Basic Statement -Luganda To English Translation Phrases
English Translation – Luganda Translation
1. Are there any tourist attractions around here? – Wano waliwo ebisikiriza abalambuzi?
2. Is it safe to swim here? – Wano walungi okuwugira?
3. There are two caves here – Wano waliwo empuku bbiri
4. Where is the nearest town? – Ekibuga ekiri okumpi kiri ludda wa?
5. Is it safe to climb this mountain? – Luno olusozi lulungi okulinnya?
6. Is there a hut up there? – Engulu eyo eriyo akasiisira?
7. Help! – Munnyambe!
8. It’s an emergency! – Kizibu kya mbagirawo
9. There’s been an accident! Waguddewo akabenje –
10. Call a doctor! – Yita omusawo
11. Call an ambulance! – Yita ambyulensi
12. I’ve been robbed! – Banzibye
13. Stop! – Yimirira!
14. Go away! – Genda eri!
15. I’ll get the police! – Kampite poliisi/abasirikale!
16. Watch out! – Wegendereze
17. Thief! – Omubbi!
18. Fire! – Omuliro!
19. I’ve lost “__” – “__” embuzeeko
20. my bag – Ensawo yange
21. my suitcase – Keesi/sutikesi/sanduuko yange
22. my money – Sente zange
23. my travellers’ cheque – Kyeke zange
24. my passport – Paasipoti/Kitambulizo kyange
25. I am ill – Ndi mulwadde
26. I am lost – Mbuze
27. Look! – Laba!
28. Listen! – Wulira!
29. I am ready – Nneetegese
30. Slow down! – Genda mpola!
31. Hurry up! – Yanguwa!
32. Come here – Jangu wano
33. Go away! – Genda eri!
34. Watch out! – Wegendereze!
35. Help me – Nnyamba
36. It is possible – Kisoboka
37. It is not possible – Tekisoboka
38. I forgot – Neerabidde
39. It is important – Kikulu
40. It is not important – Si kikulu
41. What is the time? – Saawa mmeka?
42. Where are you going? – Ogenda wa?
43. What is this called? – Kino kiyitibwa kitya?
44. What is that? – Ekyo kiki?
45. Can I take a photo (of you)? – Nsobola okukuba ekifananyi?
46. Can I take a photo (of that)? – Ekyo nsobola okukikuba ekifananyi?
47. Do you live here? – Obeera wano?
48. It doesn’t matter – Ssi kigambo / Tofaayo
49. Where is the police station? – Poliisi siteseni eri ludda wa?
50. Where are the toilets? – Obuyu/ buyonjo buli ludda wa?
51. Could you help me please? – Mwattu osobola okunnyamba?
52. Could I please use the telephone? – Mwattu nsobola okukozesa ku ssimu?
53. I speak english – Njogera olungereza
54. I have medical insurance – Nina yinsuwa y’obulwadde
55. I understand – Nkitegeera
56. I dont understand – Sikitegeera
57. I didn’t realize that I was doing anything wrong – Saategedde nti kyembadde nkola kikyamu
58. I didn’t do it – Saakikoze
59. I’m sorry I apologise – Nsonyiwa Nnetonze
60. I am staying at “__” – Nsula ku “__”
61. My contact number – (next of kin)
62. We’re in a hurry please – Mwattu tuli mu bwangu
63. I’m sorry but this table is reserved – Nsonyiwa naye emmeeza eno nekwate
64. Please bring our food quickly – Emmere yaffe gyanguyeeko
65. May we have our bill please? – Osobola okutuwa lisiiti yaffe mwattu?
66. I’m just looking – Ndabako bulabi
67. What is the normal price of this?Omuwendo ogwa bulijjo sente meka? –
68. Can you write down the price? – Osobola okuwandiika wansi omuwendo?
69. Do you accept credit cards? – Mukkiriza kaadi?
70. May I try this on? – Nsobola okukyegezaamu
71. Do you have others? – Olina ebirala?
72. We don’t have any – Tetulina
73. Can I see it? – Nsobola okukiraba?
74. I don’t like it – Sikyaagala
75. I will take it – Nja kukitwaala
76. I’d like to look at blouses – Njagala kulaba ku bbulawuzi
77. How much is this? – Kino sente mekka?
78. Where are these goods made? – Bino bikolebwa wa?
79. Do I need insurance? – Neetaaga yinsuwa?
80. Free of charge – Kya bwereere
81. Do you speak English? – Omanyi olungereza?
82. Yes, I do – Weewawo
83. No, I do not – Nedda
84. I can only speak a little Luganda – Oluganda mmanyi lutonotono
85. Does any one here speak english? – Wano waliwo amanyi olungereza?
86. Do you understand? – Otegeera?
87. I understand – Ntegeera
88. I don’t understand – Sitegeera
89. How do you say “” in Luganda? – Mu Luganda ogamba otya nti “”?
90. What does this mean? – Kino kitegeeza ki?
91. Please speak slowly! – Mwattu yogera mpolampola
92. Write that word down for me – Ekigambo ekyo kimpandiikire
93. Please repeat it – Mwattu kiddemu
94. Please translate for me – Mwattu nzivuunulira
Leave a Reply