{"id":2415,"date":"2026-05-20T14:44:41","date_gmt":"2026-05-20T14:44:41","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/nnakongezalinnya-adjectives\/"},"modified":"2026-05-20T14:44:41","modified_gmt":"2026-05-20T14:44:41","slug":"nnakongezalinnya-adjectives","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/learn-luganda-grammar\/nnakongezalinnya-adjectives\/","title":{"rendered":"NNAKONGEZALINNYA (ADJECTIVES)"},"content":{"rendered":"<p>NNAKONGEZALINNYA (ADJECTIVES)<br \/>\nKino kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku linnya. Kino  kibeera kitulaga enkula,<br \/>\nenfaanana, enneeyisa awamu  n\u2019omuwendo gw\u2019erinnya.<br \/>\nEbika bya nnakongezalinnya<br \/>\nMu luganda Nnakongezalinnya zaawulwamu bwe ziti<br \/>\n1) Nnakongezalinnya ezeempisa<br \/>\nZino ziba ziraga engeri erinnya erikuweereddwa gye lyeyisaamu era nga mulimu zino \u2013<br \/>\nwombeefu, -gayaavu, -yonjo, -sirifu,          jagujagu, -lalu, -kyafu<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nOmulenzi oyo muwombeefu nnyo ekisusse<br \/>\n\u2022<br \/>\nAko akawala kagayaavu tekasobola mirimu.<br \/>\n\u2022<br \/>\nNalule muyonjo era buli omu amwesiimisa.<br \/>\n\u2022<br \/>\nEmbwa ye njagujagu olaba ekwata ababbi.<br \/>\n2) Nnakongezalinnya ezengeri\/ ezenkula<br \/>\nZino ziba ziraga engeri erinnya gye lyakulamu era nga ze zino        \u2013gezi, -tono, -gagga, &#8211;<br \/>\nddugavu, -eru, -myufu, -avu, -wanvu, nnene, -mpi<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nOmuwala muwanvu naye ate kitaawe mumpi.<br \/>\n\u2022<br \/>\nEnte ye nnene era ajja kugifunamu ssente.<br \/>\n\u2022<br \/>\nNakate mugezi era  nnyina amweyagaliramu.<br \/>\n\u2022<br \/>\nOlugoye lwe lumyufu<br \/>\n3) Nnakongezalinnya ezoomuwendo \/ ezoobungi<br \/>\nZino zibeera ziraga emiwendo gy\u2019ebintu era emiwendo egyo gibeera gya linnya eryo lye<br \/>\nnnyini eriba lyogerwako. Mu zino tulinamu \u2013tono, nfaafa, nkumuliitu, bonna, kafukunya,<br \/>\nkkekwa, muswaba, lumaggamagga, nfaafa, munaganwa, ntoko, bonsatule, bombiriri,<br \/>\nnfofoolo, ttomooni<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nBatuwadde emmere ntoko n\u2019etulemerawo.<br \/>\n\u2022<br \/>\nAbawala bonsatule babatutte mu kyalo.<br \/>\n\u2022<br \/>\nAmazzi gakkekwa ennaku zino.<br \/>\n\u2022 Abasawo batono mu ddwaliro. 4) Nnakongezalinnya endazi<br \/>\nZino zeeyambisibwa mu kulaga era zifaanagana ne Nnakasigirwa endazi wabula enjawulo<br \/>\neri nti Nnakongezalinnya endazi bulijjo<br \/>\neteekwa kubeera n\u2019erinnya lyeba ennyonnyolako  Ebikolo byazo bye bino \u2013no, -o, -li<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nOmwana ono mwagala nnyo.<br \/>\n\u2022<br \/>\nAkati ako kasuule.<br \/>\n\u2022<br \/>\nEssomero lino ddungi nnyo.<br \/>\n5) Nnakongezalinnya embuuzi<br \/>\nZino zeeyambisibwa mu kukola ebibuuzo era nazo zifaanana ne<br \/>\nNnakasigirwa embuuzi wabula enjawulo eri mu  nkozesa anti<br \/>\nNnakongezalinnya embuuzi eteekwa okuba n\u2019erinnya ly\u2019eyogerako.<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nBawala bameka abatuuse wano?<br \/>\n\u2022<br \/>\nNalukwago ki gw\u2019obadde weetaaga?<br \/>\n\u2022<br \/>\nNgatto ziriwa z\u2019omutumye?<br \/>\n6) Nnakongezalinnya ezobwannannyini  <\/p>\n<p>Zino zibeera ziraga obwannannyini ku linnya lye ziba zoogerako.<br \/>\nEby\u2019okulabirako<br \/>\n\u2022<br \/>\nAkatabo kaffe bakabbye.<br \/>\n\u2022<br \/>\nEkikajjo kyo kitwale ewaka.<br \/>\n\u2022<br \/>\nAbaana baabwe ba kyejo.<br \/>\n\u2022<br \/>\nAmagi ge gaatise.  <\/p>\n<p>OKWEGEZAAMU<br \/>\nSaza ku nnakongezalinnya eziri mu sentensi zino era oziwe amannya gaazo<br \/>\n1.<br \/>\nKato yawasa omuwala owakatakketakke era buli omu amwegomba.<br \/>\n2.<br \/>\nAbawala ab\u2019ekitema mbaagala nnyo.<br \/>\n3.<br \/>\nEnkoko eyaalujumba gyebatwala mu ssabo.<br \/>\n4.<br \/>\nMaama yatuleetedde engoye nkumu era ezimu twazigabye.<br \/>\n5.<br \/>\nMuwalawe mulungi nnyo.<br \/>\n6.<br \/>\nEmbwa endalu teyeetaaga kulunda waka.<br \/>\n7.<br \/>\nEkinnya kye musimye kigazi kisusse.<br \/>\n8.<br \/>\nAbaana bonna abaagenze mu lubiri bakomyewo.<br \/>\n9.<br \/>\nTwasisinkanye omulangaatira gw\u2019omusajja mu kkubo.<br \/>\n10.<br \/>\nEmbuzi eno gitwale ku ttale.<br \/>\n11.<br \/>\nMmeeza ki gye bakutumye?<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>NNAKONGEZALINNYA (ADJECTIVES) Kino kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku linnya. Kino kibeera kitulaga enkula, enfaanana, enneeyisa awamu n\u2019omuwendo gw\u2019erinnya. Ebika bya nnakongezalinnya Mu luganda Nnakongezalinnya zaawulwamu bwe ziti 1) Nnakongezalinnya ezeempisa Zino ziba ziraga engeri erinnya erikuweereddwa gye lyeyisaamu era nga mulimu zino \u2013 wombeefu, -gayaavu, -yonjo, -sirifu, jagujagu, -lalu, -kyafu Eby\u2019okulabirako \u2022 Omulenzi oyo muwombeefu [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[129],"tags":[],"class_list":["post-2415","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-learn-luganda-grammar"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2415","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=2415"}],"version-history":[{"count":0,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2415\/revisions"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=2415"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=2415"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=2415"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}