{"id":507,"date":"2025-04-24T09:31:04","date_gmt":"2025-04-24T09:31:04","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/engero-za-baganda-luganda-proverbs-12\/"},"modified":"2025-04-24T09:31:11","modified_gmt":"2025-04-24T09:31:11","slug":"engero-za-baganda-eza-s-luganda-proverbs-prefix-s","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/engero-za-baganda-eza-s-luganda-proverbs-prefix-s\/","title":{"rendered":"Engero za Baganda eza &#8211; S\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; S\u00a0"},"content":{"rendered":"<h2>Engero za Baganda eza &#8211; S\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; S<\/h2>\n<p>&nbsp;<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-proverbs-engero.jpg\" alt=\"luganda proverbs engero\" \/><\/p>\n<p>1. Oba tonnagwa : tolaba kikusudde  <\/p>\n<p>2.  Obeera ndegeya : wakunzimbye ku mumwa  <\/p>\n<p>3.  Obikka ku maddu : nti malako ennyama, om eggumba  <\/p>\n<p>4.  Obireka n&#8217;otobyegomba  <\/p>\n<p>5.  Obisse bibiri : toobojjerere  <\/p>\n<p>6.  Obonaabona n&#8217;otafa  <\/p>\n<p>7.  Obonyeebonye : anti alaba alonda  <\/p>\n<p>8.  Obubaka tibufa nga butunzi  <\/p>\n<p>9.  Obubbi ntadde : omukazi ali mbuga  <\/p>\n<p>10.  Obubuiwa : bukuliisa (ettooke) eriri mu maaso ga mumw  <\/p>\n<p>11.  Obubulwa ggye : busembeza emmandwa ku lubu  <\/p>\n<p>12.  Obudde butuukira mu muti ne bukya  <\/p>\n<p>13.  Obudde bwe buziba : ennyonyi yeeyuna omuti  <\/p>\n<p>14.  Obudde okuziba : buliisa enkoko omuddo  <\/p>\n<p>15.  Obufuzi bw&#8217;emmese : bulabika ng&#8217;omaze okuzimba enju  <\/p>\n<p>16.  Obugagga ntuuyo : zittulukuka ng&#8217;ogenda, bw&#8217;owummula nga zikuggwako  <\/p>\n<p>17.  Obuganzi bukayanirwa  <\/p>\n<p>18.  Obugayaavu : buzaala obunafu  <\/p>\n<p>19.  Obugezageza bwatta ssessolye  <\/p>\n<p>20.  The tcher goes so often to the well, that it is broken at last  <\/p>\n<p>21.  Obuggya dda : bukaza omuvule  <\/p>\n<p>22.  Obugulu obutono : sibumegga nnyinibwo   singa nnamunye atambula agwa<\/p>\n<p>23.  Obugwagwa nnyumba mbi : ogiyingira ogiraba  <\/p>\n<p>24.  Obukaba bukulya amaaso : nti Wamala yansiiwa  <\/p>\n<p>25.  Obukadde buwoomya ki? : wazira ttooke  <\/p>\n<p>26.  Obukadde magezi  <\/p>\n<p>27.  Obukadde obusinda amaluma : bwetisse mukene all ku mutwe  <\/p>\n<p>28.  Obuuka ebikoomi ng&#8217;atalya bbugga  <\/p>\n<p>29.  Obukaajumbe : anaabusereka akeera  <\/p>\n<p>30.  Obukojja bwa munno si bukojja bwo  <\/p>\n<p>31.  Obukopi bugezza effuba : ng&#8217;omutono ye mwami  <\/p>\n<p>32.  Obukulu buwoomya ttooke  <\/p>\n<p>33.  Obukulu ndege : tezivugira mu mazzi  <\/p>\n<p>34.  Obukya buziba : omwana alwa ddaaki n&#8217;ayisa amuzaala  <\/p>\n<p>35.  Obukyala gwe bunaalema : abuwa musebeyi  <\/p>\n<p>36.  Obukyawe bukira eddogo  <\/p>\n<p>37.  Obulamu kye kiwango : akiina Baabutiko  <\/p>\n<p>38.  Obulamu ttooke : bugenda n&#8217;abulabirira  <\/p>\n<p>39.  Obulema tebujja dda  <\/p>\n<p>40.  Obulimba bussa nnannyinibwo  <\/p>\n<p>41.  Obuuliridde nfuuzi : kwennyamira  <\/p>\n<p>42.  Obulonda mke : tebugaana njala kugwa  <\/p>\n<p>43.  Obulo sibubadde bwange : bubadde bwa Ggulu-ddene  <\/p>\n<p>44.  Obulungi : bukira obugagga  <\/p>\n<p>45.  Obulungi bw&#8217;enswa : atalya mutima gwa mbuzi, aguliira mu nswa  <\/p>\n<p>46.  Obulungi obwemanye : ) bukuvumya akusinga   ) bukuyisa ku balya<\/p>\n<p>47.  Obulungi obw&#8217;ensozi : obulaba oziri wala  <\/p>\n<p>48.  Obulungi si ddya : (wabula emsa)  <\/p>\n<p>49.  Obulwa bukula musaayi : nga si ggwe bafumise oba nga tebafumise wuwo  <\/p>\n<p>50.  Obulwa dda : ) blikaza ekkubo ku lwazi   ) bukutula empalaata<\/p>\n<p>51.  Obusajja bukirana  <\/p>\n<p>52.  Obuuse nga wajjiibwa  <\/p>\n<p>53.  Obusenze bukala mmuli  <\/p>\n<p>54.  Obusenze butta munaanya  <\/p>\n<p>55.  Obusenze butunda  <\/p>\n<p>56.  Obusenze bwe bubula : enswa entunda ezimba ku mpawu  <\/p>\n<p>57.  Obusenze muguma  <\/p>\n<p>58.  Obusigire bwassa Kisolo  <\/p>\n<p>59.  Obusigire tibugenda na kabukuto  <\/p>\n<p>60.  Obusiro tebutuukirwako : ajja okulya, atuukira ku ndagala  <\/p>\n<p>61.  Obusiru obwakukutte bwa nkoko : bugizaalisa mu kyalo  <\/p>\n<p>62.  Obusolo bwa kuno tebufa : atega gumu  <\/p>\n<p>63.  Obusolo gye babutta, gye bweyuna (= bweyunira) : ) ettooke eddene mu ggwaatiro   ) omumonde omunene gukula mu lusalosalo<\/p>\n<p>64.  Obusungu mugenyi : ) akyala n&#8217;addayo   ) amala kuboonoonyesanga yeege-nderera<\/p>\n<p>65.  Obusungu obungi : bukulagiriza emmese olusuubo  <\/p>\n<p>66.  Obusungu obungi tebukkutibwa (= tibukkutwa) : Nnamunkanga eyabukkuta ekifuba kabanika  <\/p>\n<p>67.  Obutaagalana bukusabisa mukazi wo gonja  <\/p>\n<p>68.  Obutaagaane : bwambaza embwa olukoba  <\/p>\n<p>69.  Obutajja kundaba nnasiba embwa ku lumbugu n&#8217;egaana okululya?   <\/p>\n<p>70.  Obutalya ku kimu bwassa wajjiibwa  <\/p>\n<p>71.  Obutamanya bya mwaka : ng&#8217;emmese esula omw&#8217;omulima  <\/p>\n<p>72.  Obutamanya nnaku : bukuzza gye baakutunda  <\/p>\n<p>73.  Obutamanyirira : bukussa n&#8217;omuyombi omukago  <\/p>\n<p>74.  Obutamanyirira butabaaza anaafa  <\/p>\n<p>75.  Obutamera kirevu    njuba ya kikome, ekuliisa lwa ggulo<\/p>\n<p>76.  Obutannaziba : tobusindikirako maluma  <\/p>\n<p>77.  Obutasaba baabulekera (= bwalekerwa) mbwa  <\/p>\n<p>78.  Obutaseeranye : tibugulibwa  <\/p>\n<p>79.  