{"id":503,"date":"2025-04-24T09:31:04","date_gmt":"2025-04-24T09:31:04","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/engero-za-baganda-luganda-proverbs-8\/"},"modified":"2025-04-24T09:31:08","modified_gmt":"2025-04-24T09:31:08","slug":"engero-za-baganda-eza-l-luganda-proverbs-prefix-l","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/engero-za-baganda-eza-l-luganda-proverbs-prefix-l\/","title":{"rendered":"Engero za Baganda eza &#8211; L\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; L\u00a0"},"content":{"rendered":"<h2>Engero za Baganda eza &#8211; L\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; L<\/h2>\n<p>&nbsp;<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-proverbs-engero.jpg\" alt=\"luganda proverbs engero\" \/><\/p>\n<p>1. Kabaka afugira wala  <\/p>\n<p>2.  Kabaka akira oluganda  <\/p>\n<p>3.  Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda)  <\/p>\n<p>4.  Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba)  <\/p>\n<p>5.  Kabaka nnamunswa : alya ku nswa ze  <\/p>\n<p>6.  Kabaka nnyanja : etta n&#8217;atavuba  <\/p>\n<p>7.  Kabaka nnyanja : temanyiirwa  <\/p>\n<p>8.  Kabaka nnyondo : ekussa buzito  <\/p>\n<p>9.  Kabaka omuggya : agoba omukadde  <\/p>\n<p>10.  Kabaka tamanyi birungi : singa ekitoogo ky&#8217;afuusa olunyago  <\/p>\n<p>11.  Kabaka tatta : omusaakiriza y&#8217;atta  <\/p>\n<p>12.  Kabaka tayotebwa nga muliro  <\/p>\n<p>13.  Kabaka w&#8217;akuleka : si w&#8217;akusanga  <\/p>\n<p>14.  Kabamba-ggulu : ng&#8217;obwoya obw&#8217;omu kifuba  <\/p>\n<p>15.  Kabambaala : taganya nzige kusula  <\/p>\n<p>16.  Kabanda-majjwa : n&#8217;enkanaga azibuuka  <\/p>\n<p>17.  Ka bantende : asigaza misiwa  <\/p>\n<p>18.  Kabbiiri akira omutumba  <\/p>\n<p>19.  Kabbo ka muwala : kajja kajjudde, kaddayo kajjudde (ng&#8217;alina essimba)  <\/p>\n<p>20.  Ka beene : ng&#8217;akummye   we kenkana : ng&#8217;akuwadde<\/p>\n<p>21.  Kabeera kannya : kanditumaze  <\/p>\n<p>22.  Kabine abina abasajja banne  <\/p>\n<p>23.  Kabirinnage : obulungi bwamulobera okuwanvuwa  <\/p>\n<p>24.  Kabizzi kato : kasigulidde enkulu ekkolero  <\/p>\n<p>25.  Kabootongo asigira ennungu  <\/p>\n<p>26.  Kabuga ente : ensimbi aina emu (nti ente egwe)  <\/p>\n<p>27.  Kabugumire : ng&#8217;ensingo y&#8217;omunafu  <\/p>\n<p>28.  Kabula-bugyo : ng&#8217;omukazi ow&#8217;envuma  <\/p>\n<p>29.  Kabula butegero : ng&#8217;ow&#8217;obusa asala omunnyu  <\/p>\n<p>30.  Kabula we kalaga : bakatema ngalo (or lunwe)  <\/p>\n<p>31.  Kaabulindiridde : ng&#8217;ekinnya ekiri mu mulyango    bwe kitayasa nsuwa, kime-nya kugulu<\/p>\n<p>32.  Kaabulindiridde : ng&#8217;enkonge y&#8217;oku kkubo   bw&#8217;etekukuba magenda, ekukuba amadda<\/p>\n<p>33.  Kaabulindiridde : ng&#8217;omusanvu oguli ku nju   bwe gutakuba nnyinimu, ne gugi-ggala<\/p>\n<p>34.  Ka buwere : yawanguza Buvuma  <\/p>\n<p>35.  Kabuze n&#8217;empulutu : anti oluwande lw&#8217;ekiwuubiiro  <\/p>\n<p>36.  Kabwa kabbi : kagumya mugongo  <\/p>\n<p>37.  Kadduubaale tanfuga : nga si mugole wo  <\/p>\n<p>38.  Kafa omukkuto &#8211; &#8211; ( Akafa omukkuto: )   <\/p>\n<p>39.  Kaafuma : ng&#8217;ensawo ey&#8217;ekiwero   bw&#8217;egwa mu mugga, towonya kantu, byonna bitobera ddala<\/p>\n<p>40.  Kafumu ka muwunda : kafumitira eruuyi n&#8217;eruuyi  <\/p>\n<p>41.  Kagenda kalya : tikalaba nnaku  <\/p>\n<p>42.  Kagenderere ng&#8217;omukadde awuula (= akogga)  <\/p>\n<p>43.  Kagere kampadde : w&#8217;osanga nga balya  <\/p>\n<p>44.  Kaggwa ensonyi \ud83d\ude42 ng&#8217;omwana abba nnyina (= kitaawe)   ) ng&#8217;omukazi awoza ne bba ) ng&#8217;alya ne mulamu we enswa<\/p>\n<p>45.  Kaggwa ka ttovu : kasonsomolera ne gye katafumise  <\/p>\n<p>46.  Kaggye taba wabiri : ekitembe kissa lumu, wabula ekya Nnanteza  <\/p>\n<p>47.  Kagubiiru : nga mutwe gw&#8217;omusasi (= ng&#8217;ensikya y&#8217;omunafu)   gugenda gwetisse, ate gudda gwetisse (= gugendera mu nku ne guddira mu matooke)<\/p>\n<p>48.  Kagulumale : ng&#8217;omukazi alya n&#8217;abaddu  <\/p>\n<p>49.  Kagumba tekanyigirwa mu nnoga  <\/p>\n<p>50.  Kagumba weegoge : ng&#8217;emmere y&#8217;omulima  <\/p>\n<p>51.  Kajagira obuguzi : ddamu lye limugoba  <\/p>\n<p>52.  Kajjamni abalagadde ku bbwa  <\/p>\n<p>53.  Kakejje ntabula ku mbaga  <\/p>\n<p>54.  Kakerenda : kaava ku lubaya  <\/p>\n<p>55.  Kakowekowe kanda : katemereza ne we kataalye  <\/p>\n<p>56.  Kakoloboto Kabaka yamutuma okuwera ekisiibo : n&#8217;ate n&#8217;alya  <\/p>\n<p>57.  Kakulu asomba  <\/p>\n<p>58.  Kakulu : awo omy a ttooke  <\/p>\n<p>59.  