwana ayogerwako y’ani?
(i)
Fulo
(ii)
Yakobo
(iii)
Sitiina
(iv)
Ssaala
j) muzannyo ki abawala gwe baasinganga okwagala?
(i)
Kunaaba
(ii)
Kufumba mmere
(iii)
Kuwaata mmere
(iv)
Kuzaala baana
5
EKITUNDU B
Kola nnamba 2(a) ne 2(b)
2.a) Maliriza engero zino wammanga
(obubonero 10)
i) Amaanyi,……………………………………………………………………………….
ii) Ataakwalize ŋŋanda,…………………………………………………………………….
iii) Amamese amangi, ……………………………………………………………………….
iv) Akaami akatono,…………………………………………………………………………
v) Abataka abaagalana, ……………………………………………………………………
vi) …………………………………….., omuyisa ggulo.
vii) ……………………………………………., tegumanya nnyumba mbi.
viii)
………………………………………………….., newattira.
ix) …………………………………………………….., kimanyibwa nannyinikyo.
x) ………………………………………………………….., yeeteesa.
b) Makulu ki agali mu ngero zino? (obubonero 5)
i) Ajjanjaba omulwadde si y’amusikira
ii) Emmwanyi gye weesiga tebaamu mulamwa.
iii) Aganaanyuma tegalinda ŋŋoma
iv) Akajja obunaku keemanya, ejjanzi terigenda na nzige.
v) Enkima tesala gwa kibira
EKITUNDU C
Ddamu ebibuuzo bisatu byokka ng’obiggyja mu butabo obw’enjawulo. Toddamu bibuuzo bisukka
kimu ku buli katabo. wabula ng’otaddemu ekibuuzo kimu okuva mu bitontome
F. MASAGAZI NE BANNE: balya n’Enseekeezi.
Kola 3(a) oba 3(b)
3(a) Soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
6
TAATA ABAAWO
1. Singa taata obaawo.
Ne nkutendera ebiriwo
Ebikolebwa bano abaliwo
Ne bifufuggaza ffe abaliwo
Ne tujulirira obeewo
Otuyambe ku baliwo
2. Batusonsasonsa ensonga.
Tebatwagaliza ebiriwo
Bwe tusikisa emikono
Tebatwagaliza bubeewo
Be tutwalira ebipimo
Ebirunga ebya minzaani
Ne batuleetera empiima
Ezitusojja emitima
Ne tujulirira obeewo
Otuyambe ku biriwo
3. Bwe nafuna ag’essomero
Ne bankiikira ensingo
Ne bandogaaloga mbireke
Ne basikattira balabe
Bwe mpezezza eby’ensi eno
Ne baganoonya nze nveewo
Singa taata obaawo, n’otuyamba ku biriwo
4. Bwe mbirojja eby’abalala
Tebatebenkera bonna
Olwa bano abaliwo
Batunudde mu ndabika
Bawezezza ku zadde
Bafunyeeyo ku buuma
Ne bagikiika ensingo
Ne balemererwa ensi eno
Abalala abo be ŋŋambye.
Taata obaawo, twandiwonye ku biriwo!
Bwe tuliyonse ffenna
7
5. Lwe tukoze tutya taata
Okutebenkera mu nsi eno?
Lwe tusaze galiwa ssebo
Okuwona zino enkonge!
Wandikomyewo taata
Ne weerolera zino empiiga
Empiiga za bano abantu
Abantu ba kuno abazibu.
EBIBUUZO
i) Mulamwa ki oguli mu kitontome kino? (obubonero 2)
ii) Makulu ki agali mu sitanza eyookusatu? (obubonero 4)
iii) Ekitontome kizimbiddwa kitya? (obubonero 10)
iv) Nnyonnyola embeera omutontomi gy’alimu. ? (obubonero 4)
oba
b) Nga weeyambisa eby’okulabirako ebimatiza, nnyonnyola engeri Masagazi ne banne gye bafubye
okutuukirizaamu omutwe gw’akatabo “Balya n’enseekeezi”. ? (obubonero 20)
PHEOBE MUKASA: Jjangu tutontome.
Kola 4(a) oba 4(b)
4.a) soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
OBUFUMBO
Obufumbo bwa leero bwa nkalu,
Bw’olaba abunyweredde mwagale.
Bunobyanobya abakazi,
Bubakamula entuuyo,
Bubaleetera obuzibu,
Bw’oweerwa n’obuwangaaza ng’owonye!
Obufumbo bwa leero bwa ngeri,
Bw’olaba abuzannyirako mwamuke,
Busitunkanya abakazi,
Bubatambuza sserebu,
Bubatwala mu bbaala,
Bw’osanga anaabutuukiriza eryo ssanyu!
8
Obufumbo bwa leero bwa mmunye!