Obutateesa buliisa abasatu amaluma  <\/p>\n<p>80.  Obutazimbye : bumanyibwa nnyinibwo  <\/p>\n<p>81.  Obutekkaanya : bukutindiza balugu (ng&#8217;enva ze balya zirandira wansi)  <\/p>\n<p>82.  Obuteeraba : bukuvumya akusinga  <\/p>\n<p>83.  Obuteeraba : bukuyumya akusinga  <\/p>\n<p>84.  Obuteerowooza : ng&#8217;omuwuulu asaba eggobe  <\/p>\n<p>85.  Obutetenkereza : bukonya obuto  <\/p>\n<p>86.  Obuteewuliriza bunyooza ennanga amatu  <\/p>\n<p>87.  Obuteeyinza : bukuyisa mwannyoko omugenyi  <\/p>\n<p>88.  Obuteezhnbira bwassa wangiri  <\/p>\n<p>89.  Obutise amatama : nga nnyinimu abba  <\/p>\n<p>90.  Obutooke obuto : bugwana nva  <\/p>\n<p>91.  Obutono buwanira mu ssanja  <\/p>\n<p>92.  Obutta bumenya omulawo : oleeta kibaya  <\/p>\n<p>93.  Obuwa si bugabane  <\/p>\n<p>94.  Obuwulize : bwe buganzi  <\/p>\n<p>95.  Obuyingirwa : bwambaza embwa olukoba  <\/p>\n<p>96.  Obuyisi bw&#8217;omu : nsega y&#8217;ebika (= bulangwa nsega)  <\/p>\n<p>97.  Obuzadde bulima : obusuutira we babwagala (= okwenyumiikiriza we bakwaga-la)  <\/p>\n<p>98.  Obuzadde buwonya embooge  <\/p>\n<p>99.  Obuzaaliro si bwe bukuliro  <\/p>\n<p>100.  Obuuza nga Munyolo : akulaba n&#8217;ensuwa, nti ogenda iziba?   <\/p>\n<p>101.  Obuziina gye babwagala : gye babwaliirira  <\/p>\n<p>102.  Obwami ddiba lya mbogo : terizingwa omu  <\/p>\n<p>103.  Obwami kyambalo kyazike : nnannyinikyo bw&#8217;akikuggyako togaana  <\/p>\n<p>104.  Obwami obutono : bukubuuzisa gwe watumye  <\/p>\n<p>105.  Obwangu bw&#8217;okuwa : bukuweesa atalikuwa  <\/p>\n<p>106.  Obwato bufa magoba  <\/p>\n<p>107.  Obwavu bukuliisa ebikonde  <\/p>\n<p>108.  Obwavu bukuliisa nnyoko  <\/p>\n<p>109.  Obwavu si bbanja  <\/p>\n<p>110.  Obwavu : tebukozza  <\/p>\n<p>111.  Obwavu tebukumanyisa gw&#8217;oyagala (or: akwagala)  <\/p>\n<p>112.  Obwayiise : tebuyooleka  <\/p>\n<p>113.  Obw&#8217;effumu : si bwa ddogo  <\/p>\n<p>114.  Obw&#8217;ekiro : buzimbya enkadde  <\/p>\n<p>115.  Obwemage bwe balanga : enjobe mu lusa  <\/p>\n<p>116.  Obw&#8217;enkya : si bwe buziba  <\/p>\n<p>117.  Obwerabize obungi : bukusabya gwe wamma  <\/p>\n<p>118.  Obwesige bull nnyanja  <\/p>\n<p>119.  Obwewussa bussa (= bulitta) emmandwa  <\/p>\n<p>120.  Obwezizingirire empogola erwana mu ntamu  <\/p>\n<p>121.  Obw&#8217;olubuto : butwala obw&#8217;omutwe  <\/p>\n<p>122.  Obw&#8217;omu buwola(ko) oluuyi  <\/p>\n<p>123.  Obw&#8217;omulimba : tibukeerera  <\/p>\n<p>124.  Obw&#8217;omutambuze tibuziba : enjuba egudde ng&#8217;agamba: npenda emisana  <\/p>\n<p>125.  Obwosi : buluma gwe bwaddako  <\/p>\n<p>126.  Odaagana (= otaagana) : ng&#8217;olwatta Mpoobe e Kibiri  <\/p>\n<p>127.  Oduula nga musibe : nti tunaalaba okusula nga tutunula  <\/p>\n<p>128.  Ofanga n&#8217;otodda : ng&#8217;omuntu anyaze omukazi  <\/p>\n<p>129.  Ofubye ng&#8217;akagobera embuga : nti bwe kanaalya omwana wa beene  <\/p>\n<p>130.  Ofudde lwa nnabamba : kawumpuli lwatta omuwazi  <\/p>\n<p>131.  Ofuna by&#8217;okuwola : nga n&#8217;eby&#8217;okuwoza olina  <\/p>\n<p>132.  Ofunda n&#8217;ekkubi : n&#8217;otobeera na ddiirawamu  <\/p>\n<p>133.  Ofunda ne ndikutunda : n&#8217;otobeera ne ndikutta  <\/p>\n<p>134.  Ofunda n&#8217;omuko omwavu : n&#8217;akulambula  <\/p>\n<p>135.  Ofunda n&#8217;omuliika : n&#8217;anunula (= n&#8217;akukuliza) abaana  <\/p>\n<p>136.  Ofuuse gw&#8217;e Kanyanya : mugenzi tazze  <\/p>\n<p>137.  Ogandadde nga mubbi ow&#8217;omunnyu : bakuba omwana  <\/p>\n<p>138.  Ogawadde ekyanya : ow&#8217;amalibu ky&#8217;awa ennoga  <\/p>\n<p>139.  Ogenda Mbaale mu Baganda banno  <\/p>\n<p>140.  Ogenze mugga : okuggwa kko? ( Twazze mugga: )   <\/p>\n<p>141.  Oggye ku mutwe : otadde ku kibegabega  <\/p>\n<p>142.  Ogira ekiniga : ng&#8217;omusezi alya menvu  <\/p>\n<p>143.  Ogitte : eva mu nnyiniyo  <\/p>\n<p>144.  Ogobedde munya mu ssubi  <\/p>\n<p>145.  Ogubula eyeeguya : tegukala  <\/p>\n<p>146.  Ogudde ddalu : kuwona mabanja  <\/p>\n<p>147.  Oguddinnanwa : gwe guwunya ensiwo  <\/p>\n<p>148.  Ogufa : tegumanya yasooka  <\/p>\n<p>149.  Oguggwa : tiguba muka  <\/p>\n<p>150.  Ogugutana : ng&#8217;ow&#8217;ejjanga aloga muliro  <\/p>\n<p>151.  Oguliko engalabi : tegunywebwa atudde wamu  <\/p>\n<p>152.  Oguliko omuseesa : teguzikira  <\/p>\n<p>153.  Oguli ewa munno : tegugoba ngo  <\/p>\n<p>154.  Ogummuka gwe gukuwa nsogola  <\/p>\n<p>155.  Ogunaanyula : tegubuulirwa muwemba, ne bw&#8217;ossaako omungi  <\/p>\n<p>156.  Ogusula gwe gukuwa emza : nga mulungi  <\/p>\n<p>157.  Ogutaggwa : guboolanga abataka  <\/p>\n<p>158.  Ogutaliiko mpeera : gugenda n&#8217;okwebaza  <\/p>\n<p>159.  Ogutali mutume : tegukalaza (= tigukaluba)  <\/p>\n<p>160.  Ogutannammuka : tigukukubisa mwana  <\/p>\n<p>161.  Ogutateganya : siguzza nvuma  <\/p>\n<p>162.  Oguzziddwa omuganzi : omukyawe y&#8217;agumala  <\/p>\n<p>163.  Ogwa gonja (= olwa gonja) teguggwe? : nga y&#8217;alidde eky&#8217;engabo  <\/p>\n<p>164.  Ogwa kasajja gundeebuukanya : nga ggwe wamwezaalira  <\/p>\n<p>165.  Ogwayambadde : teguyita bwereere (= teguyitira awo)  <\/p>\n<p>166.  Ogw&#8217;edda : tigukutwaza lubugo lumu  <\/p>\n<p>167.  Ogw&#8217;embuga : gutta atagenze  <\/p>\n<p>168.  Ogw&#8217;embuga : ) gutta ogw&#8217;obuko (ng&#8217;abakazi alina babiri)   ) tigulekeka<\/p>\n<p>169.  Ogw&#8217;embuga : tigunywebwa atudde wamu  <\/p>\n<p>170.  