Kakutungidde enkanamu : ng&#8217;ayomba n&#8217;ayonsa  <\/p>\n<p>60.  Kakyama mamera &#8211; ( Akaakyama: ) Munno  <\/p>\n<p>61.  Kakyali kansununwa : leka kaweze oluwombo  <\/p>\n<p>62.  Kalaba-njuki : y&#8217;addira omuliro  <\/p>\n<p>63.  Kalazaane : tekaggya buliika  <\/p>\n<p>64.  Kalema ka nsinjo : ekyuma kitema kinnaakyo  <\/p>\n<p>65.  Kaalengeera : ng&#8217;akakka k&#8217;abatabaazi  <\/p>\n<p>66.  Kaliba akendo : okalabira ku mukonda  <\/p>\n<p>67.  Kaliba kaki akalikugwa ku liiso? : ng&#8217;omunaku ayombye n&#8217;omwana wa boo- wo  <\/p>\n<p>68.  Kaliba kasajja : akuliisa engo  <\/p>\n<p>69.  Kakulu takulirwa : ekyuma tikikulira jjinja (= ennyondo tekulira jjinja)  <\/p>\n<p>70.  Kalifa aleka kalifa : ekiteme okulekawo ensukusa  <\/p>\n<p>71.  Kalimi ka mwewoze : kaweweera majja (= kajja kawewedde)  <\/p>\n<p>72.  Kalimi ka mwewozi : kwegonza   kajja ne sembera, nkubuuze<\/p>\n<p>73.  Kalimi ke keeru  <\/p>\n<p>74.  Kalimi-ngobya : nga Kanyolo ak&#8217;oku muzibo  <\/p>\n<p>75.  Kalifa abiri : olonda ejjinja nga kalaba  <\/p>\n<p>76.  Kalinnimi : ng&#8217;omuganzi aloo awolereza  <\/p>\n<p>77.  Kalonda : ng&#8217;omusiri gw&#8217;omunafu  <\/p>\n<p>78.  Kalulwe : ) nnantaliirwa mu nnyama   ) tabula ku nnyama omumyuka tabula ku mwami<\/p>\n<p>79.  Kalya amaggwa : ke kamanya bwe kagakyusa  <\/p>\n<p>80.  Kalya bugalula : ng&#8217;omumwa gw&#8217;emmandwa  <\/p>\n<p>81.  Kalya buguga : ng&#8217;ow&#8217;obusa atatereka bugenyi   nti baganda bo bwe balijja, oli- bafumbira ki? <\/p>\n<p>82.  Kalya kokka : keetenda okulya mpola  <\/p>\n<p>83.  Ka maanyi &#8211; kaliibwa na mbiro (= na ngabo)  <\/p>\n<p>84.  Kambayaaya kakaabya : nnamube olw&#8217;eggulo  <\/p>\n<p>85.  Kambe kaawaase : tekaggwako masanda  <\/p>\n<p>86.  Ka mbuukire baaba w&#8217;abuukidde : agwa mu ntubiro  <\/p>\n<p>87.  Kamegga enjovu : kenkana wa? ( Akamegga: ) III  <\/p>\n<p>88.  Kameze mu luggya : ng&#8217;osima? (akatiko) ( Asimba kasooli: )   <\/p>\n<p>89.  Kaami katono : okanyoomera (= okagayira) mitala wa mugga  <\/p>\n<p>90.  Kampwerenda : ng&#8217;ensimbi egula amaduudu  <\/p>\n<p>91.  Kamukago : okalya dda, kadda dda   ejjobyo liddira mu mutwe<\/p>\n<p>92.  Kamu, kamu : gwe muganda  <\/p>\n<p>93.  Kaamukuulo : embuzi ennume erya olw&#8217;eggulo, ng&#8217;eraba enjuba egwa ng&#8217;efu- ndikiriza  <\/p>\n<p>94.  Kaamukuulo : ng&#8217;ensambu ya kasooli  <\/p>\n<p>95.  Kamuli kansaze : nga ggwe okagoogodde (= okagogombodde)  <\/p>\n<p>96.  Kamunye nnamukwakkula  <\/p>\n<p>97.  Kamunye ow&#8217;empaka : y&#8217;akubya nnyinimu enduulu  <\/p>\n<p>98.  Kamunye w&#8217;agwa : ) tewabula luyoogaano   ) we waba olugambo<\/p>\n<p>99.  Kaamuwuube : ng&#8217;engalabi y&#8217;ekyengera  <\/p>\n<p>100.  Kamwa kabi : katta Siroganga (= kassa Siroganga)  <\/p>\n<p>101.  Kamwa kanfudde : ayomba n&#8217;ow&#8217;omuliraano  <\/p>\n<p>102.  Kamwa nga ggiira (= ng&#8217;eggiira) : aktunwesa omukyala  <\/p>\n<p>103.  Kamwenyumwenyu : embwa k&#8217;eseka mu luinbe lw&#8217;ente  <\/p>\n<p>104.  Kannabubwo : tikakirwa  <\/p>\n<p>105.  Kanaakuloopa : bw&#8217;okawa (= olumuwa) omwenge, kafuka ku mpagi  <\/p>\n<p>106.  Kanaakutanda : akuwa amazzi, ng&#8217;akulekera olwendo  <\/p>\n<p>107.  Kanaalusomba : ng&#8217;omuwuulu amuzza ku mmere  <\/p>\n<p>108.  Kanaaluzaaln : ng&#8217;omuwuulu amulisa ku mmere, y&#8217;azuula ekkovu  <\/p>\n<p>109.  Ka ndabe omusika : bw&#8217;alya azaala balongo  <\/p>\n<p>110.  Ka nduve (= ka nguve) ku ntono : ng&#8217;ow&#8217;ekibuga asanze (= ng&#8217;omuyala atuuse) we bafumba  <\/p>\n<p>111.  Ka ndye mmalewo : yeerabira olumbe  <\/p>\n<p>112.  Kaneene : ssala (= bunza) miya  <\/p>\n<p>113.  Ka nnananyi : mubbi tagenda na ndege  <\/p>\n<p>114.  Kange kakira kaffe  <\/p>\n<p>115.  Ka nguve ku ntono : ng&#8217;ow&#8217;ekibuga asanze we bafumba  <\/p>\n<p>116.  Ka nkuggye amaggwa  <\/p>\n<p>117.  Ka nkukyukire : omwana akyukira omulezi  <\/p>\n<p>118.  Ka nkutte kibwamo : wambwa ky&#8217;atta amagi  <\/p>\n<p>119.  Ka nkwasire : omusamaavu w&#8217;amannyo ayasira kasooli  <\/p>\n<p>120.  Ka nkwetegule : ejjanzi lyetegula mukazi muzadde  <\/p>\n<p>121.  Kannabwala : Omuyima k&#8217;akwata eminyira  <\/p>\n<p>122.  Kannantebya : ) ng&#8217;omubbi w&#8217;omunju   okumala okubba ate ne yeetaakiriza ) ng&#8217;omulubaale ow&#8217;okumpi kye yawulidde enkya, ky&#8217;alagula eggulo<\/p>\n<p>123.  Kano nno keewaniko ng&#8217;aka makobe : gabala waggulu ne gagenda kubala nnu- nda  <\/p>\n<p>124.  Ka nsale (wo) eggoye : omuwa-butwa y&#8217;alisalirawo Bubiro  <\/p>\n<p>125.  