{"id":496,"date":"2025-04-24T09:31:04","date_gmt":"2025-04-24T09:31:04","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/"},"modified":"2025-04-24T09:31:04","modified_gmt":"2025-04-24T09:31:04","slug":"engero-za-baganda-eza-a-luganda-proverbs-prefix-a","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/engero-za-baganda-luganda-proverbs\/engero-za-baganda-eza-a-luganda-proverbs-prefix-a\/","title":{"rendered":"Engero za Baganda eza &#8211; A\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; A\u00a0"},"content":{"rendered":"<h2>Engero za Baganda eza &#8211; A\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; A<\/h2>\n<p>&nbsp;<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-proverbs-engero.jpg\" alt=\"luganda proverbs engero\" \/><\/p>\n<p>1.  Ababiri babibira ebigambo : naye abasatu babisattula  <\/p>\n<p>2.  Abaddeko kizimu  <\/p>\n<p>3.  Abafugibwa ngabo : atannagikwatamu ye agitenda obwangu  <\/p>\n<p>4.  Abagagga n&#8217;abagagga baagalana : ekirevu kiyita ku bisige ne kigenda kyegatta n&#8217;enviiri eziri ewala  <\/p>\n<p>5.  Abaagalana tebafunda  <\/p>\n<p>6.  Abaganda bakaabira ekitali kyabwe : amaziga ne gajja  <\/p>\n<p>7.  Abaganda baakalya olumanyo : buli ajja nti Nkonge wuuyo  <\/p>\n<p>8.  Abaganda bamanyisa akataayonka  <\/p>\n<p>9.  Abaganda busa bwa mbogo : bukala kungulu, sso munda mubisi  <\/p>\n<p>10.  Abaganda kye bavuma kye balya  <\/p>\n<p>11.  Abaganda mwennyango : bagweyokya balaba  <\/p>\n<p>12.  Abaganda mwetooloola emiyagi : nti tuloga akafumbe  <\/p>\n<p>13.  Abaganda nswa engabo bazisuuliranga ku mabega  <\/p>\n<p>14.  Abaganda nswa : zeebikka kungulu  <\/p>\n<p>15.  Abaganda nswenke : kasukusuku tikalina nkuyege  <\/p>\n<p>16.  Abagenyi makondwe : agamu gasegulira gannaago  <\/p>\n<p>17.  Abakadde ka batabaale : nga talina wuwe   naye obanga alma, Abakadde bayinze<\/p>\n<p>18.  Aba-kali-buti baseka : naye aba-kali-maanyi bakaaba  <\/p>\n<p>19.  Abakazi ndagala nnamu &#8211; &#8211; ( Abalungi ndagala: ) p   <\/p>\n<p>20.  Abakondeere : bakwanya mikka  <\/p>\n<p>21.  Abakopi mayenje : gagwa walime  <\/p>\n<p>22.  Abakopi muwemba : bw&#8217;ogusaayira, kudda mulala  <\/p>\n<p>23.  Abakulu balya bulungi : ye agwa n&#8217;olusuubo  <\/p>\n<p>24.  Abakulu n&#8217;abakulu tibaleekaana : ) singa Nnamasole ayitiriza Mulere   ) ekigere we kifuluma kiwakanya kinnaakyo<\/p>\n<p>25.  Abakulu n&#8217;abakulu tibaseerana mukubi (nva) : nga za mazzi (= nga si za munnyu)  <\/p>\n<p>26.  Aba keno tebanjagala : nga ayambadde buzina  <\/p>\n<p>27.  Abala ennage : ava ku emu (ng&#8217;aweza omuwendo gw&#8217;ayagala)  <\/p>\n<p>28.  Abalamu baseesa gwaka  <\/p>\n<p>29.  Abalamu magoma : gavugira aliwo  <\/p>\n<p>30.  Abalenzi bagabega nga bagaaya : abaguliza omukazi  <\/p>\n<p>31.  Abalenzi, mugawe ebyala : nga w&#8217;atwala w&#8217;afunze  <\/p>\n<p>32.  Abali awamu : tibalema kuyomba  <\/p>\n<p>33.  Abalirira ekigula (= ekyagala) enkumbi : tawa munne ssooli ddene  <\/p>\n<p>34.  Abali wano : balwanira ebifo  <\/p>\n<p>35.  Abalungi mbwa ya nnamaaso : bw&#8217;etebba n&#8217;eyigga  <\/p>\n<p>36.  Abalungi ndagala nnamu : teziggwa mu lusuku  <\/p>\n<p>37.  Ab&#8217;amaanyi babiri : ennyumba emu  <\/p>\n<p>38.  Ab&#8217;amannyo amabi : Katonda b&#8217;awa ennyama  <\/p>\n<p>39.  Abaami basatu : entebe emu  <\/p>\n<p>40.  Abaana ab&#8217;omwavu : bakuza ab&#8217;omugagga  <\/p>\n<p>41.  Abaana ba Kintu : tibaggweerawo ddala (= tibaggwawo kufa)  <\/p>\n<p>42.  Abanaku bamanyagana : empologoma bw&#8217;erwala, ensiri y&#8217;erumika  <\/p>\n<p>43.  Abaana tebakkuse : ng&#8217;alabidde ku lulwe  <\/p>\n<p>44.  Aba n&#8217;ebingi ng&#8217;abimma : aba n&#8217;ebitono ng&#8217;abigaba  <\/p>\n<p>45.  Abangi babi kulya : naye ku mirimo balungi  <\/p>\n<p>46.  Abangi be batta ensonzi  <\/p>\n<p>47.  Abangi bwe bakusiima (= bakwebaza) : ng&#8217;olubimbi luweze  <\/p>\n<p>48.  Abangi tebawulira : wabula enkuba y&#8217;ebawuliza  <\/p>\n<p>49.  Abangi tibasiimira ddala  <\/p>\n<p>50.  Abangi : tiwabula atoma (= anyiiga)  <\/p>\n<p>51.  Abangi we basimba olunwe : we kyabikira  <\/p>\n<p>52.  Abantu balamu : bitooke bisalire   tibyekwekebwamu<\/p>\n<p>53.  Abantu balamu : omwennyango bagweyokya balaba  <\/p>\n<p>54.  Abantu balamu : tebeesigwa   Jjunju bamutebuka okutta Mayembe<\/p>\n<p>55.  Abantu magoma &#8211; &#8211; ( Abalamu magoma: )   <\/p>\n<p>56.  Abantu baseesa gwaka  <\/p>\n<p>57.  Abantu basiima bakyagaaya  <\/p>\n<p>58.  Abasajja mivule : giwaatula ne giggumiza  <\/p>\n<p>59.  Abasajja nsolo : ezimu zirya zinnaazo  <\/p>\n<p>60.  Abasajja ssubi : erimu lisiba linnaalyo (= buli erifuluma lisiba linnaalyo)  <\/p>\n<p>61.  Abasa n&#8217;abasa : abatasinrjana mka (= tibaseerana)  <\/p>\n<p>62.  Abatabaazi (or: ababaka) basula ku luba (= basula kumpi)  <\/p>\n<p>63.  Abataka abaagalana : be balima akambugu  <\/p>\n<p>64.  Abataka mbizzi : bakkuta ekiro  <\/p>\n<p>65.  Abataka nkwenge : gw&#8217;olya naye ye akutta  <\/p>\n<p>66.  Abataka tebeesigwa : omuntu enviiri z&#8217;azaalibwa nazo, bw&#8217;afa nga zivaako, ng&#8217;asigaza amannyo agaamera obukulu  <\/p>\n<p>67.  Abatongole bikya bya mbuzi : tibyegaana mugwa  <\/p>\n<p>68.  Abatono : balwanira mu ssanja  <\/p>\n<p>69.  