Transport -Luganda To English Translation Phrases
English Translation – Luganda Translation
1. Bus station – Baasi paaka
2. Bus stop – Siteegi ya baasi
3. Taxi park – Paaka ya takisi
4. Airport – Ekisaawe ky’ennyonyi
5. Bus – Baasi
6. Train – Eggaali y’omukka
7. Aeroplane – Ennyonyi
8. Battery – Baatule
9. Brakes – Ebiziyiza
10. Car – Motoka
11. Clutch – Kulaaci
12. Engine – Yingini
13. Flywheel – Fuluweero
14. Glass – Kirawuli
15. Lights – Amataala
16. Tyres/Tires – Emipiira
17. Radiator – Ladiyeeta
18. Shock Absorber – Sekabuzooba
19. Steering Wheel – Siteringi
20. Truck/Lorry – Loole
21. Articulated truck – Loole ey’ekyana
22. Driver’s licence – Layisinsi y’okuvuga
23. Address – Endagiriro
24. Alley – Kikuubo
25. Airport – Kisaawe ky’ennyonyi
26. Station – Sitenseni
27. Cabin – Kayumba/Kasiisira
28. Careful – Kwegendereza
29. Corner – Kkoona
30. Confirmation – Kukakasibwa
31. Danger! – Kabi
32. Early – Kukeera
33. Emergency – Ekizibu eky’embagirawo
34. Empty – Kikalu
35. Fast – Mangu
36. Full – Bujjuvu
37. Intersection – Masangaanzira
38. Landing – Kugwa
39. Late – Kukeerewa
40. Lounge(room) – Kisenge
41. Airplane/Aeroplane – Nnyonyi
42. Port – Mwalo
43. River – Mugga
44. Sail – Kuseyeeya
45. Sea – Eriyanja
46. Seat – Ekifo
47. Seat belt/safety belt – Omusipi gw’oku ntebe
48. Stop! – Yimilira!
49. Street – Luguudo
50. Take off, depart – Kusitula
51. Ticket – Tikiti
52. Ticket window/wicketWatundirwa tikiti –
53. Wait! – Linda!
54. Reservation office – Wofiisi ya tikiti
55. The plane is delayed – Ennyonyi ekeereye
56. The plane is cancelled – Ennyonyi esaziddwamu
57. The plane is on time/schedule – Ennyonyi eri ku budde
58. How long will it be delayed? – Enekeerewa kumala bbanga ki?
59. Do I need to change buses? – Neetaaga okukyusa baasi?
60. You must change – Oteekwa okukyusa
61. Please take me to “___” – Mwattu ntwaala e “___”
62. How much does it cost to go to “___” ? – Otwala mmeka okugenda e “___” ?
63. Does that include the luggage? – N’emigugu ogibaliddemu?
64. How long does the trip take? – Olugendo lutwala bbanga ki?
65. I want to get off at “___” – Njagala kuviiramu “___”
66. I am lost – Mbuze
67. Where is the nearest taxi park – Paaka ya taxi eri okumpi eri ludda wa?
68. Where can I hire a bicycle? – Wa wensobola okupangisa eggaali? (Bodaboda)
69. Where do I get off to go to the bank?Wa wenviiramu okugenda ku banka? –
70. Where are we now? – Kati tuli ludda wa?
71. Where is the restroom? – Buyonjo eri ludda wa?
72. The battery is flat/dead – Baatule nfu
73. The radiator is leaking – Ladiyeta ettonnya
74. I have a flat tire/tyre – Nina omupiira ogwaabise
75. It is not working – Tekikola
76. The engine is dead – Yingini nfu
77. Where can I rent a car? – Wa wensobola okupangisa emmotoka?
78. How much is it daily/weekly? – Ssente mmeka buli lunaku/wiiki?
79. Does that include insurance? – Okwo kuliko eza yinsuwa?
80. Where is the next gas/petrol station? – Petulo sitenseni eddako eri ludda wa?
81. Is this the road to “___” ? – Lino lye kkubo erigenda e “___” ?
82. I want “__” litres of gas/petrol – Njagala liita z’amafuta “__”
83. Please fill up the tank – Mwattu jjuza tanka