Ogw&#8217;enzikiza : ayogedde ku bule  <\/p>\n<p>171.  Ogw&#8217;obulungi gwa butiko : bw&#8217;oggyawo, tokkatira  <\/p>\n<p>172.  Ogw&#8217;okulya : gusuula emmese mu kita  <\/p>\n<p>173.  Ogw&#8217;omulimba : tiguggwa mpoza  <\/p>\n<p>174.  Ojaganya ng&#8217;eyakimeza okw&#8217;enjala : nti obutiko bugenda kukuloga enjala?  <\/p>\n<p>175.  Ojaganya ng&#8217;ow&#8217;amalibu alonze erinnyo  <\/p>\n<p>176.  Ojambagiza : ng&#8217;akimezezza okw&#8217;enjala  <\/p>\n<p>177.  Ojjanga kwa nkuba : omusana guleeta enjala  <\/p>\n<p>178.  Ojjanga n&#8217;olya : y&#8217;akuyita Lubuna miryango  <\/p>\n<p>179.  Ojjukidde okwebikka : ng&#8217;obudde bukedde  <\/p>\n<p>180.  Ojjukire okwebikka : nga bukyali! ( Ojjukidde okwebikka: ) Think of your bedding (place for sleeping etc  <\/p>\n<p>181.  Okaabidde mu lwabya : wakasanke mu lwa mngu  <\/p>\n<p>182.  Okaddiwanga mubiri : n&#8217;otokaddiwa mwoyo  <\/p>\n<p>183.  Okalaliddwa : atali muwadde okuyoya obusera  <\/p>\n<p>184.  Okambagga (or: Akambagga) : ng&#8217;embidde ematirewo  <\/p>\n<p>185.  Okamaze : omufumba kafu lw&#8217;eggulo  <\/p>\n<p>186.  Okangabadde : ng&#8217;ebyanika taba  <\/p>\n<p>187.  Okansombedde : kimbagaya yakasombera Balama  <\/p>\n<p>188.  Okantyabidde : akalimu obuwuka obw&#8217;okunnuma  <\/p>\n<p>189.  Okekkera ng&#8217;afumba ekiro : nti ssebo tunaaliira mulyango  <\/p>\n<p>190.  Okekkera ng&#8217;afumba obutooke obuto : nti ewaffe tulya ga bisiisa  <\/p>\n<p>191.  Okekkera nga agula endiga (= ente), nti yaswala amagulu  <\/p>\n<p>192.  Okekkera ng&#8217;agula nnandere : nti taliimu maaso   k&#8217;oli nti ogula wa kukuuma waka? <\/p>\n<p>193.  Okekkera nga muk&#8217;omugoma   nti ow&#8217;omwange leero agireese n&#8217;amayembe gaayo? <\/p>\n<p>194.  Okekkera nga nnakawere omuli w&#8217;omunnyo : nti nnawonyezza kigongo  <\/p>\n<p>195.  Okekkera nga nnakyeyombekedde asima kandi : nti kuliko nsajjalala   nti ekiku-suza wekka mu nju, ng&#8217;abasajja ball mu ttaka kiki? <\/p>\n<p>196.  Okekkera ng&#8217;ava eri omulwadde, nti twasuze ku bugubi  <\/p>\n<p>197.  Okekkera ng&#8217;eyakafiirwa, nti leero nadda wa? : nti abaflirwa edda balaga wa?   <\/p>\n<p>198.  Okekkera ng&#8217;eyeekubye ekigere : nti simanyi kye kinanviiramu  <\/p>\n<p>199.  Okekkera ng&#8217;omufumite : nti omusaayi gupnenze munda   bulijjo gubeera wa? <\/p>\n<p>200.  Okekkera ng&#8217;omugemuzi agamba, nti enkukunyi zampaatidde ku kibuga  <\/p>\n<p>201.  Okekkera ng&#8217;omugenyi eyaliiridde amaluma : nti omutwe nnassa wa? nti zinga mu ddiba ly&#8217;embuzi  <\/p>\n<p>202.  Okekkera ng&#8217;omukazi agamba, nti emmanga eyo tekyayita kambe  <\/p>\n<p>203.  Okekkera ng&#8217;omukazi omuzadde : omwana bw&#8217;akaaba, nti bwandu bwe bumu-kaabya  <\/p>\n<p>204.  Okekkera ng&#8217;omulimi w&#8217;empindi agamba, nti empindi zange zali ziri matuba, ennyonyi zizirya  <\/p>\n<p>205.  Okekkera ng&#8217;omukunku eyeekoonye : nti ekigere nkimazeewo   nti kyakume-zeeko ggulo? <\/p>\n<p>206.  Okekkera ng&#8217;omulwadde agamba, nti kasookedde ndwala siryanga ka mu ntamu wabula obusera bwe nnawuseeko eggulo bwokka  <\/p>\n<p>207.  Okekkera ng&#8217;omulwadde anywa taba : nti kasooka ndwala siriimu mukka  <\/p>\n<p>208.  Okekkera ng&#8217;omulwadde nti lulinzita nga lummazeemu amaanyi  <\/p>\n<p>209.  Okekkera ng&#8217;omulwadde nti olumbe lwanzimba munda  <\/p>\n<p>210.  Okekkera ng&#8217;Omunaawa : nti Kabaka yandeka nga ndi gongo   nti kaakano oli muluusi? <\/p>\n<p>211.  Okekkera ng&#8217;Omunnabuddu : nti Kabaka yantuma lwokyo   nti olwokya Kaba-ka baluggya Buddu? ( Oyogedde bitajja: ) <\/p>\n<p>212.  Okekkera ng&#8217;Omunnabusiro asima balugu : nti laba Kabaka mwe yakkira!    nti owuwo ali mu ttaka? <\/p>\n<p>213.  Okekkera ng&#8217;Omunnabuyaga : nti leero Kajeerero ali Nkira, nti edda ggwe wamukiranga?   <\/p>\n<p>214.  Okekkera ng&#8217;omunnabyalo : nti singa bantadde ne nzira eka, ne ngwa ku mu-gagga    nti ab&#8217;omubyalo ne basinga bakatikkiro? ( Okekkera ng&#8217;omwavu: ) <\/p>\n<p>215.  Okekkera ng&#8217;Omunyolo : nti okulya enkolo, ndya lumonde   nti enkolo, nga lumonde gw&#8217;olabye? <\/p>\n<p>216.  Okekkera ng&#8217;omunywi w&#8217;emmindi : nti mundeke, sikyalimu mukka  <\/p>\n<p>217.  Okekkera ng&#8217;omusasi : ) nti nnyabo nnyinyika!    ) nti nnyabo tompeereza mutwe? <\/p>\n<p>218.  Okekkera ng&#8217;omusumba w&#8217;enkoko : nti ez&#8217;ewange ziwalalira emiyagi   nti ggwe, nnannyinizo owalalira emivule? ( Amampaati aga nnyini: )<\/p>\n<p>219.  Okekkera ng&#8217;Omuyima (= Omulaalo) : nti nnalidde enjuba   nti eyiyo eri munda? <\/p>\n<p>220.  Okekkera ng&#8217;Omuzungu : ndiyo   nti wabuna nsi? You talk nonsense like a White man, constantly saying ndiyo <\/p>\n<p>221.  Okekkera ng&#8217;omwavu gwe bakwatira ku kibuga : nti singa bantadde ndaba omugagga mu kyalo, mmugwako  <\/p>\n<p>222.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ebbango, nti bwe nnatuuka, nnagwa bugazi  <\/p>\n<p>223.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ebikaata ava embuga : nti tukutte mu gabuguma  <\/p>\n<p>224.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ejjanga abika, nti gundi yafa : nti naffe tulabye bw&#8217;okaaba  <\/p>\n<p>225.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ekirevu akuma omuliro : nti bampeeyo essubi nkume omuliro   nti eryo lyonna erikuli ku mumwa? <\/p>\n<p>226.