Abayita ababiri bajjukanya (= bejjukanya) : enviiri zikulaga (= zikutegeeza) engo, bwe weesisiwala  <\/p>\n<p>70.  Abaziika abafu okumpi : be babaleetera okululuma  <\/p>\n<p>71.  Abeegeyera ku nsiko : be bawa abataka empoza  <\/p>\n<p>72.  Abeggami b&#8217;enkuba bagenze? : nkuwe erimonde lyo eddene  <\/p>\n<p>73.  Ab&#8217;ekika bita : bikoonagana  <\/p>\n<p>74.  Ab&#8217;emka ababiri : sibawala luga  <\/p>\n<p>75.  Abeera awawe tabulako ky&#8217;akola : ekirevu kizina kirabye emmere  <\/p>\n<p>76.  Abika atali wuwe : abika ayanjala engalo  <\/p>\n<p>77.  Abikka ebibiri : tabojja  <\/p>\n<p>78.  Abikka ku maddu : nti malako ompe eggumba   nti ogenda kulyambala mpogo? He barely hides his desire : (who says) finish off the meat and give me the bone (question) do you want to use it as an anklet? <\/p>\n<p>79. a Aboogezi abangi : batwala embwa mu katale  <\/p>\n<p>80.  Ab&#8217;oluganda baagalana : nga bombi bali mu ngoye (= nga bonna bali mu mwera)  <\/p>\n<p>81.  Ab&#8217;oluganda balimpolera : kazzi abola  <\/p>\n<p>82.  Ab&#8217;oluganda bita : bikoonagana ne bitayatika  <\/p>\n<p>83.  Ab&#8217;oluganda bwe bayomba : tossaawo kikyo  <\/p>\n<p>84.  Ab&#8217;oluganda n&#8217;oluganda tibaagalana : essanja lyokya ebitooke  <\/p>\n<p>85.  Ab&#8217;oluganda olaba nga basuulana embazzi : nga banaagikumma  <\/p>\n<p>86.  Ab&#8217;omugumu baba bakaaba : ng&#8217;ab&#8217;omuti baseka  <\/p>\n<p>87.  Abonaabona n&#8217;omulwadde : si ye amusikira   enswa tezibuukira mu mpampaga-ma<\/p>\n<p>88.  Abuulira alowooza : asirika akira  <\/p>\n<p>89.  Abumba mbi : assaamu n&#8217;ekibya  <\/p>\n<p>90.  Abutise amatama : nga nnyinimu abba  <\/p>\n<p>91.  Addinnana amawolu : y&#8217;agaggyako omukkuto (= y&#8217;agejjako)  <\/p>\n<p>92.  Afudde kituyu : ng&#8217;amenvu  <\/p>\n<p>93.  Afuna : aduula  <\/p>\n<p>94.  Afuna abangi : tayombera kalali  <\/p>\n<p>95.  Afuna eby&#8217;okuwola &#8211; &#8211; ( Funa eby&#8217;okuwola: ) Rub   <\/p>\n<p>96.  Afuuye ennombe : nga talagaanye na bayizzi  <\/p>\n<p>97.  Agabira abangi : abula gw&#8217;akkusa  <\/p>\n<p>98.  Agafaayo? : tugasuula ku nsiko   agammuka ge tunywa<\/p>\n<p>99.  Agafunda : gadda ku mwala  <\/p>\n<p>100.  Agakuyunjira amangu : gw&#8217;oyita nnalyambe  <\/p>\n<p>101.  Agalabagana : gatyannana  aga Mbajja ne Mugema<\/p>\n<p>102.  Agalamidde : tabula gw&#8217;atta  <\/p>\n<p>103.  Agali awamu : ge galuma ennyama   ow&#8217;amalibu akiina wa ngereka<\/p>\n<p>104.  Agambagamba enfuuzi : y&#8217;agituubyatuubya  <\/p>\n<p>105.  Agamyuka omutezi : ge gamyuka n&#8217;akasolo  <\/p>\n<p>106.  Agaana bba : abula obugyo  <\/p>\n<p>107.  Aganaalya n&#8217;agataalye : gonna ku nte  <\/p>\n<p>108.  Aganaanyuma : tegalinda nnoma  <\/p>\n<p>109.  Agaanyi mukama we : ng&#8217;alabye obugyo  <\/p>\n<p>110.  Aganywebwa omuto : omukulu y&#8217;ayiwa  <\/p>\n<p>111.  Agaasaaka ge gattula : ng&#8217;akuddako mulungi (= ng&#8217;omulungi azze ku mu-lungi)  <\/p>\n<p>112.  Agatali maawule : gookya ngalo (or: gookya emimiro)  <\/p>\n<p>113.  Agatataba : tegaluma nnyama  <\/p>\n<p>114.  Agatawulira mukama waago : gabikka entembo  <\/p>\n<p>115.  Agenda akaaba : tekikugaana (= tikikulayira) kumulagiriza  <\/p>\n<p>116.  Agenda alira : tekikulobera kumulagiriza  <\/p>\n<p>117.  Agenda e Bulyankolo : taleka kambe  <\/p>\n<p>118.  Agenda ewaabwe : tazibirirwa budde  <\/p>\n<p>119.  Agenda gy&#8217;amanyi : tazibirirwa budde  <\/p>\n<p>120.  Agenda n&#8217;omulungi : azaawa  <\/p>\n<p>121.  Agenda y&#8217;alaba : ow&#8217;ebbuba talaga nnaku  <\/p>\n<p>122.  Agenekera : atuma asa  <\/p>\n<p>123.  Agenze butasiibula : nga museveni  <\/p>\n<p>124.  Agenze kafuuwuula mwu  <\/p>\n<p>125.  Ageerwanyalwanya : gaba gaagala nnyini nnyama  <\/p>\n<p>126.  Ageya akwagala : akuggya nnimi  <\/p>\n<p>127.  Ageya Nnanfumbambi : yeeteesa  <\/p>\n<p>128. Should the one who got such a present not let the donor participate in the meal? Custom of kuddiza  <\/p>\n<p>129.  Agobedde munya &#8211; &#8211; ( Ogobedde munya: ) Rub   <\/p>\n<p>130.  Agoberera : y&#8217;asamba   nga si gwe balese<\/p>\n<p>131.  Agudde n&#8217;agolokoka : nga mututuuli  <\/p>\n<p>132.  Agwa mu kituli : ye mubbi  <\/p>\n<p>133.  Agummye n&#8217;aguwanga : agenda lw&#8217;eggulo  <\/p>\n<p>134.  Agya amangi : ye agamanya kye geddira  <\/p>\n<p>135.  Agya erya nnammere : teyeekaanya bagenyi  <\/p>\n<p>136.  Ajaganya ng&#8217;akimezezza okw&#8217;enjala : bwe siikoze nnaawuuta  <\/p>\n<p>137.  Ajja ekisana : tasooka mukeeze kukyusa buwufu  <\/p>\n<p>138.  Ajjanjaba omulwadde, si y&#8217;amusikira  <\/p>\n<p>139.  Ajjukiza Busemba : y&#8217;agikuba  <\/p>\n<p>140.  Ajjukiza : y&#8217;alwanya eggye  <\/p>\n<p>141.  Ajooga omutaka : asookera ku bikajjo  <\/p>\n<p>142.  Akabangala : nsigadde mu malye  <\/p>\n<p>143.  Akaabidde mu babe : ng&#8217;alabye bamuwa  <\/p>\n<p>144.  Akabi kaliva gy&#8217;oli : ng&#8217;omuntu akuba n&#8217;omusota omukago  <\/p>\n<p>145.  Akabimbi akatono : kakira ekyosi  <\/p>\n<p>146.  Akabi nga kanajja : lubaale akwata mukyawe  <\/p>\n<p>147.  Akabi tekabula musombi : Kajabaga yasomba Abaganda  <\/p>\n<p>148.  Akabi tikeekisa  <\/p>\n<p>149.  Akabuzi akato tekeevumbulira ggenekere lyako? : ng&#8217;oli avuvuba omuto ku bibye  <\/p>\n<p>150.  