{"id":1969,"date":"2025-10-05T19:43:38","date_gmt":"2025-10-05T19:43:38","guid":{"rendered":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/uncategorized\/oluyimba-108-abalokole-ba-yesube-yatuusa-mu-ggulu-song-lyrics\/"},"modified":"2025-10-05T19:43:38","modified_gmt":"2025-10-05T19:43:38","slug":"oluyimba-108-abalokole-ba-yesube-yatuusa-mu-ggulu-song-lyrics","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/enjatula-luganda-anglican-hymns-song-lyrics\/oluyimba-108-abalokole-ba-yesube-yatuusa-mu-ggulu-song-lyrics\/","title":{"rendered":"OLUYIMBA  108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU Song Lyrics"},"content":{"rendered":"<p>Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics<\/p>\n<p>OLUYIMBA  108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU<br \/>\n         1<br \/>\n ABALOKOLE ba Yesu, be yatuusa mu ggulu,<br \/>\n Bonna baana baKatonda, bonna batuukirivu;<br \/>\n Aleruuya,Aleruuya,bwe bayimba bwe batyo:<br \/>\n Ne bakuba-ennanga zaabwe,olw&#8217;essanyu lingi nnyo.<\/p>\n<p>  2<br \/>\n N&#8217;abawonya-ennaku zaabwe,n&#8217;abawa-obulamu bwe,<br \/>\n Ne baweebwa-obutuukirivu ku lw&#8217;omusaayi gwe;<br \/>\n Era-engoye zaabwe zonna ne zimasamasa nnyo;<br \/>\n Yesu n&#8217;abafuula-abaana,n&#8217;abasanyukirako <\/p>\n<p>  3<br \/>\n Omukadde,era nabbi,abamugoberera,<br \/>\n Omulenzi n&#8217;omuwala,era n&#8217;omuvubuka,<br \/>\n Abaayagala Katonda,era-abaamwuweereza;<br \/>\n Baali baddu ba Ssetaani,kaakano balokose.<\/p>\n<p>  4<br \/>\n Bwe baabeera mu nsi muno,bo baalwana n&#8217;amaanyi;<br \/>\n Ne balaba-ennaku nnyingi,ne bakolwa obubi;<br \/>\n Ne bakubibwa-amayinja,ne bajoogebwa-ababi;<br \/>\n Ne baduulirwa-ab&#8217;ettima,bwe baalumwa bwe batyo<\/p>\n<p>  5<br \/>\n Yesu kiki-ekyabawanguza Ssetaani bulijjo?<br \/>\n Ku lw&#8217;amaanyi go baawangula,era ku lwekisa kyo:<br \/>\n Ne bayoza-engoye zaabwe mu musaayi gwa Yesu;<br \/>\n Bo baakemebwa Ssetaani,ne banywerera ddala.<\/p>\n<p>  6<br \/>\n Katonda wa bakatonda,ggwe-eyazaalibwa wekka,<br \/>\n Ggwe-omusana omulungi, olw&#8217;abo tusanyuka:<br \/>\n Ka tukwate-empisa zaabwe,nga tukwesiga wekka<br \/>\n Yesu Mulokozi waffe,ggwe eyatufiirira<\/p>\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU 1 ABALOKOLE ba Yesu, be yatuusa mu ggulu, Bonna baana baKatonda, bonna batuukirivu; Aleruuya,Aleruuya,bwe bayimba bwe batyo: Ne bakuba-ennanga zaabwe,olw&#8217;essanyu lingi nnyo. 2 N&#8217;abawonya-ennaku zaabwe,n&#8217;abawa-obulamu bwe, Ne baweebwa-obutuukirivu ku lw&#8217;omusaayi gwe; Era-engoye zaabwe zonna ne zimasamasa nnyo; Yesu n&#8217;abafuula-abaana,n&#8217;abasanyukirako 3 Omukadde,era [&hellip;]<\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":0,"comment_status":"open","ping_status":"open","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[126],"tags":[],"class_list":["post-1969","post","type-post","status-publish","format-standard","hentry","category-enjatula-luganda-anglican-hymns-song-lyrics"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/1969","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=1969"}],"version-history":[{"count":0,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/1969\/revisions"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=1969"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=1969"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/aznimi.com\/luganda\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=1969"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}