OKWOGERA MU LUJJUDDE (PUBLIC SPEAKING)

OKWOGERA MU LUJJUDDE (PUBLIC SPEAKING)
OKWEWAAYO KW’OMWOGEZI
Kino kitegeeza nti abawuliriza bateekeddwa okulaba omwogezi nga yeewaddeyo era
ng’afaayo kw’ebyo by’ayogera.
Okwewaayo kuno kuteekeddwa okulaga nti omwogezi alumirirwa abawuliriza nti era
ky’ayogera kikulu n’olwekyo basaanye bakimanye nabo bakigabaneko.
Omwogezi omulungi afaayo okulaba nti okwogera kwe kumuganyula ye kennyini era n’abo
abamuwuliriza n’olwekyo ateekeddwa okukola ennyo okufaayo okusobola okutuuka ku bino.
Omwogezi alina okutegeka byanaayogera ng’awaayo obudde okubinoonyerezaako,
okubirowoozaako, okubiteekateeka n’okwegezaamu nga tannaba kwogera.
Okuggyako okwogera okugwawo obugwi naye okwogera okulungi weetaaga obudde
obumala obulungi okusobola okufuna omutwe omulungi n’okugwetegereza era
n’okugunoonyerezaako.
Omwogezi okwewaayo kitegeeza nti okwogera kwe akutwale ng’akaseera mw’asobola
okufuna okuwuliziganya n’abawuliriza ng’awaayo ky’alina era nga mwetegefu okufuna okuva
ku balala.
Era kitegeeza nti omwogezi assa ekitiibwa mu bamuwuliriza nga ng’abatwala ng’abantu
abayinza okubaako kye bafuna okuva mu kwogera kwe ate era mu ngeri y’emu abayinza
okuyambako okubunyisa ebiyinza okuva mu kwogera okwo.
Mu kwewaayo kuno mwe muva amaanyi agasobozesa ebiba byogeddwa okufuuka
eby’amakulu.
Aboogezi abeewaddeyo boogera n’okwagala kino kigendera ddala ne ku bawuliriza.
Okwewaayo/ okumalirira ke kabiriiti akabeera mu mwogezi akayinza okukoleeza empiira mu
bawuliriza.

OKULONDA OMUTWE N’OBWEGENDEREZA
Omutwe ogulondeddwa n’obwegendereza gweguno ogukusanyusa ggwe ng’omwogezi ate
n’abakuwuliriza singa ogwogerako mu ngeri erimu obujulizi ebyokulabirako n’obugero
obutonotono obuyamba okulaga abawuliriza engeri gye bayinza okuganyulwamu.
Emirundi egisinga bwoba nga tonnayogera obaako n’ebitonotono by’omanyi ku mutwe ogwo
era ku bino kw’osaanye okutandikira okutegeka kwo.
Omutwe gw’olonda okwogerako gusaanye gubeere ogwo gwennyini gwewandyagadde
okwongera okumanya ebigufaako.
Omutwe ogulondeddwa obulungi gwegwo gw’osobola okwogerako mu budde
obukuweereddwa.
N’olw’ensonga eyo, mu kulonda omutwe gw’onooyogerako osaana omanye obudde
bw’olina.
Singa omanya nti omutwe gw’olonze okwogerako toyinza kugwogerako n’ogumalayo mu
budde obukuweereddwa, kyandibadde kirungi ofube okuggyayo ensonga enkulu zokka oba
oguleke.
Omutwe gusaanye gube nga gutuukana n’ekiseera era n’ekifo w’ogenda okugwogererako.
OBUTATAMATTAMA MU KIGENDERERWA
Omwogezi ateekakasa mu kyayogera aboyaanira mu by’ayogera ng’alinga eryato eritaliiko
mugoba. Atagala ng’ava eno adda eri, ng’akwata ku buli ky’asanze ng’ebirowoozo bwe
bimujjira. Okufuna oluwenda olulungi olw’okugoberera omwogezi kimwetaagisa okulowooza
ku bamuwuliriza. Asaana yeebuuze;

(i)
Abawuliriza beeyisa batya oluvannyuma lw’okwogera kwange?
Omwogezi bw’addamu ebibuuzo bino kimuyamba okufuna oluwenda olulungi
lw’anaagoberera mu kwogera kwe era kino kimuyamba okutegeera oba ekigendererwa kye
mu kwogera kyakuyigiriza.
Omwogezi singa asooka okusalawo kiki ky’ayagala okutuukako n’abamuwuliriza ng’ate
kimuyamba okuluήήamya engeri gye yeeteekerateekeramu okwogera kwe.

