{"id":505,"date":"2025-04-24T09:31:04","date_gmt":"2025-04-24T09:31:04","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/engero-za-baganda-luganda-proverbs-10\/"},"modified":"2025-04-24T09:31:10","modified_gmt":"2025-04-24T09:31:10","slug":"engero-za-baganda-eza-n-luganda-proverbs-prefix-n","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/engero-za-baganda-eza-n-luganda-proverbs-prefix-n\/","title":{"rendered":"Engero za Baganda eza &#8211; N\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; N\u00a0"},"content":{"rendered":"<h2>Engero za Baganda eza &#8211; N\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; N<\/h2>\n<p>&nbsp;<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-proverbs-engero.jpg\" alt=\"luganda proverbs engero\" \/><\/p>\n<p>1. N&#8217;aganaafa : gasalirwa essubi  <\/p>\n<p>2.  Nakamwa ntette &#8211; &#8211; ( Nnakamwa: )   <\/p>\n<p>3.  Nammwe mutuulanga bubi : gw&#8217;ayagala ye all ku ludda oluliko ekitono  <\/p>\n<p>4.  Nangalongya (= Na-ngalo-ngya) &#8211; &#8211; ( Nnangalongya: )    <\/p>\n<p>5.  N&#8217;asirika amanya : ekikere bakibikira kwa kyeya ne kikaaba ku nkuba  <\/p>\n<p>6.  N&#8217;asirikirira amanya : ekikere bwe bakibikira okw&#8217;ekyanda, olumbe kwa ttoggo kwe kyabiza  <\/p>\n<p>7.  Na tte eryawuumanga : bw&#8217;erimala okugwa wansi, nga n&#8217;abaana abato bagituula mu mayembe  <\/p>\n<p>8.  Na wano lulyabirawo : nga lwa mwavu  <\/p>\n<p>9.  Ndaba : gwe batta  <\/p>\n<p>10.  Ndaba ng&#8217;onsuula ngajaba  <\/p>\n<p>11.  Ndaba ongalabanja : ng&#8217;akukyawa takubuulidde  <\/p>\n<p>12.  Ndabidde ku nnamusa  <\/p>\n<p>13.  Ndege ziba nnyingi &#8211; &#8211; ( Endege: )   <\/p>\n<p>14.  Ndiba nsaba ki? : ye asaba kooterezo  <\/p>\n<p>15.  Ndibiraba ne nziruka : ye agenda na bapere  <\/p>\n<p>16.  Ndibirya ne bimpitamu  <\/p>\n<p>17.  Ndifa n&#8217;agange : omukadde ku ssogasoga  <\/p>\n<p>18.  Ndifiira bwereere : asika evviivi lya nte  <\/p>\n<p>19.  Ndifiira (= nnanfiira) ku kinene : ) ensanafu ku ggere ssajja (= ku kigere eki-sajja)   ) ensanafu ku ntumbwe<\/p>\n<p>20.  Ndifiira mu bakazi bannange : bamuyisa mu musiri gwa ntungo  <\/p>\n<p>21.  Ndifiira mu bangi : bamuyisa ku musiri gwa ntungo (or: afiira mu lukangaga Iwa ntungo)  <\/p>\n<p>22.  Ndifiira mu basajja bannange : bamuyisa mu musiri gwa kasooli  <\/p>\n<p>23.  Ndifiira mu ppanda zange : nga n&#8217;akamwa kalungi (= ng&#8217;ayogera bulungi)  <\/p>\n<p>24.  Ndifiira wabuguma : ennyenje ku kibanyi  <\/p>\n<p>25.  Ndifiira waggale : bamuyisa ku kifulukwa (= ku kifulukwa ayitako kkutwe)  <\/p>\n<p>26.  Ndigalya madda (= olulala) : agalya mu kibanja (= asanga kibanja)  <\/p>\n<p>27.  Ndiga tekimba : olukimba ng&#8217;etomera butomezi  <\/p>\n<p>28.  Ndigudde : abula agumwetikkira  <\/p>\n<p>29.  Ndigula kalungi : n&#8217;agula enkejje empumbe  <\/p>\n<p>30.  Ndigwa mu bangi &#8211; &#8211; ( Ndifiira mu bangi: )    <\/p>\n<p>31.  Ndikibuulira ani? : nga taliiko mukwano gwe yeesiga  <\/p>\n<p>32.  Ndikibuulira omulungi : bw&#8217;okibuulira omu, kibuna ekyalo  <\/p>\n<p>33.  Ndikirya jjo : bakimutikka  <\/p>\n<p>34.  Ndikirya na munnyu : akirya na mazzi  <\/p>\n<p>35.  Ndiko bannange &#8211; &#8211; ( Bannange banjagala: )   <\/p>\n<p>36.  Ndikugula : akunkumula lutembe (= matembe)  <\/p>\n<p>37.  Ndikulyako ki? : nga ndikulya minyira  <\/p>\n<p>38.  