{"id":2420,"date":"2026-05-20T14:44:58","date_gmt":"2026-05-20T14:44:58","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/okukyusa-mu-luganda\/"},"modified":"2026-05-20T14:44:58","modified_gmt":"2026-05-20T14:44:58","slug":"okukyusa-mu-luganda","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/learn-luganda-grammar\/okukyusa-mu-luganda\/","title":{"rendered":"OKUKYUSA MU LUGANDA"},"content":{"rendered":"<p>OKUKYUSA MU LUGANDA<br \/>\nOkukyusa kye ki?<br \/>\nOkukyusa kwe kuddira obubaka obuli mu lulimi olumu n\u2019obuzza mu lulimi olulala naye<br \/>\nnga tokyusizza makulu. Katugambe nti singa oddira obubaka obuli mu lulimi Olungereza<br \/>\nn\u2019obuzza mu lulimi Oluganda olwo oba okyusizza. N\u2019olwekyo, aba akyusa alina okulaba<br \/>\nnga takyusa makulu agaba gali mu bubaka bw\u2019abakyusa.   Awo no bwe tuba nga tukyusa<br \/>\ntufuba nnyo okulaba ng\u2019amakulu agali mu lulimi olusooka geego gennyini agali mu<br \/>\nlwokubiri.Obubaka buno buyinza okuba obuwandiike oba obwogere.<br \/>\nOlulimi lwe tuggyamu obubaka lwe luyitibwa source language, oba olusooka oba<br \/>\noluvvuunulwa, ate lwe tuzzaamu obubaka obaolufuna obubaka ne luyitibwa olwokubiri<br \/>\noba receiving language.<br \/>\nEBYAFAAYO BY\u2019OKUKYUSA<br \/>\nAwo olwatuuka olulimi olumannyiddwa ng\u2019Olulattini nga lugenda lwatiikirira nnyo mu<br \/>\nnsi z\u2019Ebulaaya yonna ggwe wamma nga lusukka! Ekyaluviirako okwatiikirira ennyo kwe<br \/>\nkuba nga lwali lwogerebwa abantu bangi nnyo nga kino kyali kivudde kukuba emu ku nsi<br \/>\nzikirimaanyiolwo nno eryanyi ne liwagaabakulembeze baayookuwakula entalo ennyingi<br \/>\nne bawamba ebitundu by\u2019ensi bingi era ne babikakaatikako okuyiga n\u2019 okwogera olulimi<br \/>\nlwabwe Olulattini ng\u2019era bwe gwali ku Bangereza bwe baawamba amawanga ga Afirika<br \/>\nmangi eraamatwale ago ne gakakaatikibwako okwogera Olungereza ate ezaffe ne<br \/>\nzijolongebwa.<br \/>\nMu ngeri yeemu,era abafuzi b\u2019amatwale bano bwe baasanganga ekintu ekiggya ettwale<br \/>\nlyabwe lyekivumbudde nga bakiriwambako nga beefuula nti bo be baakivumbula. Ggwe<br \/>\ntowulira mbu omungereza yeyavumbula Nnalubaale n\u2019ensibuko ya Kiyira? Ggwe<br \/>\nolowooza bannansi bonna baali bamuzibe bonna boobutavumbula bintu ebyo? Kale no<br \/>\nera kinajjukirwa nti ebintu bingi eby\u2019amagezi Abalattini mbu bye baavumbula ng\u2019era mu<br \/>\nbyo mwe mwali okusoma n\u2019okuwandiika.Naye no munnange osaana<br \/>\nojjukirenti,okuwandiika kugambibwa okuba nga kwavumbulwa Basumeriya abo mu nsi<br \/>\nya Mesopotamiya nga bwe twalaba mu ssomo ly\u2019ennyanjula y\u2019Oluganda.<br \/>\nAwo no munnange ekiseera kyatuuka abantu b\u2019amawanga amalala ne bagenda bafuna<br \/>\nobwetaavu n\u2019ennyonta ey\u2019okukulaakulanya ennimi zaabwe ennansi. Bwe batyo<br \/>\nbaatandika okugenda nga bakyusa ebiwandiiko ebitali bimu nga babizza mu nnimi<br \/>\nzaabwe enzaaliranwa. Ekiwandiiko ekyasinze okwettanirwa ennyo okukyusibwa mu<br \/>\nnnimi ennyingiky\u2019ekiwandiiko ekitukuvu-Bayibuli.Bayibuli yakakyusibwa mu nnimi<br \/>\nezisoba mu 2,000at&#8217;era ng&#8217;ekyakyusibwa. Emirundi egisinga kye kitabo ebiba kisoose<br \/>\nokuwandiikibwa mu lulimi olwo.