{"id":2408,"date":"2026-05-20T14:44:41","date_gmt":"2026-05-20T14:44:41","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/enkozesa-yobubonero-mu-luganda-punctuation-marks\/"},"modified":"2026-05-20T14:44:41","modified_gmt":"2026-05-20T14:44:41","slug":"enkozesa-yobubonero-mu-luganda-punctuation-marks","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/learn-luganda-grammar\/enkozesa-yobubonero-mu-luganda-punctuation-marks\/","title":{"rendered":"ENKOZESA Y\u2019OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS)"},"content":{"rendered":"<p>ENKOZESA Y\u2019OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS)<br \/>\nMu luganda tulina obubonero bungi ate obw\u2019enjawulo bwe tweyambisa nga<br \/>\ntuwandiika ssentensi awamu n\u2019emboozi okusobola okugifuula ennyuvu n\u2019okuwa<br \/>\namakulu era nga bwe buno<br \/>\n1. Akafundikira\/ akatonnyeze (full stop) (.)  Akabonero<br \/>\nkano kakozesebwa bwe kati<br \/>\n\uf056<br \/>\nMu kumaliriza ssentensi okugeza Nantongo mulwadde. \uf056 Mu kusirisa<br \/>\nebigambo okugeza Muky. , Mw. U.N.E.B<br \/>\n\uf056<br \/>\nMu kwawula emiwendo n\u2019ennaku z\u2019omwezi okugeza<br \/>\n17.04.2018<br \/>\n\uf056<br \/>\nSinga emboozi ebeera erina ebigambo ebibuukiddwa okugeza<br \/>\nNakamaanya yagamba nti tayagala kumweraga\u2026 era oluvannyuma<br \/>\nn\u2019abavuma.<br \/>\n2. Akabuuza (Question mark) (?)<br \/>\n\uf056<br \/>\nKano kakozesebwa singa emboozi eyogerwa yeetaaga ekyokuddamu<br \/>\noba ng\u2019erimu obugambo obubuuza okugeza Mugenda ddi ku luzzi?<br \/>\nBabadde ki abo abatuleekaanira?<br \/>\nAni akutumye omuggo ogwo?<br \/>\n\uf056<br \/>\nTukakozesa singa emboozi kwe kateereddwa kiba tekikakasibwa<br \/>\nbulungi oba kibuusibwabuusibwa okugeza Obama yazaalibwa mmu 1964 (?)<br \/>\nkubanga alabika ng\u2019atutte emyaka egiwerako.<br \/>\n3. Obuwaabi (quotation Marks) \u201c\u201d<br \/>\nObubonero buno oluusi buyitibwa buloopi era nga bweyambisibwa bwe buti<br \/>\n\uf056<br \/>\nSinga wabeerawo ebigambo ebisimbuliziddwa okugeza Bbayibuli<br \/>\netugamba nti \u201cataakole n\u2019okulya taalye\u201d kale nno mwewale obunafu.<br \/>\n\uf056<br \/>\nSinga tuba tukozesa ekigambo ekitali kya lulimi olwo mw\u2019owandiikira<br \/>\nokugeza : akawala ako abasomesa bakatenda okuba \u201csmart\u201d<br \/>\nOmutanda yawayizzaamu ne \u201cpresident\u201d w\u2019eggwanga kun kola ya \u201cfederal\u201d<br \/>\n\uf056<br \/>\nSinga wabeerawo ekigambo ekyetaaga okussaako essira, ekigambo<br \/>\nekyo kiteekebwa mu bubonero buno okugeza<br \/>\n\u201cokusoma\u201d kutuusizza bangi mu kwesiima.<br \/>\n\uf056<br \/>\nSinga ekigambo ekyogerwako kiba n\u2019amakulu agaawuka ku gaabulijjo<br \/>\nekigambo ekyo kiteekebwa mu bubonero obwo okugeza<br \/>\nOmuyizi \u201cyeesaze\u201d akawero<br \/>\nOmusomesa oyo ayagala nnyo \u201cokusala\u201d anti ne leero teyasomesezza.<br \/>\n\uf056<br \/>\nOkulaga ebigambo ebyayogerwa\/ okuwandiikibwa omulala  <\/p>\n<p>4. AKASAZE (hyphen) \u2013 Kano kaawulwamu emirundi ebiri Akampi<br \/>\n(-)<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kugatta ebigambo awamu naddala ebigambo<br \/>\nebyo bwe bitaba mannya okugeza nnyonyi-ntono, mubuzi-ekogga<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kwawulamu ekigambo naddala nga tekiweddeeyo<br \/>\nku nkomerero y\u2019olunyiriri.<br \/>\n\uf056<br \/>\nKayinza okukozesebwa mu kuwandiika ennaku z\u2019omwezi okugeza 17-<br \/>\n04-2018<br \/>\n\uf056<br \/>\nKayinza n\u2019okutegeeza okutuusa okugeza soma Bukedde olupapula<br \/>\n10-18<br \/>\n\uf056<br \/>\nOkwawulamu emiwendo oba ennukuta ebyawuddwa Akawanvu (__)<br \/>\nKeeyambisibwa nga kalaga nti mu kifo we kateereddwa waliwo ebigambo<br \/>\nebibuukiddwa okugeza<br \/>\nSsaabasajja lwe  yajja okutukyalira ebintu bingi byayolesebwa nga mulimu<br \/>\nebivuga, emmere, ennaanansi__ wabula yasiima nnyo abaabiibya.