{"id":342,"date":"2025-04-24T08:03:15","date_gmt":"2025-04-24T08:03:15","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/ebisoko-luganda-idioms-ebisoko-ebyolukale\/"},"modified":"2025-04-24T08:03:16","modified_gmt":"2025-04-24T08:03:16","slug":"ebisoko-luganda-idioms-ebisoko-ebyolukale","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/ebisoko-luganda-idioms\/ebisoko-luganda-idioms-ebisoko-ebyolukale\/","title":{"rendered":"Ebisoko -Luganda Idioms &#8211; EBISOKO EBY&#8217;OLUKALE"},"content":{"rendered":"<p>Ebisoko -Luganda Idioms &#8211; EBISOKO EBY&#8217;OLUKALE<\/p>\n<p><img decoding=\"async\" src=\"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-content\/uploads\/sites\/2\/2025\/04\/luganda-idioms-ebisoko.jpg\" alt=\"luganda idioms ebisoko\" \/><\/p>\n<h2>Ekisoko (Luganda Idiom)\u00a0 \u00a0&#8211;\u00a0 \u00a0Amakkulu (Meaning)<\/h2>\n<p>1.  Okukooka    &#8211;     kuyimba<\/p>\n<p>2.  Okuyimbya endubaale    &#8211;    kubonyabonya nnyo muntu<\/p>\n<p>3.  Okukooza omuntu akajiri    &#8211;     kubonyabonya nnyo muntu<\/p>\n<p>4.  Okulabya omuntu ennaku    &#8211;     kubonyabonya nnyo muntu<\/p>\n<p>5.  Okukekkeza ennyago    &#8211;    kulwana<\/p>\n<p>6.  Okukweka enjala    &#8211;     kulwana nga okozesa bikonde<\/p>\n<p>7.  Ebifuba okubabuguma    &#8211;     kulwana<\/p>\n<p>8.  Enkalu okudda okunywa    &#8211;    kulwana<\/p>\n<p>9.  Okukoona ebbidde    &#8211;    kunywa nnyo mwenge<\/p>\n<p>10.  Okwebikka amazzi    &#8211;    kunywa nnyo mwenge<\/p>\n<p>11.  Okubeera Waddanaga    &#8211;     kuba mutamiivu<\/p>\n<p>12.  Okubeera lujuuju    &#8211;     kuba mutamiivu<\/p>\n<p>13.  Okubeera lugalika bita    &#8211;    kunywa nnyo mwenge<\/p>\n<p>14.  Okuwunzika empaawo\/endekukunywa nnyo mwenge    &#8211;    <\/p>\n<p>15.  Okukongojja omumbejja Nnamaalwa    &#8211;    kunywa nnyo mwenge<\/p>\n<p>16.  Okukongojja omulangira Ssegamwengekunywa nnyo mwenge    &#8211;    <\/p>\n<p>17.  Okwesiwa amagengere    &#8211;    kunywa nnyo mwenge<\/p>\n<p>18.  Okwesekerera obugonja    &#8211;    kunywa mwenge<\/p>\n<p>19.  Amataaba    &#8211;    ssente eziweebwa abaafiirwa nga okuziika kwaggwa<\/p>\n<p>20.  Omuliro gwa Buganda okuzikira    &#8211;    kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>21.  Okukisa omukono    &#8211;     kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>22.  Okuggya omukono mu ngabo    &#8211;     kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>23.  Kabaka okuseerera    &#8211;     kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>24.  Kabaka okubula    &#8211;     kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>25.  Okubikka akabugo ku maaso    &#8211;     kufa kwa Kabaka<\/p>\n<p>26.  Okubikka akabugo    &#8211;    kuziika kwa Kabaka<\/p>\n<p>27.  Okutereka enjole    &#8211;     kuziika kwa Kabaka<\/p>\n<p>28.  Ekyemisana okukirunga mu mmindikusiiba njala    &#8211;    <\/p>\n<p>29.  Olubuto okuba ku mugongo    &#8211;     bubeera muyala nnyo<\/p>\n<p>30.  Enjala okukuulamu olulimi    &#8211;     bubeera muyala nnyo<\/p>\n<p>31.  Okwerya enkuta    &#8211;    butaba na kyakulya okumala ebbanga eddene<\/p>\n<p>32.  Ab\u2019omu lubuto okubanja bubeera muyala nnyo    &#8211;    <\/p>\n<p>33.  Okukoowa nga banyaga    &#8211;    kulemererwa nga oli kumpi kuwangula<\/p>\n<p>34.  Okukuba ekintu obudidndakumannya nnyo kintu    &#8211;    <\/p>\n<p>35.  Okuba kakensa mu kintu    &#8211;     kumannya nnyo kintu<\/p>\n<p>36.  Okuba nnakinku     &#8211;     kumannya nnyo kintu<\/p>\n<p>37.  Okubeera mmo mu kintu    &#8211;     kumannya nnyo kintu<\/p>\n<p>38.  Okweriisa enkuuli    &#8211;    kusinga bantu balala okumanya ekintu<\/p>\n<p>39.  