<br \/>\nEbisaanyizo by\u2019omukyusa omulungi. <\/p>\n<p>Nga bwe tulabye, okukyusa si mulimu mwangu nnyo kubanga singa oba nga<br \/>\ntokozesezza bukugu amakulu gayinza okufa.<br \/>\nBino wammanga bye bisaanyizo by\u2019omukyusa omulungi:<br \/>\n1. Ateekwa okuba ng\u2019amanyi bulungi ennimi zombi (lw\u2019aggyamuate n\u2019olwo lw\u2019aba<br \/>\nazzaamu.) Singa taba mukugu mu nnimi zombi okukyusa kuyinza obutabaamu<br \/>\nmakulu.<br \/>\n2. Omukyusa omulungi ateekwa okuba ng\u2019asobola okusoma embeera<br \/>\ny\u2019ommwogezi oba omuwandiisi asooka.Singa kino kimulema okukola obubaka<br \/>\nbw\u2019omwogezi oba omuwandiisi buyinza obutatuuka bulungi ku bannyini bwo.<br \/>\n3. Omukyusa omulungi ateekeddwa okuba ng\u2019asobola okuwuliriza obulungi<br \/>\nn\u2019obwegendereza erang\u2019asobola okussaayo ennyo omwoyo alyoke asobole<br \/>\nokutegeera ebyo by\u2019aba agenda okukyusa naddala singa biba nga bisomebwa<br \/>\noba nga byogerebwa bwogerebwa.<br \/>\n4. Omukyusa omulungi ateekwa okuba ng\u2019asobola okusoma n\u2019okutegeera ensonga<br \/>\nz\u2019aba agenda okukyusa. Singa aba tategeera by\u2019aba agenda okukyusa,aba ajja<br \/>\nkubikyusa mu bukyamu.Anti aba tategera kye bitegeeza era n\u2019ennonda<br \/>\ny\u2019ebigambo nayo eba nkyamu.<br \/>\n5. Asaana abe nga muwuliriza mulungi.<br \/>\n6. Asaana abe nga mutendeke mu mulimo ko ne mu bukodyo bw\u2019okukyusa.<br \/>\nOmukyusa omutendekeebintu by\u2019akyusa byawukaniraddala kw\u2019ebyo eby\u2019oyo<br \/>\natali mutendeke olw\u2019ensonga nti yeomutendeke agoberera nnyo bino:<br \/>\ni.<br \/>\nOmukyusa omutendeke ateekwa okusoma mu kiwandiiko ky\u2019aba<br \/>\nagenda okukyusa enfunda eziwera,wakiri emirundi egitakka wansi<br \/>\nw\u2019esatu. Ekimukoza kino kwekwagala okwongera okunnyonyoka ne<br \/>\nkalonda yenna afa ku kiwandiiko ekyo ky\u2019aba agenda okukyusa.<br \/>\nii.<br \/>\nBw\u2019aba ng\u2019akyusa agendaakyusa birowoozo so si kigambo ku<br \/>\nkigambo, wadde sentensi ku senetensi nga ky\u2019agenderera amakulu<br \/>\ngaleme kufa.<br \/>\niii.<br \/>\nAfuba nnyo okumanya ebintu ng\u2019enzimba y\u2019essentensi ekkirizibwa mu<br \/>\nlulimi olwo lw\u2019aba azzaamu.Okugeza Oluganda n\u2019Olungereza.<br \/>\niv.<br \/>\nBwetuba tukyusa mu ngeri ennungi,omukyusa omutendeke amanya<br \/>\nnti waliwo ebintu byetutalina mu lulimi so ng\u2019ate mu lulimi olulala<br \/>\nmwebiri.<br \/>\nBino afuba okulaba ng\u2019abigandawaza era ng\u2019abisengese mu butuufu bwabyo.<br \/>\nv.<br \/>\nOmukyusa omulungi atekeddwa okumanya olulimi Oluganda mu<br \/>\nbutuufu bwalwo nga talutabiseemu lulimi lulala asobole okwewala<br \/>\nobutategeerwa muntu mulala aba anaasoma ekiwandiiko <\/p>\n<p>ekyo.Omukyusa omulungi alina okukitwala nti abo b\u2019aba akyusiza<br \/>\ntebamanyi lulimi lulala lwonna okuggyako olwo lw\u2019aba<br \/>\nakyusizaamu.N\u2019olwekyo asaana yeewaale okutabiikiriza ennimi.