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ekiwalaata abika : nti olumbe lwanjera (= lwatwera) ekyenyi   nti naffe tulaba bwe kikutte e Bule ne Bweya<\/p>\n<p>227.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ekiwalaata akka (= akkirira) ekibira : nti munterekera ku butta   nti tunaabuseera wa omaze okugenda n&#8217;olubengo? <\/p>\n<p>228.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ekiwalaata alabye engo, nti bwe ndabye ensolo, enviiri ne zinva ku mutwe  <\/p>\n<p>229.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ekiwalaata : nti ekimmalako abaana sikimanyi   nti kyo ekya-kumalako enviiri wakiraba?<\/p>\n<p>230.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ennungu eyalya obwa-Mukwenda : nti obuyinja bunnyiga (= bunkosa)   nti va mu Mityana (= bwa-Mukwenda), ogende (= olye) Buyinja<\/p>\n<p>231.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;ettulu agamba nti mpaayo amazzi, nnaabe mu maaso  <\/p>\n<p>232.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;olukuku azimba e Kyaggwe  <\/p>\n<p>233.  Okekkera ng&#8217;ow&#8217;oluwumu ayombera embuga, nti tuva kusasambuka n&#8217;omwami  <\/p>\n<p>234.  Okendedde : ng&#8217;omulima atalya mmere ye  <\/p>\n<p>235.  Okerebera : ng&#8217;ow&#8217;ekirevu akuma omuliro  <\/p>\n<p>236.  Okikinadde : ng&#8217;ensejjere eyingira enkaata  <\/p>\n<p>237.  Okinagguka : ng&#8217;azaala akuza  <\/p>\n<p>238.  Okinagguka : ng&#8217;omusezi awakanira endeku ejjudde?   <\/p>\n<p>239.  Okinsombedde &#8211; &#8211; ( Okansombedde: ) AEm  <\/p>\n<p>240.  Okirekanga : n&#8217;otokyegomba  <\/p>\n<p>241.  Okirimbire : omukopi talya ttooke Kabula  <\/p>\n<p>242.  Okkuse emirembe : leero owonga ogalamidde  <\/p>\n<p>243.  Okembye mu kya kkobe : eky&#8217;ettungulu kiwoomerera  <\/p>\n<p>244.  Okongodde jjawe  <\/p>\n<p>245.  Okoonye ku mmanvu : kuzuukusa kawundo  <\/p>\n<p>246.  Okoosekoose mu ga lumonde : anti tegamalako maviivi  <\/p>\n<p>247.  Okooye : banyaga  <\/p>\n<p>248.  Okoowodde abombye : kweyongera kukukuma  <\/p>\n<p>249.  Okuba kalakya : omwavu akakuba ku mmamba  <\/p>\n<p>250.  Okuba ndugga butannyuka?   <\/p>\n<p>251.  Okubennanya : ng&#8217;olutta ow&#8217;ettulu (= ng&#8217;olutta ow&#8217;erimu)  <\/p>\n<p>252.  Okubeera ku lusozi : ne weeyama olusozi  <\/p>\n<p>253.  Okubuga : ng&#8217;omugenyi atakkuse   nti n&#8217;abakadde ab&#8217;enunanga nnaabasiibula<\/p>\n<p>254.  Okubujjabujja : ng&#8217;ebbuzi eddume  <\/p>\n<p>255.  Okubula obuwolezo : butta abaana ba wamusu  <\/p>\n<p>256.  Okubula omwana : kwesituldra  <\/p>\n<p>257.  Okubuuza : si kuwaba  <\/p>\n<p>258.  Okubwesooka si kubulya :  ) singa emmgama y&#8217;etta enswa   ) ebigere ebi-sooka ku buliri biba mirannamiro<\/p>\n<p>259.  Okubyeko kati : ow&#8217;ebikunku ku mpomero  <\/p>\n<p>260.  Okudaagana : ng&#8217;olwatta oobe  <\/p>\n<p>261.  Okuddaabiriza emimwa : ng&#8217;ayita baffe  <\/p>\n<p>262.  Okuddinnanibwako si kwagalana : singa essanja tiribabula lulagala  <\/p>\n<p>263.  Okudizza kaneene nsonzi  <\/p>\n<p>264.  Okuddiza guba mwoyo : ) omukazi omunafu asala ku lusuku lwe n&#8217;addiza ensiko   ) emigga giddiza ennyanja ) n&#8217;owuwo akumma<\/p>\n<p>265.  Okudduka omuwawaalo : ng&#8217;essolo eggumba  <\/p>\n<p>266.  Okufa si ombo : nti eridiba (= nti eridiba mangu)  <\/p>\n<p>267.  Okufuuwa omukka mu kisero  <\/p>\n<p>268.  Okugaba kuzibu : okuddiza guba mwoyo  <\/p>\n<p>269.  Okugaba kweterekera  <\/p>\n<p>270.  Okugandaala ng&#8217;enku enzige  <\/p>\n<p>271.  Okugenda ekipaaze : eky&#8217;omwanisi wa taba  <\/p>\n<p>272.  Okugenda ekiserebetu : nga njala  <\/p>\n<p>273.  Okuggyako omwoyo : ng&#8217;agotta ey&#8217;embwa  <\/p>\n<p>274.  Okuggya si kuzzaayo : kitaawo bw&#8217;afa tozzawo mulala  <\/p>\n<p>275.  Okuggyawo ekitayiro : ng&#8217;ow&#8217;obusa azadde ow&#8217;obuwala  <\/p>\n<p>276.  Okuggwa enkuuka : ng&#8217;omusezi ly&#8217;aggwa mu lutabaalo  <\/p>\n<p>277.  Okugwa ettente : ng&#8217;omukulu omukwate ku kutu  <\/p>\n<p>278.  Okujaganya : ng&#8217;ezzaana eddekere enju  <\/p>\n<p>279.  Okujja gawanye : ng&#8217;ebisesemye  <\/p>\n<p>280.  Okujjonkera : ng&#8217;ow&#8217;olufuba atakkuse lumonde  <\/p>\n<p>281.  Okujjukira okwebikka : nga bukedde  <\/p>\n<p>282.  Okukaaba ennyo : tekuzuukusa afudde  <\/p>\n<p>283.  Okukaabira ebitali bibyo : amaziga gamala gajja  <\/p>\n<p>284.  Okukembakemba : ng&#8217;atwala emyali  <\/p>\n<p>285.  Okukiina abaafa : nti olumbe lutumazeewo! ( Tufudde tuweddewo: )   <\/p>\n<p>286.  Okukinagguka : ng&#8217;azaala akuza   nti owange saamunywerako ddagala<\/p>\n<p>287.  Okukisulako : si kukimanya  <\/p>\n<p>288.  Okukizza munda : ng&#8217;akaabira eddiba ly&#8217;enjobe   nti eddiba lyange litobye ebi-renge  nti anti mu mazzi mw&#8217;ekulidde<\/p>\n<p>289.  Okukola mbyone : ow&#8217;obusa by&#8217;akola ewaabo  <\/p>\n<p>290.  Okukuba akalali ak&#8217;engalabi eseka n&#8217;enti mu mubiri  <\/p>\n<p>291.  Okukuba embukutiro : ) omwavu z&#8217;akuba omugagga   ) omukadde z&#8217;akuba omuyaiyu, nti gulya kabi ki? <\/p>\n<p>292.  Okukuba engulegule : omusezi z&#8217;akuba ku ndeku   nti waseranga mu bya nkago, ebya mbidde bye walekanga! <\/p>\n<p>293.  Okukuba omwana : si kumunoba (= kumukyawa)  <\/p>\n<p>294.  