Okunywa mu banno akendo    &#8211;    kusinga balala<\/p>\n<p>40.  Okulya omuluka     &#8211;     kusinga balala<\/p>\n<p>41.  Okubeera kaliba mu kintu    &#8211;     kumannya nnyo kintu<\/p>\n<p>42.  Amatama okufunya ebikonde    &#8211;    kulya<\/p>\n<p>43.  Okusereekerera ekitaggumira    &#8211;    kulya<\/p>\n<p>44.  Amazina g\u2019ekirevu    &#8211;     kulya<\/p>\n<p>45.  Okuwunya ku gwa ddyo    &#8211;     kulya<\/p>\n<p>46.  Okuwa amatooke obwala    &#8211;    kulya<\/p>\n<p>47.  Okukwata ak\u2019e Wamala    &#8211;     kulya<\/p>\n<p>48.  Okugenda okuwooma    &#8211;     kulya<\/p>\n<p>49.  Okugenda ku mutala Naalya    &#8211;     kulya<\/p>\n<p>50.  Ddungu okuba nga ayizze    &#8211;    kufuna kirungi ky\u2019obadde tosuubira<\/p>\n<p>51.  Kye wayagaliza embazzi kibuyaka okuba nga asuddekufuna kyoyagala nga tosoose kutegana nga bwobadde osuubira    &#8211;    <\/p>\n<p>52.  Okwekuulira akabazzi ku kugulu    &#8211;    kwereetera bizibu<\/p>\n<p>53.  Okwetyabira akalimu obuwuka    &#8211;     kwereetera bizibu<\/p>\n<p>54.  Okwezaalira emineene    &#8211;     kwereetera bizibu<\/p>\n<p>55.  Okwereetera emiteeru    &#8211;     kwereetera bizibu<\/p>\n<p>56.  Okubeera ku yoleke    &#8211;    kubeera na bizibu<\/p>\n<p>57.  Okuba mu ddubi    &#8211;    kuba mu buzibu<\/p>\n<p>58.  Okuzaala emineene    &#8211;    kuleeta bizibu<\/p>\n<p>59.  Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa nga endiga erinnya enju    &#8211;    buzibu kweyongera<\/p>\n<p>60.  Okusoberwa eka ne mu kibira    &#8211;    kusoberwa kya kukola olw\u2019ebizibu<\/p>\n<p>61.  Okubeera mu kattu    &#8211;     kubeera na bizibu<\/p>\n<p>62.  Omusekera nnyuma    &#8211;    ngalabi<\/p>\n<p>63.  Eggaabe    &#8211;    ngalabi<\/p>\n<p>64.  Liiso ddene    &#8211;    Katonda<\/p>\n<p>65.  Lugaba    &#8211;     Katonda<\/p>\n<p>66.  Ddunda    &#8211;     Katonda<\/p>\n<p>67.  Nnamugereka    &#8211;     Katonda<\/p>\n<p>68.  Ebigambo obutabaako mutwe n\u2019amagulu    &#8211;    kuba nga si bituufu<\/p>\n<p>69.  Ebigambo okubeera ebya njwanjwa    &#8211;     kuba nga si bituufu<\/p>\n<p>70.  Ebigambo okuba ebya sswakaba     &#8211;     kuba nga si bituufu<\/p>\n<p>71.  Okutimba ebbula    &#8211;    kulimba muntu<\/p>\n<p>72.  Okutema amagembe     &#8211;    kulimba nnyo muntu<\/p>\n<p>73.  Okukuba enkondwe    &#8211;    kulimba nnyo muntu<\/p>\n<p>74.  Okubeera nga amatama ntengo    &#8211;    kusobya nga bakubuuza tolina kya kuddamu<\/p>\n<p>75.  Ekintu okufa ttogge    &#8211;    kufiira bwereere nga tewali ayamba<\/p>\n<p>76.  Ekintu okufaafaagana ng\u2019entungo eyiiika    &#8211;     kufiira bwereere nga tewali ayamba<\/p>\n<p>77.  Okuteerawo omuntu akabega    &#8211;    kweyimirira(kuwolereza) muntu<\/p>\n<p>78.  Okuzza erinnya    &#8211;    muntu kufiira ku mawanga<\/p>\n<p>79.  Okuddira mu bbaasa    &#8211;    kuzza muntu afiiridde ku mawanga<\/p>\n<p>80.  Okuta akaka    &#8211;    kuyomba<\/p>\n<p>81.  Okubuuka enswa    &#8211;     kuyomba<\/p>\n<p>82.  Okwesala akajegere    &#8211;     kuyomba<\/p>\n<p>83.  Okulinnya mu kyoto    &#8211;    kugaanira ddala<\/p>\n<p>84.  Okukomba ku ppaasi    &#8211;    kugaanira ddala<\/p>\n<p>85.  Okwerema    &#8211;    kugaanira ddala<\/p>\n<p>86.  Ebintu okuba ng\u2019obutta    &#8211;    nga bingi nnyo<\/p>\n<p>87.  Ebintu okuba ng\u2019obugulu bw\u2019eggongolo    &#8211;    bintu buba bingi<\/p>\n<p>88.  Ebintu okuwugako ebiwuge    &#8211;    kuba n\u2019ebintu nga bingi nnyo<\/p>\n<p>89.  Ebintu okubeera eby\u2019ekkekwa    &#8211;    kuba nga tebirabika<\/p>\n<p>90.  Okuba olumbe lw\u2019ekirago    &#8211;    kuyisa bubi banno nebakwetamwa<\/p>\n<p>91.  Ennyindo okuba nga ey\u2019enkata    &#8211;    kunyiiga<\/p>\n<p>92.  