<br \/>\nvi.<br \/>\nOmukyusa omulungi oluusi ayinza okulaba nga ssentensi eyitiridde<br \/>\nobuwanvu mu lulimi lw\u2019aba akyusa aggyamu .Wano omukyusa<br \/>\nomulungiaba wa bbeetu okugikutulamu bw\u2019aba akyusa kasita aba nga<br \/>\ntakyusizza makulu.<br \/>\nvii.<br \/>\nOmukyusa omulungi ateekwa okwegendereza bw\u2019aba ng\u2019akyusa n\u2019aba<br \/>\nng\u2019akyusa birowozo so sibigambo.Era yeegendereza nnyo okusobola<br \/>\nokulaba ng\u2019ebirowoozo by\u2019aba akyusa bigoberegana bulungi mu ngeri<br \/>\newa amakulu.So si kumala gakyusa.<br \/>\nSinga omukyusa omulunga aba akyusa naye nga mu kiwandiiko ky\u2019akyusa mulimu<br \/>\nebisoko n\u2019engero oba enjogera,naye afuba okulaba ngayeeyambisa ebisoko,engero<br \/>\nn\u2019enjogera ezituukira obulungi kw\u2019ezo z\u2019aba asanze mw\u2019ekyoky\u2019aba akyusa. Okugeza mu<br \/>\nLuganda mulimu engero ezaagala okukwatagana n\u2019ezo ez\u2019Olungereza.Okugeza<br \/>\n Bwetuba tukyusa, amannya agamugasobola okukyusibwa ne gadda mu<br \/>\nlulimi lw\u2019oba okyusizaamu .Okugeza:  a-Europe\u2013Bulaaya b-Overseas- Emitala<br \/>\nw\u2019amayanja c- Belgium- Bubirigi  e- Turkey\u2013Butuluuki f- Holland- Budaaki g-<br \/>\nGreece- Buyonaani  h-Egypt- Misiri<br \/>\ni-Yugoslavia-Yugoyugo<br \/>\n                                                           j-German- Bugirimaani<br \/>\nMwattu naawe noonyaayo amannya amalala kkumi ogongererezeeko.<br \/>\nAte waliwo amannyaamalala go nga tetusobola kugakyusa ago tugaleka nga bwegaba<br \/>\ngali naddala singa gaba nga gankalakkalira .Mpozzi kyetuyinza okukola kwe kunyonnyola<br \/>\namakulu gaagomu bigambo,okugeza:<br \/>\nUNEB-Ekitongole ekikola ku bigezo bya Uganda.<br \/>\nUNO-Ekibiina ky\u2019amawanga amagatte.<br \/>\nAfrican Union-Ekibiina ekigatta amawanga ga Africa.<br \/>\nEast African Federation- Ekibiina gy\u2019omukago gw\u2019amawanga gw\u2019obuvanjuba bwa Africa.<br \/>\nMwattu jjukira nti amannya agamu tugaleka nga bwegaba gali tetugakyusa. <\/p>\n<p>EBINTUBYETAAGIBWA MU KUKYUSA<br \/>\nOmuntu yenna aba agenda okukyusa yeetaaga ebintu ebinaamusobozesa okukola<br \/>\nomulimu ogwo obulungi.<br \/>\ni. Ekiwandiiko ky\u2019aba agenda okukyusa(Text).Kino kikulu nnyo mu mulimu<br \/>\ngw\u2019okukyusa anti wekitali mpaawo kiyinza kukolebwa, anti oba tolina ky\u2019okyusa. ii.<\/p>\n<p>Enkuluze(dictionaries) zino zikuyamba okuzuula ebigambo ebiyinza<br \/>\nokukubeerera ebizibu mukukyusa ekiwandiiko. Ng\u2019oggyeeko enkuluzey\u2019olulimi<br \/>\nlw\u2019oba oggyamu, omukyusa yeetaaga enkuluze y\u2019olulimi mw\u2019aba azza.So ate era<br \/>\nweetaaga n\u2019enkuluze ey\u2019ekikugu eyeefunyiridde kumulimu\/ ekwata kw\u2019ekyo ky\u2019aba<br \/>\nakyusaako. Okugeza enkuluze ey\u2019eddini,ey\u2019ebyobufuzi, ey\u2019amateeka ,ey\u2019ekisawo<br \/>\nn\u2019endala. Kino kimuyamba okunyonnyoka kw\u2019ekyo ky\u2019aba<br \/>\nakyusaako.N\u2019okweyambisa olulimi olutuukirakw\u2019ekyo ky\u2019aba akyusaako.