Accomodation -Luganda To English Translation Phrases
English Translation – Luganda Translation
1. Finding Accomodation –
2. Where is a “__” ? – “__” eri ludda wa?
3. hotel – Wooteri
4. cheap hotel – Wooteri eya layisi
5. nice hotel – Wooteri ennungi
6. inexpensive hotel – Wooteri ey’omuwendo omusaamusamu
7. I’ve already found a hotel – Nafunye dda wooteri
8. Please take me to the “__” hotel – Mwattu ntwaala ku wooteri “__”
9. What is the address? – Ndagirilo ki?
10. Write down the address please – Endagiliro giwandiike mwattu
11. I’d like a room “__” – Njagala ekisenge “__”
12. for one person – kya muntu omu
13. for two people – kya bantu babiri
14. with a bathroom – omuli ekinaabiro
15. with a fan – ekirina faani/ekiwujjo
16. with a TV – ekirina tivvi
17. with a window – ekirina eddirisa
18. I am going to stay for “__” – Nja kumala “__”
19. one day – olunaku lumu
20. two weeks – sabbiiti bbiri
21. I am going to live here for a year – Ng’enda kubeera wano okumala omwaka gumu
22. Is there a room available? – Olinawo ekisenge?
23. How much does it cost per day? Kya ssente mmeka buli lunaku? –
24. What is the daily rate? – Ssente mmeka buli lunaku
25. Does the price include breakfast? Ssente ziriko n’ekyenkya? –
26. Are children allowed? – Abaana bakkirizibwa?
27. Is there extra cost for children? – Abaana basasula ssente endala?
28. Can I see the room? – Ekisenge nsobola okukiraba?
29. I don’t like this room – Kino ekisenge sikyagala
30. Do you have a better room? – Olina ekisenge ekikisingako obulungi?
31. I’ll take this room – Nja kutwala kino ekisenge
32. I’m not sure how long I’m staying – Simanyi bbanga ki lyennaamalawo
33. Should I leave my key at the reception? – Nsobola okuleka ekisumuluza kyange awatuukirwa?
34. Where can I wash my clothes? – Wa wensobola okwoleza engoye zange?
35. Please wash these clothes for me – Mwattu njoleza engoye zino
36. When will they be ready? – Onoozimala ddi?
37. Can I use the telephone? – Nsobola okukozesa essimu?
38. Please spray my room – Mwattu fuyira ekisenge kyange
39. There are mosquitoes in it – Kirimu ensiri
40. Please change my sheets – Mwattu kyusa essuuka zange
41. My room needs to be cleaned – Ekisenge kyange kyetaaga okuyonja
42. Excuse me, I’ve got a problem here Nsonyiwa, nina ekizibu –
43. The window is broken – Eddirisa limenyefu
44. I can’t open the door/window – Sisobola kuggulawo luggi/ddirisa
45. I’ve locked myself out – Neesibidde ebweru
46. The toilet is broken – Akayu tekakola
47. Can you get it fixed? – Bayinza okukikola?
48. The room smells – Ekisenge kiwunya
49. It’s too dark – Enzikiza eyitiridde
50. It’s too noisy – Oluyogaano luyitiridde
51. I am leaving this hotel – Wooteri ngenda kugivaamu
52. Please prepare my/our bill – Mwattu tegeka lisiiti yange
53. Call me a taxi please – Mpitira takisi mwattu
54. Can I pay by “__” ? – Nsobola okusasuza “__” ?
55. credit card – kaadi
56. traveller’s check/cheque – kyeke
57. Can I leave my things here until “__”? – Nsobola okuleka ebintu byange wano okutuusa “__” ?
58. this afternoon – olweggulo lwa leero
59. this evening – akawungeezi ka leero
60. tonight – ekiro kya leero
Leave a Reply