Ka-ntanyi kaggweerawo : kafumita-bagenge w&#8217;akufumitira w&#8217;omweggiramu  <\/p>\n<p>126.  Kanyinyiggi : omukazi omunafu k&#8217;akaaba mu lumbe  <\/p>\n<p>127.  Ka nzigyewo akabega : Lukoda Baluubu  <\/p>\n<p>128.  Kapa w&#8217;etali : emmese yeekola ebigenyi  <\/p>\n<p>129.  Kasakkya : n&#8217;ataayanike abuuza omusana  <\/p>\n<p>130.  Kaasa ttaka, nga ggw&#8217;osima? : kalisansulira mu ttaka?   <\/p>\n<p>131.  Kasala becca (= bekkya) : ng&#8217;Omunyolo akubagiza Omuganda  <\/p>\n<p>132.  Kasennya-nku ze yeetyabira : ze zimwokya  <\/p>\n<p>133.  Kasiru akulembera : kagezi n&#8217;ava oluvannyuma  <\/p>\n<p>134.  Kasiru y&#8217;asooka : kagezi ajja luvannyuma  <\/p>\n<p>135.  Kasita guwedde &#8211; &#8211; ( Guwedde mirembe: )   <\/p>\n<p>136.  Kasobeza nga kutu : tikunywa taaba ne kumala kuleeta ebifeetete  <\/p>\n<p>137.  Kasobeza ng&#8217;enneebaza y&#8217;omwavu : ajja akaaba bw&#8217;omuwa, nti onnanze ki ssebo? ( Omwavu taweeka: )  <\/p>\n<p>138.  Kasobeza ng&#8217;omubbi ow&#8217;omu nju  <\/p>\n<p>139.  Kasobeza ng&#8217;ow&#8217;ekiwalaata : atudde mu mulyango nga balya   ogamba nti mpozzi atunula eno, kazzi atunula mu nju gye balya<\/p>\n<p>140.  Kaaso ka mpanga : kalaba n&#8217;ekiro  <\/p>\n<p>141.  Kasookedde obirya (= kasooka mbirya) : leero toobisobole  <\/p>\n<p>142.  Kasooli alituyombya  <\/p>\n<p>143.  Kasooli w&#8217;e Ggomba : aliibwa na mbiro  <\/p>\n<p>144.  Kasolo akagenda (akanya) obwoya &#8211; &#8211; ( Akasuula obwoya: )   <\/p>\n<p>145.  Kasugga kagoba Idsambu : amazzi tigeerabira gye galaga  <\/p>\n<p>146.  Kaswa akam : bwe buzannyiro bw&#8217;endiga  <\/p>\n<p>147.  Kasiikuuzi akakubya emmomboze  <\/p>\n<p>148.  Kataggwa buto : ng&#8217;akafuba k&#8217;ennyonyi  <\/p>\n<p>149.  Katagirya : enkoko eribiika  <\/p>\n<p>150.  Kataligirya : erizaala  <\/p>\n<p>151.  Katangaala : kakira omuggyemu eriiso (= eriiso eriggyemu)  <\/p>\n<p>152.  Kateebulanya (= kubennanya) : ng&#8217;olutta ow&#8217;ettulu  <\/p>\n<p>153.  Kateegaya : ayingirira basajja banne  <\/p>\n<p>154.  Kateetemera : alifa olw&#8217;okubambira  <\/p>\n<p>155.  Kateeyanira : kafa omutego  <\/p>\n<p>156.  Kateezaala : tikaala  <\/p>\n<p>157.  Katikkiro yafa ndi Mugongo : nti kaakati oli muluusi? ( Okekkera ng&#8217;Omu- naawa: )   <\/p>\n<p>158.  Katiko ka mukyala : okakuba nnoga, nako kakukuba nvuba  <\/p>\n<p>159.  Kati onsanze : tokasikira mbazzi!   <\/p>\n<p>160.  Katonda akuwa nswa : ggwe okubirira?   <\/p>\n<p>161.  Katonda mbeera! : n&#8217;embiro naawe ng&#8217;otadde  <\/p>\n<p>162.  Katono : kazira mu liiso  <\/p>\n<p>163.  Katono keewaza : kakira eddene eddwadde (= erinafu)  <\/p>\n<p>164.  Katono ko (= akako) : kakira eddene erya munno  <\/p>\n<p>165.  Katubidde : ng&#8217;ow&#8217;ekirevu ageregeza  <\/p>\n<p>166.  Katula keebisse buka : naye mu mwoyo ng&#8217;ayogeza ekisa  <\/p>\n<p>167.  Ka tuwulire : asaabulula eriri mu kamwa  <\/p>\n<p>168.  Katyupya (= Kacupya) : ng&#8217;omunnyu ogukoza lumonde  <\/p>\n<p>169.  Kawakuzi : awakula ennombo ku bugenyi  <\/p>\n<p>170.  Kawuulu kagezi : kagenda okunywa ogw&#8217;obusogozi, nga kamaze okweyalira  <\/p>\n<p>171.  Kawuulu-ppumi : ng&#8217;omutwe gw&#8217;omunafu   gugendera mu nku, guddira mu ttooke<\/p>\n<p>172.  Kawummunta okw&#8217;enjala : okw&#8217;ekyengera aba mulambuzi  <\/p>\n<p>173.  Kawumpuli agenda : n&#8217;okuba misota?   <\/p>\n<p>174.  Kawundo ka mputtu &#8211; &#8211; ( Akawundo: )    <\/p>\n<p>175.  Kawunguko : ng&#8217;ow&#8217;enkedi mu nnimiro  <\/p>\n<p>176.  Kayaayu : olukaatula erinnya, keekuba ensiko  <\/p>\n<p>177.  Kayemba nnantabuulirirwa : alisaabala obw&#8217;ebbumba  <\/p>\n<p>178.  Kayindiyindi kalangudde ebijanjaalo  <\/p>\n<p>179.  Kayinja tekanyigirwa wamu na ttooke  <\/p>\n<p>180.  Kayisanyo : amalusu n&#8217;eddookooli  <\/p>\n<p>181.  Kayita pirya : ng&#8217;ow&#8217;obusa agoba akayaayu  <\/p>\n<p>182.  K&#8217;eoma : kamanywa mubambi  <\/p>\n<p>183.  Ke weerimidde : kakira mbegeraako  <\/p>\n<p>184.  K&#8217;ezaala : k&#8217;ekomberera  <\/p>\n<p>185.  Keezimbira : tikaba kato   bw&#8217;ogenda okukwata akasanke, ogenda osooba<\/p>\n<p>186.  Kiba kibi, kiba kikyo : gwe tikube ekyalo nga balangidde omukadde we &#8211; &#8211; ( Tekiibe kyalo:     Ebya kuno tebiisoboke: ) <\/p>\n<p>187.  Kibatto : ow&#8217;ennungu ku mayinja  <\/p>\n<p>188.  Kibaawo kimala : amaaso g&#8217;omulungi galoga enjala (= amaaso g&#8217;omuganzi gama- la enjala)  <\/p>\n<p>189.  Kibaawo kimala : ennyindo y&#8217;enkoko kye kyenyi  <\/p>\n<p>190.  