<br \/>\niii.<br \/>\nEkyuma ekikyusa (translating machine)Mu nsi ezaakulaakulana<br \/>\nedda,omukyusa aba n\u2019ekyuma kyikakyusabigambo. Kinokimuyamba nnyo mu<br \/>\nmulimugw\u2019okukyusa kubanga kibeeramu enkuluze z\u2019ennimi endala<br \/>\nnnyingiezaakula edda.Okugeza<br \/>\nOlufalansa, Olujamani, Olungereza, Oluyonaani, Oluwalabu, n\u2019endala nnyingi ddala.<br \/>\niv.<br \/>\nEkyuma ekikuba mu kyapa(computer) Kino kikuyamba mu kukwanguyiza<br \/>\nomulimu gw\u2019okukyusa olw\u2019ensonga nti oluusiempandiika eyinza okukaluba<br \/>\nmu kusoma.So ng\u2019ate ekyuma kino kyanguyako eddimu lino.Anti bwe liba mu<br \/>\nkyapa lyanguwa okusoma.<br \/>\nv.<br \/>\nWeetaaga okuba n\u2019ebikozesebwa ng\u2019ekkalaamu, empapula, peeni\/bbayiro,<br \/>\nakasiimuula, nga tonnaba kuwandiika kiwandiiko kisembayo.<br \/>\nvi.<br \/>\nWeetaaga okubera ne banno b\u2019okyusa nabo oba giyite tiimu. Bwetuba<br \/>\ntukyusa omulimu ogw\u2019okukyusa guyanguwa bwe tuba nga tulinawo<br \/>\nabayambi. Tiimu eno ebaamu abantu ab\u2019enjawulo okusobola okukola<br \/>\nomulimu gunoobulungi. Ebika by\u2019abantu bano bye bino:<br \/>\na.Omukyusa omukulu(chief transilator),<br \/>\nb.Abayambi (co-translators)<br \/>\nc.Abasoma mu mulimu (reviewers),<br \/>\nd. Abeekebejja mu mulimu oguba gukyisiddwa okulaba oba ebintu<br \/>\nng\u2019empandiika entongole, ensengeka n\u2019ebiringa ebyo biri bulungi.(editorsand<br \/>\nproof readers) e.Abagezeza omulimu oguba gukyusiddwa (testers),<br \/>\nf. Abebuubuuzibwako (consultants) <\/p>\n<p>EMITENDERA EGIYITIBWAMU NGA TUKYUSA EKIWANDIIKO KYONNA.<br \/>\nNga tonnaba kukyusa kiwandiiko kyonna, waliwo emitendera egy\u2019enjawulo<br \/>\nomukyusa omulungi yenna gy\u2019alina okuyitamu ng\u2019akyusa. Emitendera egyo gye gino<br \/>\nwammanga:<br \/>\ni. Omutendera ogw\u2019okwetegeka.Bw\u2019oba nga weetegeka oba olina okukola ebintu<br \/>\nbino wammanga:<br \/>\na- Funa ekiwandiiko ky\u2019oba ogenda okukyusa kubanga bwekitabaawo oba tolina<br \/>\nky\u2019oba ogenda kukyusa. b- Noonya ebintu by\u2019oba ogenda okweyambisa (tools)<br \/>\nc- Noonya abantu b\u2019oba ogenda okukola nabo.(team)<br \/>\nd- Manya abantu b\u2019oba ogenda okukyusiza (target audience analysis) Kiba kirungi<br \/>\nnnyo okumanya abantu bano kubanga kikuyamba okukozesa olulimi<br \/>\nolubatuukirako.Awo no kirungi okumanya oba nga baana bato,bayivu, bakadde,<br \/>\nbamisomogyalema,ba nzikiriza ki (mu by\u2019obufuzi oba mu ddiini)baamioba<br \/>\nbakyala, balina biruubirirwa ki,biki ebibanyumira ,babuwangwa ki?