Ndikutuusa : takutuusa  <\/p>\n<p>39.  Ndikwata ne mpaayo : nga yasikira musikire  <\/p>\n<p>40.  Ndi mufu muggya : simanyi bifa magombe  <\/p>\n<p>41.  Ndi mugezi : nga mubuulire  <\/p>\n<p>42.  Ndi mukazi mutundwa : nneesibira okunywera  <\/p>\n<p>43.  Ndi mutuba mulami : n&#8217;omuto atema ensimbo  <\/p>\n<p>44.  Ndi muzibi wa maaso : akange ndya nkutte mu ngalo  <\/p>\n<p>45.  Ndi nnanti nkalu : ye azimba ku nnanti embisi  <\/p>\n<p>46.  Ndi nkoko mpanga : ntambula ntolooma  <\/p>\n<p>47.  Ndi nkoko njeru : seekweka kamunye  <\/p>\n<p>48.  Ndi ntamu nkadde : siterekwa ewa munnange  <\/p>\n<p>49.  Ndiraba ezange : nga tawa musibe mmere  <\/p>\n<p>50.  Ndirwanira mu bakulu bannange : omukadde bamuyisa mu jjobyo  <\/p>\n<p>51.  Ndirwanira waggale &#8211; &#8211; ( Ndifiira waggale: ) No  <\/p>\n<p>52.  Ndirya amadda &#8211; ( Ndigalya madda:     Tuligalya amadda: ) <\/p>\n<p>53.  Ndituusa wa? : ka lunzite mpeere  <\/p>\n<p>54.  Nditwala kalungi : mu kibira avaamu atyo  <\/p>\n<p>55.  Nditwala kinene : afa tatuuse ku buko  <\/p>\n<p>56.  Ndiwulira : bamufumbira mu kasooli (or: banuulira mu kasooli)  <\/p>\n<p>57.  Ndiyimbira mu nkambi e Lubaga  <\/p>\n<p>58.  Ndudde okwewagira : ) enkolo azirya n&#8217;ekiro   ) muwogo alya na miti<\/p>\n<p>59.  Ndwadde ekula kiro : ye aziika omuliro  <\/p>\n<p>60.  Ndwadde ya muto &#8211; &#8211; ( Endwadde y&#8217;omuto: )    <\/p>\n<p>61.  Ndya kya bukaba : ng&#8217;emmese ey&#8217;omu ggwanika  <\/p>\n<p>62.  Ndya lumu : yazisa Mulajje  <\/p>\n<p>63.  Ndya wabiri : ng&#8217;olubuto lw&#8217;emmandwa  <\/p>\n<p>64.  Ndyebaza ndya : tagunjula munafu  <\/p>\n<p>65.  Ne gw&#8217;oyagala : gw&#8217;osalira omusango ne gumusinga   n&#8217;omuweerera envuma (or: ng&#8217;omuliyirako)<\/p>\n<p>66.  Ne gw&#8217;ozadde : akukubira ennoma n&#8217;ozina  <\/p>\n<p>67.  Ne munno : akutebya  <\/p>\n<p>68.  Ne ngejja ng&#8217;olulimi lw&#8217;ekide  <\/p>\n<p>69.  Newandibadde tetonnye : ebire tubirabye  <\/p>\n<p>70.  N&#8217;ezikookolima : gaali magi  <\/p>\n<p>71.  Nfulumire ku mugumu : nga y&#8217;anaasika  <\/p>\n<p>72.  Nfuuyira zirwana : wakasanke mu lwa mpanga  <\/p>\n<p>73.  Ngabo nzira : ogirabira (= ogimanya) ku biwundu  <\/p>\n<p>74.  Ngabo tekyala  <\/p>\n<p>75.  Ngajaba : yeebakira emikono gyombi ne yeerabira ababbi  <\/p>\n<p>76.  Ng&#8217;akwata nimpaayo &#8211; &#8211; ( Kwata n&#8217;owaayo: )    <\/p>\n<p>77.  Ngalaba : ng&#8217;alinda luwombo  <\/p>\n<p>78.  Ngalo njereere : ziwoomera nnyinizo  <\/p>\n<p>79.  Nnaana bizitowa : ontikka muzigo (oba bbumba)?   <\/p>\n<p>80.  Nga ndi masane! : enzirugavu okuzaala amata ameeru!   <\/p>\n<p>81.  Nnaana tabuulirwa kaama  <\/p>\n<p>82.  Nga onoobiyinza? : nga bawadde gw&#8217;atayagala  <\/p>\n<p>83.  Nga toba ku ebyo : ataalimye anaafumba? ( Weeyogeza ng&#8217;ekitaalimye: )   <\/p>\n<p>84.  Nga azzeemu : ng&#8217;agula omugumba omunafu  <\/p>\n<p>85.  Nnenda eno : lw&#8217;aguzza lw&#8217;akubuulira  <\/p>\n<p>86.  Nnende nfumbire omusajja : bwe ligwa mu vvu, y&#8217;asooka okulya  <\/p>\n<p>87.  Ngigyeyo omwoyo : ng&#8217;asotta emmere y&#8217;embwa  <\/p>\n<p>88.  Ngo tebuukira walungi : buli lw&#8217;ebuuka, nti ebadde endidde  <\/p>\n<p>89.  Ngujuuba : bw&#8217;egabega bw&#8217;egalya (or: bw&#8217;agabega bw&#8217;agalya)  <\/p>\n<p>90.  Nguve ku ntono : ng&#8217;omuyala asanze we bafumba  <\/p>\n<p>91.  