Kibaawo : ng&#8217;ekibugo ekikuuma empindi  <\/p>\n<p>191.  Kibaaze : ) ng&#8217;eky&#8217;omwanisi wa taaba   ) ensekere ky&#8217;eyita mu kiwalaata<\/p>\n<p>192.  Kibi kigwana wala &#8211; &#8211; ( Ekibi kigwana: )    <\/p>\n<p>193.  Kibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa bugumu  <\/p>\n<p>194.  Kibula abuuza : ng&#8217;erigenda emugga  <\/p>\n<p>195.  Kibula buguzi : kiddira nnyinikyo  <\/p>\n<p>196.  Kibuyaga agwe mu lusuku : kamunye agwe mu nkoko  <\/p>\n<p>197.  Kidda walime  <\/p>\n<p>198.  Kiddimusi (= kiddumusi) : tekinyaga byenda  <\/p>\n<p>199.  Kidiba kidda wabookyo : essaaniko mu lusuku  <\/p>\n<p>200.  Kifa mukokko : ng&#8217;etonnya mu balaalo  <\/p>\n<p>201.  Kifa omusana : nkuba y&#8217;ekinnyulula  <\/p>\n<p>202.  Kifundikwa kirinsabira : tafuna bwami (or: ng&#8217;asubwa)  <\/p>\n<p>203.  Kigabo kikadde : akyagala yakissaako omuwambiro  <\/p>\n<p>204.  Kigambo si mutwalo : nga bakutumye gy&#8217;oyagala  <\/p>\n<p>205.  Kigaanira omuddu : (liba) bbwa lya mu mutwe  <\/p>\n<p>206.  Kigenda kudda wa? : bw&#8217;asanga bw&#8217;ayisa bwe kisanga, bwe kikola)  <\/p>\n<p>207.  Kiggweeso : nga ne gw&#8217;oyagala mw&#8217;agendedde (= agenze)  <\/p>\n<p>208.  Kigya n&#8217;abagya  <\/p>\n<p>209.  Kigobero : kikira obugenyi  <\/p>\n<p>210.  Kigomba kikira omwana  <\/p>\n<p>211.  Kigudde mu ndira : ekimonde ekinene mu maaso ga muwuulu  <\/p>\n<p>212.  Kigula engabo kiddawo : ng&#8217;eyagigula wa maanyi  <\/p>\n<p>213.  Kiguumaaza : ng&#8217;ente esula ku kyoto   bw&#8217;owulira efuuwa, nti ekuma muliro obudde okukya osanga vvu jjereere mu kyoto<\/p>\n<p>214.  Kiguumaaza : ng&#8217;ow&#8217;ettulu atemya  <\/p>\n<p>215. a Kigwa mu muliro : ng&#8217;embaala (= ng&#8217;ekiwojjolo)  <\/p>\n<p>216.  Kigwana gonja : nga bamuzaala mu Busiro  <\/p>\n<p>217.  Kigwo kya lwazi : bwe kitakumenya mukono, ne kikwasa omutwe  <\/p>\n<p>218.  Kijja omanyi &#8211; &#8211; ( Ekijja omanyi: )   <\/p>\n<p>219.  Kikere : ky&#8217;osammuza omuti, oluvannyuma okikwasako ngalo  <\/p>\n<p>220.  Kikira ennoma okulawa  <\/p>\n<p>221.  Kikira obusa : afumbirwa muggavu w&#8217;amatu  <\/p>\n<p>222.  Kikonde : kikuba all kum  <\/p>\n<p>223.  Kikonyogo : bakikasukira (= bakikanyugira) kulaalira ne kijja n&#8217;ekirimba  <\/p>\n<p>224.  Kilcoyo : tekiriisibwa maddu (= bw&#8217;okifumbya amaddu tokirya)  <\/p>\n<p>225.  Kikubuuseeko : ekyabuuka ku mugenyi omu  <\/p>\n<p>226.  Kikuffiriddeko : ng&#8217;endwadde y&#8217;enkoko  <\/p>\n<p>227.  Kikujjuko : ng&#8217;ow&#8217;ennungu ayita ku mayinja  <\/p>\n<p>228.  Kikulejje : ekigenda emug,ga n&#8217;emmindi  <\/p>\n<p>229.  Kikuuno : ng&#8217;olabye akukuunirako  <\/p>\n<p>230.  Kikwanguyira : ky&#8217;olya  <\/p>\n<p>231.  Kimala mpaka : kusirika  <\/p>\n<p>232.  Kimala okwola : bakikwasa engalo  <\/p>\n<p>233.  Kimaza bbiri (= nnya) : y&#8217;aliwa ogw&#8217;omugenyi  <\/p>\n<p>234.  Kimira mwoyo : ng&#8217;enkoko emira ensanafu  <\/p>\n<p>235.  Kimmanje : bwe kita (= okuta), ensuwa nga luggyo  <\/p>\n<p>236.  Kimpowooze : ng&#8217;ogw&#8217;amenvu  <\/p>\n<p>237.  Kimunkumunku : ng&#8217;omukira gw&#8217;endiga omuliire ku bijanjaalo  <\/p>\n<p>238.  Kimwa kya mugole : kijja ne siirye, kimala omuwumbo  <\/p>\n<p>239.  Kimwa-kitoole : ) ng&#8217;omukazi alya emmamba   ) ng&#8217;omusajja alya ebbumba<\/p>\n<p>240.  Kimyanku ye mugabe  <\/p>\n<p>241.  Kinaabataya (= kinaabasobeza) : ng&#8217;amatooke amatono   bw&#8217;ogalya omu, toga-mala bwe mugalya babiri simukkuta<\/p>\n<p>242.  Kinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja  <\/p>\n<p>243.  Kinaakulyako amenvu : kituukira ku kususa   olumala okususa ng&#8217;alya<\/p>\n<p>244.  Kinaataama : tekikomerekeka  <\/p>\n<p>245.  Kinaayokya nkimize  <\/p>\n<p>246.  Kinene kya nkukunyi : owanda mu ngalo amalusu n&#8217;olyoka okisitula  <\/p>\n<p>247.  Kinnanga : tekiggwaamu (= tikiggwaako) lumonde  <\/p>\n<p>248.  Kinnya kya mulyango : bw&#8217;otokigwamu mafuluma, okigwamu amayingira  <\/p>\n<p>249.  Kino kibatto : ow&#8217;ennungu ku mayinja  <\/p>\n<p>250. a Kino kiggweeso : nga ne gw&#8217;ayagala mw&#8217;ajjidde  <\/p>\n<p>251.  Kino kiggweeso : nga gw&#8217;ayagala agenze  <\/p>\n<p>252.  Kino kinyeenya magi! : ng&#8217;enkoko ebiika endege  <\/p>\n<p>253.  Kino kirungi : na kino kirungi  <\/p>\n<p>254.  Kinsanze n&#8217;oluku  <\/p>\n<p>255.  Kintabuli : amalibu n&#8217;omuzigo  <\/p>\n<p>256.  Kinyiigo tikiyuza lubugo  <\/p>\n<p>257.  Kinyoola mumwa : nga gw&#8217;ageya wa kumpi  <\/p>\n<p>258.  