84. Here is fine, thank you – Wano wamala, webale nnyo
85. The next street, please – Ku luguudo oluddako mwattu
86. Continue! – Weyongereyo!
87. Please slow down – Mwattu genda mpolampola
88. Please hurry – Mwattu yanguwa
89. Please wait here – Mwattu lindira wano
90. I’ll be right back – Nkomawo mangu
91. How much does it cost ? – Kigula ssente mmeka?
92. Won’t you take less? – Tosalako?
93. How about “___” shillings? – Ate siringi “___” ?
94. That’s too much money – Ezo ssente ziyitiridde
95. Let me give you “___” – Ka nkuwe “___”
96. I only have “___” shillings – Ninawo siringi “___” zokka
97. Here is “___” shillings – Siringi “___” ziizino
98. How about my change? – Ate kyengi wange?
99. Please give me two tickets – Mwattu mpa tikiti bbiri
100. Is this seat free? – Kino ekifo kirimu omuntu?
101. This seat is taken – Kino ekifo kirimu omuntu
102. Would you mind if I open the window? – Ofaayo singa nzigulawo eddirisa?
103. What is this station called? – Eno sitenseni bagiyita batya?
104. What station is this? – Eno sitenseni ki?
105. What is the next station – Sitenseni ki eddako?
106. Do you have any flights to Nairobi? Mulina ennyonyi ezigenda e Nairobi? –
107. What days are the flights? – Ennyonyi zigenda ku nnaku ki?
108. How much is a one-way ticket? – Tikiti ey’amagenda gokka ya mmeka?
109. How much is a return ticket – Tikiti ey’amagenda n’amadda ya mmeka?
110. Is there a flight to Harare on Monday?Waliwo ennyonyi egenda e Harare ku Bbalaza? –
111. What time is the flight? – Ennyonyi esitula ssaawa mmeka?
112. Do you have any direct flights? – Mulina ennyonyi ezigenda obutereevu?
113. How many stops does the plane make?Ennyonyi eyimirira emirundi emeka? –
114. What is the arrival time? – Etuuka ssaawa mmeka?
115. When are the return flights? – Ennyonyi ezikomawo zivaayo ddi?
116. What is the baggage allowance – Mukkiriza emigugu gyenkana wa?
117. I would like to buy a return ticket – Njagala kugula tikiti ey’amagenda n’amadda
118. I will be leaving on Friday – Nja kugenda ku Lwakutaano
119. I will return after two weeks – Nkomawo oluvannyuma lwa sabbiiti bbiri
120. What time do I have to be at the airport? – Ku kisaawe nina kubeerayo ku ssaawa mmeka?
121. Where can I buy a bus ticket? – Tikiti ya baasi nnyinza kugigula wa?
122. Is there an overnight bus? – Waliwo baasi egenda eggulolimu?
123. What time does the bus arrive? – Baasi etuuka ku ssaawa mmeka?
124. Will the bus stop at a restaurant? – Baasi eneyimirila awali eby’okulya?
125. I would like to book a seat for Friday – Njagala kwekwata kifo kya ku Lwakutaano
126. Two tickets to “___” – Tikiti bbiri okugenda e “___”
127. Does this bus go to “___” ? – Eno baasi egenda e “___” ?
128. Which bus goes to “___” ? – Baasi ki egenda e “___” ?
129. How long does it take to get there? – Kitwala bbanga ki okutuukayo?
130. What is the cost to go to “___”? – Kitwala ssente mmeka okugenda e “___” ?
131. Tell me when we get to”___” – Mbuulira nga tutuuse e “___”
132. I want to get off here! – Njagala kuviiramu wano!
133. What time is the next bus? – Baasi eddako ya ku ssaawa mmeka?
134. What time is the last bus? – Baasi esembayo ya ku ssaawa mmeka?
Leave a Reply