Njala akukulidde mu kibondo  <\/p>\n<p>92.  Njala : ) ebuza amagezi   ) ekeeta ) ekimbya<\/p>\n<p>93. a Njala : evumbula  <\/p>\n<p>94.  Njasa biggu : ng&#8217;omusamize akuba emiggo  <\/p>\n<p>95.  Njawukana : eva ku mugga  <\/p>\n<p>96.  Njogera bye ndaba : nti emmese tenywa mwenge   nti mu kita ebadde enoo-nyemu ki? <\/p>\n<p>97.  Njogera bye ndaba : nti Gatuulemu wuuyo ajja  <\/p>\n<p>98.  Njogere nsambye : kabaka amuyita kalaka (= kalatu)  <\/p>\n<p>99.  Njola ki? : ng&#8217;ayola akagubi  <\/p>\n<p>100.  Njuba ebireese  <\/p>\n<p>101.  Nkaabira mubikire : naye ankutukidde mu ngalo!   <\/p>\n<p>102.  Nkaajumbe : temala nju mpya  <\/p>\n<p>103.  Nkalakkalira : ng&#8217;ensiriba y&#8217;ejjanzi  <\/p>\n<p>104.  Nkaliriza eriisa enkoko &#8211; &#8211; ( Enkaliriza: )   <\/p>\n<p>105.  Nkalubo : ekira amaluma   w&#8217;osikasikanya oliira<\/p>\n<p>106.  Nkalye nkawulire : asula tiyeebase  <\/p>\n<p>107.  Nkejje nfu : ekira ennamu okutambula  <\/p>\n<p>108.  Nkerettanyi : bw&#8217;ogitega (or: bagitega) amenvu, erya bibombo  <\/p>\n<p>109.  Nkizzizza buggya : asinga kinkutuseeko  <\/p>\n<p>110.  Nkoba za mbogo : zeggya zokka mu bunnya  <\/p>\n<p>111.  Nkoko ekkuta &#8211; &#8211; ( Enkoko ekkuta: )   <\/p>\n<p>112.  Nkoko njeru : yeeyoleka kamunye  <\/p>\n<p>113.  Nkoko nnyoole : yalema Abaadi (= Abawadi)  <\/p>\n<p>114.  Nkoko tekuba A hen does not belch  <\/p>\n<p>115.  Nkoko teyota : bw&#8217;olaba eyota nga bagiwujja  <\/p>\n<p>116.  Nkoko ya mwavu : teggwa meebaza  <\/p>\n<p>117.  Nkoko yange ebuuka emiyagi : nnyiniyo obuuka omuvule? ( Okekkera ng&#8217;omusumba w&#8217;enkoko: )   <\/p>\n<p>118.  Nkoko yange eyo yeeyambula bbombo : nnannyiniyo we yeeyambula aba- longo  <\/p>\n<p>119.  Nkole mpoomye : Nnalunga yagoya amayuuni  <\/p>\n<p>120.  Nkolola nsajja egoba ngo  <\/p>\n<p>121.  Nkolo tenyigwa  <\/p>\n<p>122.  Nkomaga ka mwana : ye nkomaga mbi  <\/p>\n<p>123.  Nkonge bw&#8217;etekukuba magenda : ekukuba amadda  <\/p>\n<p>124.  Nkonge ya muvule : nnantagwira kyeya kimu  <\/p>\n<p>125.  Kkonkome bbi &#8211; ( Ekkonkomi: )   <\/p>\n<p>126.  Nkuba eritonnya ddi? : emutonnya mu kamwa  <\/p>\n<p>127.  Nkubaguliza nga lw&#8217;ebibo  <\/p>\n<p>128.  Nkuba teyaza kyayo : singa ekitoogo bakitemya mbazzi  <\/p>\n<p>129.  Nkubye mu kisaka ejjinja : kuwulira bivaamu (= okulaba ekinaabuukamu)  <\/p>\n<p>130.  Nkuagirira okutega : bw&#8217;olitta olimpa (= n&#8217;oleeta omwange)?   <\/p>\n<p>131.  Nkumanyi muze : takuganya (= takulinda) kwetonda  <\/p>\n<p>132.  Nkusalidde ga nkolwa  <\/p>\n<p>133.  Nkusuulidde mwoyo :  <\/p>\n<p>134.  Nkutabadde : omunafu atabaala omulima  <\/p>\n<p>135.  Nkutaddeko abiri : ow&#8217;ettulu g&#8217;ateeka ku basengezzi  <\/p>\n<p>136.  Nkutuse buyiso : sikyadda mu ssasa  <\/p>\n<p>137.  Nkuwawaabidde : takuviirako awo  <\/p>\n<p>138.  Nkuwe nkuwadde) ekyanya : ow&#8217;amalibu ky&#8217;awa ennoga (= akiwa ennoga)  <\/p>\n<p>139.  Nkuyita okulaba : nga ow&#8217;amalibu asanze bafumba ebikongo  <\/p>\n<p>140.  Nkuyigiriza okutega &#8211;  ( Nkulagirira okutega: )   <\/p>\n<p>141.  Nkuyiire nkuwe akanyama akabisi owuute otuzzi  <\/p>\n<p>142.  Nkwane ono nkwane : talema kugwa mu kabi  <\/p>\n<p>143.  Nkwatanyekwatanye : Kalambi ne Bbira  <\/p>\n<p>144.  Nkwatiraako : si bumbowa (= tafuuka mumbowa)  <\/p>\n<p>145.  Nkwegaanyi : omuggo akwekwesa  <\/p>\n<p>146.  Nkwesambye : Nnasswi mugalabi  <\/p>\n<p>147.  Nkwesiga : omukazi munafu yeesiga nnyazaala we  <\/p>\n<p>148.  Nkwetegule : ejjanzi lyetegula muzadde  <\/p>\n<p>149.  Nkwettire : amasanda gettira enswera  <\/p>\n<p>150.  Nkyatudde ku mmere ya baze  <\/p>\n<p>151.  Nnaabalira ku lugoye : entungule ziwubira  <\/p>\n<p>152.  Nnabaana bangi : eggobe ntitti (= ttitti)  <\/p>\n<p>153.  Nnabe-ffulula-biswa  <\/p>\n<p>154.  Nnabe zzisa : ng&#8217;ekiti ky&#8217;embazzi ekizisa ginnaakyo  <\/p>\n<p>155.  Nnaabikyusa : ng&#8217;omuganzi aloopa (banne)  <\/p>\n<p>156.  Nnabugwamu : ng&#8217;ow&#8217;e Ssambwe  <\/p>\n<p>157.  Nnabwekomba : nga kadduubaale asebeya  <\/p>\n<p>158.  Nnabyejeeguula ng&#8217;enswa : tennaba kutuuka gy&#8217;egenda, ng&#8217;embugo esuula  <\/p>\n<p>159.  Nnabyejeeguula : ng&#8217;omuwuulu agaba nsimbi  <\/p>\n<p>160.  Nnabyewanga : ng&#8217;akaliga akaliira mu nte  <\/p>\n<p>161.  Nnaafiira ku kinene &#8211; &#8211; ( Ndifiira ku kinene: ) Rowl  <\/p>\n<p>162.  Nnaagazina dda : ye agenda nago (= nga tagayinze)  <\/p>\n<p>163.  Nnagenda ne kye bannambye (=&#8211; bakuwammye) : ng&#8217;enuneeme etodde  <\/p>\n<p>164.  Nnaggerenjula : bw&#8217;akuyita okulya akugeyera emmere  <\/p>\n<p>165.  Nnaggerenjula : ng&#8217;eddimi ly&#8217;enjala  <\/p>\n<p>166.  Nnaagunywanga ne nsulayo : nga gy&#8217;agunywedde gy&#8217;akwanye  <\/p>\n<p>167.  Nnagutta : n&#8217;alindyamu olukwe  <\/p>\n<p>168.  Nnajja kulaba nnyabo : bw&#8217;atambula (= atuuka) abuna ekyalo  <\/p>\n<p>169.  Nnajja n&#8217;ebyange : bitanga ayonzesa mbuga  <\/p>\n<p>170.  Nnajja n&#8217;ebyange : ne binyiriza embuga  <\/p>\n<p>171.  Nnajja okumala : tamala mbale  <\/p>\n<p>172.  Nnajjukiranga ne nseka : nga si ggwe bakigambye  <\/p>\n<p>173.  Njakablito teyeesigwa  <\/p>\n<p>174.  Nnaakalyako ani? : abula gw&#8217;akkusa  <\/p>\n<p>175.  Nnakamwa ntette : ng&#8217;ageya gw&#8217;ayita naye  <\/p>\n<p>176.  Nnakamwa ntette : ye yabuulira nnyini ttooke, nti ettooke ly&#8217;emmanju lyenge-dde  <\/p>\n<p>177.  Nnakapanka : ng&#8217;omukazi akalakata nkumbi   nti osiimuulako ki? kuliko ttaka? <\/p>\n<p>178.  Nnakatandaggizi : talera wa mugumba  <\/p>\n<p>179.  Nnakatintigiri : ng&#8217;omuzaana adduka obuko  <\/p>\n<p>180.  Nnakawangiza-nkoto : ng&#8217;omukazi aloota ennoma ezirawa  <\/p>\n<p>181.  Nnakawere akankana : ng&#8217;alabye amuweereza  <\/p>\n<p>182.  Nnakawuka : we kagwa mu nvubo amansula  <\/p>\n<p>183.  Nnakikubye : tatuuka ku nsonga  <\/p>\n<p>184.  Nnakkwale tanfuga : nga si mugole we  <\/p>\n<p>185.  Nnakubyejuula : ng&#8217;omusanvu gw&#8217;oku nju   ne nnyinimu gumukuba<\/p>\n<p>186.  Nnakuddamu ntya, jjo? : bw&#8217;akukwata takuta (or: akusiba   akunyweza)<\/p>\n<p>187.  Nnaakukomeka effumu : omukadde akomeka luggi  <\/p>\n<p>188.  Nnakula sibbye  <\/p>\n<p>189.  Nnaakuliriranga : ebiwaata ngululu (= mawaata ngululu)  <\/p>\n<p>190.  Nnaakuloga empyangira : kabootongo z&#8217;aloga omuluvu  <\/p>\n<p>191.  Nnaakumala amamiima : nnabanfuddu ge yamala nnabbubi  <\/p>\n<p>192.  Nnakumanyanga : eyakumanyanga bw&#8217;avaawo, ekkubo liziba  <\/p>\n<p>193.  Nnaku musana &#8211; &#8211; ( Ennaku mufunza: )    <\/p>\n<p>194.  Nnaakussa ekkande : nti kasooli wa kuno tayera awunda awo, ng&#8217;ogwa nna- kande kusaawa  <\/p>\n<p>195.  Nnaakuyigiriza ag&#8217;enkolwa  <\/p>\n<p>196.  Nnaku z&#8217;abato : n&#8217;atazaala akuba  <\/p>\n<p>197.  Nnaku za mbwa : n&#8217;atagifuna aboggoza  <\/p>\n<p>198.  Nnakyemalira : ng&#8217;engalo ensajja  <\/p>\n<p>199.  Nnaakyesaga : nga ttu ly&#8217;empande  <\/p>\n<p>200.  Nnakyeyitize : ng&#8217;ezzimu eggumba  <\/p>\n<p>201.  Nnakyeyombekedde gw&#8217;ayiisa : gwe gumusambya (= gumukubya)  <\/p>\n<p>202.  Nnalemwa ebbuzi okutuga : terintunuulidde? ( Anaalemwa ebbuzi: )   <\/p>\n<p>203.  Nnali nkirabye : enseenene eva ku mumwa gwa nsawo  <\/p>\n<p>204.  Nnaalinnya : omukazi talinnya nnyumba n&#8217;egwa munyale  <\/p>\n<p>205.  Nnaaliira mtofu : ng&#8217;alina gy&#8217;aliira  <\/p>\n<p>206.  Nnalubamba : ng&#8217;amatu g&#8217;omulwadde  <\/p>\n<p>207.  Nnalubwa : tagenda gy&#8217;atuuka  <\/p>\n<p>208.  Nnalukalala : muzira asegulirwa mu kkubo  <\/p>\n<p>209.  Nnalukoola : all mu kibira   amayu gaggya<\/p>\n<p>210.  Nnalulaba : y&#8217;alaba embiriizi z&#8217;ekiswa  <\/p>\n<p>211.  Nnalumanya ne Saalumanya : ffenna mwe tugendedde  <\/p>\n<p>212.  Nnalwalwayo ajja n&#8217;ettu : akira Nnayanguwako  <\/p>\n<p>213.  Nnalwanjo : alya mu basenze abaggya, ng&#8217;emmere bajja nayo mu migugu  <\/p>\n<p>214.  Nnaalwayo : ng&#8217;omuweesi ayota omuliro  <\/p>\n<p>215.  Nnalwemanya : enseenene ebeera ku mumwa gwa nsawo  <\/p>\n<p>216.  Nnalwemanyidde : ng&#8217;omukadde (= ng&#8217;omunafu) atabaaza embazzi  <\/p>\n<p>217.  Nnaalya bibiri : y&#8217;ayombya ennyama  <\/p>\n<p>218.  Nnamaka abirye : afa enjala  <\/p>\n<p>219.  Nnamaka abirye : tawongera mwami  <\/p>\n<p>220.  Nnaamanyira ku ki ebigenda ekiro : nga ne Mukwenda yeetikka? ( Osoboleza wa ebigenda:     Ebigenda eldro: ) <\/p>\n<p>221.  Nnambaalaala : omwenge agunywa kisajja  <\/p>\n<p>222.  Nnampa-Idmalo : ng&#8217;ekkisa ly&#8217;embwa  <\/p>\n<p>223.  Nnampa-we-ngwa : ng&#8217;ekituuti kya mayiro  <\/p>\n<p>224.  Nnampa-we-ngwa : ng&#8217;envubu   ab&#8217;oku ttale bagibuuza omusolo, nti ndi wa nnyanja<\/p>\n<p>225.  Nnampa-we-ngwa : ng&#8217;omukatoliki atalina mudaali  <\/p>\n<p>226.  Nnamlira-zzibi : nti balo embogo yamutta   nti owange bw&#8217;azitta atyo<\/p>\n<p>227.  Nnamugalula : eyagalula ejjembe ly&#8217;enkoko, eribeera ku mutwe gw&#8217;embuzi n&#8217;eribeera ku kugulu kw&#8217;enkoko  <\/p>\n<p>228.  Nnamugenyi-mubi : y&#8217;asuza omulungi enjala  <\/p>\n<p>229.  Nnamulanda : ng&#8217;ekibere ky&#8217;embwa  <\/p>\n<p>230.  Nnamugereka : eyagereka amayembe ag&#8217;enkoko n&#8217;agaggya ku mutwe n&#8217;agassa ku magulu  <\/p>\n<p>231.  Nnamuldsa : ajjula emyungu n&#8217;emikonda  <\/p>\n<p>232.  Nnamulimi akutuse olwala  <\/p>\n<p>233.  Nnamungi tafumba : ayokya  <\/p>\n<p>234.  Nnamunnoona : ebbala erimu terimubuusa na nnyange  <\/p>\n<p>235.  Nnamunkanga tadduka buko : kubanga bw&#8217;osimba effumu n&#8217;ajja n&#8217;agwako  <\/p>\n<p>236.  Nnamunswa : alya ku nswa ze  <\/p>\n<p>237.  Nnamunye tamala kubala nnyumba : buli ezimbwa ng&#8217;agirinnyako  <\/p>\n<p>238.  Nnamunyi w&#8217;atubira : ) enkofu teyitawo   ) aali tatengejja (= ayisa mu lyato)<\/p>\n<p>239.  Nnamusava w&#8217;olumu : ) takusisa lunnyo   ) takusuuza ntula<\/p>\n<p>240.  Nnamusenga edda : effumu akwata lya nnembe  <\/p>\n<p>241.  Nnamwanjula : nsawo y&#8217;Abagwe  <\/p>\n<p>242.  Nnaamwatulira : abulako munywanyi we (= abulwako munne, = tabaako munne)  <\/p>\n<p>243.  Nnandiwunye mu kabwebwe?   <\/p>\n<p>244.  Nnangalongya : ng&#8217;atukula ogumu, agabanya ebiri  <\/p>\n<p>245.  Nnannimi-bbirye : ng&#8217;Omunyolo ow&#8217;oku muzibo  <\/p>\n<p>246.  Nnannyini kabya : tayasa, abumbirira  <\/p>\n<p>247.  Nnannyini kasooli : y&#8217;amuwa abaayi   bw&#8217;aba azikiriza, nti atuuse ekiryabaayi<\/p>\n<p>248.  Nnannyini kiggwa ye akiweebuula : anti ng&#8217;akiriiramu emmwanyi  <\/p>\n<p>249.  Nnannyini kitiko : akkuta kibisi (= bubisi)  <\/p>\n<p>250.  Nnannyini maka : y&#8217;agoonoona  <\/p>\n<p>251.  Nnannyinimu ayomba : nti newakubadde ewunya, nze empoomedde  <\/p>\n<p>252.  Nnannyinimu bw&#8217;atabaawo : ebikere bitemba enju (= beetemba enju)  <\/p>\n<p>253.  Nnannyini mufu : ye akwata awawunya  <\/p>\n<p>254.  Nnannyini mulimo : takeera kwota   <\/p>\n<p>255.  Nnannyini ndwadde, nkugamba nti siisulewo   nti leka kundwaza mwoyo<\/p>\n<p>256.  Nnanoga taba : ne mbulwa emmanvu  <\/p>\n<p>257.  Nnantabuulirirwa : alisaabala obw&#8217;ebbumba  <\/p>\n<p>258.  Nnantabwaza (= nnantabweyaliza) : akuba mu ly&#8217;enkejje obusomyo (okunyu- nyunta eggumba lyayo)  <\/p>\n<p>259.  Nnantagambirwa muka-sse : aligambirwa nnyina  <\/p>\n<p>260.  Nnantagambwa kabi : ng&#8217;ekkubo erigenda mu ffumbiro (= ng&#8217;ekkubo ly&#8217;omu kiyungu)  <\/p>\n<p>261.  Nnantaganyula : ng&#8217;omunafu omugumba  <\/p>\n<p>262.  Nnantaggwa buto : ng&#8217;akafuba k&#8217;ennyonyi   ak&#8217;enkulu n&#8217;ak&#8217;ento babubaaza bumuli<\/p>\n<p>263.  Nnantaggwa buto : ng&#8217;ekifuba ky&#8217;ennyonyi   baagizaala ku Myanga na kaakati bakibaagisa kamuli<\/p>\n<p>264.  Nnantaggwa malambula : ng&#8217;omukwano gw&#8217;olusuku  <\/p>\n<p>265.  Nnantakiika : nti embuga egabula baganzi (or: eby&#8217;embuga biriibwa baganzi)  <\/p>\n<p>266.  Nnantalabikalabika : ng&#8217;ekimuli ky&#8217;endaggu  <\/p>\n<p>267.  Nnantalaga : abula obwagaliro  <\/p>\n<p>268.  Nnanteebuuza : atema eteri ndagire (= atema eritali ddagire)  <\/p>\n<p>269.  Nnasajja : ng&#8217;omugga omufa ensonzi  <\/p>\n<p>270.  Nnasajja : ng&#8217;omugomo (= omuya) ogutta emmamba (= ensonzi)  <\/p>\n<p>271.  Nnasala ngatto : kwewonya maggwa  <\/p>\n<p>272.  Nnaasiwa mu (kaato) kange : asiwa mu ka bukuku  <\/p>\n<p>273.  Nnasuze lungaaya : asekera wa npenda nalwo  <\/p>\n<p>274.  Nnatta aga n&#8217;aga : embwa yagatta Nnamugonga  <\/p>\n<p>275.  Nnaatwala kalungi : mu kibira avaamu atyo  <\/p>\n<p>276.  Nnawalubwa : tagenda gy&#8217;atuuka  <\/p>\n<p>277.  Nnawolovu : tattirwa ku bbala limu  <\/p>\n<p>278.  Nnaayitanga ku lusozi : aboola ab&#8217;oluganda  <\/p>\n<p>279.  Nnaayitanga n&#8217;abagula : abayiisa gubaggwaako  <\/p>\n<p>280.  Nnazaala omu : kwewonya obugumba  <\/p>\n<p>281.  Nnazikuno ajeemera kabaka : ng&#8217;azimba Bunyolo  <\/p>\n<p>282.  Nnazze kulya : agenda njala  <\/p>\n<p>283.  Nneegendera : bw&#8217;afa omuliwa nga ggwe wamutuze  <\/p>\n<p>284.  Nneekutte ku mugongo gw&#8217;enjovu : sigenda kufa nnyanja  <\/p>\n<p>285.  Nnengejja nga olulimi lw&#8217;ekide  <\/p>\n<p>286.  Nneesittadde ku jjinja : ngudde ku lwayi  <\/p>\n<p>287.  Nneetambulira makubo gange  <\/p>\n<p>288.  Nnuma kigumba kyange : bwe bukodo  <\/p>\n<p>289.  Nnume tetinta ng&#8217;omugongo  <\/p>\n<p>290.  Nnyama ntono : okaayana eri mu ngalo (or: mu nkwawa)?   <\/p>\n<p>291.  Nnyina abaana bangi : eggobe ntitti  <\/p>\n<p>292.  Nnyini eka w&#8217;ataba : ebikere bitemba enju  <\/p>\n<p>293.  Nnyini ffumu : tasubwa nnyama  <\/p>\n<p>294.  Nnyini kakomo : bw&#8217;akusaba, ossaawo mukono  <\/p>\n<p>295.  Nnyini kamwa : y&#8217;akagerera ennoga  <\/p>\n<p>296.  Nnyini kiggwa (or ssabo) : y&#8217;akiweebuula  <\/p>\n<p>297.  Nnyini kitimba : tasubwa nnyama  <\/p>\n<p>298.  Nnyinimu akugoba : nti nnaasula mu bisegguusi?   <\/p>\n<p>299.  Nnyinimu atiibwa  <\/p>\n<p>300.  Nnyinimu w&#8217;atali : ebikere bitemba enju  <\/p>\n<p>301.  Nnyini mwana akubuulira : ko ggwe Bambuulira  <\/p>\n<p>302.  Nnyini nju w&#8217;atabeera &#8211; &#8211; ( Nnannyinimu bw&#8217;atabaawo: )   <\/p>\n<p>303.  Nnyoko abanga Omunyolo : n&#8217;akuzaala mu kika  <\/p>\n<p>304.  Nnyongereza teba ntono &#8211; &#8211; ( Ennyongereza: )   <\/p>\n<p>305.  Nnoonya akalungi : avaamu atyo  <\/p>\n<p>306.  Nnyonyi ntono : yeekemba byoya (= eyala byoya)  <\/p>\n<p>307.  Nnyweredde ng&#8217;akayinja ak&#8217;e Nnalubaale  <\/p>\n<p>308.  N&#8217;ojja olimba : nga limuyiseeko  <\/p>\n<p>309.  N&#8217;omugezi awubwa : omuweesi ekyamuzimbya ku kkubo kulagirirwa  <\/p>\n<p>310.  N&#8217;ow&#8217;emu : akoomera  <\/p>\n<p>311.  Nsambu nkadde : ekuliisa amaluma  <\/p>\n<p>312.  Nsambu y&#8217;ewala : ekuliisa kiro (= lwa ggulo)  <\/p>\n<p>313.  Nsambu y&#8217;ewala : temala njala  <\/p>\n<p>314.  Nsawo tebba : kya mukama waakyo  <\/p>\n<p>315.  Nsawo y&#8217;omukulu : tebula zziika (= tebulamu zziika)  <\/p>\n<p>316.  Nsawo ya mukulu wo : tekuterekera  <\/p>\n<p>317.  Nsaaze busaazi : nga gw&#8217;asabye amummye  <\/p>\n<p>318.  Nsekedde mu kikonde : ng&#8217;omuwuulu asikidde abataano  <\/p>\n<p>319.  Nseenene : nva lugendo  <\/p>\n<p>320.  Nsiba byange : amala ebyayi mu lusuku  <\/p>\n<p>321.  Nsiba-mbi : edibya mutere  <\/p>\n<p>322.  Nsibirwa : lw&#8217;efa lw&#8217;emanyika nnyiniyo  <\/p>\n<p>323.  Nsiko : teyomba  <\/p>\n<p>324.  Nsiko : etuyana kiro  <\/p>\n<p>325.  Nsimbi emu : tekuba nnyonyi  <\/p>\n<p>326.  Nsimbi emu : tennyombya   nga wa luganda y&#8217;agitutte<\/p>\n<p>327.  Nsimbi mbi : ewoomera mu kyasa  <\/p>\n<p>328.  Nsimbi tekubalirwa munno  <\/p>\n<p>329.  Nsimbi tezeeyamba : omutego azitega gumu  <\/p>\n<p>330.  Nsimbi : ziwoome  <\/p>\n<p>331.  Nsimbye bwanda obutavaamu  <\/p>\n<p>332.  Nsirikirirwa nfiirwa : bannyinaze babiri, enkoko emu!   <\/p>\n<p>333.  Nsisinkano teba &#8211; &#8211; ( Ensisinkano: ) Munno  <\/p>\n<p>334.  Nsobeddwa eka ne mu kibira &#8211; &#8211; ( Eka ne mu kibira: )   <\/p>\n<p>335.  Nsolo imenyi : bw&#8217;esula ku kyalo timwebaka  <\/p>\n<p>336.  Nsujju mbi : ekunamira ku lulyo gye yava  <\/p>\n<p>337.  Nsukusa ekulira ku kiteme  <\/p>\n<p>338.  Nsula mwange : omuwuulu y&#8217;amegga  <\/p>\n<p>339.  Nsumulula osuna : ebiyiika by&#8217;oyagala? ( Nsima otakula: )  <\/p>\n<p>340.  Nsuuta ani? : nga nsuuta omwana wa mwannyinaze, zooboota  <\/p>\n<p>341.  Nswa emu : ekira eddembwe  <\/p>\n<p>342.  Nswaswa eteyanula &#8211; &#8211; ( Enswaswa: ) Rowl  <\/p>\n<p>343.  Ntadde : omuti guta malagala  <\/p>\n<p>344.  Ntamala : nga agafumbwa mu kkobe  <\/p>\n<p>345.  Ntaama ngevvu : bw&#8217;ogirabako omukira nga ya mugagga  <\/p>\n<p>346.  Ntambaazi ya kinyomo : erinnya omuti nga yeetisse  <\/p>\n<p>347.  Ntambudde ssajja na mwana  <\/p>\n<p>348.  Ntamu nnyangu &#8211; &#8211; ( Entamu ennyangu: )    <\/p>\n<p>349.  Ntasumika bagitonda wabiri : olubugo nga balututte  <\/p>\n<p>350.  Ntegedde : ow&#8217;omumwa ategeera ng&#8217;awudde  <\/p>\n<p>351.  Ntegedde : y&#8217;amala abuuza  <\/p>\n<p>352.  Ntemera ku lwa jjo : tamiramira, akoowa  <\/p>\n<p>353.  Nte nsibe lw&#8217;efa : lw&#8217;emanyika (= lw&#8217;emanyibwako) nnyiniyo  <\/p>\n<p>354.  Ntetenkanyiriza ekonya obuto  <\/p>\n<p>355.  Ntudde entende : ng&#8217;omubbi ow&#8217;omu nju  <\/p>\n<p>356.  Ntudde kitebe &#8211; &#8211; ( Atudde kitebe: )    <\/p>\n<p>357.  Ntudde nkaabirwa : okutu gye kutuula ku mutwe    agandibadde emabega, gye kukuba embuga<\/p>\n<p>358.  Ntudde obukonge : Ndawula bwe yatuula e Kyebando  <\/p>\n<p>359.  Ntujjo nnungi ekusanga na ga lwayi  <\/p>\n<p>360.  Ntumwa : tefiira gye baagituma  <\/p>\n<p>361.  Ntuuse mu lyaffe eddemeezi : abula w&#8217;alya ekyemisana  <\/p>\n<p>362.  Ntuzza-liiso : ng&#8217;embwa ekubagiza ginnaayo  <\/p>\n<p>363.  Ntwalanga ku nkumbi ya nnyabo : asula tiyeebisse  <\/p>\n<p>364.  Ntya mu kibira : nga ekyamukangawo akimanyi  <\/p>\n<p>365.  Nva enkoto : nga ky&#8217;ayokya kiwedde  <\/p>\n<p>366.  Nva nnungi : tezirwa kugaga  <\/p>\n<p>367.  Nva za munyaga : ziriibwa wa mwoyo  <\/p>\n<p>368.  Nve nkoto &#8211; &#8211; ( Nva enkoto: )   <\/p>\n<p>369.  Nvuddeko bukumbu : ng&#8217;enkuyege bw&#8217;eva ku ggi  <\/p>\n<p>370.  Nvuma ne nvuma : tizaagalana  <\/p>\n<p>371.  Nzaala mbi : ekira obugumba  <\/p>\n<p>372.  Nzaala mbi : teweekula  <\/p>\n<p>373.  Nze embaga zantama : nga ne ky&#8217;ayambala   <\/p>\n<p>374.  Nze mpoza bitono : nga bya musigire  <\/p>\n<p>375.  Nze ndi kkubo lya mulimba : likala mmanju  <\/p>\n<p>376.  Nze ndi nseera bweru : bwe nsa bugenda n&#8217;embuyaga  <\/p>\n<p>377.  Nze nnakula sizannya : nga ayambadde olukadde  <\/p>\n<p>378.  Nze siyombayomba na nnanda zange &#8211; &#8211; ( Siyomba: )   <\/p>\n<p>379.  Nziddemu nziddiddemu) mu bisolo byange : nga mulimu n&#8217;ez&#8217;embuga  <\/p>\n<p>380.  Nzigyeyo omwoyo : ng&#8217;asotta emmere y&#8217;embwa  <\/p>\n<p>381.  Nzira galeekaana : ate ayiisa mwenge  <\/p>\n<p>382.  Nziyako (= nzigyako) akajanja ak&#8217;omuddukizi w&#8217;omuliro<\/p>\n<p>&nbsp;<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Engero za Baganda eza &#8211; N\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; N &nbsp; 1. N&#8217;aganaafa : gasalirwa essubi 2. Nakamwa ntette &#8211; &#8211; ( Nnakamwa: ) 3. Nammwe mutuulanga bubi : gw&#8217;ayagala ye all ku ludda oluliko ekitono 4. Nangalongya (= Na-ngalo-ngya) &#8211; &#8211; ( Nnangalongya: ) 5. N&#8217;asirika amanya : ekikere bakibikira kwa kyeya [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[11],"tags":[],"class_list":["post-505","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-engero-za-baganda-luganda-proverbs"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/505","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=505"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/505\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":537,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/505\/revisions\/537"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=505"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=505"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=505"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}