Kinyonyi kibi &#8211; &#8211; ( Ekinyonyi: )    <\/p>\n<p>259.  Kirabise ng&#8217;Abaseveni bangi bajja kuddayo mu maggye : kubanga amagatto ne kabuuti baabitunda  <\/p>\n<p>260.  Kirabwa abangi : omunafu alima ku kkubo  <\/p>\n<p>261.  Kiralire : wa ddalu tawulira  <\/p>\n<p>262.  Kiraza mwoyo : ng&#8217;ebbwa eridda mu nkovu  <\/p>\n<p>263.  Kiraza mwoyo : ng&#8217;omuwuulu ayimba, nti ndibula naye   nti simanyi alibula na wange? <\/p>\n<p>264.  Kirevu ntende : kyalekerera wante ne kikwata wambuzi  <\/p>\n<p>265.  Kireebereebe : ) ng&#8217;empagi ey&#8217;omu ddiiro   ) ng&#8217;amazzi g&#8217;omukonda gw&#8217;essu- nsa<\/p>\n<p>266.  Kiriba edda : mmese ya ku mutala  <\/p>\n<p>267.  Kiriba edda : bw&#8217;aliba akootakoota, alingoberera  <\/p>\n<p>268.  Kiridde obwami : ekyamusengusanga akyerabira  <\/p>\n<p>269.  Kiridde obwami : tabula muganda we (= tekibula anda zaakyo)  <\/p>\n<p>270.  Kiridde nnamube : omunaku lw&#8217;ayiga okulonda  <\/p>\n<p>271.  Kiri ewala : mnduzo (= mndo) y&#8217;ekireeta (= y&#8217;ekiggya)  <\/p>\n<p>272.  Kiriggwa jjo : ) tekikutunuza ng&#8217;alira   ) tekikuggyaako munno<\/p>\n<p>273.  Kiri mu bbanja : tekinunula mwana  <\/p>\n<p>274.  Kiri mulaala : ) teyeekolera luggi   ) omusigire teyeegulira ngabo<\/p>\n<p>275.  Kiri mu ttu : kimanyibwa nnyinikyo (= nnyiniryo)  <\/p>\n<p>276.  Kirinde kiggweeyo &#8211; &#8211; ( Linda kiggweeyo: )   <\/p>\n<p>277.  Kirindizo : ng&#8217;aga Lubuga  <\/p>\n<p>278.  Kirinsanga ewange : emmese efiira mu bunnya  <\/p>\n<p>279.  Kirintwala ekipaalo : nga ne gy&#8217;alikiggya amanyiiyo  <\/p>\n<p>280.  Kiro kyakulimbye ki? : y&#8217;akuzaaza olugambo lw&#8217;enkya  <\/p>\n<p>281.  Kiruyi kya muzaana : kiggwera ku mmere  <\/p>\n<p>282.  Kiryango kibi : ekiyingiza ababi n&#8217;abalungi  <\/p>\n<p>283.  Kiriibwa atabaala : tikifa busa  <\/p>\n<p>284.  Kiriibwa omukulu : tekibula nsaano  <\/p>\n<p>285.  Kiryoka embi : kye kiryoka n&#8217;ennungi  <\/p>\n<p>286.  Kisaala munyazi : nti nnyinikyo eyakifuna anaakaaba musaayi (= okukira ald-funa)  <\/p>\n<p>287.  Kisala obulungi : kye kikuwa embikka  <\/p>\n<p>288.  Kisasa : n&#8217;ataaweese aganzika  <\/p>\n<p>289.  Kisawo ky&#8217;ataliiwo : kijjula mayinja  <\/p>\n<p>290.  Kisaayire okitte : akirinda kwa mweya (= kwa kyeya)  <\/p>\n<p>291.  Kiseke kya munyumya : kijjula malusu  <\/p>\n<p>292.  Kisekwa abangi  <\/p>\n<p>293.  Kisenyi (= kyoto) : nnantayombooza  <\/p>\n<p>294.  Kiserebetu : ng&#8217;omukkuto gw&#8217;amenvu  <\/p>\n<p>295.  Kisiibule : omusota bwoya  <\/p>\n<p>296.  Kisige : tikigatta na nviiri  <\/p>\n<p>297.  Kisigula ennyana : kigiva mu kibeere  <\/p>\n<p>298.  Kisikirize (= ekisikirize) : kyeggamwamu musana  <\/p>\n<p>299.  Kisiimwa omuyise : omutwalirwa tasiima  <\/p>\n<p>300.  Kisinde kyo n&#8217;ekya munno gw&#8217;oyita naye : kye kimu  <\/p>\n<p>301.  Kisisinkana ataakitte : ng&#8217;omutamanyapnamba asanze omwenda  <\/p>\n<p>302.  Kisookondwe : bw&#8217;okifumbira mu nva, tozirya  <\/p>\n<p>303.  Kiiso kya mbuzi : kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi  <\/p>\n<p>304.  Kisosonkole (kya ggi) : bakisuula mu luguudo  <\/p>\n<p>305.  Kisugga kya munafu : kye kitema omulima enkizi  <\/p>\n<p>306.  Kitagenda : azaala abagenzi (= kizaala abagenyi)   ekikonde kisindika effumu<\/p>\n<p>307.  Kitaka talya : atereka buteresi  <\/p>\n<p>308.  Kita kitava ku ssengejjero : ye ya nkindo  <\/p>\n<p>309.  Kitaakule : kizimba mu lumuli  <\/p>\n<p>310.  Kitali kibbe : eggufa osuula mu mulyango  <\/p>\n<p>311.  Kitange mmulaba : tekirobera musibe kubomba  <\/p>\n<p>312.  Kitamu kya muyiga : omuguzi akyegaanagaana  <\/p>\n<p>313.  Kitasimbwa : kyajja ne mukoka, kimala kibala emyungu emingi (= kibala ebita)  <\/p>\n<p>314.  Kitatta yima : tekimumalako nte  <\/p>\n<p>315.  Kitembe kissa lumu : wabula Nnanteza, kye kyassa emirundi ebiri  <\/p>\n<p>316.  Kitentebere : ng&#8217;omusajja alya (= alega) ebbumba  <\/p>\n<p>317.  Kitentebere : ng&#8217;omusajja akubira nva ekifo  <\/p>\n<p>318.  Kitentegere : bw&#8217;okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda  <\/p>\n<p>319.  Kitentegere : we bakyagala we bakituuza ku musala  <\/p>\n<p>320.  Kiteezaala tekyala  <\/p>\n<p>321.  Kiti kya muwogo : gy&#8217;okisuula gye kimerera (= bakisuula obutadda ne kirokera)  <\/p>\n<p>322.  Kitonto(golo) : ggumbya ennyonyi  <\/p>\n<p>323.  Kitta nkimanyidde (= akimanyidde) : ennyanja etta muvubi  <\/p>\n<p>324.  Kitta engo : kigiyinga buzito  <\/p>\n<p>325.  Kituuliriro kimala enku n&#8217;amazzi  <\/p>\n<p>326.  