<br \/>\ne- Zuula obubaka obuli mu kitundu ky\u2019oba ogenda okukyusa. Nga tonnaba<br \/>\nkutandika kukyusa, sooka osome mu kiwandiiko ekyo kyonna omanye kikikye<br \/>\nkyogerako. Kiba kya magezi okusooka okukisomamu emirundi egitakka wansi<br \/>\nw\u2019esatu oba okusingawo. Bw\u2019oba ng\u2019osoma bulilw\u2019osangaekigamboekiggya oba<br \/>\nekigumu sooka okisazeeko omusittale era oluvannyumaokikebere mu<br \/>\nnkuluzeosobole okuzuula oba okufuna amakulu amatuufu. Mwattu eraoli<br \/>\nwaddembeokwebuuzaako kw\u2019abo b\u2019osuubira nti bandiba nga bakusingako<br \/>\nnebasobola okukuyamba<br \/>\nf- Tandika okukyusa kwennyini.Bw\u2019oba ng\u2019okyusa kiba kirungi n\u2019ovakumu ng\u2019alya<br \/>\nakatogo. Ku mutendera guno oyinzaokugira ng\u2019ebigambo ebikulemaobireka. So<br \/>\nate era bw\u2019oba olina ebigambo ebisukka mu kimu nga tonnasalawo ku kiriwa<br \/>\nkw\u2019ebyo kiriwa ky\u2019oba okozesa era ne wano gira nga byonna obiteekawo. Ku<br \/>\nmutendera guno oyinza obutafaayo nnyo ku mpandiika ntongole.<br \/>\ng- Okwekenneenya ebintu by\u2019oba okyusizza. Ku mutendera guno, tunuulira ebintu<br \/>\nbino wammanga:<br \/>\n Obutangaavu \u2013 (transparance) wano tuba tunoonya obutangaavu bw\u2019ekitundu<br \/>\nkye tuba tukyusizza.Weebuuze oba ng\u2019amakulu gavaayo bulungi era omusomi<br \/>\nwo gw\u2019oba oyagala aganyulwe mu ky\u2019okyusa oba nga ddala anaategeera ebyo <\/p>\n<p>by\u2019oba okyusizza. Obanga ddalaanaafuna amakulu ago g\u2019oba ogenderedde<br \/>\nafune era omuwandiisi waakyo geyagenderera afune.<br \/>\n  Obutuukirivu (accuracy) Wano oba onoonya ebigambo ebireeta amakulu agaba<br \/>\ngali mu kiwandiiko kiri ky\u2019okyusa. Ate era fuba okulaba nga by\u2019okyusizza<br \/>\nbituufuera bitegeerekeka bulungi eri bannyini lulimi.<br \/>\n Kozesa ebigambo ebikkirizika eri bannyini lulimi (Natural language\/ words). Bwe<br \/>\ntuba tikyusa twewala okugunja ebigambo ebitaliiyo.<br \/>\nObutegerekefu (clarity) Fuba okulaba ng\u2019ekitundu ky\u2019okyusizza kitegeerekeka era<br \/>\nnga kikwataganaoba nga kidiri\u014b\u014bana bulungi.Obakatugambenti nga kikola<br \/>\namakulueri oyo yenna aba akisoma.<br \/>\nWeewale okuwemula oba tugambe nti weewale okukozesa ebigambo<br \/>\nebyesisiwaza (obsinity). Okuggyako ng\u2019ekiwandiiko kye nnyini nga kye kiwemula,<br \/>\nnaye ggwe weewale okukozesa olulimi oluwemula. Fuba nga bw\u2019osobola<br \/>\nokwewala okukozesa olulimi olwesisiwaza bannyini lwo.<br \/>\n Weewale okukozesa ebigambo ebitalina mugaso mu kiwandiiko ky\u2019oba okyusa.<br \/>\nOba katugambe nti tolandagga kiteetagisa. Anti bw\u2019olandagga amakuli gayinza<br \/>\nokufa oba okubula.<br \/>\nh.<br \/>\nOkugezesa ekitundu ekiba kikyusiddwa (Testing the translated text).Bw\u2019omala<br \/>\nokukyusa, osaana n\u2019ofunayo abantu mu tiimu yo obeyambise okugezesa ekiwandiiko<br \/>\nky\u2019oba okyusizza okulabaoba nga by\u2019okyusizza ddala by\u2019ebyo era ddala nga biwa<br \/>\namakulu.<br \/>\ni.<br \/>\nOkwebuuza ku bakugu (consultations). Ku mutendera guno noonya abakugu mu<br \/>\nkisaawe ky\u2019okyusizaamu obasabe bakuyitire mu kiwandiiko ky\u2019oba okyusizza.<br \/>\nEkigendrerwa nga kwekulaba oba nga tewali nsobi yonna ekuwubidde n\u2019esigala mu<br \/>\nkiwandiiko ky\u2019oba okyusizza. Era buli nsobi yonna gye baba bakulaze fuba okulaba<br \/>\nng\u2019ogigolola bulungi mbagirawo.<br \/>\nj.