Okukubiira ensingo (= essingo) : ng&#8217;ow&#8217;ettulu alamusa abangi (= abasatu)  <\/p>\n<p>295.  Okukulabako : ndabye ku muzi gwa jjinja  <\/p>\n<p>296.  Okukula : kudda buto, ng&#8217;ettungulu  <\/p>\n<p>297.  Okukulunga amalusu : ng&#8217;enkuyege ey&#8217;ekyanda  <\/p>\n<p>298.  Okukuma ekkungu : omubootongo ly&#8217;akuma mu luggi  <\/p>\n<p>299.  Okukuuma olubugo : lubaale nga mubbe  <\/p>\n<p>300.  Okukwata omukulu mu kiseke  <\/p>\n<p>301.  Okulaba ebinene si kuwangaala : abaalaba ku Bukya bandiwangadde  <\/p>\n<p>302.  Okulagulwa : kuzaala obulogo  <\/p>\n<p>303.  Okulamusiza ewa munno : tekiba kisa  <\/p>\n<p>304.  Okulangajja : ng&#8217;eyakasibira e aale  <\/p>\n<p>305.  Okulebera : si kugwa  <\/p>\n<p>306.  Okuleeta obukula : embogo ekyama  <\/p>\n<p>307.  Okulindiggula : ng&#8217;abika atali wuwe  <\/p>\n<p>308.  Okuliraana ennyanja : si kuliira  <\/p>\n<p>309.  Okulira nnyo tekuzza : singa Kaweekwa e Ggangu yankazze  <\/p>\n<p>310.  Okulokopya : nga ye anyaga emu  <\/p>\n<p>311.  Okulukumba : ng&#8217;ow&#8217;ebbango ayambalidde ebita  <\/p>\n<p>312.  Okulumya engabo amannyo  <\/p>\n<p>313.  Okulunga amalusu : ng&#8217;enkuyege ey&#8217;ekyanda  <\/p>\n<p>314.  Okulungutana : ng&#8217;emmese eruma omutwalo  <\/p>\n<p>315.  Okulungutana : ng&#8217;omutabaazi anyaze amagi  <\/p>\n<p>316.  Okulunze ennoga : ng&#8217;amannyo tegagyase  <\/p>\n<p>317.  Okulunze obulago : ng&#8217;ow&#8217;ettulu alamusa abali abasatu  <\/p>\n<p>318.  Okulwa e Buddu : gwe musujja  <\/p>\n<p>319.  Okulwa ku buko : kukuliisa mayiba  <\/p>\n<p>320.  Okulwa ku kyalo : ) si kukimanya   ) kukumanyisa enkuba gy&#8217;efuluma<\/p>\n<p>321.  Okulwa ku luggya : kukulabisa entumbwe za ssezaala wo bwe zaaswala  <\/p>\n<p>322.  Okulwa okutabaala : ensiisira alasa kibandwa  <\/p>\n<p>323.  Okulwawo kukusabya mukyala wo gonja  <\/p>\n<p>324.  Okulwawo : kwengeza enkana  <\/p>\n<p>325.  Okulya ekiguude : ensega ky&#8217;erya omufu  <\/p>\n<p>326.  Okulya enkolo : ndya lumonde  <\/p>\n<p>327.  Okulya ennunza n&#8217;ennunzibwa  <\/p>\n<p>328.  Okulya ennyingi si kugejja : singa enkoko yenkana nte  <\/p>\n<p>329.  Okulya ennyingi : si kuggwa maddu  <\/p>\n<p>330.  Okulya nnyo : tekugezza nkoko lulundulunduli  <\/p>\n<p>331.  Okulya ojjanga : akagere ta!   <\/p>\n<p>332.  Okuuma embwa ensajja : n&#8217;otokuuma nkazi  <\/p>\n<p>333.  Okumira ekirevu : okuyita emmere? T  <\/p>\n<p>334.  Okuumiira : ng&#8217;ow&#8217;ekirevu ayasizza endeku  <\/p>\n<p>335.  Okumussa akasiiso : ow&#8217;endali k&#8217;assa omukukumi  <\/p>\n<p>336.  Okumyuka amaaso : si buzira   omukazi endegeya agobya ffunfugu<\/p>\n<p>337.  Okunpanga amadda : n&#8217;otokunga magenda  <\/p>\n<p>338.  Okunguyidde ng&#8217;ey&#8217;omuluvu : w&#8217;alaba akalengejja n&#8217;akakutulako n&#8217;alya  <\/p>\n<p>339.  Okununkidde : ng&#8217;emmindi enkwatire ku ffumu  <\/p>\n<p>340.  Okupalappalanya : ng&#8217;atatte mukago  <\/p>\n<p>341.  Okusaba ndikulaba : ng&#8217;asaba eryenvu erimu  <\/p>\n<p>342.  Okuusakuusa nga anaakwokya : nti siigawo evvu  <\/p>\n<p>343.  Okuseka ebikette : nga muka omugoma, nti baze agireese n&#8217;amayembe gaayo  <\/p>\n<p>344.  Okuseka ekimwegeru (= ekimwege) : embwa ky&#8217;eseka mu lumbe lw&#8217;ente  <\/p>\n<p>345.  Okusekera mu bikonde : nga asikidde omugagga  <\/p>\n<p>346.  Okuseemyaseemya : nti tugenda okukoola emmere  <\/p>\n<p>347.  Okusigalawo kuzirinda : ng&#8217;omwana w&#8217;omufu y&#8217;asabye lubugo  <\/p>\n<p>348.  Okusiimuula engalo : kuva ku mukkuto  <\/p>\n<p>349.  Okusinziira (= osinzidde) ku ssinzi : n&#8217;ogoberera ekkobe  <\/p>\n<p>350.  Okusitukiramu : ng&#8217;eyatega ogw&#8217;ekyayi  <\/p>\n<p>351.  Okusiwa ensaano ku mazzi  <\/p>\n<p>352.  Okusoonooka si kubba : singa nnawolovu amaze ebintu (= amazeeko abakazi enkumbi)  <\/p>\n<p>353.  Okusula kudda buto  <\/p>\n<p>354.  Okusumika obulungi : si kuwasa  <\/p>\n<p>355.  Okutambula kuziiziina : asisinkana y&#8217;avuma  <\/p>\n<p>356.  Okutambula sserebu : ng&#8217;eyakwana ogw&#8217;okumpi  <\/p>\n<p>357.  Okuteebuuza : ng&#8217;olutta omuwere  <\/p>\n<p>358.  Okutegeeza kasiru : osooka kumuggula matu  <\/p>\n<p>359.  Okutengejja : ng&#8217;asaba oluwanga obulamu   nti oyo teyafa lumbe? <\/p>\n<p>360.  Okutitibana : ng&#8217;atuga omulalu  <\/p>\n<p>361.  Okutta ekibyamu : embwa ky&#8217;etta amagi  <\/p>\n<p>362.  Okutte enkofu : okayanidde ejjiba?   <\/p>\n<p>363.  Okutte gano ne gano : ng&#8217;agula omugumba omunafu  <\/p>\n<p>364.  Okutuubagira : ng&#8217;eyakaabira Nnamumwa  <\/p>\n<p>365.  Okutuula ekisajja ekikulu : embwa ky&#8217;etuula mu lumbe lw&#8217;ente  <\/p>\n<p>366.  Okutuula ekitebe : enjala ky&#8217;etuula mu lubuto  <\/p>\n<p>367.  Okutuula ekiyaziyazi : omugumba ky&#8217;atuula ku mbaga  <\/p>\n<p>368.  Okutuula olubuti : omubi lw&#8217;atuula mu balungi  <\/p>\n<p>369.  Okutunda mwoyo : ng&#8217;enkoko emirs ensanafu  <\/p>\n<p>370.  Okutunguutana : ng&#8217;amasiira amalonde  <\/p>\n<p>371.  Okutunula embebere (= mpwangali) : ng&#8217;omukulu ateetimba  <\/p>\n<p>372.  Okutunula kalyolyo : ng&#8217;embwa eyota ekikoomi  <\/p>\n<p>373.  Okutunula na kimaka : ng&#8217;eggumba eggereke ku nkolo  <\/p>\n<p>374.  Okutunula sseddoolo : ng&#8217;omukadde ayogereza  <\/p>\n<p>375.  