Kitundu kya muwogo : bakisuulira butadda gye kimerera  <\/p>\n<p>327.  Kivu : kijjirira okuluma n&#8217;okutwalana  <\/p>\n<p>328.  Kiwaluko : tikinyaga byenda  <\/p>\n<p>329.  Kiwanga kya musenguse : kiva we bandikiziise, kigwa ku kubbo  <\/p>\n<p>330.  Kiweddeko abamanye : akiraza mumwa  <\/p>\n<p>331.  Kiweddeko endere  <\/p>\n<p>332.  Kiwola (= ekiwola) : bakikwasa ngalo  <\/p>\n<p>333.  Kiwooma magaaya : bw&#8217;oba okimize tokisesema  <\/p>\n<p>334.  Kiwombe y&#8217;eyiwa amata (ameeru)  <\/p>\n<p>335.  Kiwotoka tekyala : ) omukalo gw&#8217;embogo gugendera mu nkwawa   ) eddiba ly&#8217;engo balyesiba mu kiwato<\/p>\n<p>336.  Kibuuka lubona mawano  <\/p>\n<p>337.  Kiyenjeezi : kigya n&#8217;abagya  <\/p>\n<p>338.  Kiyiifuyiifu : omugole ky&#8217;agwa ku nkyakya  <\/p>\n<p>339.  Kiyini kibi : kijjukirwa malima  <\/p>\n<p>340.  Kiyiira omunaku : kigwa mu vvu   bazibumbira okufa, ziramira mu kyokero<\/p>\n<p>341.  Kiyirikiti kirinnyibwa buwaze : embwa bagikirinnyisa efudde  <\/p>\n<p>342.  Kiyita waggulu : otega wansi  <\/p>\n<p>343.  Kiyuuni kiriibwa omukulu : tekibulamu nsaano  <\/p>\n<p>344.  Kizeezengere : kitta wa mputtu  <\/p>\n<p>345.  Kizibu okulaba : ng&#8217;ekimuli ky&#8217;ekira (= ndaggu)  <\/p>\n<p>346.  Kiziribano : nga gonja omwokere musasa  <\/p>\n<p>347.  Kizzeeyo : mw&#8217;asiimira  <\/p>\n<p>348.  Kkomekkome : ng&#8217;erigenda emugga (= e Bubebbere)  <\/p>\n<p>349.  Kkomekkome omuzaalisa ku lubugo : bw&#8217;olaba ng&#8217;atutte olubugo, ng&#8217;omwana omu   bw&#8217;olaba ng&#8217;atutte embuzi, nga balongo<\/p>\n<p>350.  Kkonde vannyuma &#8211; &#8211; ( Ekkonde evannyuma: )   <\/p>\n<p>351.  Kkonkomi bbi &#8211; &#8211; ( Ekkonkomi: )   <\/p>\n<p>352.  Kkubo likozza  <\/p>\n<p>353.  Kkubo litemwa omukulu &#8211; &#8211; ( Ekkubo litemwa: )    <\/p>\n<p>354.  Kkubo ly&#8217;omulimba &#8211; &#8211; ( Ekkubo ly&#8217;omulimba: )   <\/p>\n<p>355.  Kkumi limn &#8211; &#8211; ( Ekkumi )    <\/p>\n<p>356.  Kkumi lya mpisi : n&#8217;obuto nga bugenda  <\/p>\n<p>357.  Koogera ekibi : ne katatuulira awo  <\/p>\n<p>358.  Kojjange ammanyi : ekikere kyasubwa omukira  <\/p>\n<p>359.  Kookolo bba mabwa  <\/p>\n<p>360.  Kola ng&#8217;omuddu : olye ng&#8217;omwami  <\/p>\n<p>361.  K&#8217;olya enkya : k&#8217;ogwa nako  <\/p>\n<p>362.  K&#8217;onooweeka : tokalinda kusaabaana ttosi (= kusaaba ttaka)  <\/p>\n<p>363.  Kope : ng&#8217;amasavu g&#8217;engabi  <\/p>\n<p>364.  K&#8217;osima : k&#8217;olya  <\/p>\n<p>365.  K&#8217;otonnaba kumwesa : k&#8217;otenda obwogi  <\/p>\n<p>366.  Kozo mpola, tumalirize : nga munda yanyiize dda  <\/p>\n<p>367.  Kubennanya : ng&#8217;olutta ow&#8217;ettulu  <\/p>\n<p>368.  Kubula mwana : kwesitukira  <\/p>\n<p>369.  Kufuuyira mbuzi mulere : sso nga teezine  <\/p>\n<p>370.  Kukaddiwa : kudda buto  <\/p>\n<p>371.  Kulaba binene : si kuwangaala  <\/p>\n<p>372.  Kulaba nsega ya museera  <\/p>\n<p>373.  Kulaba obukulu : akuteebeza Obunyolo  <\/p>\n<p>374.  Kulemberamu : akulega ntumbwe  <\/p>\n<p>375.  Kulika empewo y&#8217;enkya! Praise for (the work in the field during) the cold of the morning  <\/p>\n<p>376.  Kulumwetu : ng&#8217;ensekere emnga  <\/p>\n<p>377.  Kulya mungu : buteesokoola  <\/p>\n<p>378.  Ku mbuga ndivaako bwereere : ennyama anyaga ya vviivi embi   nti nno singa anyaze ennungi<\/p>\n<p>379.  Kumira mwoyo : ng&#8217;enkoko emira ensanafu  <\/p>\n<p>380.  Ku mumwa kuliko ekkubo  <\/p>\n<p>381.  Kunaaba kumirungusa : ng&#8217;ow&#8217;amalibu asanze bafumba emyungu n&#8217;ettooke  <\/p>\n<p>382.  Kunaabeera kubennanya &#8211; &#8211; ( Okubennanya: )   <\/p>\n<p>383.  Kunaaza mulungi mabega  <\/p>\n<p>384.  Kunguyiza : ng&#8217;omubbi owa mu nju  <\/p>\n<p>385.  Kunogola nsingo : ng&#8217;ow&#8217;ettulu alamusa ababiri  <\/p>\n<p>386.  Kuno kuseereza : ligenda mugga  <\/p>\n<p>387.  Kuno kwe kwaffe : takulaga gy&#8217;asula  <\/p>\n<p>388.  Kuno tekuli kabi : yeerabira ekigenyi  <\/p>\n<p>389.  Ku ntujjo : sikubula musiiwuufu  <\/p>\n<p>390.  Kuseka kamwenyumwenyu : embwa k&#8217;esekera mu lumbe lw&#8217;ente  <\/p>\n<p>391.  Kuseereza ligenda mugga  <\/p>\n<p>392.  Kusigalawo kuzirinda : ng&#8217;omwana w&#8217;omufu asaba ow&#8217;omulamu olubugo  <\/p>\n<p>393.  Kusooba si kubba  <\/p>\n<p>394.  Kusula kudda buto  <\/p>\n<p>395.  Kutta : kulimu ki? Killing? What good is in that? Referring to war or a skirmish  <\/p>\n<p>396.  Kutussako-akasiiso : ow&#8217;endali k&#8217;assa omukukumi  <\/p>\n<p>397.  Kuwala nswaswa ku lwazi  <\/p>\n<p>398.  