<br \/>\nOkuwandiika ekiwandiiko ekisembayo (final draft). Ng\u2019omaze okuyita mu<br \/>\nmitendera egyo gyonna waggulu, ddamu owandiike ekisembayo. Kino tukisuubira<br \/>\nobutabaamu nsobi yonna,okugeza empandiika entongole etekeddwa okubera<br \/>\nng\u2019egobereddwa bulungi, ebigambo by\u2019okozesezza biteekwa okuba nga by\u2019ebyo<br \/>\nebisaanirabannanyini lulimi ng\u2019era ddala tebibeesisiwaza.Enkozesa y\u2019obubonera nga<br \/>\nddala y\u2019esaanira.<br \/>\nEBIZIBU BYETUSAANGA MU MULIMUGW\u2019OKUKYUSA.<br \/>\nBwe tuba tukyusa okuva mu lulimi olumu okuzza mu lulala,tusanga ebizibu<br \/>\neby\u2019enjawulo.Ebimu ku byo bye bino: <\/p>\n<p>i.<br \/>\nEbyobuwangwa:<br \/>\nBuli ggwanga lirina olulimi lwalyo ko n\u2019ebyobuwangwa byalwo.Mwattu era jjukira nti<br \/>\nolulimi ly\u2019eggwanga. Olulimi lw\u2019eggwanga eryo lwe lwokka olusobola okunyonnyola <\/p>\n<p>byobuwangwa by\u2019eggwanga eryo mu bujjuvu ne mu butuufu bwabyo. Kale no tusanga<br \/>\nobuzibu singa tuba tukyusa ku nsonga emu okugizza mu lulimi olulalakubanga olulimi<br \/>\nn\u2019ebyobuwangwa tebite\u014b\u014bana biringa birongo.Ye no ate singa ekyo kye tukyusa kiba nga<br \/>\nsi kinnansangwa mu byobuwangwa by\u2019olulimi olwo.Okugeza;<br \/>\ni.<br \/>\nEnjawulo eriwo mu kulamusa\/okubuusa.Ekyokulabirako; olulimi<br \/>\nOlungereza n\u2019Oluganda zirina enjawulo mu kulamusa.Anti mu Luganda<br \/>\ntugamba nti;Bannange tulabira wa?Nga tusanyuse nnyo<br \/>\nokubalabako!Abange!Yii.Muyogeeyoge nnyo.Eradde,nnyooge,maamu<br \/>\n,mirembe..Yii ngamutusuulidde omwoyo!Ab\u2019eka mulesse bali<br \/>\nbatya?Nnungi? Ate ye Omungereza agamba atya? Y\u2019ate Omugishu?<br \/>\nii.<br \/>\nEnjawulo eriwo mu kwebaza\/kweyanza wakati w\u2019olirimi Oluganda<br \/>\nn\u2019Olungereza.Olulimi Oluganda lugagga nnyo mu bigambo by\u2019okwebaza<br \/>\nn\u2019okweyanza.Mu Luganda mulimu ebigambo ebiyinza okukaluba okuzza<br \/>\nmu Lungereza okugeza;Weebale nnyo weebalire ddala,ow\u2019e Nkajja ,ow\u2019e<br \/>\nNnakatu,ndikumma okulya n\u2019enkulyowa omwoyo.Nsiimye nnyo<br \/>\n,nsiimidde ddala ,toggyanga okwo.Ow\u2019entamu enjaaliire, omubi okulya,<br \/>\nomulungi emirimu.Mwattu olimbula bazinga,ttojjanga okwo.Owange<br \/>\n&#8230;.otukubye enkata ,eyaluggudde yaluggulanga! Kizzeeyo,nga<br \/>\nmw\u2019asiimira!<br \/>\niii.Olulimi olukozesebwa mu kufumba:<br \/>\nMu byobuwanga by\u2019Abaganda mulimu olulimi olukwata ku kufumba.Muno mwetusanga<br \/>\nolulimi olufa ku kuteekateka emmere mwetusanga ebigambo ebiyinza okuba ebizibu<br \/>\nokukyusa gamba nga;okuyisa omukka,okuseruza,okuteekako omugondoli,okuteekako<br \/>\nobuwuuwo,okusiba<br \/>\noluyina,okusaliraemmere,obukunkumuka,oluvuutu,olujjuliro,essaaniiko,olwaliiro,enva<br \/>\nendiirwa,katunkuma,enkolwa,eddigobe,n\u2019ebirala.<br \/>\nSo ate n\u2019Abangereza nabo balina ebigambo ebiyinza okuba ebizibu okukyusa okuzza<br \/>\nmuLuganda ,gamba nga;hot dogs,french fries,cababos,sourceges,menu n\u2019ebirala.<br \/>\nBwe tuba tulya tulina obugambo bwetukozesa obuyinza okuba obuzibu okukyusa<br \/>\ngamba nga;okukuba ennoga,okusolobeza,okuwuuta,okuvuubiika, okuswankula<br \/>\nokuddiza ebigagu n\u2019ebirala.<br \/>\nMu kufiirwa;<br \/>\nMu kufiirwa tulina ebigambo byetukozesa ebiyinza obutaba byangu bya<br \/>\nkukyusa.Okugeza;Nga kitalo nnyo nnyini!Nga kuboonaabona! Okussaako<br \/>\nomusika,okukuma olumbe,lubuga, omuyima,okusumika n&#8217;okusumikira. <\/p>\n<p>Mu kwalula abaana waliwo ebigambo ebizibu;okugeza okuzina<br \/>\nabalongo,ekibululu,okulinnya mu mmere,Ssaalongo omuto,okukuba<br \/>\nenkanamu,okumenya olukandan\u2019ebirala bingi nnyo.<br \/>\n2.Waliwo ebigambo ebirina amakulu ag\u2019enjawulo mu buwangwa obw\u2019enjawulo nabyo<br \/>\noluusi bikalubya omulimu gw\u2019okukyusa.Okugeza ebigambo nga \u2018 ninnyenda\u2019,Omusoga<br \/>\naba ategeeza kwagala ate Omuganda aba ategeeza \u2018okwenda\u2019.Ate \u2018Sitama \u2018 mu<br \/>\nLunnyaankole.<br \/>\nAmabeere mu Lugishu, mulembemayi,<br \/>\n3.Ebigambo ebivudde mu nkyukakyuka eziva ku by\u2019obufuzi nga\u2019 democracy,gender<br \/>\nbalance,fraternity,liberty,women empowerment,globalisation&#8230;<br \/>\n4.Ebigambo ebigungiddwawo olwa tekinologiya omuggya gamba<br \/>\nnga;eyepard,earphones, socket, switch, whatsapp.<br \/>\n5.Enjawulo mu biro by\u2019amawanga agali ku lukalu lwa Africa ate ne zi ssemazinga endala<br \/>\ngamba nga;mu Bungereza balina winte, summe,spring,autum.Ebitali mu Luganda.<br \/>\n6.Enjawulo mu biseera by\u2019obudde.Okugeza mu Luganda tulina ebiseera ebikulu<br \/>\nmukaaga .Okugeza;ekyabulijjo,ekiriwo,ekyayita,ekyakayita, ekinajja,ate n\u2019ekirijja.<br \/>\n7.<br \/>\nEnjawulo mu kifo n\u2019ekiseera ekintu ekyogerwako we kyabeererawo.Okugeza<br \/>\nebintu ebimu ng&#8217;ebiri mu Bayibuli byaliwo dda nnyo kale oluusi nga n\u2019ebifo we<br \/>\nbyatuukirawo oba bye bikwatako byakyusa dda amannya nga kati biyitibwa<br \/>\nbulala.Okugeza \u2018Give us our daily bread\u2019Kino mu Luganda tekiwa makulu kubanga ffe<br \/>\nAbaganda tetutwala migati ng\u2019emmere wabula ng\u2019ekyokunywera ku ccaayi.So ng\u2019ate<br \/>\nmu ggwanga ly\u2019Abayisirayiri emmere y\u2019e\u014b\u014banoy\u2019emmere yabwe enkulu.<br \/>\n8.<br \/>\nEbigambo eby\u2019amakulu agasukka mu gamu.Waliwo ebigambo ebirina amakulu<br \/>\nagasukka mu gamu. Ebigamboebyo biyinza okuba ebizibu mu kukyusa, okugeza<br \/>\nng\u2019omusana,okulembeka, okukolola.<br \/>\n9.<br \/>\nWaliwo ebigambo ebirina amakulu agaagala okufaanagana okugeza nga<br \/>\nbarn,embago, sanctions oba speak, talk,say.<br \/>\n10.<br \/>\nTulina ebigambo ebizibu ebiyinza okutuleetera okukaluubirirwa mu kukyusa<br \/>\nokugeza nga tolina bikifaana mu Luganda okugeza nga globalisation<br \/>\n11.Okuwubwa mu kutegeera amakulu n\u2019otegeeramu malala. Okugeza;Bannabyabufuzi<br \/>\nbasaana kuwera.Wano aba ategeeza kuwera mu bungi oba okubateekako etteeka<br \/>\neribayimiriza? Ate oluusi omukyusa ayinza okufuna amakulu amakyamu olw\u2019okuba nga<br \/>\nsi mukugu mu mulimo ogwo oba nga wakibogwe mu kumanya ennimi z\u2019akyusa. Awo no<br \/>\nomukyusa omulungi kimukakatako okwemanyiiza ennimi zonna n\u2019aba nga<br \/>\nazikuguseemu naddala ezo z\u2019atera okukyusizamu. <\/p>\n<p>12.