OKULEETERA ABAWULIRIZA OKWETABAMU
Omwogezi omulungi bulijjo afaayo ennyo okulowooza n’okufaayo ku bamuwuliriza bwaba
ng’ateekateeka okwogera kwe ne bwaba ng’ayogera. Ng’oggyeeko eky’okusanyusa
abakuwuliriza, era osaana obasasule mu ngeri ekwatagana n’ekigendererwa kyo ng’obadde
oyogera. Kirungi olowooze ku byokulabirako by’okozesa ng’ofaayo okulaba nti
binaabasanyusa.
Weegendereze okulaba nti by’oyogera bya makulu gyebali.
Emu ku ngeri gy’oyinza okuleetera abawuliriza okwetaba mu kwogera kwo, kwe kuba nga
ebibuuzo ku ntandikwa, wakati oba ku nkomerero.
OMULAMWA
Okwogera okulungi kubaamu omulamwa. Kino kitegeeza okwogera kuno kubaamu obubaka
obukulu,ensonga ezirowoozeddwako era ezisengekeddwa obulungi wamu n’ebyokulabirako
obulungi wamu n’ebyokulabirako ebiggyayo obulungi ekyogerwako.
Oyinza okweyambisa ebintu ggwe by’oyiseemu mu bulamu bwo, by’osomye mu bitabo oba
by’ofunye ku bantu abalala. Okwogera okulimu omulamwa kulaga bulungi nti omwogezi
afaayo ku kyayogerako ne bamuwuliriza nti yawaddeyo ebiseera bye olwekyo ky’awaayo.
ENSENGEKA ETUUKIRIDDE (appropriate structure)
Okwogera okulungi kubaako engeri gyekusengekeddwamu nga buli kitundu kirabika nti
kisaanira bwekiba kiteekeddwa nti era kirina ekikolo mu kufuula okwogera kwo okujjuvu.
Singa okwogera kuba tekusengekeddwa mu ngeri eyo kiyinza okulabika ng’entuumu
y’ebitundutundu ebirondeddwalondeddwa. Okwogera okusengekeddwa obulungi kuba
kufaayo nnyo ku kiba kyogerwako, ensonga ekyogezaako mbawuliriza, omwogezi ekiseera
n’ekifo.
Emirundi egisinga ensengeka eno ebaamu ebitundu bisatu (03)
(i) Ennyanjula
(ii) Ekinyusi
(iii) Okuwumbawumba

OKUKOZESA OLULIMI
Tewayinza kubaawo mpuliziganya okuggyako ng’amakulu omwogezi g’ategeera mu bigambo/
olulimi geegamu ddala n’ago abawuliriza gebategeera.
Omwogezi asaana akimanye nti abamuwuliriza tebalina mukisa mu kiseera ekyo
gwakufumiitiriza kwebyo byaba ayogedde singa baba tebabitegedde. N’olwekyo asaana
afube alabe nti amakulu g’alubirira agaggyayo omulundi gumu, emboozi z’akozesa, asaane
apime obugumu bwazo era n’ebigambo bwebityo.
OKWOGERA MU NGERI ETUUKIRIDDE (Effective
presentation)
Okwogera okulungi kwekwo okwanjulibwa mu ngeri etuukiridde omwogezi alabika nga
teyeekaka bwekasi era ng’anyumirwa ekyo ky’ayogerako. Essira libeera kw’ebyo omwogezi
by’ayagala okutegeeza abamuwuliriza so si ku ye kennyini. Omwogezi kirungi yeewale
obuyisayisa obuyinza okutaataaganya abamuwuliriza Okug. Okwesokoolasokoola. Omwogezi
afube okuteekawo enkolagana ennungi wakati we n’abamuwuliriza.
EBIGOBERERWA NGA TUWANDIIKA OKWOGERA MU
LUJJUDDE (EBY’EKIBUUZO)
1.
Omutwe gw’omulamwa gw’ogenda okwogerako

Mu nnukuta ennene

Sazaako omusittale gumu
2.
Okwebaza kalabaalaba okukuwa akakisa okwogera


Mu kiba kimu
3.
Okumenya abaliwo

Okusinziira ku mulamwa gw’owandiikako

Menya abantu abatasukka bataano-Tumenya buvunaanyizibwa
so si mannya gaabwe ag’obuntu

Tumenya tukkirira naye nga tutandisa bwe bajja baddiriῆῆana
mu buvunaanyizibwa bwabwe- okugeza; Omukulembeze w’eggwanga
ng’ali ku mukolo n’omumyuka we tusoosa mukulembeze wa ggwanga

4.
Okubalamusa

Ku nkomerero y’okumenya abaliwo balamuse era beebaze okutindigga
eῆῆendo okujja awo we muli
5.
Okweyanjula

Wano oyogera amannya go mu bujjuvu kko n’obuvunaanyizibwa bwo
okusinziira ku mulamwa gw’ogenda okwogerako. Okugeza singa oyogera ku
byabulamu osaana obeere omusawo oba avunaanyizibwa ku by’obulamu,
olwo abantu b’oyogereramu bongera okukussaamu obwesigwa kuba baba
bakiraba nti ayogera mukugu era amanyi omulamwa gw’ayogerako.
6.
Okwanjula ensonga gy’ogenda okwogerako

Ku nkomerero nga weeyanjula oyanjulira abakuwuliriza ensonga
ekuleese okwogerako era nga gwe mulamwa oguba gwa kuweereddwa.
7.
Okulambulula ku mulamwa ogwakuweereddwa okwogerako

Kino ky’ekinyusi era wano w’olambululira ku mulamwa gw’ogenda
okwogerako

Lambulula ng’owa ensonga ez’enjawulo ezikwata ku mulamwa
gw’oyogerako era ng’ozinnyonnyola bulungi

Buli nsonga gisse mu kiba kyayo

Oli waddembe okweyambisa ebisoko n’engero n’onyumisa bulungi
Oluganda
8.
Okukubira

Wano mu kiba kimu okubira ng’owa amagezi obaokwongera
okunnyonnyola ku nmulamwa gw’obadde oyogerako.
9.
Okwebaza okukuwuliriza n’okusiibula

Wano mu kiba kimu weebaza abantu okukuwuliriza n’obasiibula
ng’obaagaliza okutambula obulungi nga baddayo.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *