{"id":504,"date":"2025-04-24T09:31:04","date_gmt":"2025-04-24T09:31:04","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/engero-za-baganda-luganda-proverbs-9\/"},"modified":"2025-04-24T09:31:09","modified_gmt":"2025-04-24T09:31:09","slug":"engero-za-baganda-eza-m-luganda-proverbs-prefix-m","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/engero-za-baganda-eza-m-luganda-proverbs-prefix-m\/","title":{"rendered":"Engero za Baganda eza &#8211; M\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; M\u00a0"},"content":{"rendered":"<h2>Engero za Baganda eza &#8211; M\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; M<\/h2>\n<p>&nbsp;<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-proverbs-engero.jpg\" alt=\"luganda proverbs engero\" \/><\/p>\n<p>1. Maddu ga ddenge : ofuuwa bw&#8217;okomba  <\/p>\n<p>2.  Maddu tigaggwaako mulamu  <\/p>\n<p>3.  Mafuta ga nte : gava mu nte ne gadda mu ddiba  <\/p>\n<p>4.  Mafumu ogabuulira eyali agalwanyeeko  <\/p>\n<p>5.  Magezi amaggye ku bugenyi : gaakubya Wakayima ku mutwe  <\/p>\n<p>6.  Magezi g&#8217;atagenze : kaakano baziruma ebirenge (= ebinuulo)  <\/p>\n<p>7.  Magezi g&#8217;omu : gaakisa Bigambo ku kkubo  <\/p>\n<p>8.  Magezi muliro : bwe gukuggwaako ogunona wa munno  <\/p>\n<p>9.  Magezi ntakke &#8211; &#8211; ( Amagezi ntakke: )   <\/p>\n<p>10.  magoma gavugira aliwo  <\/p>\n<p>11.  magulu ga ntungo : gasigala mu ssibiro  <\/p>\n<p>12.  Majja-nkunene : ng&#8217;enswa egoba ennyonyi  <\/p>\n<p>13.  Makoomi ga mwaka : n&#8217;omunafu akuma  <\/p>\n<p>14.  Makulane : ng&#8217;emmese esula omw&#8217;omunafu  <\/p>\n<p>15.  Makunale : ng&#8217;entanda eriko ekibya (or nva)  <\/p>\n<p>16.  Mala okulya : ava ku mmindi ya taba  <\/p>\n<p>17.  Mala okulya : enjuba temulinda  <\/p>\n<p>18.  Mala okulya : takubuulira kiri ku mmere  <\/p>\n<p>19.  Mala okulya : bw&#8217;ovaawo ye agamba, nti abadde amira ebitole  <\/p>\n<p>20.  Mala okulya : ye akugeyera emmere  <\/p>\n<p>21.  Malizi masajja : galira gavuumira (= gavuuvuuma)  <\/p>\n<p>22.  Maluulu ga kyalo : tegakusuuza bbuzi lyo  <\/p>\n<p>23.  Malya-nkolo : tegalagaana  <\/p>\n<p>24.  Mamu, maamu : gye migogo  <\/p>\n<p>25.  Mannyangwa : nga lumonde ow&#8217;omu kibanja  <\/p>\n<p>26.  Manyi ga nnabugi : gamukubya akyali muto  <\/p>\n<p>27.  Maanyi ga tulo : gava ku lukokola   bw&#8217;otofunyako tiweebaka<\/p>\n<p>28.  Manyiira ku mwoyo : ng&#8217;endeku ey&#8217;obulago  <\/p>\n<p>29.  Masannanzira : gatta omubuuza n&#8217;omubuuzibwa  <\/p>\n<p>30.  Masappanzira gatutabye : tatta wa ggwanga  <\/p>\n<p>31.  Masavu ga npaana : gasaala gakka kibira  <\/p>\n<p>32.  Masenge ga muyiisa : tegaggwaamu mwenge  <\/p>\n<p>33.  Maseeneeko : ng&#8217;okugulu kw&#8217;ejjenje  <\/p>\n<p>34.  Masika ngabo : tigalema  <\/p>\n<p>35.  Maaso amati : galamusa nnyinimu  <\/p>\n<p>36.  maso g&#8217;enjala : gatuukira mu lusuku  <\/p>\n<p>37.  maso mabi : tegayiwa tato  <\/p>\n<p>38.  maso matono : gasinga ebitangalijja  <\/p>\n<p>39. Matankane : ng&#8217;empale y&#8217;omuseveni   mpanvu si mpanvu, nnyimpi si nnyimpi<\/p>\n<p>40.  Mateerero : nti enkoko yange ebiika mu kyalo  <\/p>\n<p>41.  Matole manene : teganyaga nnyini mwana  <\/p>\n<p>42.  matu ga mubaazi : gawulira kya mbwa etwala ennyama yo   omusaba takuwa<\/p>\n<p>43.  matu tegasula njala  <\/p>\n<p>44.  Mavi ga mukulu : tigafukaamirira bwereere  <\/p>\n<p>45.  Mavumirizi : tegatta gwe beeyana ennyo  <\/p>\n<p>46.  Mawaggali : ng&#8217;eryambe ezziba  <\/p>\n<p>47.  Mawolu tegatta ntamu  <\/p>\n<p>48.  Mayanja assa bigere Lukumbi : ng&#8217;omutwe guli Sseguku  <\/p>\n<p>49.  Mayirikiti gatikkira kwa mwaka  <\/p>\n<p>50.  Maziga ga mmese : gajja na kamasu  <\/p>\n<p>51.  Maziga ga musota : gajja na muggo  <\/p>\n<p>52.  Maziribano : ng&#8217;omubi awonga   nti ekibi kigwana wala<\/p>\n<p>53.  mazzi masabe : tegaloga (= tegamala) nnyonta  <\/p>\n<p>54.  Mazzi matono : enkulu esooka okunywa  <\/p>\n<p>55.  Mbadde mpoza ogw&#8217;embwa : ng&#8217;endiga erinnya ennyumba  <\/p>\n<p>56.  Mbadde njagaliza embazzi : kibuyaga asudde  <\/p>\n<p>57.  Mbadde nnalwemanya : ng&#8217;omunafu (= omukadde) atabaaza embazzi  <\/p>\n<p>58.  Mbayiiyira ndya : agabira w&#8217;ebweru   ng&#8217;ab&#8217;omu nju basula njala<\/p>\n<p>59.  Mbeera n&#8217;abiri : ne nnannyini nkoko nandimuleese  <\/p>\n<p>60.  Mbidde ky&#8217;ekutuma : togaana  <\/p>\n<p>61.  Mbijjukidde : omuwuulu enswa azimalira ku kiswa (= omuwuulu aziriira ku kiswa)  <\/p>\n<p>62.  Mbikyusekyuse : enjuba tegwa e Bulemeezi  <\/p>\n<p>63. mayiro ntono : zikira okwekweka (= okwekisa)  <\/p>\n<p>64.  Mboneredde : ) ali ku nkoomi   ) tata muze ) y&#8217;amala abikola<\/p>\n<p>65.  Mboozi ensuulane &#8211; &#8211; ( Emboozi ensuulane: )   <\/p>\n<p>66.  Mbuga ekwagala : ekira emitego gyonna  <\/p>\n<p>67.  Mbuga ekwagala : ekuzimbya ku lwazi  <\/p>\n<p>68.  Mbuga eramula  <\/p>\n<p>69.  Mbuga teba lusuubo  <\/p>\n<p>70.  Mbuga teba mmanga  <\/p>\n<p>71.  Mbuga terimba  <\/p>\n<p>72.  Mbuga tesiibulwa  <\/p>\n<p>73.  Mbuggubuggu : ng&#8217;amazzi g&#8217;ekiryo  <\/p>\n<p>74.  Mbugo mbi : zinyoomerwa ku katale  <\/p>\n<p>75.  Mbuukire baaba w&#8217;abuukidde : kwe kumenyeka  <\/p>\n<p>76.  Mbuzi ekogga : nnyiniyo n&#8217;agisanga  <\/p>\n<p>77.  Mbuzi lw&#8217;efa : lwe bamanya nnyiniyo  <\/p>\n<p>78.  Mbuzi mulanga : amaziga bule  <\/p>\n<p>79.  Mbuzi nzadde &#8211; &#8211; ( Embuzi enzadde: )   <\/p>\n<p>80.  Mbwa ekira ente  <\/p>\n<p>81.  Mbwa etta na muyimbi  <\/p>\n<p>82.  Mbwa na ngo  <\/p>\n<p>83.  Mbwa nnyingi : ziwubya omusu  <\/p>\n<p>84.  Mbwa ya kkoligo : eruma agisemberedde  <\/p>\n<p>85.  Mbwa yange tebba : ng&#8217;eyise ku lwa taaba  <\/p>\n<p>86.  Mbwa zaafa : amagunju gayinaayina  <\/p>\n<p>87.  Mikono ffeeza  <\/p>\n<p>88.  Mimwa etoloba : ng&#8217;ageya bwe bajja  <\/p>\n<p>89.  Mirembe gye giseguza  <\/p>\n<p>90.  Mirembe ngalo : buli oguddawo gukira gunnaagwo  <\/p>\n<p>91.  Mirimu gya mu ttoggo : gikooya buli omu  <\/p>\n<p>92.  Miti gy&#8217;amayuuni : basimba bayegeekereza   bwe gikula ne gyesimba<\/p>\n<p>93.  Mivule giwaatula  <\/p>\n<p>94.  Mizimbo teekale  <\/p>\n<p>95.  Mmaali yatokomoka : agula nsuwa  <\/p>\n<p>96.  Mmandwa lwe bagisingira &#8211; &#8211; ( Emmandwa lwe: )   <\/p>\n<p>97.  Mmandwa mbi : evumaganya agisamirira  <\/p>\n<p>98.  Mmanya nnenda : nti abalenzi kaakano bazizza  <\/p>\n<p>99.  Mmanyi byonna : bbaluwa ebuna kyalo  <\/p>\n<p>100.  ememe eteebuuza : efubutula eggambo  <\/p>\n<p>101.  ememe katale  <\/p>\n<p>102.  ememe ya munno ky&#8217;eyagala, naawe ky&#8217;oyagala : nga mwagalana  <\/p>\n<p>103.  Mmere egulwa : kwe kugikolera ekisaakaate  <\/p>\n<p>104.  Mmere eyala mbuga : ye akozza omwami  <\/p>\n<p>105.  Mmere mbi : terumya njala  <\/p>\n<p>106.  Mmere yange enfudde ki? : ye akuyita kaliira  <\/p>\n<p>107.  Mmuguddeko ekiyiifuyiifu : omugole ky&#8217;agwa mu nkyakya  <\/p>\n<p>108.  Mmuteekerawo okugulu  <\/p>\n<p>109.  Mmwanyi emu &#8211; &#8211; ( Emmwanyi emu: )   <\/p>\n<p>110.  Mmwanyi gye weesiga &#8211; &#8211; ( Emmwanyi gye weesiga: )   <\/p>\n<p>111.  Mpa alwogerako  <\/p>\n<p>112.  Mpaka nnyingi : zikubya mukyawe  <\/p>\n<p>113.  Mpa kitakuusa : olusanja lubabula olulagala  <\/p>\n<p>114.  Mpa kikula kiwooma : wabula ettooke   ne bwe lyengera bw&#8217;olirya liba ddungi<\/p>\n<p>115.  Mpalakitale : ng&#8217;eddiba ly&#8217;emmere  <\/p>\n<p>116. magombe gazza : ng&#8217;embuzi eruma w&#8217;esula  <\/p>\n<p>117.  Mnde emu : eyiwa ekisero  <\/p>\n<p>118.  Mpa-nkuwange  <\/p>\n<p>119.  Mpaawo atabukuttira : ne nnyazaala wo abukuttira  <\/p>\n<p>120.  Mawo atagukuttira : ne nnyoko agutta  <\/p>\n<p>121.  Mpaawo magombe gazza &#8211; &#8211; ( Mpa magombe: )   <\/p>\n<p>122.  mperese : efa waaboyo mirembe  <\/p>\n<p>123.  Mesa ka mwana : ye mesa mbi  <\/p>\n<p>124.  Mpiima teseera : omwoyo gwe guseera (or: mugabi ye aseera)  <\/p>\n<p>125.  Mpola : amaanyi tigalya  <\/p>\n<p>126.  Mpolampola : eyiisa obusera  <\/p>\n<p>127.  Mlira byogere : ng&#8217;engalabi ya Nnyanzi  <\/p>\n<p>128.  mpulukutu za musota : ziwulira na muggo  <\/p>\n<p>129.  mungu : kkubira ball (= ekubira bali)  <\/p>\n<p>130.  unyiwunyi : eramusa (= alamusa) awaggale (= ziramusa)  <\/p>\n<p>131.  Mubaaga-zibi : abaaga lumu  <\/p>\n<p>132.   mubaana abangi (= mu bwana obungi) : timubula azza pnoma (= kalya nnoma)  <\/p>\n<p>133.  mubbi : aguza engalo  <\/p>\n<p>134.  Mubi azaalwa : ne bw&#8217;ozaala omulema tomusuula  <\/p>\n<p>135.  Mubi azitta : nga balungi balya  <\/p>\n<p>136.  Mubi nga Nsanja  <\/p>\n<p>137.  Mu butta : timubula mpulunguse  <\/p>\n<p>138.  Mu bwana obungi &#8211; &#8211; ( Mu baana abangi: ) Munno    <\/p>\n<p>139.  Muddo gwa luyiira : n&#8217;atalina mbuzi agwegomba  <\/p>\n<p>140.  Muddu akira mukazi  <\/p>\n<p>141.  Muddu awulira : y&#8217;alya n&#8217;omwami ekyenkya  <\/p>\n<p>142.  Muddu awulira : y&#8217;awangaaza amatu ge  <\/p>\n<p>143.  muddu awulira : y&#8217;atabaaza engule  <\/p>\n<p>144.  Muddu lw&#8217;abaaga &#8211; &#8211; ( Omuddu lw&#8217;abaaga: )    <\/p>\n<p>145.  Muddu talwewa : aluwa mukama we, nti omwami enkya anaagenda ku kibuga? (lusa)   <\/p>\n<p>146.  Mufumbya-gganda : tabalirira mutyabi (= tabalira basennya, = tasaasira bazaala)  <\/p>\n<p>147.  mugabi tiyeeseera  <\/p>\n<p>148.  Mugagga alina ebibye : yeeguyibwa  <\/p>\n<p>149.  Muganda w&#8217;asula ayonoona  <\/p>\n<p>150.  muganga tiyeeganga  <\/p>\n<p>151.  mugano gwa nswa : tiguleka mukadde waka (or: mu kyalo)  <\/p>\n<p>152.  Muganzi atona bibbe  <\/p>\n<p>153.  Muganzi lw&#8217;azza : naawe omukyawe lw&#8217;ocacanca  <\/p>\n<p>154.  Mugenda mulimbagana : nga muli balungi beereere  <\/p>\n<p>155.  Mugenyi ajja n&#8217;essawo lye : tosooka kumugeya  <\/p>\n<p>156.  Mugenyi amanya lijja : nga wa nsumika mbi  <\/p>\n<p>157.  mugenyi asooka : y&#8217;ayita banne emigulungu  <\/p>\n<p>158.  Mugenyi tamala zenkana awo  <\/p>\n<p>159.  Mugeyi takwaza  <\/p>\n<p>160.  mugezi awubwa : amatu tigawulira vvumbe  <\/p>\n<p>161.  Mugoba taluma ggumba  <\/p>\n<p>162.  Mugobya ne mugobya : basisinkana Kijonjo  <\/p>\n<p>163.  Mugonza kunyaga : tagonza mbiro? One who is inclined to rob : is he not also inclined to be quick? If he is not, he will be caught  <\/p>\n<p>164.  Mugya-ndibu : si ye agimala  <\/p>\n<p>165.  jagujagu nga kabwa : tekannazibula nga kasitama  <\/p>\n<p>166.  Mujogoolikana : ng&#8217;abasomosa obuliga  <\/p>\n<p>167.  Mukaba nga kutu : tekunywa taaba ne kuleeta ebifeetete  <\/p>\n<p>168.  Mukaba taggya &#8211; &#8211; ( Omukaba: )   <\/p>\n<p>169.  Mukadde akwatira ku mmere ye  <\/p>\n<p>170.  Mukadde tamusuza : y&#8217;amutenda eggonjebwa  <\/p>\n<p>171.  Mukadde taseka : nga talabise amunyumiza binyuma (= nga tasanze amunyo- nyogera, = nga wabuze amunyonyogera)  <\/p>\n<p>172.  Mukadde wa muno tayomba : ng&#8217;obuziina bwe bw&#8217;abuleka bw&#8217;abusanga  <\/p>\n<p>173.  Muka Jita : muka Kasirye (or: Baka Jita : baka Kasirye)  <\/p>\n<p>174.  Muka mufiire : talema kujula  <\/p>\n<p>175.  Muka mwana tantya : ng&#8217;azaala mwami  <\/p>\n<p>176.  Muk&#8217;omubumbi : aliira mu luggyo  <\/p>\n<p>177.  Muk&#8217;omuwuulu : tabaako matu   <\/p>\n<p>178.  Muk&#8217;omuwuulu : taba n&#8217;abiri  <\/p>\n<p>179.  Muk&#8217;omwavu : talondwa  <\/p>\n<p>180.  Mukazi agumira ku nkumbi  <\/p>\n<p>181.  Mukazi muggya : kabugo kakadde   tekabulamu nsekere<\/p>\n<p>182.  Mukire mukire : ow&#8217;enda akira ow&#8217;entumbi  <\/p>\n<p>183.  Mukkuto tigusomoka mugga  <\/p>\n<p>184.  Mukoddomi tambula : ng&#8217;embiro mmwembi muzenkanya  <\/p>\n<p>185.  koloze tafa njala : ng&#8217;ali gye batamwagala, nti olukolola ng&#8217;amira  <\/p>\n<p>186.  Mukome wano, tweyanguye : ng&#8217;omugenyi anaakyama (= akwatiddwa bubi)  <\/p>\n<p>187.  Muka omulamu : tafumbirikika  <\/p>\n<p>188.  ka omutabaazi : bw&#8217;aleka ekkata si bw&#8217;alisanga  <\/p>\n<p>189.  ka omuzira : bamutwala taliiwo  <\/p>\n<p>190.  Mukomye ku njokye : enfumbe timuliddeko  <\/p>\n<p>191.  Mukuba : olumbe lwamukuba  <\/p>\n<p>192.  Mukulu-atta-maka-ge  <\/p>\n<p>193.  Mukulu ndimutuma ki? : yeerabira ogw&#8217;okumufulumya ebweru ekiro  <\/p>\n<p>194.  kulu ne mukulu munne : nga kwa njala  <\/p>\n<p>195.  kulu takulira ma bbiri : endege tezivugira mu mazzi  <\/p>\n<p>196.  Mukulu talya nkanja : nga kwa kyengera  <\/p>\n<p>197.  Mukulu tava nnyuma &#8211; &#8211; ( Omukulu tava: )    <\/p>\n<p>198.  Mukulu teyeetikka : amuggya (= amuleetera) bunafu  <\/p>\n<p>199.  Mukulu wo bw&#8217;azaala : tokeera nkya   <\/p>\n<p>200.  Mukungubazi bonna bwe badduka ye ng&#8217;asigalawo  <\/p>\n<p>201.  Mulamu gwe bamianga : amufumbira gwa luvu  <\/p>\n<p>202.  Mulamu y&#8217;afuna  <\/p>\n<p>203.  Mulangira : tasuulibwa jjinja  <\/p>\n<p>204.  lekere ddala   katta-buteme si wa kuta nsiriba  <\/p>\n<p>205.  Mulere gwa Ssuuna : lumoonyere  <\/p>\n<p>206.  Mull bukwata : enkuyege n&#8217;enswa  <\/p>\n<p>207.  Mulimba asanga mukkiriza  <\/p>\n<p>208.  Mulimba nga jjembe : liva mu buziizi, nil nva Buvuma  <\/p>\n<p>209.  Mulimba takuza baana  <\/p>\n<p>210.  Muliraano gwokya bbiri  <\/p>\n<p>211.  Mulonzi tattibwa  <\/p>\n<p>212.  Mulumbaganyi ng&#8217;empalaata y&#8217;embuzi : okuleka omutwe ng&#8217;ekwata amaviivi  <\/p>\n<p>213.  Mulundira wala : alabira ku maanyi nga gamuterebuka  <\/p>\n<p>214.  Mulungi akunoba : enjala n&#8217;etegwa  <\/p>\n<p>215.  Mulungi alwa akayuka  <\/p>\n<p>216.  Mulungi na mulungi : wabulawo asinga  <\/p>\n<p>217.  Mulungi takuddukanya  <\/p>\n<p>218.  Mulungi tansukka : bye biwanga mu nguudo  <\/p>\n<p>219.  Mulwadde asosola y&#8217;agezza abalamu  <\/p>\n<p>220.  Mulwadde taggya &#8211; &#8211; ( Omulwadde taggya: )    <\/p>\n<p>221.  Mulwadde yanteganyanga : nga kw&#8217;otunula  <\/p>\n<p>222.  li-azzaawo (= lyazzaawo) : ng&#8217;enkuyege  <\/p>\n<p>223.  Mulya-kiro : buziba alaba  <\/p>\n<p>224.  lya-mmamba : aba omu n&#8217;avumaganya ekika  <\/p>\n<p>225.  Muli wa kiro : tasinda lubuto, asinda obudde  <\/p>\n<p>226.  Mulyazaamaanyi agutta ku ntumbwe  <\/p>\n<p>227.  Mulyazaamaanyi alya &#8211; ( Omulyazaamaanyi: )   <\/p>\n<p>228.  Mulyowa-nsozi : ye lw&#8217;alwala tezimulyowa  <\/p>\n<p>229.  Mu matu : temuli mazaana  <\/p>\n<p>230.   mbu : mwe muva eggye  <\/p>\n<p>231.  Mu mpafu temujja mulangira  <\/p>\n<p>232.  m w&#8217;akoma w&#8217;akwata : ensolosozi eruma atudde  <\/p>\n<p>233.  Mu muwafu : temujja mulangira  <\/p>\n<p>234.  Munafu addinnana &#8211; &#8211; ( Omunafu addinnana: )   <\/p>\n<p>235.  Munafu azaala mbwa : omulima balangira  <\/p>\n<p>236.  Munafu azaala mumbowa : ettooke lino walirya n&#8217;ani?   kasajja akukutte envuba<\/p>\n<p>237.  Munaku mmese : etegwa kirungi  <\/p>\n<p>238.  Munaatunda : nti nze nnaagula? ( Munno atunda: )    <\/p>\n<p>239.  Mungi atiibwa  <\/p>\n<p>240.  Mu ngo mulimu enunondo? ( Mu ngo temuli mmondo: )    <\/p>\n<p>241.  Mu ngo temuli mmondo  <\/p>\n<p>242.   munkyamu : mwe muva engolokofu  <\/p>\n<p>243.  Munnange, ommaze enviiri ku mutwe  <\/p>\n<p>244.  Munno atunda : nti nze ngula   nti ekimutunza okimanyi? <\/p>\n<p>245.  Munno bw&#8217;akukola : naawe bw&#8217;omukola  <\/p>\n<p>246.  Munno mu kabi : ye munno ddala  <\/p>\n<p>247.  Munnyu gwa vvu : bw&#8217;obulwa amazzi tolya  <\/p>\n<p>248.  Mu nnyumba temuba kkubo  <\/p>\n<p>249.  Mu nnyumba timubula mukadde : enkoko eyingira ekootakoota  <\/p>\n<p>250.  Musajja alumbwa : bw&#8217;ogenda okumulumba ogenda weenywezezza  <\/p>\n<p>251.  sajja awoomera ka  <\/p>\n<p>252.  Musajja lumonde : akulira ku mugwa  <\/p>\n<p>253.  Musajja munno lukolokolo : olusika nalwo lukusika  <\/p>\n<p>254.  Musajja munno : omuwerera akuwerera  <\/p>\n<p>255.  Musajja tabula : bw&#8217;olaba abuze, nga basse mutte  <\/p>\n<p>256.  Musajja w&#8217;akulira : ng&#8217;alabye bingi  <\/p>\n<p>257.  Musambirizi akira omutengu  <\/p>\n<p>258.  musango gwa ntamu : gubuulirwa n&#8217;omugenyi  <\/p>\n<p>259.  musenze alanda  <\/p>\n<p>260.  Musenze muggya : tanenyezebwa  <\/p>\n<p>261.  musira-nnumbu : tabaliriza zigwa mu mazzi (or: tabaliriza zigenda)  <\/p>\n<p>262.  musisi : tenza-ggulu  <\/p>\n<p>263.  Musisinkanye : omuti w&#8217;eggye okufumbirwa omunafu  <\/p>\n<p>264.  musogozi talya bidumo  <\/p>\n<p>265.  Mutagubya  <\/p>\n<p>266.  Mutaka : ggongolo  <\/p>\n<p>267.  Mutaka talya &#8211; &#8211; ( Omutaka talya: )    <\/p>\n<p>268.  Mutego gwa mki : ogugwako ng&#8217;olaba  <\/p>\n<p>269.  Muteekerawo okugulu &#8211; &#8211; ( Mmuteekerawo okugulu: )    <\/p>\n<p>270.  Muti gwa nnanga : ogukuba amabega, gtunala gwogera obulungi  <\/p>\n<p>271. a Mutikke talinda  <\/p>\n<p>272.  Muto anyumya ne muto munne  <\/p>\n<p>273.  Mutomi taweebwa kinene  <\/p>\n<p>274.  Mutongole kagumba &#8211; &#8211; ( Omutongole kagumba: )   <\/p>\n<p>275.  Mutongole mbuzi : zirundibwa wa kamwa   bw&#8217;otomugamba okujja okukola tajja<\/p>\n<p>276.  Mutongole ngabi : tekooyera  <\/p>\n<p>277.  Mutongole ngabi : ye eyitira ginnaayo ababi  <\/p>\n<p>278.  Mutongole tasalirwa ku lusuku  <\/p>\n<p>279.  Mutuula nnyo ensoobasoobanye : ng&#8217;ow&#8217;omuganzi atudde ku kkono  <\/p>\n<p>280.  Mutunda-bikadde : tatunda bbanja  <\/p>\n<p>281.  Mutwe gukiina : nnaloose ssebo akomyewo  <\/p>\n<p>282.  Muwa-butwa &#8211; &#8211; ( Omuwa-butwa: )    <\/p>\n<p>283.  Muwambi : si muguzi  <\/p>\n<p>284.  muwayira ku ngira : ewuwe tanyumya  <\/p>\n<p>285.  Muwendo mutono : bijanjaalo olya oyolesa  <\/p>\n<p>286.  Muwogo akaawa : akaayira akkuse  <\/p>\n<p>287.  Muwuulu alina entumbwe : ng&#8217;asula wa jjajjaawe  <\/p>\n<p>288.  Muyala akaayanira kulya  <\/p>\n<p>289.  Muyise tabaako wawe  <\/p>\n<p>290.  muyizzi agezza ttutuma  <\/p>\n<p>291.  muyizzi akumma : n&#8217;akunyumiza ennombe  <\/p>\n<p>292.  Muyizzi tafa &#8211; &#8211; ( Omuyizzi tafa: )   <\/p>\n<p>293.  Muzadde tagulwa &#8211; &#8211; ( Omuzadde tagulwa: )    <\/p>\n<p>294.  Muzibi alya akutte mu ngalo  <\/p>\n<p>295.  Muzibi w&#8217;amaaso alaba kiro : bw&#8217;omuyita ng&#8217;ayitaba ndaba  <\/p>\n<p>296.  Muzibu-azaala-mpanga  <\/p>\n<p>297.  Muzibu : ng&#8217;adduka yeeyagula  <\/p>\n<p>298.  Muzze bukwata &#8211; &#8211; ( Muli bukwata: )   <\/p>\n<p>299.  Muzzukulu eyatta Mukudde  <\/p>\n<p>300.  Mwagaza ekyoyoyo : Omuyima ky&#8217;ayagaza entungo  <\/p>\n<p>301.  Mwami akwagala : ye akuzimbya ne ku lwazi  <\/p>\n<p>302.  mwami alijja (= alidda) ddi? : ku ggwe kw&#8217;atuukira  <\/p>\n<p>303.  Mwami azaala bitooke  <\/p>\n<p>304.  Mwami ndimutuma ki? : bamukwatira mitala wa mugga (= musango gw&#8217;emi-tala), nti bayite omwami, ajje anzirukire  <\/p>\n<p>305.  Mwami, olidde kya nsonga : bw&#8217;avaawo akuyita ssikabindi (= ssika mild-ndi)  <\/p>\n<p>306.  Mwami tambula : oluvannyuma y&#8217;azza omusango embuga  <\/p>\n<p>307.  Mwami tatta : musaakiriza y&#8217;atta  <\/p>\n<p>308.  Mwami y&#8217;ankongoola : ente anyaga emu  <\/p>\n<p>309.  Mwana : ddagala  <\/p>\n<p>310.  Mwana ggwe, oli kasobeza : ng&#8217;omwana awoowooterwa nnyina  <\/p>\n<p>311.  Mwana mugimu : ava ku ngozi  <\/p>\n<p>312.  Mwana muwala kkoba lya mbogo : lyeggya lyokka mu bunnya  <\/p>\n<p>313.  Mwana muwala mutuba : atagusimba ye asubula  <\/p>\n<p>314.  