Akabwa ke weeyolera : ke kakuluma enteega  <\/p>\n<p>151.  Akafa omukkuto : tikaluluma  <\/p>\n<p>152.  Akaganda akatono : kakira mukwano (or: kakira ekkwano eddene)  <\/p>\n<p>153.  Akagenda kalya : tikalaba nnaku  <\/p>\n<p>154.  Akaggo akakuba muka balo : w&#8217;akalaba akakasuka  <\/p>\n<p>155.  Akagoma akatono : kakutuusa ku ggoma ddene  <\/p>\n<p>156.  Akagufa k&#8217;emmale : sikanyigirwa mu ttooke  <\/p>\n<p>157.  Akajabangu akasengusa ennyonyi : ng&#8217;ewa musolo  <\/p>\n<p>158.  Akajabangu ak&#8217;omubumbi : ) g&#8217;azimba g&#8217;ayokya   ) w&#8217;asula watonnya, essubi n&#8217;alissa omuliro<\/p>\n<p>159.  Akajanja : kasimya omuwuulu oluzzi  <\/p>\n<p>160.  Akajenjegule akazinya atanywa mwenge  <\/p>\n<p>161.  Akajja obunaku keemanya : ejjanzi terigenda na nzige  <\/p>\n<p>162.  Akakadde ak&#8217;obuggya : amaggwa gakafumita emirundi ebiri  <\/p>\n<p>163.  Akakuli mu linnyo : tikaganya lulimi kutereera (= kwebaka)  <\/p>\n<p>164.  Akaakyama amamera : tekagololekeka   bw&#8217;ogolola omenya bumenyi<\/p>\n<p>165.  Akalagaane tekaggya buliika  <\/p>\n<p>166.  Akalengule : kaalobera Ngobya okuzaala  <\/p>\n<p>167.  Akaliba akendo : okalabira ku mukonda  <\/p>\n<p>168.  Akalimi ka mwewoze : kajja kawewedde  <\/p>\n<p>169.  Akali mu linnyo : tekaganya lulimi kwebaka  <\/p>\n<p>170.  Akalina abiri : otega kalaba (or: olonda ejjinja kalaba)  <\/p>\n<p>171.  Akalogojjo akasengusa ennyonyi : ng&#8217;ewa musolo  <\/p>\n<p>172.  Akaluma munno : bw&#8217;okalaba okookya omuliro  <\/p>\n<p>173.  Akalya amajjwa : ke kamanya bwe kagakyusa  <\/p>\n<p>174.  Akambayaaya : akakabya nnamube kibe) eggulo  <\/p>\n<p>175.  Akambe kaawaase &#8211; &#8211; ( Gwe baayogeddeko: ) Rub   <\/p>\n<p>176.  Akamegga enjovu : kenkana wa! A thing that causes an elephant to fall : how small may it be! It is not strength (bulk), but cleverness that beats the mighty  <\/p>\n<p>177.  Akaami akatono : ) kakira omumyuka   ) okanyoomera mitala wa mugga<\/p>\n<p>178.  Akamira eyiye : ) taginyoola   agamba, nti nnakiyumba gireke egejje ) tagiseera mata (= tagimma mata)<\/p>\n<p>179.  Akamwa kangu : kakuyitabya ow&#8217;ebbanja  <\/p>\n<p>180.  Akamwa akangu : kassa nnyiniko  <\/p>\n<p>181.  Akamwa kabi : katta Siroganga  <\/p>\n<p>182.  Akamwa k&#8217;omuntu : si ka nte  <\/p>\n<p>183.  Akanaafa : tikawulira nnombe  <\/p>\n<p>184.  Akanajja : ne nkabojja  <\/p>\n<p>185.  Akaana k&#8217;obulenzi : tokaweera mpindi mu ngalo  <\/p>\n<p>186.  Akatabagano katta omutezi n&#8217;omwokyi  <\/p>\n<p>187.  Akanatta obuguzi : kaba katono  <\/p>\n<p>188.  Akanatta : tikabula muga  <\/p>\n<p>189.  Akaneene bwe kaluma omuya : nga tekalumye ngalo  <\/p>\n<p>190.  Akanidde nnyo : ng&#8217;akigoberera embuga  <\/p>\n<p>191.  Akanyiigo akakwata embwa : omuyizzi takamanya  <\/p>\n<p>192.  Akasanke kafuuyirira zirwana  <\/p>\n<p>193.  Akasibe akabi : ke kaleesa ettambiro okumpi  <\/p>\n<p>194.  Akasikwasikwa aka mbidde : bwe kakula kafuuka omwenge  <\/p>\n<p>195.  Akasiriikiriro : ) kalwanya eminya   ) kazaala embiro<\/p>\n<p>196.  Akasolo akatavumbuka &#8211; &#8211; ( Akatavumbuka: ) Rub   <\/p>\n<p>197.  Akasolo kabaka ke yeebaagira : ettungulu  <\/p>\n<p>198.  Akasolo tekannafa : nti Omukira gwa jjembe lyange  <\/p>\n<p>199.  Akasubi kamu : bwe kava mu nju, tetonnya  <\/p>\n<p>200.  Akasugga kagoba kisambu  <\/p>\n<p>201.  Akasuka ly&#8217;ali nalyo : taba mutt  <\/p>\n<p>202.  Akasukka (= akasusse) omumiro : nga tikakyabalibwa (= tekabalwa)  <\/p>\n<p>203.  Akasuula obwoya : kakangula obusolo  <\/p>\n<p>204.  Akatakenga : ke kafa omutego (akasolo)  <\/p>\n<p>205.  Akatale ak&#8217;ettunzi : katunda bwesaanya  <\/p>\n<p>206.  Akatale ka mmese : katunda keekuba ensiko  <\/p>\n<p>207.  Akatali kabbe : eggumba osuula mu mulyango  <\/p>\n<p>208.  Akatavumbuka : kalinda mbwa  <\/p>\n<p>209.  Akataazimbe : emmuli kazitwala buklika  <\/p>\n<p>210.  Akateesize : tekakuba bbiri  <\/p>\n<p>211.  Akateeyanira : ke kafa omutego  <\/p>\n<p>212.  Akatiko kaasa ettaka : ng&#8217;osima?   <\/p>\n<p>213.  Akatono akatuuse : kakira ekinene ekisuubize  <\/p>\n<p>214.  Akatono ak&#8217;omukwano : kasinga ekinene eky&#8217;empaka  <\/p>\n<p>215.  Akatono kakuweesa ekinene  <\/p>\n<p>216.  Akatono kazira mu liiso  <\/p>\n<p>217.  Akatta : tekabula muga  <\/p>\n<p>218.  Akawala kaatuma Kyabaggu omuliro  <\/p>\n<p>219.  Akawe tikasiimwa wabiri  <\/p>\n<p>220.  Akawuka akaali kakulumye : bw&#8217;okalaba okookya omuliro  <\/p>\n<p>221.  Akawuulu akagezi : kagenda okunywa ogw&#8217;obusogozi, nga kamaze okweyalira  <\/p>\n<p>222.  Akawundo k&#8217;emputtu : ) bakasalira mu muzinnoonyo gwa lulagala   ) kage-ndera mu ndagala<\/p>\n<p>223.  Akawunguko : emmandwa mu bikajjo  <\/p>\n<p>224.  Akaayanira omukwano : taliwa  <\/p>\n<p>225.  Akayiira : kavunaana omuwendo  <\/p>\n<p>226.  Akayiseeko amazzi tekakirwa : ejjinja erisula mu nnyanja, balinyiga ennoga? ( Akayitiddwako tuzzi: )   <\/p>\n<p>227.  Akayitiddwako tuzzi tikakirwa : ejjinja lirikira obutta okugonda? ( Akayi-seeko amazzi: )   <\/p>\n<p>228.  Akekkera &#8211; &#8211; ( Okekkera: )  Akaziga ka mmese : kajja n&#8217;ekimasu  <\/p>\n<p>229.  Akazigizigi : kalitta eggye  <\/p>\n<p>230.  