Kuwerekera nsusso : owa busa bw&#8217;awerekera ab&#8217;ewaabwe  <\/p>\n<p>399.  Kuwoleza mukazi gye yanobera  <\/p>\n<p>400.  Kuyitaba wangi &#8211; &#8211; ( Okuyitaba: ) Rowl  <\/p>\n<p>401.  Kuyita kulaba ow&#8217;amalibu ng&#8217;asanze bafumba ebikongo  <\/p>\n<p>402.  Kuyitira mu biryo : ng&#8217;akwagaza olutalo  <\/p>\n<p>403.  Kuzaala kulimu ki? : nga gwe waza?la takuwulira  <\/p>\n<p>404.  Kuzaala kulungi : nga gwe wazaala akuwulira  <\/p>\n<p>405.  Kwa mwezi : baamuleka aale  <\/p>\n<p>406.  Kwana bangi : weesige batono  <\/p>\n<p>407.  Kwata n&#8217;owaayo : nga yasikira musikire  <\/p>\n<p>408.  Kwebaka kufa &#8211; &#8211; ( Okwebaka: )    <\/p>\n<p>409.  Kwe galaba : omugumba ku bba  <\/p>\n<p>410.  Kwegendereza : ng&#8217;ow&#8217;amayuuga ayita ku lutindo  <\/p>\n<p>411.  Kwe kuwamnya : ng&#8217;abulidde embiro   nti aligoba wa mmindi<\/p>\n<p>412.  Kwemmembekedde : ng&#8217;eya wakati  <\/p>\n<p>413.  Kwe nkuba omuggo  <\/p>\n<p>414.  Kwerinda si buti  <\/p>\n<p>415.  Kwetaganya : ng&#8217;akyawa gw&#8217;ayita naye  <\/p>\n<p>416.  Kwolera mri (= essalambwa) mu bunnya  <\/p>\n<p>417.  Kya bangi : ) kibuna ngalo   ) kijjula ngalo ng&#8217;olabye akwolesako ) kinoga (= kirondamu) nnawalubwa<\/p>\n<p>418.  Kyafa kirina ki? : nsawo y&#8217;omuwuulu  <\/p>\n<p>419.  Kyaffe babiri : bw&#8217;efa esula  <\/p>\n<p>420.  Kyajja na mazzi : ne kibala ennunda  <\/p>\n<p>421.  Kya kagambwa : ng&#8217;omuwuulu anaatuuma nnyinimu erinnya  <\/p>\n<p>422.  Kyakatuuka : tekibula mutengeetero (= mutengeeto)  <\/p>\n<p>423.  Kyakayiga bw&#8217;akuba engalabi : tayimbirira  <\/p>\n<p>424.  Kyakonye : tekiwulira muliro  <\/p>\n<p>425.  Kya kuba : tagaanira muggya we  <\/p>\n<p>426.  Kyakula ggala : ng&#8217;emmese esula omw&#8217;omunafu  <\/p>\n<p>427.  Kyakula ndaba : ennyanja etta omuvubi  <\/p>\n<p>428.  Kyakulumbye : tekizzikayo  <\/p>\n<p>429.  Kya kuno bwe kityo : avuma mwami  <\/p>\n<p>430.  Kyakuwangaaza : k&#8217;omere ejjobyo ku mutwe  <\/p>\n<p>431.  Kya kwambala : kitambye amagero  <\/p>\n<p>432.  Ky&#8217;aleeta : tokizzaayo  <\/p>\n<p>433.  Kyalemye : ng&#8217;omwana alemye nnyina okumubuulira  <\/p>\n<p>434.  Ky&#8217;aligamba : ndikikola  <\/p>\n<p>435.  Kyali ky&#8217;obulungi : kifuuka kya bubi  <\/p>\n<p>436.  Kyaliiro kya mmere : bakyagalira mu ddiiro  <\/p>\n<p>437.  Kya maanyi : kiriibwa na ngabo  <\/p>\n<p>438.  Ky&#8217;amukoze : enkoko ekikola baana baayo   ky&#8217;ejje ebazaale ng&#8217;ebafuula ntebe<\/p>\n<p>439.  Ky&#8217;amukubye : Kawuta akikuba ente mu lubiri  <\/p>\n<p>440.  Kya mummi : okiriira ku mwana  <\/p>\n<p>441.  Kyassanga : akomereza ndu  <\/p>\n<p>442.  Ky&#8217;atalabangako bwe kituuka : taldtegeera  <\/p>\n<p>443.  Ky&#8217;aterekera omulamu : tekivunda  <\/p>\n<p>444.  Kyazze : tekizzikaayo  <\/p>\n<p>445.  Kye banjagaza : bw&#8217;atabaala tadda  <\/p>\n<p>446.  Kye baanoonyezanga embazzi : kibuyaga asudde  <\/p>\n<p>447.  Kye bavumagana : kye balya  <\/p>\n<p>448.  Kyebonere : ng&#8217;amasavu g&#8217;engabi  <\/p>\n<p>449.  Kyebonere : ow&#8217;entumbi ng&#8217;ameze ebbango  <\/p>\n<p>450.  Kyegombe : tekirwa kubula (= kuggwawo)  <\/p>\n<p>451.  Kyejjusa : ng&#8217;eyakwana ow&#8217;amayuuga  <\/p>\n<p>452.  Kyekango : tikimanya muzira  <\/p>\n<p>453.  Kyekulumbaza sikirya : effa-mpewo ndiwa nnyinimu  <\/p>\n<p>454.  Kyemanyikiriza : ng&#8217;abaleeta omumbejja omubi  <\/p>\n<p>455.  Kyemanyikiriza : nga Munnabusiro omubbi   nti ndi ku Bbira awo<\/p>\n<p>456.  Kyemanyikiriza : ng&#8217;omulungi eyeetuuma Nnabiweke  <\/p>\n<p>457.  Kye ndikuwa olikwasaako ebbiri : akuwa lumonde wa bikuta  <\/p>\n<p>458.  Kye nkola bannange : saagala bakinkole   ng&#8217;omubbi bamubbye (or: ng&#8217;omu-sezi bamuseze)<\/p>\n<p>459.  Kinkubidde mu nnimiro : ) n&#8217;okubunga ng&#8217;obunga   ) ng&#8217;ezzimu eggumba<\/p>\n<p>460.  Kye nkulekera olyanga : bwe yeerabira ensawo, akoma mu luggya ng&#8217;agiddira  <\/p>\n<p>461.  Kye nkwagala : kin mu jjinja  <\/p>\n<p>462.  Kye nnalaba ewattu : sikitenda mu ddya  <\/p>\n<p>463.  Kyenyi kibi : tekirukirwa nkundulu   omala nga bambalikawo<\/p>\n<p>464.  Kyenyi ky&#8217;empumi : tekirukirwa nkundulu  <\/p>\n<p>465.  Kyenyi ky&#8217;omubi : kisabira omulungi amazzi  <\/p>\n<p>466.  Kyerabirwa mugambi : naye omugambibwa takyerabira  <\/p>\n<p>467.  Kyeresebwa : n&#8217;okiwa munno  <\/p>\n<p>468.  Kyereeta : ng&#8217;omususi w&#8217;amenvu  <\/p>\n<p>469.  Kyerondera : taba mubbi  <\/p>\n<p>470.  Kyeroopa : nga w&#8217;ettu ly&#8217;empande  <\/p>\n<p>471.  Kye sirya, mbuusa : omuyaayu ndaba ddiba  <\/p>\n<p>472.   