<br \/>\nOkwongera ku makulu g\u2019oba okyusa oba ekiwandiiko ky\u2019oba okyusa (extraneous<br \/>\nmaterial) Abantu bangi abeenyigira mu kukyusa balina omuze gw\u2019okwongera ebigambo \/<br \/>\namakulu mu kiwandiiko kye baba bakyusa olwo amakulu agaba gali mu kisooka ne<br \/>\ngabula.<br \/>\n13.<br \/>\nEnjawulo mu nkozesa y\u2019olulimi (figures of speech) .Buli lulimi lulina engeri gye<br \/>\nlukozesebwamu gamba ng\u2019okukozesa ebisoko, engero, enjogera, ebikokko, n\u2019ebirala<br \/>\nebiringa ebyo. So ate oluusi nga bizibu\u2019okutegeera mu makulu. Okugeza On a rainny day.<br \/>\nPoliticians let us down. Great men and women turned the world upside down.Do not go<br \/>\ntothe HM because he is boiling.<br \/>\nEbikaby&#8217;okukyusa<br \/>\nAbakyusa ab&#8217;enjawulo basobola okukyusa mu ngeri ez&#8217;enjawulo kasita bye baba<br \/>\nbakyusizza bisigaza amakulu nga geegamu. Jjukira nti ensonga enkulu ennyo mu<br \/>\nkukyusa kwe kukuuma amakulu obutiribiri ne gatakyuka. Okukyusa kulina ebika ebikulu<br \/>\nbisatu era nga bye bino;<br \/>\n1. Okutaputa:<br \/>\nKuno kwe kukyusa ebirowoozo okubiggya mu lulimi olumu okubizza mu lulala kyokka<br \/>\nng&#8217;omukyusa by&#8217;akyusa ayogera byogere. Awono, okukyusa okw&#8217;engeri eno kutera<br \/>\nkukolebwa ku mboozi enjogere nga bwe tulaba mu kubuulira enjiri kko ne mu buzannyo<br \/>\nbw&#8217;oku ntimbe obukyase ennyo ensangi zino.Omwogezi abeera ayogera ebirowoozo bye<br \/>\nmu lulimi olumu, ate olwo omutaputa nga bw&#8217;abizza mu lulimi olulala.<br \/>\n2. Okuvvuunula:<br \/>\nKuno kwe kukyusa ebirowoozo okuva mululimi olumu okubizza mu lulimi olulala,<br \/>\nkyokka n&#8217;omukyusa agenda anyonnyola amakulu g&#8217;ebigambo ebiba bikyusibwa.<br \/>\nN&#8217;olwekyo okuvvuunula kwe kunyonnyola<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>OKUKYUSA MU LUGANDA Okukyusa kye ki? Okukyusa kwe kuddira obubaka obuli mu lulimi olumu n\u2019obuzza mu lulimi olulala naye nga tokyusizza makulu. Katugambe nti singa oddira obubaka obuli mu lulimi Olungereza n\u2019obuzza mu lulimi Oluganda olwo oba okyusizza. N\u2019olwekyo, aba akyusa alina okulaba nga takyusa makulu agaba gali mu bubaka bw\u2019abakyusa. Awo no bwe tuba [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[129],"tags":[],"class_list":["post-2420","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-learn-luganda-grammar"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2420","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=2420"}],"version-history":[{"count":0,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2420\/revisions"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=2420"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=2420"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=2420"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}