Okuba Sseggaali    &#8211;    kuba mugagga nnyo<\/p>\n<p>93.  Okubeera omubede\/ ababede    &#8211;     kuba mugagga nnyo<\/p>\n<p>94.  Okuba binnyonkondo    &#8211;    kuba mugagga nnyo<\/p>\n<p>95.  Okukuba omuntu enkata    &#8211;    kumuwa kyabadde tasuubira<\/p>\n<p>96.  Omuntu okuba ng\u2019ensimbi azanjazaamu kati    &#8211;    kuba mugagga nnyo<\/p>\n<p>97.  Omuntu okuba bifeekeera    &#8211;    kuba mugagga nnyo<\/p>\n<p>98.  Ekintu okuba ekinnya n\u2019empindi    &#8211;    kintu kuba kumpi nnyo(kusemberegana)<\/p>\n<p>99.  Okuba kawenkene     &#8211;    omukambwe atenga mukozi wa bivve<\/p>\n<p>100.  Embazuulu y\u2019omuntu    &#8211;    omukambwe ennyo<\/p>\n<p>101.  Okuba ebyoya by\u2019enswa    &#8211;    butagasa<\/p>\n<p>102.  Okubanakamwa akalimu akazigio    &#8211;    muntu kuba nga ayogera burungi<\/p>\n<p>103.  Omuntu okuba nakamwa ak\u2019essunsa    &#8211;    muntu kwogera ng\u2019aboggola ate ng\u2019avuma<\/p>\n<p>104.  Ekintu oba omuntu nampawengwa    &#8211;    kuba nga talina ludda w\u2019agwa<\/p>\n<p>105.  Omuntu okulya mu lulime ne mu luzise    &#8211;    butaba na luda w\u2019aggwa<\/p>\n<p>106.  Omuntu okwefuulira mu kiti nga embazzi    &#8211;    muntu kwekyusa n\u2019ava ku kye mwateesezza<\/p>\n<p>107.  Omuntu obutaba na mugongo    &#8211;    muntu butanywerera ku kintu<\/p>\n<p>108.  Omuntu okutwalibwa embuyaga     &#8211;     muntu butanywerera ku kintu<\/p>\n<p>109.  Omuntu okutuuka ku kyalo embwa neziboggola    &#8211;    muntu kutuuka ku kyalo oba kukitundu w\u2019amanyiddwa ennyo<\/p>\n<p>110.  Embaki y\u2019omwana     &#8211;    buba mulalu nnyo<\/p>\n<p>111.  Okubuuza erigenda e mugga    &#8211;    kubuuza kyolabako<\/p>\n<p>112.  Okugwa ku muntu    &#8211;    kumuvuma oba kumugeya<\/p>\n<p>113.  Okukuba obuleeyi    &#8211;    kuba nga tolina kyokola<\/p>\n<p>114.  Okulera ezitakaayirirwa(engalo)    &#8211;    kuba nga tolina kyokola<\/p>\n<p>115.  Okuba akabwa n\u2019engo    &#8211;    kuba nga temukolagana<\/p>\n<p>116.  Okuba nga temulima kambugu    &#8211;    kukyawagana na muntu<\/p>\n<p>117.  Okusiba olumbe kumpagi    &#8211;    kugenda kukola kintu naye nga tokyalimu maanyi<\/p>\n<p>118.  Okukuba evvu    &#8211;    kuduula<\/p>\n<p>119.  Obudde okudda ku bunaabwo    &#8211;    bizibu kweyongera muntu<\/p>\n<p>120.  Okuluggulira gye lutaggulirwa( ku ppata)kwereetera bizibu    &#8211;    <\/p>\n<p>121.  Obulamu bw\u2019omuntu okuba mulusuuubomuntu kuba ng\u2019essaawa yona ayinza okufa    &#8211;    <\/p>\n<p>122.  Omutugunda okubala emwanyi    &#8211;    kintu kuba kinyuvu<\/p>\n<p>123.  Okubinuka amasejjere    &#8211;    kusanyuka oba kujaguza oluvanyuuma lw\u2019okutuuka kubuwanguzi<\/p>\n<p>124.  Okubula omukombi    &#8211;    kintu kuba kiyitirivu ate nga kinyuvu<\/p>\n<p>125.  Okubuza embuga    &#8211;    kusesema<\/p>\n<p>126.  Okuddako akada    &#8211;    kugejjagejjamu obo kunyirilamu<\/p>\n<p>127.  Okuddamu akajambujambu    &#8211;    kuddamu maanyi<\/p>\n<p>128.  Enswa okugoba ennyonyi    &#8211;    kintu butasoboka<\/p>\n<p>129.  Embwa okuzira amata    &#8211;     kintu butasoboka<\/p>\n<p>130.  Okugguka obuseke    &#8211;    kutuuka (mu budde)<\/p>\n<p>131.  Okugoba obumale    &#8211;     kutuuka (mu budde)<\/p>\n<p>132.  Emberenge okugaga    &#8211;    mbeera kwonooneka<\/p>\n<p>133.  Obudde okudda ku bunnaabwo    &#8211;     mbeera kwonooneka<\/p>\n<p>134.  Ekintu okugula omuddu n\u2019omwana    &#8211;    kuba kya buseere(bbeeyi)<\/p>\n<p>135.  Ebintu okugula omukazi omuzungu    &#8211;     kuba kya buseere(bbeeyi)<\/p>\n<p>136.  Ebintu okugula obuwanana (ng\u2019obwagula Mukono) kuba kya buseere(bbeeyi)    &#8211;    <\/p>\n<p>137.  Okumansa entungo    &#8211;    kwogera nga owemula<\/p>\n<p>138.  Okumokkola agagambo aganene    &#8211;     kwogera nga owemula<\/p>\n<p>139.  Okwatika n\u2019omuntu     &#8211;    kuyomba na muntu<\/p>\n<p>140.  Okulebera n\u2019omuntu    &#8211;    kunene\u014b\u014bana na muntu<\/p>\n<p>141.  Okwereega n\u2019omuntu    &#8211;     kunene\u014b\u014bana na muntu<\/p>\n<p>142.  Okuleebuukana n\u2019omuntu    &#8211;     kunene\u014b\u014bana na muntu<\/p>\n<p>143.  Okwanika omuntu    &#8211;    kuvumira muntu mu lujjudde (kuswaza muntu)<\/p>\n<p>144.  Okuyiwa ku muntu ettonotono    &#8211;    kuziika muntu (mufu)<\/p>\n<p>145.  Okuwerekera omuntu    &#8211;    kuziika<\/p>\n<p>146.  Okuyisa omuntu mu kamwa    &#8211;    kusooza muntu<\/p>\n<p>147.  Okuyisa omuntu mu mannyo    &#8211;    kusooza<\/p>\n<p>148.  Okuyisaamu omuntu amaaso    &#8211;    kunyooma muntu<\/p>\n<p>149.  Okuyisaamu omuntu agengege    &#8211;    kugaya muntu<\/p>\n<p>150.  Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa ng\u2019ate endibga erinnya enju    &#8211;    bizibu oba bintu kwongera kuzibuwala<\/p>\n<p>151.  Okuwoza mpola embuzi ndikuwa ente    &#8211;    kwetema kyotoosobole<\/p>\n<p>152.  Amatooke okubotoka    &#8211;    kuba nga gengera<\/p>\n<p>153.  Okukutwala ekirinnya mutikka    &#8211;    kukutwawala mangu nga teweyagalidde<\/p>\n<p>154.  Enva okutwala emmere    &#8211;    nva kuwooma nnyo<\/p>\n<p>155.  Omukazi omuyima okutuuliraku kisaabo    &#8211;    kubanga(wali)osiraana mu kyokola<\/p>\n<p>156.  Olugendo o\u2019kuteresa embwa    &#8211;    nga lugendo lunene<\/p>\n<p>157.  Okwessa mu ddemeezi    &#8211;    kutandika kutambula oba kugenda<\/p>\n<p>158.  Okwessa mu ddene    &#8211;    kutandika kutamula<\/p>\n<p>159.  Mwasanjala    &#8211;    luguudo lwa kkolaasi<\/p>\n<p>160.  Omuntu obutalutumira mwana    &#8211;    muntu kweyigira mukintu<\/p>\n<p>161.  Okutomera emmere    &#8211;    kusanga nga balya<\/p>\n<p>162.  Amakula    &#8211;    byebintu byebatonera kabaka<\/p>\n<p>163.  Okutimba bbula    &#8211;    kulimba<\/p>\n<p>164.  Okutereera obubya (obuwombo bwewunzika)     &#8211;    kutuula nokalira mukifo<\/p>\n<p>165.  Omwenge okusiiwa    &#8211;    kuba muka nnyo<\/p>\n<p>166.  Okukuyeeya    &#8211;    kunyeenyamu mwenge guli mudeku ngogenda kunnywa<\/p>\n<p>167.  Obukaba okusiiwa omuntuv    &#8211;    kuba mukabannnyo<\/p>\n<p>168.  Olumbe okusogola omuntu    &#8211;    muntu kulwala nnyo<\/p>\n<p>169.  Omuntu emagombe okusimbayo ekitooke    &#8211;     kuwonera watono kufa<\/p>\n<p>170.  Omuntu okuba ku ndiri    &#8211;    kuba mulwadde nnyo<\/p>\n<p>171.  Omuntu okuba ng\u2019olumbe lumubala embirizi    &#8211;    kuba nga mulwadde nnyo<\/p>\n<p>172.  Katonda okuba nga akyabisseeko akasubi    &#8211;    okuba ng\u2019omulwadde omuyi akyaliwo tannafa<\/p>\n<p>173.  Okusula amaliba    &#8211;    kusula njala<\/p>\n<p>174.  Okukowoola omusibe abombye    &#8211;    kumala budde(biseera)<\/p>\n<p>175.  Okulonda obwoya mu kkukuuzi    &#8211;    kumala budde ngokola ekintu ekitasoboka<\/p>\n<p>176.  Okumala ebiseera ng\u2019alaawa embwa    &#8211;    kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>177.  Okumala ebiseera ng\u2019akunamira muzibe    &#8211;     kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>178.  Okutongojjera obusa ng\u2019asaba oluwanga obulamu    &#8211;     kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>179.  Okumala ebyo mu bulago    &#8211;     kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>180.  Okukootakoota mu ga lumonde    &#8211;     kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>181.  Ekintu okunnya ng\u2019lutta ow\u2019ettulu    &#8211;    kwanguyilwa<\/p>\n<p>182.  Okusindika asitamye    &#8211;    kwanguyirwa kukola kintu<\/p>\n<p>183.  Okugobera ekinya mu ssubi    &#8211;    kukugamba kukola naawe kyoyagala<\/p>\n<p>184.  Okuyisa omukka mu kisero    &#8211;    kwanguyirwa kukola kintu<\/p>\n<p>185.  Okutuma enfuuzi okwennyamira    &#8211;    kwanguyirwa kukola kintu<\/p>\n<p>186.  Okuyisa omukka mukisero    &#8211;    kwanguyirwa kukola kintu<\/p>\n<p>187.  Okuseereza erigenda enmugga    &#8211;    kwanguyirwa kukola kintu<\/p>\n<p>188.  Okusindika omunya mussubi     &#8211;    kulagira muntu kukola kyayagala<\/p>\n<p>189.  Okusiindika asitamye    &#8211;     kulagira muntu kukola kyayagala <\/p>\n<p>190.  Okuyiringisa entengotengo    &#8211;    kwanguyilwa kukola kintu<\/p>\n<p>191.  kulya myungu butesokoola    &#8211;    kintu kuba kyangu nnyo<\/p>\n<p>192.  Ekintu okugula obusango    &#8211;    kuba nga kiseerebwa nnyo<\/p>\n<p>193.  Okukuysuuula ku migandu    &#8211;    kukusuula ku mitawaana oba buzibu<\/p>\n<p>194.  Okuliisa ggoonya    &#8211;    kulima<\/p>\n<p>195.  Okusamba ennanda    &#8211;    kulima<\/p>\n<p>196.  Okukwata akasimo    &#8211;     kulima<\/p>\n<p>197.  Okutemula ensiri\u019e\u019eanyi    &#8211;     kulima<\/p>\n<p>198.  Obutasekera ku kaalo katono    &#8211;    kuba ng\u2019osekera waggulu<\/p>\n<p>199.  Okusenya ku kintu    &#8211;    kintu kuba nga kingi nnyo tokimalayo<\/p>\n<p>200.  Okuba n\u2019omusota munsawo    &#8211;    kuba mukodo<\/p>\n<p>201.  Ensimo\/akasimo    &#8211;    nkumbi<\/p>\n<p>202.  Kyapa ggoonya    &#8211;     nkumbi<\/p>\n<p>203.  Ekkakkalabizo\/ yaafeesi    &#8211;    w\u2019ofiisi<\/p>\n<p>204.  Okumaza emmere    &#8211;    kutta munno<\/p>\n<p>205.  Okulumisa ekivu    &#8211;    kuttisa mundu<\/p>\n<p>206.  Okutemya ebisiki    &#8211;    kusumagira<\/p>\n<p>207.  Omukwero    &#8211;    kisasi kya nju\/ kifugi\/ lubalaza<\/p>\n<p>208.  Obuteerya ntama    &#8211;     muntu kuba nga tatya mu kwogera<\/p>\n<p>209.  Okulya mu ttama    &#8211;    kuboggola<\/p>\n<p>210.  Okulya kameenya    &#8211;    kulya nnyo<\/p>\n<p>211.  Okulonda omuntu mu bangi    &#8211;    kufuna gw\u2019oyagala<\/p>\n<p>212.  Okulinnya mubintu eggere    &#8211;    kulemesa kintu kyonna mumaaso<\/p>\n<p>213.  Okulinnyira omuntu mubigere    &#8211;    kuwerekera ku muntu<\/p>\n<p>214.  Okulinnya enkandaggo    &#8211;    bintu kweyongera mumaaso oba waggulu<\/p>\n<p>215.  Okukomba mu kibatu    &#8211;    kukuba nduulu<\/p>\n<p>216.  Okussaako kakokola tondeka nnyuma    &#8211;    kudduka kabi<\/p>\n<p>217.  Okwetegula ekibabu    &#8211;     kudduka kabi<\/p>\n<p>218.  Okukuba ez\u2019okumaji    &#8211;    muntu butaba na maanyigakola kintu<\/p>\n<p>219.  Okukuba akanuulo    &#8211;    kutambuza bigere<\/p>\n<p>220.  Okuyita ku lugwanyu    &#8211;    kuwonera watono kufuna kizibu ekinene<\/p>\n<p>221.  Okusimba kasooli    &#8211;     kutambuza bigere<\/p>\n<p>222.  Bitooke byebigwa    &#8211;    kukola nnyo kintu<\/p>\n<p>223.  Ekinti okugwa omuntu kkono    &#8211;    kuba nga kyamulema<\/p>\n<p>224.  Okwesiba ku muntu    &#8211;    kwagala nnyo muntu ate nga ye takwagala<\/p>\n<p>225.  Okuzza muddiiro    &#8211;    kuzza oli ku mulimu gw\u2019abade tasuubira olwokuba ng\u2019ogwonoonye<\/p>\n<p>226.  Okuggwa ennyalwe    &#8211;    kumatira kintu<\/p>\n<p>227.  Okutunula embebere ngo\u2019mukulu ateetimbye    &#8211;    kutunula mungeri ya kiswavu<\/p>\n<p>228.  Okuwangaala obusekuzo (ekinu kyatika)     &#8211;    kuwangaala nnyo<\/p>\n<p>229.  Okuggundagunda    &#8211;    kuwangaala nnyo<\/p>\n<p>230.  Okukula endaala    &#8211;    kuwangaala nnyo<\/p>\n<p>231.  Okusiisira awantu    &#8211;    kulwawo nnyo<\/p>\n<p>232.  Akasana okwaka ffuwuuke    &#8211;    kwaka nnyo<\/p>\n<p>233.  Akasana okuzukuka kawekwed eligangu    &#8211;    kwaka nnyo<\/p>\n<p>234.  Akakindo okusala enkoko    &#8211;    kunyirila nnyo<\/p>\n<p>235.  Okulunda omuntu    &#8211;    butamuwa ddembe oba kakisa kwetaaya<\/p>\n<p>236.  Okwesiba ebbiri    &#8211;    kwenyweza<\/p>\n<p>237.  Okugomba o muntu obwa la    &#8211;    kumukwa ta<\/p>\n<p>238.  Okussaako omuntu obunnnyogoga    &#8211;    kumusaqaako mpingu<\/p>\n<p>239.  Oku weebuka    &#8211;    kuswala<\/p>\n<p>240.  Ekintu okugeenda bukwa ku    &#8211;    kukwata kintu \u2018nbunyiikivu wa mu n\u2019amaanyi mangi<\/p>\n<p>241.  Emmeeme okutyemuka    &#8211;    kwekanga<\/p>\n<p>242.  Okubeera mu katyabaga    &#8211;     kubeera mu mitawaana<\/p>\n<p>243.  Okubeera ku kanaayokya ani    &#8211;     kubeera mu mitawaana<\/p>\n<p>244.  Okubanga gakyaali maabaga    &#8211;    kintu kuba nga tekinagenga wala oba maaso<\/p>\n<p>245.  Okugwa kungo eriko omwana    &#8211;    kugwa kubuzibu obwamaanyi<\/p>\n<p>246.  Okuzinya omuntu engeera    &#8211;    kubonyabonya nnyo muntu<\/p>\n<p>247.  Okuba omuddusi kayigo    &#8211;    kuba muddusi nnyo<\/p>\n<p>248.  Okwenkana ensiri    &#8211;    kuba mutono nnyo<\/p>\n<p>249.  Okubalira ebintu kungalo    &#8211;    kuba nga bitono nnyo<\/p>\n<p>250.  Okwogeza akamwa    &#8211;    kwogera bwogezi nti ekintu ate nga tookikole<\/p>\n<p>251.  Okuda mukulya nga katonga ajjula    &#8211;    kulwawo kukola kintu mu kiseeraekyetagisa era wewandikoledde<\/p>\n<p>252.  Okutunula kimpewukirize ng\u2019embwa esitamye ku malaalo    &#8211;    kubeera mu bweralikirivu<\/p>\n<p>253.  Omusana okwokera omuntu e katebo    &#8211;    kutawaanira bwerere<\/p>\n<p>254.  Okusibira entanda    &#8211;    kubuulirira oba kuwa magezi<\/p>\n<p>255.  Okuva ku kintu obukumbu (nkuyege kuggi)     &#8211;    kukiviirako ddala butakiddira<\/p>\n<p>256.  Okusiibula ekintu (musota bwoya)    &#8211;    kukiviirako ddala<\/p>\n<p>257.  Okwekengera omuntu    &#8211;    kumutya oba butamwesiga<\/p>\n<p>258.  Okwekomba ebinkumu    &#8211;     butaba na kyakulya<\/p>\n<p>259.  Okuba omusaale    &#8211;    kuba nga gw\u2019asoose okwenyigira mu kintu<\/p>\n<p>260.  Ekintu okudda omuntu    &#8211;    kumusemba oba kumutama<\/p>\n<p>261.  Okutagalatagala ng\u2019obussajja bw\u2019e Bulemeezi    &#8211;    kuwowoggana n\u2019ebintu ebitagasa<\/p>\n<p>262.  Okukonjera omuntu    &#8211;    kumuwaayiriza<\/p>\n<p>263.  Okuliwa omuntu    &#8211;    kumusasula nga wamusobya mu ngeri y\u2019okutanga<\/p>\n<p>264.  Okutuuza nniya    &#8211;    kusoka kwesonyiwa kintu<\/p>\n<p>265.  Okukakuba nekalaala    &#8211;    kusoka kulaaza oba kusirika<\/p>\n<p>266.  Okumma ebintu ammazzi    &#8211;    kuyeesdoinyiwa<\/p>\n<p>267.  Okubuuka    &#8211;    okufa k\u2019omulongo<\/p>\n<p>268.  Okugalambya    &#8211;    okuziikibwa kwomulongo<\/p>\n<p>269.  Omulwadde okuluma ejjiiko    &#8211;    mbeera oba bintu kwongera kwononeka<\/p>\n<p>270.  Ekiwundu okusamba eddagala    &#8211;     mbeera oba bintu kwongera<\/p>\n<p>271.  Okulinnya abantu ku mitwe    &#8211;    kubajooga<\/p>\n<p>272.  Okulinnya ku nfeete    &#8211;    kuwangula kyobadde olwanyisa<\/p>\n<p>273.  Okukuba oluku mu mutwe    &#8211;    kuwangula<\/p>\n<p>274.  Okulinnya ebbaati    &#8211;    kulinnya nnyonyi<\/p>\n<p>275.  Okulinnya omuntu akagere    &#8211;    kugoberera muntu nga tamanyi<\/p>\n<p>276.  Okulya ekimuli    &#8211;    kusaza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n\u2019oleetawo eyiyo<\/p>\n<p>277.  Okusala omuntu ekirimi    &#8211;    kusaza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n\u2019oleetawo eyiyo<\/p>\n<p>278.  Okukongooza ebigere    &#8211;    kunyooma<\/p>\n<p>279.  Okukkirira ewa Ssenkaaba    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>280.  Okugenda e Kalannamo etagenda badda    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>281.  Okukyala(kugenda) ewa Walumbe e Ttanda    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>282.  Okugenda ennyindo gye zirembekera mukoka    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>283.  Okugenda emikono gye girerera ebisambi    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>284.  Okugenda gye batambuliza omugongo nga obwato    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>285.  Okussa omukka ogw\u2019ekomerero    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>286.  Okumiza (omukka) omusu    &#8211;    kutta muntu<\/p>\n<p>287.  Efumbira omuntu okuvuunikibwa    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>288.  Okugenda okulunda embogo    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>289.  Okugenda enviiri gye zittira ng\u2019omuddo    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>290.  Okugenda ezzira kumwa    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>291.  Okugenda ekingi bantu    &#8211;    kufa<\/p>\n<p>292.  Ennaku okuyonka omuntu butaaba    &#8211;    muntu kulaba nnaku nnyingi<\/p>\n<p>293.  Enkalu okunoonya obukongovule    &#8211;    bintu kukaawa\/ kuva mu mbeera<\/p>\n<p>294.  Embooge obutabuguma    &#8211;    kuyita mu bwangu ennyo<\/p>\n<p>295.  Akataayi obutasala kkubo    &#8211;    kuyita mu bwangu ennyo<\/p>\n<p>296.  Mu kaseera mpaawe kaaga    &#8211;    kuyita mu bwangu ennyo<\/p>\n<p>297.  Mu lutemya lw\u2019eriiso    &#8211;    kuyita mu bwangu ennyo<\/p>\n<p>298.  Okudduka ez\u2019embwa(embiro)    &#8211;    kudduka misinde<\/p>\n<p>299.  Okutyekula engere    &#8211;    kutambula nga oyanguwa<\/p>\n<p>300.  Okusika ez\u2019e Luzira    &#8211;    kwewulira<\/p>\n<p>301.  Okwebaka empologge    &#8211;    kwebaka nnyo<\/p>\n<p>302.  Okwebaza eyazimba    &#8211;    kwebaka ng\u2019ofuluuta<\/p>\n<p>303.  Okufuuwa ekinyanyimbe    &#8211;    kwogera bulungi(nnyo) Luzungu<\/p>\n<p>304.  Okugenda mu nsowera\/obunyonyi    &#8211;    kukeera nnyo<\/p>\n<p>305.  Enkoko okugikwata omumwa    &#8211;    kukeera nnyo<\/p>\n<p>306.  Eddaaza    &#8211;    mwaka<\/p>\n<p>307.  Ezzooba    &#8211;    mwezi<\/p>\n<p>308.  Ddimansi    &#8211;    sabbiiti(week)<\/p>\n<p>309.  Enzingu\/oluzingu    &#8211;    lunaku<\/p>\n<p>310. Ensimbi okwekisa mu kikande    &#8211;    kuba nga tezirabika<\/p>\n<p>311.  Omulenga njuba    &#8211;    ssaawa<\/p>\n<p>312.  Omutega nsowera    &#8211;    kkanzu<\/p>\n<p>313.  Ekizibaawo    &#8211;    kkooti eyambalwa<\/p>\n<p>314.  Sseppeewo    &#8211;    enkofiira<\/p>\n<p>315.  Enkampa    &#8211;    sitookisi (shocks)<\/p>\n<p>316.  Ebiraato    &#8211;    engatto<\/p>\n<p>317.  Akafulaano    &#8211;    vesiti(vest)<\/p>\n<p>318.  Okusanga ekiyumba munyake    &#8211;    kusanga nnyumba nkalu<\/p>\n<p>319.  Okuba mukubya byayi    &#8211;    muntu kubeera wa kisa<\/p>\n<p>320.  Okuba ente y\u2019abato    &#8211;    kusaagisa nnyo baana nga tebakutya<\/p>\n<p>321.  Okutata    &#8211;    kusaaga<\/p>\n<p>322.  Okutuula omuntu mu kifuba    &#8211;    kumutwalako mukazi<\/p>\n<p>323.  Endeereetu    &#8211;    leediyo<\/p>\n<p>324.  Akamansukira    &#8211;    kazindaalo akoogererwako<\/p>\n<p>325.  Kaasuze katya    &#8211;    amafuta agatwalibwa mu kwanjula<\/p>\n<p>326.  Omutwalo    &#8211;    ettu ly\u2019enswa, edda baalikozesanga okugula omukazi oba okuwa omusolo nga ssente tezinnabaawo<\/p>\n<p>327.  Okusekera mu kikonde    &#8211;    kuseka nga toyagala kulabibwa nti osanyuse<\/p>\n<p>328.  Okusibako amatu g\u2019embuzi okuliisa engo    &#8211;    kuwaayiriza<\/p>\n<p>329.  Okukuba omuntu omutwe    &#8211;    kusooka kusanga muntu nga oli mu lugendo<\/p>\n<p>330.  Okulima empindi ku mabega    &#8211;    kuwaayiriza muntu<\/p>\n<p>331.  Okuba matankane ng\u2019empale z\u2019abaseveni    &#8211;    butaba na ludda lutuufu w\u2019ogwa<\/p>\n<p>332.  Okwetala nga namutale omunyageko ente ye    &#8211;    kwanguwa ng\u2019oliko kyoluubirira oba kyolwanira<\/p>\n<p>333.  Okwagala omuntu nga akageregere    &#8211;    kumwagala nnyo<\/p>\n<p>334.  Okutunda omwoyo ng\u2019enkoko emira ensanafu    &#8211;    kwewaayo kukola kintu kiyinza kukuviiramu buzibu (kizibu)<\/p>\n<p>335.  Okussa omuntu akasiiso ow\u2019endali kassa omukukumi    &#8211;    kusiriikirira muntu nga akola ensobi<\/p>\n<p>336.  Okuba katula keebisse buka    &#8211;    kukweka mize gy\u2019olina<\/p>\n<p>337.  Okwekwata omusoobooza    &#8211;    kubeera nga weetya<\/p>\n<p>338.  Okulimba Mukasa nti Wannema mulwadde    &#8211;    kulimba kintu kirabikako<\/p>\n<p>339.  Okugalinnya gye gava    &#8211;    kwettira mikisa<\/p>\n<p>340.  Okulimilira omuntu    &#8211;    kulemesa muntu kintu kyabadde akola nga kimugasa eg&#8217;okumugobessa ku mulimu<\/p>\n<p>341.  Okwetema engalike    &#8211;    kwogera bikontana na byasoose<\/p>\n<p>342.  Okujja obukula\/obubogo    &#8211;    kujja nga omaliridde<\/p>\n<p>343.  Okuloopera omuganzi mu nzikiza    &#8211;    kutawaanira bwereere<\/p>\n<p>344.  Okuliisa ebijanjaalo empiso    &#8211;    kugayaalirira kintu kya bulabe<\/p>\n<p>345.  Okubeera enkoboli y\u2019omusajja     &#8211;    kubeera muzira<\/p>\n<p>346.  Okubeera kagumba weegoge    &#8211;    kintu kuzibuwala ne kisinga bwe wakisuubidde<\/p>\n<p>347.  Okuba nga tonyigirwa mu tooke    &#8211;    kuba nga teweetya<\/p>\n<p>348.  Okuba embalangu    &#8211;    kuba nga okola ebiswaza, nga teweewa kitiibwa<\/p>\n<p>349.  Okwogera olulonda kambe    &#8211;    kwogera nga tomaliriza ne bakwetamwa<\/p>\n<p>350.  Okubeera omulangaasa    &#8211;    ye muvubuka atawasangako<\/p>\n<p>351.  Omusajja omuwuulu    &#8211;    ye musajja awasaawasa nga banoba olw\u2019emize gye<\/p>\n<p>352.  Okubeera enteeka    &#8211;    ye muwala atamanyi musajja<\/p>\n<p>353.  Omwana nnaatuukirira    &#8211;    mwana mulenzi<\/p>\n<p>354.  Omwana omuyebezi    &#8211;    mwana muwala<\/p>\n<p>355.  Omwana ggannemeredde    &#8211;    mwana muwala<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Ebisoko -Luganda Idioms &#8211; EBISOKO EBY&#8217;OLUKALE Ekisoko (Luganda Idiom)\u00a0 \u00a0&#8211;\u00a0 \u00a0Amakkulu (Meaning) 1. Okukooka &#8211; kuyimba 2. Okuyimbya endubaale &#8211; kubonyabonya nnyo muntu 3. Okukooza omuntu akajiri &#8211; kubonyabonya nnyo muntu 4. Okulabya omuntu ennaku &#8211; kubonyabonya nnyo muntu 5. Okukekkeza ennyago &#8211; kulwana 6. Okukweka enjala &#8211; kulwana nga okozesa bikonde 7. Ebifuba okubabuguma [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[12],"tags":[],"class_list":["post-342","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-ebisoko-luganda-idioms"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/342","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=342"}],"version-history":[{"count":1,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/342\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":409,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/342\/revisions\/409"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=342"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=342"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=342"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}