Abawala bataayaaya mu kkubo,
Banakuwaza abakulu,
Tebayanjula basajja,
Babatwalira awo,
Omuwala omuteefu ennyo akubula!
Olumutuusa mu nnyumba ng’akaga,
Obugole abusudde eri ku bbali,
Atandika okufumba,
Emmere misumaali,
Kuwaata takuyinza
Ate omuwala omubuulirire omujja wa?
Bwa kiyita mu luggya nnyo bannyabo,
Omuwala atali mubuulirire wa nkalu,
Asegenyeza eambo,
Tamanyi kufumba nva,
Ebintu tabituukiriza,
Gwe ng’anaabibuuza ani abimanyi
Omusajja olw’okulaba omuwala,
Nga naye amulonze eri mu kkubo,
Atandika okujooga,
Akola bwa malaaya,
Oluusi asula bweru,
Ekitiibwa ng’akimuggyeemu omukazi.
Bw’alaba bituuse awo nno nnyabo,
Ng’asibaasiba ebintu ng’atema,
Atandika okupanga,
Omuzigo mu banne,
Obufumbo bufudde,
Olwo nga kireereese wa kkumi!
Mbakubira omulanga nno bannyabo,
Mbakubiriza bannange bassebo,
Mufube okuyamba,
Munyiikire okukuuma,
Abaana ba muwendo,
Eggwanga lifune obufumbo obw’empisa.
Ebibuuzo
i) Mukasa atukubidde bifaananyi bya ngeri ki mu kitontome kino?( obubonero 6)
ii) Nnyonnyola ensengeka y’ekitontome kino. (obubonero 4)
9
iii) Omuwandiisi yeeyambisizza bukodyo ki okufuula ekitontome kino ekyangu? ( obubonero 5)
iv) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino ( obubonero 5)
Abunyweredde …………………………………………………………………….
Mwamuke ………………………………………………………………………….
Kiyita mu luggya …………………………………………………………………..
Ng’atema ……………………………………………………………………………
Takuyinza ………………………………………………………………………….
Oba
b) Phoebe mukasa atulaga engero n’ebikokyo bwe biri eby’omugaso ennyo. Wa emigaso etaano (5) ku
buli kimu nga bw’agiraga mu jjangu tutontome. ? (obubonero 20)
C.S. KALINDA: PAULO KIRIMUTTU
Kola nnamba 5(a) oba 5(b) ?
5.a) “…… iii Pawulo tewandisse musajja munno! Wandisse nze! Naye ssebo weerimbye!”
i) Ebigambo ebyo biggyiddwa mu ssuula ki? (obubonero 2)
ii) Omuwandiisi azimbye atya omwogezi waabyo? (obubonero 12)
iii) Kakasa nga ddala ayogerwako yali yeerimbye. ? (obubonero 6)
oba
b) Mu kuwandiika olugero pawulo kirimuttu Kalinda yeeraga lwatu nti avumirira amayisa .
nnyonnyola n’ebyokulabirako. ? (obubonero 20)
MUKASA G. ROBERT: TOKIIYA ŊŊONGE NTO
Ddamu nnamba 6(a) oba 6(b)
6.a) “………………….. abange, ate ono agaala emimwa ng’ayita Anna abadde ki? Ffe totukungula!
Atijja nnyini ng’ogwenkuggu oguliira mu ggana. Otuyita nsolo nti tugenda kukulya…….?”
i) Ani ayogera ebigambo ebyo? ? (obubonero 2)
ii) Aba abigamba ani? ? (obubonero 2)
iii) Ki ekiba kibaddewo omwogezi okutuuka okwogera ebigambo ebyo? ? (obubonero 4)
iv) Omwogezi w’ebigambo ebyo azimbiddwa atya mu lugero? ? (obubonero 12)
10
Oba
b) Nnyonnyola ebintu eby’enjawulo abakyala b’omulembe guno bye bayinza okukoppa ku Ttiina
okusobola okwanguyirwa obulamu mu nsi. ? (obubonero 20)
WYCLIFFE KIYINGI: GW’OSUSSA EMMWANYI
Ddamu nnamba 7(a) oba 7(b)
7.a) “………… Paul guluwa?”
…………………………. ŋŋamba, Aidah Katonda yamuzzaako musango ki?
i) Ani ayogera ebigambo ebyo? (obubonero 4)
ii) Wa ensonga ezireetera omwogezi oyo okusaasira Aidah. ? (obubonero 6)
iii) Mu bufunze, nnyonnyola ku nneeyisa y’omwogezi w’ebigambo ebyo. ? (obubonero 10)
Oba
b) Nnyonnyola enzimba y’abasajja abali mu muzannyo ky’etulaga ku basajja b’ensangi zino .
(obubonero 20)
-BIKOMYE WANO–
Leave a Reply