<br \/>\n5. AKAMENYI (SEMI COLON) (;)<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kugatta ssentensi ebbiri oba okusingawo era ziba<br \/>\nzisobola buli emu okuyimirirawo ku bwayo okugeza Abayizi abasoma ennyo<br \/>\nbayita;abalagajjavu tebasoma bulungi.<br \/>\n\uf056<br \/>\nOkwawula ebintu bya ssentensi ebiba bimaze okukozesebwamu<br \/>\nakawummuza okugeza okugeza okusooka, nnamuyita n\u2019agaana; ate olulala<br \/>\nye n\u2019antumira omwana.<br \/>\n6. OBUKOMERA  (brackets) (   )<br \/>\nBweyambisibwa okulaga nti ekigambo\/ ebigambo ebiteereddwa mu bukomera biwa<br \/>\namakulu g\u2019ebyo bye biddiridde okugeza Maama wa Buganda (Nnaabagereka)<br \/>\nyatukyalidde.<br \/>\nOmulongo omuto (Kato) yabuuka<br \/>\n7. AKASITALE \/<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kuwandiika ennaku z\u2019omwezi awamu n\u2019emiwendo<br \/>\nemirala okugeza 17\/04\/1994<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kifo ky\u2019ekigambo \u2018oba\u2019 okugeza<br \/>\nomuwala\/omulenzi gwe twetaaga.<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa okulaga nti akabonero mwe biteereddwa birina<br \/>\namakulu ge gamu okugeza omusawo\/omujjanjabi, enniina\/ennyaanya<br \/>\n8. AKAWUMMUZA (COMMA) (,)<br \/>\n\uf056<br \/>\nKeeyambisibwa mu kwawula ebintu ebimenyeddwa okugeza aleese<br \/>\nomunnyo, ssukaali, ebinyeebwa n\u2019amata<br \/>\n\uf056<br \/>\nMu kusala mu ssentensi empanvu okusobola okussa omukka oba<br \/>\nokuwummulamu.  <\/p>\n<p>EMBU Z\u2019EBIGAMBO (PARTS OF SPEECH)<br \/>\nEbigambo bye tweyambisa mu lulimi oluganda byonna birina amannya gaabyo aga<br \/>\nggulama bye gayitibwa. Kale nno amannya gano getuyita embu z\u2019ebigambo. Mu bufunze<br \/>\nolubu tuyinza okuluyita ettuluba ebigambo eby\u2019enjawulo mwe bigwa. Embu z\u2019ebigambo ziri<br \/>\nmunaana (8) era nga ze zino;<br \/>\n1)<br \/>\nAmannya (nouns)<br \/>\n2)<br \/>\nNakasigirwa (pronouns)<br \/>\n3)<br \/>\nNakongezalinnya (adjectives)<br \/>\n4)<br \/>\nEbikolwa (verbs)<br \/>\n5)<br \/>\nNakongezakikolwa (adverbs)<br \/>\n6)<br \/>\nNakalazi\/ Ssenfo (prepositions)<br \/>\n7)<br \/>\nNakayunzi\/ entababigambo (conjunctions)<br \/>\n8)<br \/>\nNakakunga \/ obwewuunya (interjections)<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>ENKOZESA Y\u2019OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS) Mu luganda tulina obubonero bungi ate obw\u2019enjawulo bwe tweyambisa nga tuwandiika ssentensi awamu n\u2019emboozi okusobola okugifuula ennyuvu n\u2019okuwa amakulu era nga bwe buno 1. Akafundikira\/ akatonnyeze (full stop) (.) Akabonero kano kakozesebwa bwe kati \uf056 Mu kumaliriza ssentensi okugeza Nantongo mulwadde. \uf056 Mu kusirisa ebigambo okugeza Muky. , Mw. [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[129],"tags":[],"class_list":["post-2408","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-learn-luganda-grammar"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2408","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=2408"}],"version-history":[{"count":0,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/2408\/revisions"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=2408"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=2408"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=2408"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}