Okutya okusekwa : omwana tayambala lugoye lwa kitaawe  <\/p>\n<p>376.  Okuvuma tikuweerezebwa  <\/p>\n<p>377.  Okuwakanya emmandwa : si kuyubuka mimwa  <\/p>\n<p>378.  Okuwa : kutereka  <\/p>\n<p>379.  Okuwangaala : ensejjere egula omuddu  <\/p>\n<p>380.  Okuwera enkolokooto ey&#8217;omuvumbuzi w&#8217;amawolu : ky&#8217;ajje avumbule, ng&#8217;akuba mu ngalo   nti abanaagalya banaakuba mpina? <\/p>\n<p>381.  Okuwola n&#8217;okwazika : bye bitta omukwano  <\/p>\n<p>382.  Okuwonga okungi : si kuzza lubaale (= si kuwuliza lubaale)  <\/p>\n<p>383.  Okuwoza tekubongola mannyo  <\/p>\n<p>384.  Okuwummula si kutuuka  <\/p>\n<p>385.  Okuyanza amagalo &#8211; &#8211; ( Oyanza amagalo: )    <\/p>\n<p>386.  Okuyitaba wangi : si bufuge  <\/p>\n<p>387.  Okuyita kungulu : ng&#8217;omuwuzi  <\/p>\n<p>388.  Okuyita okulaba : ng&#8217;ow&#8217;amalibu asanze ebikongo  <\/p>\n<p>389.  Okuyomba entulumuko : ng&#8217;ayomba (omukwano) ogukaze  <\/p>\n<p>390.  Okuzaala : kukira okutema ente  <\/p>\n<p>391.  Okuzaala kulungi : ng&#8217;olabako  <\/p>\n<p>392.  Okuzimbya entwiri : ng&#8217;omukulu agaba enkejje  <\/p>\n<p>393.  Okwagalana kyayi kya mso : bwe kitasoba(ko) tikitunga  <\/p>\n<p>394.  Okwambala bulungi si kuwasa bawala : singa akasanke kamaze abawala mu nsi  <\/p>\n<p>395.  Okwasaamirira si kumira : singa ennaana emira bugobo  <\/p>\n<p>396.  Okwebaka kufa : ye asiba oluggi (= y&#8217;akomeka oluggi)  <\/p>\n<p>397.  Okwebaka lulingolola : ng&#8217;omwavu omulekere   <\/p>\n<p>398.  Okwebambalika : ng&#8217;omunafu alima ku kkubo  <\/p>\n<p>399.  Okwefetta ng&#8217;omukazi omunafu : nti baze bw&#8217;alinvuma, ka ne nzita emiko-no    sooka otte enjoka ezirya amatooke<\/p>\n<p>400.  Okwegambagamba ng&#8217;ow&#8217;amalibu ayasira embwa : bw&#8217;eribulwa amannyo, ndigisongolera emmambo  <\/p>\n<p>401.  Okwegaana mulanga : endiga ndege, ente kide, embwa kyuma, embuzi mujugo  <\/p>\n<p>402.  Okwegendereza ng&#8217;eyafumbirwa wa mayuuga : bw&#8217;alaba ekkonkomi, ng&#8217;aga-mba nti anaaba ssezaaIa wange  <\/p>\n<p>403.  Okweggala si magezi : emirembe giva e mbuga  <\/p>\n<p>404.  Okweggyako ekigombo : n&#8217;owa busa azaalira ku luggya  <\/p>\n<p>405.  Okwegulira kukira okubba  <\/p>\n<p>406.  Okwekobereza : ng&#8217;afumbye gonja, nti lyako abiriridde  <\/p>\n<p>407.  Okwekuukuubya : ng&#8217;ezzaana eddekere enju  <\/p>\n<p>408.  Okwekuluumulula : ng&#8217;amale ag&#8217;ekyeya  <\/p>\n<p>409.  Okwemala eggoga : omulogo (= omusezi) lye yeemala mu lutabaalo  <\/p>\n<p>410.  Okwenyumiikiriza : ng&#8217;olugunju &#8211; &#8211; ( Weenyumiriza: )    <\/p>\n<p>411.  Okwerinda si buti : ensanafu etambula egaludde (= eteze)  <\/p>\n<p>412.  Okwesimba obulere : ow&#8217;ennombe akiika  <\/p>\n<p>413.  Okwesogolera kulungi : n&#8217;okomba engalo  <\/p>\n<p>414.  Okwesulubabba : nga nnasswi w&#8217;embwa  <\/p>\n<p>415.  Okwesumagga : ng&#8217;omusagga gwa Nnakkobyo  <\/p>\n<p>416.  Okweswalinga : ng&#8217;omunafu alima ku kkubo  <\/p>\n<p>417.  Okweteganya : nga lumonde akona  <\/p>\n<p>418.  Okwetematema : ng&#8217;omubi awonga   nti njagadde ekibi kigwe wala nti ggwe bakusuula wala<\/p>\n<p>419.  Okwettira ekitakwettidde : embuyaga ku jjinja  <\/p>\n<p>420.  Okwewuliriza : kunyooza ennanga arhatu  <\/p>\n<p>421.  Okweyenga : ng&#8217;aggya endoko  <\/p>\n<p>422.  Okweyisaako : ng&#8217;omwavu agamba, nti kiki ekinnuma?   <\/p>\n<p>423.  Okwezza ennyuma ng&#8217;ensama : yenkana nte, esuula nkiringi  <\/p>\n<p>424.  Okwogera amakuumuule : ng&#8217;aga lumonde  <\/p>\n<p>425.  Okwogera endibattiriro ey&#8217;omuyizzi : nti mala okunaaza omusu ojje onkulu-buute ku bigere   nti omusu gwe mba nnaaza, ggwe baze gwe mba nkulubuuta<\/p>\n<p>426.  Okwogera nnyo si kulya bwami : singa ennyonza erina obwami  <\/p>\n<p>427.  Okwogerera waggulu si kitiibwa : singa elvaana ye kabaka w&#8217;ennyonyi  <\/p>\n<p>428.  Okwo nno kukuumiira : ng&#8217;ow&#8217;ekirevu ageregeza  <\/p>\n<p>429.  Okwo nno kuseka nnyindo yankolera  <\/p>\n<p>430.  Okyaliza ntondo : nga kabu  <\/p>\n<p>431.  Okyemanyi Omunyolo : mwa Luwalira  <\/p>\n<p>432.  Olaba eyagenze n&#8217;ebyayi ng&#8217;adda n&#8217;olutala : ng&#8217;akatale keetuuze  <\/p>\n<p>433.  Olaba lulema yalukedde : nga ggwe atandise mu ttuntu onoolukola otya?   <\/p>\n<p>434.  Olaba nnasswi akulembedde : nti Obuganda mirembe?   <\/p>\n<p>435.  Olaba omugenge nga yeeyuna ettu : ng&#8217;engalo kw&#8217;asigalako ensajja  <\/p>\n<p>436.  Olaba malinnya : amakka ganaalema  <\/p>\n<p>437.  Olangajja : ng&#8217;afumita ekitaliibwa  <\/p>\n<p>438.  Olangajja : ng&#8217;eyakasibira e Mbaale  <\/p>\n<p>439.  Olejjalejja : nga baakwaluza mukalo gwa ndegeya  <\/p>\n<p>440.  Oleese mawano : ng&#8217;atadde emmindi ku kamwa  <\/p>\n<p>441.  Oli balusagya : ng&#8217;omuwuulu agula enkulo  <\/p>\n<p>442.  Olidde eggi : kwesubya muwula  <\/p>\n<p>443.  Olidde ka bulanga  <\/p>\n<p>444.  Olijja ddi ewaffe? : lye bbanja ery&#8217;omugenyi (= omugezi)  <\/p>\n<p>445.  Oli kajagujagu ng&#8217;akabwa akato : tikannazibula, nga kasutama  <\/p>\n<p>446.  Oh kasalabekkya : ng&#8217;Omunyolo akubagiza Omuganda  <\/p>\n<p>447.  Oh kasobeza ng&#8217;okutu &#8211; &#8211; ( Kasobeza nga kutu: )   <\/p>\n<p>448.  Oh kasobeza ng&#8217;omuweesi : akugamba okufukuta n&#8217;afukamu amazzi  <\/p>\n<p>449.  