Kyetta ng&#8217;eya zigoto : amayembe ezza mu kyenyi  <\/p>\n<p>473.  Kyetunda : ng&#8217;ow&#8217;ettulu asima enju  <\/p>\n<p>474.  Kye wajja okulaba, olyekkaanya : omunya gwekkaanya omunyale  <\/p>\n<p>475.  Kye walabye : kye kiba ekikyo  <\/p>\n<p>476.  Kye-walyanga : bw&#8217;olaba ennaku olekayo  <\/p>\n<p>477.  Kye wazadde : tekiba kibi  <\/p>\n<p>478.  Kye weetema olwadde : bw&#8217;owona tokiwa  <\/p>\n<p>479.  Kyeyagalire : bbwa lya njola  <\/p>\n<p>480.  Kyeyendere : bbwa lya njola   bwe likutanirira, tonyiiga<\/p>\n<p>481.  Ky&#8217;ofa togabye : Walumbe y&#8217;agaba (= akigaba, = akikugabira)  <\/p>\n<p>482.  Ky&#8217;ofuna oyagala : bwe kikudibirira (= bwe kikutamirira) oyita Katonda, nti Ayi Katonda, singa okinzigyeko!   <\/p>\n<p>483.  Kyogereko : tekirema kubaawo  <\/p>\n<p>484.  Ky&#8217;ojje obege : ng&#8217;oli ku bbiririvu  <\/p>\n<p>485.  Ky&#8217;okisa ewannyu : omulubaale y&#8217;akyogera  <\/p>\n<p>486.  Ky&#8217;okoze, enkoko &#8211; &#8211; ( Ky&#8217;onkoze: )   <\/p>\n<p>487.  Ky&#8217;olabako ky&#8217;obuuza? : nti Endiga yazaala bumeka?  <\/p>\n<p>488.  Ky&#8217;olaba omu : kikussa matenda (= makunga)  <\/p>\n<p>489.  Ky&#8217;olabye : gonja akiraba kwa njala  <\/p>\n<p>490.  Ky&#8217;oleka ennyuma : kye kikusinza  <\/p>\n<p>491.  Ky&#8217;olimba obuko : kye kibutta   ndikuttira enswa, ng&#8217;ekiswa kikotera<\/p>\n<p>492.  Ky&#8217;olyako omuddu : kye kikuseenyeza enviiri ku mutwe  <\/p>\n<p>493.  Ky&#8217;olyako omujjwa : kye kimuyombya  <\/p>\n<p>494.  Ky&#8217;omanyiira bwe kiba : emmese tetomera mpagi  <\/p>\n<p>495.  Ky&#8217;omanyiira bwe kiba : amaaso g&#8217;omunya tegafa munyale  <\/p>\n<p>496.  Ky&#8217;omanyiira tokitya : envubu tetya nnyanja  <\/p>\n<p>497.  Ky&#8217;omummi &#8211; &#8211; ( Kya mummi: ) ,   <\/p>\n<p>498.  Ky&#8217;onkoze, enkoko ekikola bwana bwayo : ky&#8217;ejje ebuzaale, ng&#8217;ebufuula ente- be yaayo  <\/p>\n<p>499.  Ky&#8217;osimba onaanya : ky&#8217;olyako ettooke  <\/p>\n<p>500.  Ky&#8217;oteebeza embazzi : kibuyaga asudde  <\/p>\n<p>501.  Ky&#8217;oterekera omuganzi : mukyawe y&#8217;akirya  <\/p>\n<p>502.  Ky&#8217;otobuulirako munno : ) enseko zikiyitako   ) emmese ekibba<\/p>\n<p>503.  Ky&#8217;otolya : okiwa banno ne bakirya  <\/p>\n<p>504.  Ky&#8217;otoolye kukkuta : okirekera abaana ne balya   nnasswi takwata ku nkejje<\/p>\n<p>505.  Ky&#8217;otoolye : tokigobako mbwa  <\/p>\n<p>506.  Ky&#8217;otomanyi bwe kiba : amazina ag&#8217;ekirevu olabira ku mmere  <\/p>\n<p>507.  Ky&#8217;otomanyi : matooke magoye   togamanyi muwendo<\/p>\n<p>508.  Ky&#8217;otonnalya : tokyesunga   ettooke balitutte kiro<\/p>\n<p>509.  Ky&#8217;otonnalya : tosooka kwasama  <\/p>\n<p>510.  Ky&#8217;otoowe mukulu : tokimulimba  <\/p>\n<p>511.  Ky&#8217;owa omutomi : olyako  <\/p>\n<p>512.  Ky&#8217;owola otudde : okibanja oyimiridde  <\/p>\n<p>513.  Ky&#8217;oyagala kikuseeza : Omunyolo amalibu gaamuttira olubimbi  <\/p>\n<p>514.  Ky&#8217;oyagala : okigundiza  <\/p>\n<p>515.  Ky&#8217;oyagala tekijja gy&#8217;oli : Nnabuzaana akwata Banyolo  <\/p>\n<p>516.  Ky&#8217;oyagala tekikwagala : gy&#8217;okuba olubuto, entumbwe ekubayo mabega  <\/p>\n<p>517.  Ky&#8217;oyagala tekikwagala : omwana wa mwannyoko akula nga nsujju  <\/p>\n<p>518.  Ky&#8217;oyagala tekikwagala : singa emmere esula mu ttama  <\/p>\n<p>519.  Ky&#8217;oyagaliza embazzi : kibuyaga asudde  <\/p>\n<p>520.  Kyuma kitya muweesi<\/p>\n<p>&nbsp;<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Engero za Baganda eza &#8211; L\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; L &nbsp; 1. Kabaka afugira wala 2. Kabaka akira oluganda 3. Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda) 4. Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba) 5. Kabaka nnamunswa : alya ku nswa [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[11],"tags":[],"class_list":["post-503","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-engero-za-baganda-luganda-proverbs"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/503","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=503"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/503\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":535,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/503\/revisions\/535"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=503"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=503"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=503"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}