Akendo we kawoomeza amazzi : we kaatikira  <\/p>\n<p>231.  Akeesiga : ke kazaala ebbiri  <\/p>\n<p>232.  Akeewaniko ak&#8217;amakobe &#8211; &#8211; ( Olimu akeewaniko ak&#8217;amakobe: )   <\/p>\n<p>233.  Akeezimbira (= akeezimbidde) &#8211; &#8211; ( Keezimbira: ) l  <\/p>\n<p>234.  Akiika embuga : amanya ensonga  <\/p>\n<p>235.  Akikinadde : ng&#8217;eggabi ekkasuke omwambe  <\/p>\n<p>236.  Akirimbye : nti Abalungi baagenda  <\/p>\n<p>237.  Ak&#8217;obwangu : okalya mu nsawo yo  <\/p>\n<p>238.  Akola bikolemu : ng&#8217;atikkula ava emugga  <\/p>\n<p>239.  Akola (= akoze) bya mbyone : ow&#8217;obusa by&#8217;akola ewaabwe  <\/p>\n<p>240.  Akombye mu (kikuta) kya kkobe : eky&#8217;ettungulu kiwoomerera  <\/p>\n<p>241.  Ak&#8217;omulamu : si ka nte, nti gye yakaabira jjo ne leero  <\/p>\n<p>242.  Ako nno katiiro : akatiiza embwa n&#8217;eggumba  <\/p>\n<p>243.  Akooye : banyaga  <\/p>\n<p>244.  Akoze bya mbyone &#8211; &#8211; ( Akola bya mbyone: ) p   <\/p>\n<p>245.  Akuba abaana : bonna abakubira ddala  <\/p>\n<p>246.  Akuba endeka-mwoyo : ng&#8217;addaabiriza ogwafa  <\/p>\n<p>247.  Akubaguliza : oyagala wa kigwo? He is warning you (with a discreet wink) : do you want one from a wrestler? The wrestler gets hold of you and forces you  <\/p>\n<p>248.  Akuba kulatta : nga nnyinimu abba  <\/p>\n<p>249.  Akuba entungo tayogera : ng&#8217;alabye gw&#8217;atayagala  <\/p>\n<p>250.  Akuba owuwe : Akuba awumba engalo  <\/p>\n<p>251.  Akuba ssemukiti : ng&#8217;embwa eyogereza  <\/p>\n<p>252.  Akuddira mu luyimba : talukuwoomeza (= takulongoosa)  <\/p>\n<p>253.  Akufumbira ey&#8217;omutwe : omufumbira ya bigere  <\/p>\n<p>254.  Akugoba : tabulako ky&#8217;akusuuza  <\/p>\n<p>255.  Akugoba ye akuwa ekkubo (= ye akuwa amagezi) : nti Ab&#8217;emmanga, mbawee-rezza  <\/p>\n<p>256.  Akujjukiza : akira akuvuma  <\/p>\n<p>257.  Akukanga : tabula ky&#8217;akusuuza   bw&#8217;atakusuuza malusu n&#8217;akusuuza eminyira<\/p>\n<p>258.  Akukeera enkya : ) bw&#8217;atakuzinga muggo, akuzinga bugenyi   ) bw&#8217;atakuvu-ma, asunza<\/p>\n<p>259.  Akukeesa ekiro &#8211; ( Akutwala ekiro: )   <\/p>\n<p>260.  Akukira eka : ne mu kibira  <\/p>\n<p>261.  Akukola obubi : ggw&#8217;omukolera bulungi  <\/p>\n<p>262.  Akukonedde : ebigenge ngalo  <\/p>\n<p>263.  Akukongoola emabega : akuwa ekitiibwa (= akutya)  <\/p>\n<p>264.  Akukongoola mu maaso : akulya bujonjo  <\/p>\n<p>265.  Akukubira ku muggo : akwagaza bulwa  <\/p>\n<p>266.  Akukuba mu liiso : omukuba mu kutu   bw&#8217;agamba nti ondabye, naawe omu-ddamu nti ompulidde? <\/p>\n<p>267. Akukuba omuggo omunene : akutenda nkaaba mbi  <\/p>\n<p>268.  Akukyaye bw&#8217;awerekera akubanja : teweebaka  <\/p>\n<p>269.  Akulabako akatono : akira alagiriza  <\/p>\n<p>270.  Akulabira mu masannanzira : akuyita muyise  <\/p>\n<p>271.  Akulembedde bw&#8217;agwa mu bunnya : ow&#8217;ennyuma toyitayo! ( Akulembera: )   <\/p>\n<p>272.  Akulembera : y&#8217;akuwa amagezi  <\/p>\n<p>273.  Akulira mu nda ya munne : tabulako ky&#8217;aggyamu  <\/p>\n<p>274.  Akuliza maziga : omuliza omusaayi  <\/p>\n<p>275.  Akulunza embuzi : omulunza ente (= maliga)  <\/p>\n<p>276.  Akuuma ekitiko : y&#8217;akiggya  <\/p>\n<p>277.  Akumanyi omuze : takuganya kwetonda  <\/p>\n<p>278.  Akuuma omwami : akira akuuma ente  <\/p>\n<p>279.  Akumazeemu amakulu : ng&#8217;akubuuliza ewala  <\/p>\n<p>280.  Akumegga : takusaasira  <\/p>\n<p>281.  Akumma ebijanjaalo : akuwonya embubu  <\/p>\n<p>282.  Akunkumula omutwe : ng&#8217;embuzi etenda enkuba  <\/p>\n<p>283.  Akunoonya ameewola : takunoonya masasula  <\/p>\n<p>284.  Akununkiriza emka z&#8217;atabaddemu : ye kalwanira  <\/p>\n<p>285.  Akuseera emisana : naawe omuseera ekiro  <\/p>\n<p>286.  Akusigula : takugula  <\/p>\n<p>287.  Akusindika okuwoza : akuwerekeza wanga  <\/p>\n<p>288.  Akusinga eka : ne mu kibira  <\/p>\n<p>289.  Akusokaasoka : akwogeza ky&#8217;osirikidde  <\/p>\n<p>290.  Akusooka okunaaba : asooka n&#8217;okubega  <\/p>\n<p>291.  Akussizza kasiiso : ow&#8217;endali k&#8217;assa omukukumi  <\/p>\n<p>292.  Akusuubiza : akira akumma  <\/p>\n<p>293.  Akusuutasuuta : akuliisa engo  <\/p>\n<p>294.  Akutemyako : oyagala wa mbazzi? ( Akubaguliza: )   <\/p>\n<p>295.  Akuutiri ne kuutiri : emmese terya kyuma  <\/p>\n<p>296.  Akutwala ekiro : omusiima bukedde  <\/p>\n<p>297.  Akutwala enkild : takusiibuza wa muliraano (= takuganya kuslibula wa muliraano)  <\/p>\n<p>298.  Akutwala ettwe (= olutwe) : taba wa wala  <\/p>\n<p>299.  Akuwa akatono : ) akira akumma   ) akulobera okugeya ) akulobera okwe-gaana<\/p>\n<p>300.  Akuwa : gw&#8217;owa  <\/p>\n<p>301.  Akuwaanawaana : akuliisa engo   <\/p>\n<p>302.  Akuwaaniriza (= akuwaliriza, = akusuutasuuta) okulinnya : bw&#8217;ogwa (= bw&#8217;o-menyeka), ye akuyita Kadduwannema  <\/p>\n<p>303.  Akuwa okubaaga : akuwa kulya  <\/p>\n<p>304.  Akuwa okulya : y&#8217;akutwala omuluka  <\/p>\n<p>305.  Akuweera omwana : akira nnakwagadde (= akuwadde eggaali)  <\/p>\n<p>306.  Akuweerera ebigambo : akira akuweerera envuma  <\/p>\n<p>307.  Akuyigiriza okutega : bw&#8217;otta tomuwa?   <\/p>\n<p>308.  Akuyisa enkya : omuyisa eggulo  <\/p>\n<p>309.  Akuyita emla : oyitaba mla  <\/p>\n<p>310.  Akwagala : akubuulirira  <\/p>\n<p>311.  Akwagala : akuzimbya ku lwazi  <\/p>\n<p>312.  Akwagala n&#8217;akukyaye : kyonna kye kimu  <\/p>\n<p>313.  Akwagala n&#8217;atakwagala : tebuziba nga tewannabula akwogerako  <\/p>\n<p>314.  Akwalula esiridde : tayita wa ggwanga  <\/p>\n<p>315.  Akwana : akira ayomba  <\/p>\n<p>316.  Akwata emla : atuuka wala   nnawolovu ow&#8217;e Bulemeezi omusanga mu Kyaddondo (= nnawolovu atuuka ku kibuga)<\/p>\n<p>317.  Akwata erya mukama we : n&#8217;erirye  <\/p>\n<p>318.  Akwata munne : gwe batta  <\/p>\n<p>319.  Akwatulira : akira akugeya  <\/p>\n<p>320.  Akweyamba : omwana yeeyamba nnyina  <\/p>\n<p>321.  Akwonoonera : naawe omwonoonera   omuvubi ensonzi emusiiga ttosi, naye agisiiga vvu<\/p>\n<p>322.  Akyala : ye abigya  <\/p>\n<p>323.  Akyaliisa ebijanjaalo empiso  <\/p>\n<p>324.  Akyawuniikiridde : ng&#8217;alya n&#8217;omutabaazi  <\/p>\n<p>325.  Akyogerako si ye akireeta : omukazi tayita njala kugwa (or: si ye akiyita : omukazi omunafu tayita njala kujja)  <\/p>\n<p>326.  Alaba ebingi : alabunkana (= alabankana)  <\/p>\n<p>327.  Alaba ekirungi : akinyumyako  <\/p>\n<p>328.  Alaba waggulu : nga ndyanga  <\/p>\n<p>329.  Alabye malinnya : amakka tagalaba (= amakka gabula)  <\/p>\n<p>330.  Alagira kimu mu katale : taliira  <\/p>\n<p>331.  Alangajja (= alatta) : ng&#8217;eyakasibira e Mbaale   nti bwe kalifa ndikasanga<\/p>\n<p>332.  Alatta &#8211; &#8211; ( Alangajja: ) Munno  <\/p>\n<p>333.  Aleka amaliire ge : asula enjala  <\/p>\n<p>334.  Alembalemba : ng&#8217;omukulu anaasala ku njovu   nti Awagwa ekinene watuuki-bwa nti Kabaka bwe yafa tewagenda<\/p>\n<p>335.  Aleeta en_nombo : y&#8217;agidibya  <\/p>\n<p>336.  Aliba azze wa? : azimba ya nnyina  <\/p>\n<p>337.  Aliba-tasaabadde : aligalengera nsanda  <\/p>\n<p>338.  Alidde ggi : kwesubya muwuula  <\/p>\n<p>339.  Alidde kya mukama we nga tasenguse : taba mubbi  <\/p>\n<p>340.  Aliggala n&#8217;aliggula : bonna obusungu benkanya  <\/p>\n<p>341.  Alikuliira omwana : omuteresa ntende ya taaba  <\/p>\n<p>342.  Alikulyako omwana : ttooke lya mu kibya  <\/p>\n<p>343.  Alima ndalo : tasiga bulungi  <\/p>\n<p>344.  Alima ne bba : taba munafu  <\/p>\n<p>345.  Alimu akambayaaya akakaabya : nnamube olw&#8217;eggulo  <\/p>\n<p>346.  All mu bwato : annyulula banne be gasaanyawo  <\/p>\n<p>347.  Alimu muyiira : talaalikibwa nga tanneesiisirira  <\/p>\n<p>348.  Alina effubitizi eriyuliza omufu olubugo : nti emagombe agenda na maso?   <\/p>\n<p>349.  Alina embwa : tasuula ggumba  <\/p>\n<p>350.  Alina emwo : talagwa muliro  <\/p>\n<p>351.  Alina kasiikuuzi : akakubya emmomboze eyajja n&#8217;ebigere byayo  <\/p>\n<p>352.  Ali w&#8217;ali : w&#8217;alabira ebirungi n&#8217;ebibi (= w&#8217;alabira enjuba n&#8217;omwezi)  <\/p>\n<p>353.  Alondobereza : ng&#8217;eyanyaga emu  <\/p>\n<p>354.  Aloopedde muganzi mu kizikiza  <\/p>\n<p>355.  Alootaloota olumbe : aloota ky&#8217;aliraba  <\/p>\n<p>356.  Alowoolereza enkoko ky&#8217;erya : tagimaliriza ttooke  <\/p>\n<p>357.  Alowooza (ekigula) enkumbi &#8211; &#8211; ( Abalirira ekigula: )    <\/p>\n<p>358.  Aludde okutabaala : ensiisira alassa ya kibandwa  <\/p>\n<p>359.  Alumirirwa : y&#8217;aggulawo  <\/p>\n<p>360.  Alusaggya : ng&#8217;omuwuulu agula enkulo  <\/p>\n<p>361.  Alwa ku katale : y&#8217;alaba ssentala bw&#8217;agwa (= bw&#8217;agenda)  <\/p>\n<p>362.  Alya ku kirungi tamala? : bw&#8217;olya ensonzi, osula mu kitoogo?   <\/p>\n<p>363.  Alya ng&#8217;eyasumattuka kkunsa  <\/p>\n<p>364.  Alya : y&#8217;alula  <\/p>\n<p>365.  Amabeere kirevu : n&#8217;omugumba agamera  <\/p>\n<p>366.  Amaddira : ge gaamukwasa  <\/p>\n<p>367.  Amafuta ga nte : gazze mu ddiba lya nte  <\/p>\n<p>368.  Amafuta tigalwana na musana  <\/p>\n<p>369.  Amagamaga : ng&#8217;aggye akamu  <\/p>\n<p>370.  Amagenyi abiri : gatta ejjiba  <\/p>\n<p>371.  Amagere ga nkoko : tegatta baana baayo  <\/p>\n<p>372.  Amagezi ag&#8217;omu : gaakisa (= gaalesa) Magambo ku kkubo  <\/p>\n<p>373.  Amagezi gakubuze : agabula ab&#8217;e Mityana  <\/p>\n<p>374.  Amagezi gakuweebwa munno  <\/p>\n<p>375.  Amagezi gakuweddeko : ) okubongoota nga tonneeyalira   ) okufuluma n&#8217;oggalawo ) ng&#8217;ayombera gy&#8217;asaka<\/p>\n<p>376.  Amagezi gandi ku mwoyo : ng&#8217;omufuuwi w&#8217;ennombe  <\/p>\n<p>377.  Amagezi gasalwa luvannytmta : enkonge emala kukukuba n&#8217;obuuka  <\/p>\n<p>378.  Amagezi muliro : bwe gakubulako okima ewa munno (= bwe guzikira oguggya wa munno)  <\/p>\n<p>379.  Amagezi nsejjere : buli efuluma emmula bwayo  <\/p>\n<p>380.  Amagezi ntakke (= nswa) : ekula y&#8217;ebuuka  <\/p>\n<p>381.  Amaggwa g&#8217;otega abayise : gafumita ggwe nnyinigo  <\/p>\n<p>382.  Amagoma gavuga &#8211; &#8211; ( Magoma:      Abantu magoma: ) III<\/p>\n<p>383.  Amagufa : tegaweerezebwa  <\/p>\n<p>384.  Amaka abiri musango : olwanirira agali e Kyaggwe n&#8217;ag&#8217;e Ssingo baganyaga  <\/p>\n<p>385.  Amaka galadde : agula muwemba  <\/p>\n<p>386.  Amala gateeba bw&#8217;ayigga : avaayo bukumbu  <\/p>\n<p>387.  Amala geebikka : asula mwo, tagenda kuwona ssennyiga  <\/p>\n<p>388.  Amalala g&#8217;omukyaze : ) nti banziriza olulimi, siigende   ) nti nsanze olubende, nnaalyayo obugenyi<\/p>\n<p>389.  Amalaalo ag&#8217;omugagga : gafuga ag&#8217;omwavu  <\/p>\n<p>390.  Amala okufuna : nti oluggya lukala mbuzi  <\/p>\n<p>391.  Amala okugwa : lw&#8217;amanya bwe yandiyise  <\/p>\n<p>392.  Amala okukivaamu &#8211; &#8211; ( Akivaamu: ) p   <\/p>\n<p>393.  Amala okulya : ewaffe bamta  <\/p>\n<p>394.  Amala okusomoka : yeerabira eyamusomosa  <\/p>\n<p>395.  Amaliire si gamu  <\/p>\n<p>396.  Amaluma : si njala (= gakira enjala)  <\/p>\n<p>397.  Amaluma tegeegombya njala  <\/p>\n<p>398.  Amalume abiri : tegabeera mu lugo lumu  <\/p>\n<p>399.  Amambulugga gajja kiro : ag&#8217;emisana galuma (= ge gatta)  <\/p>\n<p>400.  Amamese amangi tigeesimira bunnya : nga tiwali njangwa  <\/p>\n<p>401.  Amampaati aga nnyini nkoko : nti enkoko zange zibuukira omuyagi   nti ente esinga obunene ebuuka emituba<\/p>\n<p>402.  Amamati ageegoloza omukadde : ng&#8217;agenda kukula (or: sso nga takyawanvu-wa)  <\/p>\n<p>403.  Amansonyinsonyi : gassa olugave  <\/p>\n<p>404.  Amaanyi amatono : gakugabanya otulo  <\/p>\n<p>405.  Amaanyi ameemanye : ge gamala ebita e mbuga  <\/p>\n<p>406.  Amaanyi gampweddeko : ng&#8217;omusajja azaala  <\/p>\n<p>407.  Amaanyi ga nnabugi : gamukubya akyali muto  <\/p>\n<p>408.  Amaanyi gava mu kulya  <\/p>\n<p>409.  Amaanyi g&#8217;endiga gagiva mu mukira  <\/p>\n<p>410.  Amaanyi tegawala luga  <\/p>\n<p>411.  Amaanyi tegalya bwami : singa ennaana ye kabaka w&#8217;ennyonyi  <\/p>\n<p>412.  Amaanyi tigalya : ennaana terya nkoko (= singa ennaana emazeewo enkoko)  <\/p>\n<p>413.  Amasavu g&#8217;ennaana : gasaala ekka kibira  <\/p>\n<p>414.  Amasavu si mugabano : ow&#8217;amaanyi ng&#8217;aganyaze  <\/p>\n<p>415.  Amasaawa : si malima  <\/p>\n<p>416.  Amasiga tegagwako musulo  <\/p>\n<p>417.  Amasika ngabo : tigalema  <\/p>\n<p>418.  Amaaso agalwa : ku mutwe gatikkira engule  <\/p>\n<p>419.  Amaaso amabi : tigayiwa tulo  <\/p>\n<p>420.  Amaaso amati : galamusa nnyinimu  <\/p>\n<p>421.  Amaaso batadde ku gwaka : ne beerabira ogunyooka  <\/p>\n<p>422.  Amaaso gajjirira omu : galaba bangi  <\/p>\n<p>423.  Amaaso gamwesimbye : ng&#8217;ag&#8217;enkoko enywa mu lwendo  <\/p>\n<p>424.  Amaaso ge gatya  <\/p>\n<p>425.  Amaaso g&#8217;enjala : gatuukira mu lusuku  <\/p>\n<p>426.  Amata g&#8217;ennyana &#8211; &#8211; ( Ga nnyana: )    <\/p>\n<p>427.  Amatama mangi : tigabaamu bugenyi  <\/p>\n<p>428.  Amatambulire : tigali wamu  <\/p>\n<p>429.  Amatole amanene : teganyaga mwana  <\/p>\n<p>430.  Amatu ag&#8217;emputtu : gakubya nnyinigo  <\/p>\n<p>431.  Amatu baagateekako kuwoomya mutwe?  <\/p>\n<p>432.  Amatu g&#8217;omubaazi gawulira kya embwa etwala ennyama yo : omusaba taku-wa  <\/p>\n<p>433.  Amatu mulimu amazaana? : gohna maami (= matongole) (or: timubamu mazaa-na)  <\/p>\n<p>434.  Amatu tigalya maluma  <\/p>\n<p>435.  Amawolu : galiibwa mujjukiza  <\/p>\n<p>436.  Amaawule :ge gawola    tigookya mutima<\/p>\n<p>437.  Amayumba bisaka : tomanya bibaamu  <\/p>\n<p>438.  Amazeeko nga muwogo : waggulu nva, wakati nku, wansi mmere  <\/p>\n<p>439.  Amaziga amaggya : gajjukiza amakadde  <\/p>\n<p>440.  Amazina g&#8217;ekirevu : gajjira ku mmere  <\/p>\n<p>441.  Amazumwe (= amazuuku) : nga nnyina mwami azaala omwami  <\/p>\n<p>442.  Amazzi amatono : gabooza ente   nti baleete ez&#8217;abaana zimale okunywa (= nti leka enzadde zinywe)<\/p>\n<p>443.  Amazzi bwe gakalira : gadda ku mwala  <\/p>\n<p>444.  Ambuzeeko n&#8217;empuluwujju  <\/p>\n<p>445.  Amegga omunafu : tassaako mannyo  <\/p>\n<p>446.  Amuguddeko akayiifuyiifu : omugole ku nkyakya  <\/p>\n<p>447.  Amukubye akakule : enkuyege k&#8217;ekuba essabo  <\/p>\n<p>448.  Amussizza kasiiso : ow&#8217;endali k&#8217;assa omukukumi  <\/p>\n<p>449.  Amuvuddeko bukumbu : ng&#8217;enkuyege ku ggi  <\/p>\n<p>450.  Anaabulwa omwana : anaaweeka ejjinja  <\/p>\n<p>451.  Anaggula omunaku amatu : wano waliwo kitaawo ne nnyoko  <\/p>\n<p>452.  Anaakuboolera mu lumbe : nti ggwe wa maanyi  <\/p>\n<p>453.  Anaakuggya ennimi : ageya nnyoko ng&#8217;olaba (= nga w&#8217;oli)  <\/p>\n<p>454.  Anaakugoba embuga : nti omwami yeesaze akajegere  <\/p>\n<p>455.  Anaakugoba ku nswa : nti tolya omulalu  <\/p>\n<p>456.  Anaakulyako omwana : ayogera kiganda kyennyini  <\/p>\n<p>457.  Anaakulyamu olukwe : akugwa mu kifuba  <\/p>\n<p>458.  Anaakuliisa akasolo akabi : akalya akabeera (= akawaana)  <\/p>\n<p>459.  Anaakusengezzesa omuto : nti wano tegusukkawo  <\/p>\n<p>460.  Anaakussa ekkande : kasooli wa kuno tayera, awunda  <\/p>\n<p>461.  Anaakusiba olumbe olumbe : nti yaluggya wala   nti we lulema tossa wansi? <\/p>\n<p>462.  Anaakutiisa embuga : nti omwami yeesaze akajegere  <\/p>\n<p>463.  Anaakuttira amaka : nti ogunnema gusula bweru  <\/p>\n<p>464.  Anaakuvuma obubi : akubuvumira ku ndwadde  <\/p>\n<p>465.  Anaakuvumira mu magezi : avuma mwana (= akuvumira mu mwana)  <\/p>\n<p>466.  Anaakweggyako : tabula ntondo  <\/p>\n<p>467.  Anaamukuteerako : omulabira ku kimyu  <\/p>\n<p>468.  Anaanyumya takeereza : nnamunyi oluva ku nju ng&#8217;ekireka akuba  <\/p>\n<p>469.  Anaaseera owuwe : ) nti leka ab&#8217;ebweru balye   ) asala akiika <\/p>\n<p>470.  Anaatera okumala : akoza avulunga  <\/p>\n<p>471.  Anaatera okuyomba : tabula njogera ye  <\/p>\n<p>472.  Anatta enzige : asooba  <\/p>\n<p>473.  Anaatuubya engo : embuzi asiba ku luzibaziba  <\/p>\n<p>474.  Anaawangaaza obuliirize : omunwe alya gumu  <\/p>\n<p>475.  Ani alimumpeera? : awa wa kibungu  <\/p>\n<p>476.  Anneegobyeko : ssemukuto ball ba mayenje  <\/p>\n<p>477.  Anneesibyeko : ebigalanga ku mulwadde  <\/p>\n<p>478.  Anneesulubabbye : nga nnasswi w&#8217;embwa  <\/p>\n<p>479.  Anyumiriza eggunju (= effumbe) aliriisa omwami  <\/p>\n<p>480.  Anziriddemu : nga Muteesa Walugembe bwe yaddira mu b&#8217;obugulu obutono   nti mmwenna mwambale empale empanvu<\/p>\n<p>481.  Asaba ndikulaba : ng&#8217;asaba eryenvu erimu  <\/p>\n<p>482.  Asaba omunafu : asaba atoola  <\/p>\n<p>483.  Asagambiza : ng&#8217;akimezezza okw&#8217;enjala  <\/p>\n<p>484.  Asagaasagana : nga bbunwe w&#8217;omukovvu  <\/p>\n<p>485.  Asamirira amaddu : ayigga mbogo  <\/p>\n<p>486.  Asaasira omunaku : y&#8217;amuliza  <\/p>\n<p>487.  Aseka ekimwegeru : engalabi ky&#8217;eseka n&#8217;emiti mu kamwa  <\/p>\n<p>488.  Asemberera kabaka ye muwangaazi : ennongo emera mu kiswa enkuyege tegirya  <\/p>\n<p>489.  Asenga atuusa : y&#8217;anenya banne (= abatannaba kutuusa busenze)  <\/p>\n<p>490.  Asenga ku kiggwa : y&#8217;akumira lubaale omuliro  <\/p>\n<p>491.  Asenga omwami : tagayaala, amukolera (or: atema ebisaakaate)  <\/p>\n<p>492.  Asenga tagayaala  <\/p>\n<p>493.  Asenguka : akwaliza bisulo  <\/p>\n<p>494.  Asiba mu mbuzi omugwa : gwe babanja  <\/p>\n<p>495.  Asiibula nga muyala : weeraba tata  <\/p>\n<p>496.  Asigadde mu gw&#8217;e Busami : Nneemagaza  <\/p>\n<p>497.  Asiika obulamu : tassa mukono  <\/p>\n<p>498.  Asimaasima akatiko : y&#8217;akaggyako omukonda  <\/p>\n<p>499.  Asimba emisogasoga : teyeegaanya mayiba  <\/p>\n<p>500.  Asimba kasooli : tamulya makoola, amulinda kwengera  <\/p>\n<p>501.  Asimira embwa lumonde : gw&#8217;etwaza  <\/p>\n<p>502.  Asinzidde ku ssinzi : n&#8217;asaba ekkobe  <\/p>\n<p>503.  Asirika amanya : ekikere baldbikira mu kyeya ne kikaaba mu nkuba (or: eki-kere bakibikira kwa musana, kikaaba kwa nkuba)  <\/p>\n<p>504.  Asirikirira : tabula ky&#8217;akola  <\/p>\n<p>505.  Asitukiddemu : ng&#8217;atega ogw&#8217;ekyayi  <\/p>\n<p>506.  Asobeddwa : ng&#8217;ayomba n&#8217;ayonsa  <\/p>\n<p>507.  Asooka okufuna : yeerabira (= tamanyi) munne by&#8217;alifuna  <\/p>\n<p>508.  Asooka okwekweka : atenda banne okukwakwaya  <\/p>\n<p>509.  Asse aga n&#8217;aga : ng&#8217;agula omugumba omunafu  <\/p>\n<p>510.  Asubwa obwami : tiyetta  <\/p>\n<p>511.  Asuddeko : omulimiriza (omulumiriza) ku kkobe  <\/p>\n<p>512.  Asuddeyo gwa Nnaggamba  <\/p>\n<p>513.  Asugumbira entalo : y&#8217;azifiiramu  <\/p>\n<p>514.  Asugumbira okulaba ensolo : gw&#8217;erya  <\/p>\n<p>515.  Asula obubi (= awabi) : omulabira ku nkeera  <\/p>\n<p>516.  Ataabalamule : nti baleke baggwekerere  <\/p>\n<p>517.  Atabalira nnyina : talemerwa  <\/p>\n<p>518.  Atabyetisse : tamanyi buzito bwabyo  <\/p>\n<p>519.  Atafiiriddwa wuwe : agamba nti Iumumenye  <\/p>\n<p>520.  Ataafiirwanga ggole : agamba nti libongoota  <\/p>\n<p>521.  Atagala ng&#8217;obusajja bw&#8217;e Bulemeezi : bulekerera okulwanira enswa ne bulwanira envubo, nti Envubo eno ggwe wagisima?   <\/p>\n<p>522.  Atagukwanye : (ye agamba) nti banaakitiza! (= balina akatinko)  <\/p>\n<p>523.  Ataagunjule wuwe : agunjula muzaana  <\/p>\n<p>524.  Ataguyiisizza : y&#8217;agunenyeza munne, nti agummye n&#8217;aguwanga  <\/p>\n<p>525.  Atajjukiza mugagga : alina ky&#8217;aliira  <\/p>\n<p>526.  Atakedde takedde mukeeze : kuzzaayo buwufu  <\/p>\n<p>527.  Atakirambudde : y&#8217;akiyita ekigumba  <\/p>\n<p>528.  Atakirya : takimanya buwoomi  <\/p>\n<p>529.  Ataakiweereza : y&#8217;akiyita ekitunzi  <\/p>\n<p>530.  Atakubalira : naawe tomubalira   ennyanja ekutta omizeeko<\/p>\n<p>531.  Atabukubuuza : abukuzimbiriza  <\/p>\n<p>532.  Ataakulaba : akunyooma  <\/p>\n<p>533.  Atakulabye : takubala  <\/p>\n<p>534.  Atakulekera : naawe tomulekera   ennyanja ekutta omira<\/p>\n<p>535.  Atakulongooseze : y&#8217;agamba nti kinaamala  <\/p>\n<p>536.  Atakumanyi : azikuyooza mu mulyango  <\/p>\n<p>537.  Atakumanyi busajja : lumonde akuwa mumenyemu  <\/p>\n<p>538.  Atakusonyiwa : naawe tomusonyiwa   ennyanja ekutta omira<\/p>\n<p>539. One who does not forgive you : you don&#8217;t forgive him either   the lake kills you, whilst you are drinking (its water in drowning)<\/p>\n<p>540.  Atakuta mukono : akusuuza ebya beene  <\/p>\n<p>541.  Atakuzadde : akutikka ejjinja  <\/p>\n<p>542.  Atakwagala : akumanyiiza eky&#8217;ekibuga  <\/p>\n<p>543.  Atakwagala : ky&#8217;asanga ky&#8217;akutema  <\/p>\n<p>544.  Ataakwalize nnanda : akulaga kifo, nti oyo agenze muganda wo  <\/p>\n<p>545.  Atali muzimbi : emgi bw&#8217;emukuba, tewaba musango  <\/p>\n<p>546.  Atalina maanyi : tagwa ddalu  <\/p>\n<p>547.  Atalina muka mwana : yeekaamwana yekka  <\/p>\n<p>548.  Atali nnyini mwana : tamufiirira  <\/p>\n<p>549.  Atali nnyoko : ) akulaba mu mutwe, eyakuzaala akulaba eri olubuto   ) aku- wa nsigo ng&#8217;omwaka gugwako ) takugerera nnaku za bukulu<\/p>\n<p>550.  Ataliiwo : tagwirwa mutt  <\/p>\n<p>551.  Ataliiwo : y&#8217;atta embogo  <\/p>\n<p>552.  Ataalugende : entanda akusibira ya menvu  <\/p>\n<p>553.  Ataalukutambulire : akusibira ya menvu  <\/p>\n<p>554.  Atamanyi bifa ku mwoyo gwa munne : enkumbi afulumya bbiri  <\/p>\n<p>555.  Atamanyi bikiinwa : bwe bamuyita okulya ng&#8217;asembera  <\/p>\n<p>556.  Atamanyi bikiinwa (= bisaagwa, = kusaaga) : emmese bw&#8217;emusaba ekigwo, atoola musanvu kukuba  <\/p>\n<p>557.  Atamanyi busungu bwa muddugavu : amutikka entamu  <\/p>\n<p>558.  Atamanyi bya kusaaga : emmese bw&#8217;emusaba ekigwo, addira muggo  <\/p>\n<p>559.  Atamanyi liiso bwe liruma : anyiga mu ly&#8217;emmindi  <\/p>\n<p>560.  Atamanyi mpewo y&#8217;emagombe : olusanja ajja na lumu  <\/p>\n<p>561.  Atamanyi mwo y&#8217;emagombe : y&#8217;amma omufu olubugo  <\/p>\n<p>562.  Atamanyi nnaku : y&#8217;agamba nti Baagenda kusevena, sso nga baagenda kutu- fiirira  <\/p>\n<p>563.  Atamanyi : tamanya nti tamanyi  <\/p>\n<p>564.  Atambula sserebu : ng&#8217;eyakwana ogw&#8217;okum  <\/p>\n<p>565.  Atambula : y&#8217;abiraba  <\/p>\n<p>566.  Atamukedde : y&#8217;amutenda endya embi  <\/p>\n<p>567.  Atamukutte : y&#8217;agamba nti mutenge, tugende! (or: nti megga, tugende!)  <\/p>\n<p>568.  Atamuzadde : amutikka ejjinja  <\/p>\n<p>569.  Atamuzadde : amutunula mu mutwe   naye amuzadde amutunula eri olubuto<\/p>\n<p>570.  Atamuzadde : y&#8217;amukuza  <\/p>\n<p>571.  Atamwa omukwano omukadde : nga n&#8217;omuggya aligutammia  <\/p>\n<p>572.  Atangaaliridde : ng&#8217;azadde ekifudde  <\/p>\n<p>573.  Atannabambula : tomuyita kabaaga-mbwa  <\/p>\n<p>574.  Atannafa : tiyeevuma ggwanga  <\/p>\n<p>575.  Atannagula : tayisa lutala  <\/p>\n<p>576.  Atannaguzza : y&#8217;aseka (or: asekera aguzzizza)  <\/p>\n<p>577.  Atannakoma kulambula : tamalamu bya kutenda  <\/p>\n<p>578.  Atannasesema : ye yeetenda okugonza  <\/p>\n<p>579.  Atannayita : y&#8217;atenda nnyina obufumbi (= okufumba)  <\/p>\n<p>580.  Atannaziraba : y&#8217;asekerera ajeera  <\/p>\n<p>581.  Atasaba taweebwa : enkoko oluba okunywa amazzi ng&#8217;eralamira waggulu  <\/p>\n<p>582.  Ataasa omuto akambe : amuwa kati  <\/p>\n<p>583.  Atasaasira mwavu : ageya mugeye  <\/p>\n<p>584.  Atasasula mabanja ) amaaso aganaabira mu nsiko   ) abanjirwa mu kikunta<\/p>\n<p>585.  Atasenza bantu : bamuwa ddagala, alyoke asenze  <\/p>\n<p>586.  Atasenza : omusu sigulya mwami  <\/p>\n<p>587.  Atava ku mbuga bamuwa omusibe atalina muguwa  <\/p>\n<p>588.  Atava ku mulungi : afa awoza (c  <\/p>\n<p>589.  Atava ku nnyama : asala eddiba  <\/p>\n<p>590.  Ataawone bwavu : ) agula wa mutunda-bikadde   ) asuubula magi<\/p>\n<p>591.  Atawulidde : taloo mbuga  <\/p>\n<p>592.  Atayombera mukwano : nga munne tamwagala  <\/p>\n<p>593.  Atazimbye ku luzzi : alya olw&#8217;eggulo (= emmere alya lwa ggulo)  <\/p>\n<p>594.  Atazze mbwa ye kum : nti eyange eyigga n&#8217;ekiro  <\/p>\n<p>595.  Atega emingi : atega ategulula (= tanyaata)  <\/p>\n<p>596.  Atega ogumu : taliira  <\/p>\n<p>597.  Atengejja : ng&#8217;asaba oluwanga obulamu: nti ye oyo ekyamutta kyali kiki? ( Otengejja: )   <\/p>\n<p>598.  Ate tuwakanire ebaagwa? Nti munda mulimu ento? Tulinde tunaalaba  <\/p>\n<p>599.  Atta ekizigo : asooba  <\/p>\n<p>600.  Atta munne : gwe batta  <\/p>\n<p>601.  Atudde entitibbwa : kabootongo z&#8217;atuula mu mumwa  <\/p>\n<p>602.  Atudde katubidde : ng&#8217;embwa bw&#8217;etuula mu lumbe lwa nte  <\/p>\n<p>603.  Atudde kitebe : enjala ky&#8217;etuula mu lubuto  <\/p>\n<p>604.  Atudde kiyaziyazi : omugumba ky&#8217;atuula ku mbaga  <\/p>\n<p>605.  Atudde obukonge : Ndawula bwe yatuula mu Butwala  <\/p>\n<p>606.  Atuuga akatale : tabalirira balema  <\/p>\n<p>607.  Atuli mu ttaano : ekkumi likwata mpaawo  <\/p>\n<p>608.  Atuma omukulu : tamagamaga  <\/p>\n<p>609.  Atunda ayolesa : y&#8217;atera okumaza (= okumalawo)  <\/p>\n<p>610.  Atunda omutwe gw&#8217;ente : amala kunyiga ku gugwe  <\/p>\n<p>611.  Atunula bakim nkirye : ng&#8217;abali emiryango tebakyagala  <\/p>\n<p>612.  Atunula baakitujjula (= baakitijjula) : ng&#8217;emmanvu (= ng&#8217;engalabi) eyoza lu- monde  <\/p>\n<p>613.  Atunula gamyansa : ng&#8217;omufumbo amira agookya  <\/p>\n<p>614.  Atunula kalyolyongo : ng&#8217;embwa eyota ekikoomi  <\/p>\n<p>615.  A<\/p>\n<p>&nbsp;<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Engero za Baganda eza &#8211; A\u00a0 &#8211; Luganda Proverbs prefix &#8211; A &nbsp; 1. Ababiri babibira ebigambo : naye abasatu babisattula 2. Abaddeko kizimu 3. Abafugibwa ngabo : atannagikwatamu ye agitenda obwangu 4. Abagagga n&#8217;abagagga baagalana : ekirevu kiyita ku bisige ne kigenda kyegatta n&#8217;enviiri eziri ewala 5. Abaagalana tebafunda 6. Abaganda bakaabira ekitali kyabwe [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[11],"tags":[],"class_list":["post-496","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-engero-za-baganda-luganda-proverbs"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/496","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=496"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/496\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":528,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/496\/revisions\/528"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=496"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=496"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=496"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}