Oli kasobeza ng&#8217;omuyizzi : agamba embwa mutte, mulye!   <\/p>\n<p>450.  Oh kikonde : kikuba ali kumpi  <\/p>\n<p>451.  Oh kimwakitoole : ng&#8217;omusajja alya ebbumba  <\/p>\n<p>452.  Olikiraba : takikutendera  <\/p>\n<p>453.  Oh kkalu-muliro : ng&#8217;eggye lya Kasujju  <\/p>\n<p>454.  Oh lumbe lwa kirago  <\/p>\n<p>455.  Olima awatono : ne wattira  <\/p>\n<p>456.  (Amin ng&#8217;ow&#8217;effumu limu : nnaakukuba amanyago   (so ng&#8217;alina olunyago lumu)<\/p>\n<p>457.  Olimbyerimbye basuze : abalungi bagenze n&#8217;omwami  <\/p>\n<p>458.  Olimpa ki? : ng&#8217;olimpa nkuti  <\/p>\n<p>459.  Oli mpalakitale ng&#8217;eddiba ly&#8217;emmere : amaviivi ze mmambo  <\/p>\n<p>460.  Oli mpaiakitaie : ekaabira ku nsozi essatu  <\/p>\n<p>461.  Olimu akeewaniko ak&#8217;amakobe  <\/p>\n<p>462.  Oli mugabi nga jjenje : olulikwatako nga likulekera kugulu  <\/p>\n<p>463.  Oli mugayaavu nga kyannyanja : kisula mu mazzi ne kitanaaba kutukula  <\/p>\n<p>464.  Oli mukaba nga Mulemeezi : yasibira Kangaawo ekkubo  <\/p>\n<p>465.  Oli mukaba nga nsiko : etuyana kiro  <\/p>\n<p>466.  Oli mukalabakalaba ng&#8217;omumwi w&#8217;ekirevu : awatali linnyo, awangawo   <\/p>\n<p>467.  Oli mukubi wa mpi mu kigongo  <\/p>\n<p>468.  Oli mu kulya : nga Katonga ajjula?   <\/p>\n<p>469.  Oli mukuusa nga jjembe : liva ku kikondo   nti nva Buvuma<\/p>\n<p>470.  Oli mulangaasira : nga bulago bw&#8217;emmese  <\/p>\n<p>471.  Olimulisa mu kika olumuli  <\/p>\n<p>472.  Oli musezi : talengera nnimiro  <\/p>\n<p>473.  Olina akajanja : akannamukazi-omu   nti omwandu tunaagukisa wa? nti ggw&#8217;oli-na? <\/p>\n<p>474.  Olina akambayaaya : akasengusa ennyonyi ekiro, ng&#8217;ewa musolo  <\/p>\n<p>475.  Olina akasattizo (= amampaati) : akambaliza ekkovu ekita, nga ligenda kusenge-jja  <\/p>\n<p>476.  Olina enfubitizi : ekusuza n&#8217;omulamu ng&#8217;agenda okufa ali wall  <\/p>\n<p>477.  Olina kasiikuuzi : akakubya emmomboze eyajja n&#8217;ebigere byayo  <\/p>\n<p>478.  Olina mwegunja : ng&#8217;anyumya aseka  <\/p>\n<p>479.  Olina obukabakaba obwa wamumwa : nti tulye entanda  <\/p>\n<p>480.  Oli ng&#8217;akakowekowe : katemereza ataakawe  <\/p>\n<p>481.  Oli nga mazzi ag&#8217;oku lutimpatimpa  <\/p>\n<p>482.  Oli ala : ng&#8217;emmindi ewona ekiziyiro  <\/p>\n<p>483.  Oli njuki : esomba bidumo  <\/p>\n<p>484.  Oli nkoko : tosaggirirwa  <\/p>\n<p>485.  Oli nnakifankenyere : ekinywera amazzi emugga  <\/p>\n<p>486.  Oh nnama we ngwa  <\/p>\n<p>487.  Oh nnasajja : ng&#8217;omugomo ogutta ensonzi n&#8217;obuyamba  <\/p>\n<p>488.  Olinnye gye gava : kunywa matabangufu  <\/p>\n<p>489.  Oliraana wa butwa (omuwa-butwa) : n&#8217;otoliraana wa kyokoola  <\/p>\n<p>490.  Oh Ssekadde : yeegabira Mukono  <\/p>\n<p>491.  OH waggume nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa  <\/p>\n<p>492.  Oli wa kalogojjo : nga mubumbi  <\/p>\n<p>493.  Oh wa kitalo nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa  <\/p>\n<p>494.  Oli wa kyejo : bwe nnaakusimbako enjala, omukka onoosiza mu byayi nga tabs  <\/p>\n<p>495.  Oli wa mukisa : ng&#8217;anyaga embwa ekuzizza  <\/p>\n<p>496.  Oli wa mukisa : ng&#8217;omunafu gwe baagala  <\/p>\n<p>497.  Oli wa mugoonyo : bw&#8217;otta enkoko, ofumba kasooli  <\/p>\n<p>498.  Oli wa nnyomba mbi : ng&#8217;alima emmere ye ku kkubo  <\/p>\n<p>499.  Oli w&#8217;e Ssambwe : Nnabugwamu  <\/p>\n<p>500.  Olondobereza ng&#8217;eyanyaga emu : nti Kabaka (or mwami) y&#8217;ankongoola  <\/p>\n<p>501.  Oloodde muganzi mu kizikiza  <\/p>\n<p>502.  Oloose ky&#8217;oliraba : nnaloose nfudde  <\/p>\n<p>503.  Olubbobbo oluwaanyisa ekiramu  <\/p>\n<p>504.  Olubuto kyoto : alutyabira (= alusombera, = akisennyera) enku y&#8217;akoowa  <\/p>\n<p>505.  Olubuto lugwana okulya  <\/p>\n<p>506.  Olubuto olubi : lukwogeza bye walidde  <\/p>\n<p>507.  Olufumbe olukulu lulwanira okufa  <\/p>\n<p>508.  Olufumbe olukulu bw&#8217;olaba nga lulwanya embwa : ng&#8217;essanja basala  <\/p>\n<p>509.  Oluganda kulya : olugenda enjala terudda  <\/p>\n<p>510.  Oluganda luva ku kkubo  <\/p>\n<p>511.  Oluganda lwala mukwano  <\/p>\n<p>512.  Oluganda nkovu : teggwa (= teruggwa) ku mubiri (or: sirunaabibwa)  <\/p>\n<p>513.  Oluganda talya kya munne : ttaka tirirya lwa ntamu  <\/p>\n<p>514.  Olugenda enjala : terudda  <\/p>\n<p>515.  Olugero olukadde : lusala oluggya  <\/p>\n<p>516.  Oluggumuggumu : lusiriiza ennumbu  <\/p>\n<p>517.  Olugo olugenyi : terumanya mbuzi mponge  <\/p>\n<p>518.  Olujuukirira lw&#8217;anjuukirira gvantiisa  <\/p>\n<p>519.  Olukadde eyalumanyanga (= eyalulaba) : y&#8217;aluggya mu mwandu  <\/p>\n<p>520.  Olukadde olwa Nnyenga : w&#8217;otolulaba mu katale, ng&#8217;ogamba nti yafa  <\/p>\n<p>521.  Olukka ennyanja &#8211; &#8211; ( Lukka ennyanja: )    <\/p>\n<p>522.  Olukuba omwana : lwagala nnyina  <\/p>\n<p>523.  Olukuba Waliiso : lulekera Wannyindo okufeesa  <\/p>\n<p>524.  Olukuba Wannyindo : lulekera Waliiso okulira  <\/p>\n<p>525.  Olukula luyonka abaana baiwo  <\/p>\n<p>526.  Oluliko omwenge : terubula asulamu  <\/p>\n<p>527.  Olulyo olw&#8217;omukyawe tirukala : olwange lubaze  <\/p>\n<p>528.  Olumbagayiza : lusuza omugumba enjala  <\/p>\n<p>529.  Olumbe kijjolooto : olaba lutta Kagulu atafa  <\/p>\n<p>530.  Olumbe lubugo : tulwebisse  <\/p>\n<p>531.  Olumbe lutumazeewo enkoko : asuula ku luwe  <\/p>\n<p>532.  