Mwana na mwana : ng&#8217;omu tannakuba munne lubale  <\/p>\n<p>315.  Mwana omu : ) ajjula bijogo   ) alinga ekire ky&#8217;enkuba ekimu<\/p>\n<p>316.  Mwana wa munywanyi wange tagenda butalya : bye biwanga ebiri e Kitta-nte  <\/p>\n<p>317.  Mwana wange, mbagambira abali wansi, abali waggulu bawulira  <\/p>\n<p>318.  Mwana wange, nkubuulira : ejugumba n&#8217;emala ekona  <\/p>\n<p>319.  Mwana wange, olintuuza ku kasansa  <\/p>\n<p>320.  Mwana w&#8217;omulunnyanja &#8211; &#8211; ( Omwana w&#8217;omulunnyanja: )    <\/p>\n<p>321.  Mwana wa wanyenje : tafa mukka  <\/p>\n<p>322.  Mwangu y&#8217;atta enswa : ng&#8217;asanze kibuuka  <\/p>\n<p>323.  Mwannyina omubi : amwewereekererwa  <\/p>\n<p>324.  Mwannyina omulalu : w&#8217;akumuweera w&#8217;omutwalira  <\/p>\n<p>325.  Mwasa-ngabo : bw&#8217;ogiteekawo agifumita n&#8217;agyasa n&#8217;akwasa ekifuba  <\/p>\n<p>326.  Mwavu aluma &#8211; &#8211; ( Omwavu aluma: )   <\/p>\n<p>327.  Mwavu ayisa bukalu (= bukaba)  <\/p>\n<p>328.  Mwavu y&#8217;aleeta endiira  <\/p>\n<p>329.  Mwayombedde ki? : ye akuzza mu byaijo  <\/p>\n<p>330.  Mwaza-kinyumu : tayomba, abagenyi ne bwe boonoona buli kintu  <\/p>\n<p>331.  Mwebazizza bamalookooli  <\/p>\n<p>332.  Mwenkanonkano &#8211; &#8211; ( Omwenkanonkano: )    <\/p>\n<p>333.  Mweyogereze : takusuuza kayanzi ko  <\/p>\n<p>334.  Mwogeza-bboggo : emmundu aligyambalira  <\/p>\n<p>335.  Mwogeza-bboggo : ng&#8217;ayita na mbwa   nti eridde ki ndiwe (= okuliwa)? <\/p>\n<p>336.  mwogezi tatenda bibye  <\/p>\n<p>337.  Mw&#8217;otosula : tosaliramu bibya<\/p>\n<p>&nbsp;<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Engero za Baganda eza &#8211; M\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; M &nbsp; 1. Maddu ga ddenge : ofuuwa bw&#8217;okomba 2. Maddu tigaggwaako mulamu 3. Mafuta ga nte : gava mu nte ne gadda mu ddiba 4. Mafumu ogabuulira eyali agalwanyeeko 5. Magezi amaggye ku bugenyi : gaakubya Wakayima ku mutwe 6. Magezi g&#8217;atagenze : [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[11],"tags":[],"class_list":["post-504","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-engero-za-baganda-luganda-proverbs"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/504","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=504"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/504\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":536,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/504\/revisions\/536"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=504"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=504"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=504"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}