Olumbe lwa nnabe : ffulula biswa  <\/p>\n<p>533.  Olumbe lwakeera okutta abantu : ng&#8217;asikidde mugagga  <\/p>\n<p>534.  Olumbe lw&#8217;ekirago  <\/p>\n<p>535.  Olumbe lw&#8217;omugagga tiwabula alutuukamu : wakasanke atuuka mu lwa mpanga  <\/p>\n<p>536.  Olumbe musolo : teruddukwa   gye lukusangira gy&#8217;oweera (= gye gukusangira gy&#8217;oguweera)<\/p>\n<p>537.  Olumbe sirutta bumu  <\/p>\n<p>538.  Olumbe terukuba misinde  <\/p>\n<p>539.  Olumbe terulaga nnaku  <\/p>\n<p>540.  Olumbe teruweebwa mukono  <\/p>\n<p>541.  Olummanyimmanyi : lukwasa embwa mu mannyo  <\/p>\n<p>542.  Olumyu olukula : luyonka abaana baalwo  <\/p>\n<p>543.  Olunaku lumu : tiruboza nnyama  <\/p>\n<p>544.  Olunaakutta : akabira kakwesamba  <\/p>\n<p>545.  Olunaakutta : ) lukuggya enunere mu kamwa   ) lukuggya we bajjula<\/p>\n<p>546.  Olunaakutta : lukuziba amatu  <\/p>\n<p>547.  Olunaakutta : lwasimuka ebiri  <\/p>\n<p>548.  Olunatta Wambwa : lumuziba ennyindo  <\/p>\n<p>549.  Olunda ntono : ne ziba ezannyo (= ezizo)  <\/p>\n<p>550.  Olunderebu olwambaliza ekkovu ekita : nga ligenda kusengejja  <\/p>\n<p>551.  Olunkulu lwayokesa Ssekiboobo Mbuula embuga ye  <\/p>\n<p>552.  Olunkulu lw&#8217;emisota : emito n&#8217;emikulu gyonna girya gigalamidde  <\/p>\n<p>553.  Olusala ekyayi &#8211; &#8211; ( Lusala ekyayi: ) Roscoe   <\/p>\n<p>554.  Olusozi lw&#8217;ababbi : ndikubbirawo (ewa Mugema)  <\/p>\n<p>555.  Olusozi lw&#8217;abakozi : nti nange mbalwa  <\/p>\n<p>556.  Olusozi lw&#8217;abammi : ndeke okulya, mpe ggwe?   <\/p>\n<p>557.  Olusuula entabi : lukuwa okutindira  <\/p>\n<p>558.  Olutafuka lw&#8217;omukyawe *: lujjula mawuggwe  <\/p>\n<p>559.  Olutototo lwa kamunyi  <\/p>\n<p>560.  Olutta ente : lulekera embwa omunyeroonyero  <\/p>\n<p>561.  Olutta wambwa &#8211; &#8211; (Olunatta wambwa: ) Munno  <\/p>\n<p>562.  Olutu olutu ng&#8217;amazzi ak&#8217;oku lutimpa &#8211; &#8211; ( Wulutu: )   <\/p>\n<p>563.  Oluva e Mukono lwe lulissa Abakunja entubiro  <\/p>\n<p>564.  Oluvulunguti : abasajja lwe balya mu magi  <\/p>\n<p>565.  Oluwanga lw&#8217;embwa &#8211; ( Luwanga: )   <\/p>\n<p>566.  Oluwijja oluweesa mpiso : luweesa n&#8217;akambe  <\/p>\n<p>567.  Oluyindi tiruliibwa nkagga  <\/p>\n<p>568.  Oluyitaayita : lukira oluliira ku nkoligo  <\/p>\n<p>569.  Olwali wa gundi : lwali ku njovu Kavumba  <\/p>\n<p>570.  Olwa mulungi : tiruggwa atenda  <\/p>\n<p>571.  Olwatika olunatta entamu : lugifuluma mu ntobo  <\/p>\n<p>572.  Olw&#8217;ennyama teruggwe? : nga y&#8217;alidde ebbango  <\/p>\n<p>573.  Olweyaniikirizo : lwakubya abataka  <\/p>\n<p>574.  Olwa kulya : lusuula emmese mu kita  <\/p>\n<p>575.  Olw&#8217;okulya : lusuula enkinzi  <\/p>\n<p>576.  Olwokya enju : lwe lulaga nnamunye ekkubo  <\/p>\n<p>577.  Olwo lwoya lwa mu nnyindo  <\/p>\n<p>578.  Olya entono : nga teziriimu ttaka  <\/p>\n<p>579.  Olya kizze : nga muwooza wa katale  <\/p>\n<p>580.  Olyanga akatono : n&#8217;otofa  <\/p>\n<p>581.  Omagamaga : ng&#8217;aggya akamu  <\/p>\n<p>582.  Omala okuyombera ku buko : nti alinnyimba ndimutta  <\/p>\n<p>583.  Omezze ate oluma? ( Amezze n&#8217;assaako n&#8217;okuluma: )   <\/p>\n<p>584.  Ommaze enviiri &#8211; &#8211; ( Munnange, ommaze: )   <\/p>\n<p>585.  Ompadde amaanyi : enjala egawa omutwe  <\/p>\n<p>586.  Ompiseeko kkuutwe : embwa ly&#8217;eyita ku mubumbi, ng&#8217;egenda eri omuwazi w&#8217;amaliba  <\/p>\n<p>587.  Ompise Ssekibotta akubira enva engalabi : ezange leka wano  <\/p>\n<p>588.  Ompitako nti nadda ne nkulamusa  <\/p>\n<p>589.  Ompubanyizza ng&#8217;ekiwalaata akyala : nti nnaasanga ng&#8217;omaze okusa obulo   nti obulo nnaakuseera ku ki? anti olubengo otutte<\/p>\n<p>590.  Omubaaga-zibi abaaga lumu  <\/p>\n<p>591.  Omubbi akubba : entuuliirizi n&#8217;etekutuuliirira  <\/p>\n<p>592.  Omubbi mmese : ategwa kirungi  <\/p>\n<p>593.  Omubbi tawerekwa  <\/p>\n<p>594.  Omubi abijja n&#8217;ebibye : mpokya abijja n&#8217;eggobe lye  <\/p>\n<p>595.  Omubi akira ebbanga  <\/p>\n<p>596.  Omubi anyumya : akira omulungi akuumiira  <\/p>\n<p>597.  Omubi atavaawo : olwaddaaki anaaza omulungi emabega  <\/p>\n<p>598.  Omubiri bwe gukuggwa : ataakulaba aku<\/p>\n<p>&nbsp;<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Engero za Baganda eza &#8211; S\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; S &nbsp; 1. Oba tonnagwa : tolaba kikusudde 2. Obeera ndegeya : wakunzimbye ku mumwa 3. Obikka ku maddu : nti malako ennyama, om eggumba 4. Obireka n&#8217;otobyegomba 5. Obisse bibiri : toobojjerere 6. Obonaabona n&#8217;otafa 7. Obonyeebonye : anti alaba alonda 8. Obubaka [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[11],"tags":[],"class_list":["post-507","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-engero-za-baganda-luganda-proverbs"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/507","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=507"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/507\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":539,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/507\/revisions\/539"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=507"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=507"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=507"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}