Oluyimba Lyrics
Bayibuli etugamba nti Katonda ayagala buli omu alokoke kitegeza nti nawe oli omu ku abo Mukama Katonda bayagala balokoke
Naye oyinza okwebuza lwaki netaaga okulokoka oyinza nokugamba ntiseyisa bubi ate siyina empisa mbi ela kulwe’songa ezo nandi ba setaaga kulokoka
Mubutufu bwensonga buli muntu yetaaga okulokoka kubanga fena twagwa ela twalemelelwa mumaso ga Katonda
Mu Barumi 3 :23 Bayibulib egamba “Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. ” Kino kitutegeza nti buli muntu mwnonyi newankubade egwanga lye, obuyohirize bwe ,obukulu oba emyaka gye
Katonda ali lamula ela nasalila omusango abononyi kubanga ye mutukuvu kulwesonga eyo ebibi bitwawukanya ne Katonda kuba ye mutukuvu tayina bibi Katonda mutukuvu era mutukirivu so obutali abutukirivu bwona bajja kulamulwa omusango guli basalilwa bagende mu geyena mumuliro ogutagwawo emirembe ne Mirembe.
Olwo kwogala kwa Katonda Okungi gyetuli yatekawo engeli yokutununula tuleme kufa olwe bibi byaffe nga awayo mutaabani we Yesu Kristo omubwati nga saddaka etabula ko affe kulwaffe no lwebibi byaffe era Yesu Kristo omwana wa Katonda yatibwa okujawo ebibi bayibuli etugamba mu Abaebbulaniya 9:22 “Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.”
Kitegeza nti omusayi gwa Yesu Kristo gwe gwayika olwo ebibi byaffe nebisonyiyibwa
Obukakafu bwetuyina ye mwoyo omutukuvu mukama gwatade muffe
Abo bona abamukililizamu basonyiyidwa ebiibi byabwe era bibanazibwa ko era nenjawukana wakato wabwe nekatonda bayibuli etugamba mu Abaruumi 8:1 Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango …
Era baba bafunye obulamu obutagwawo nga ate ofuse bitonde bijja muKristo Yesu
Bayibuli etugamba mu Yokaana 1:12 “Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; so abo abamukiriza bafuka abaana ba Katonda nebirala ebirungi bingi ”
Kakati okiriza otya yesu nga omulokozi wo
Katonda ekikye ya kimala kati ekisigalide kili gyoli
Bayibuli etugamba nti tuyina okwenenya bwetumala netu
1. Oyina okwenenya ebibi byo byona kino kitegeza olina okukyusa endowoza yo ne bikolwa byo nokimanya nti wayonona mumaso ga katonda nti era nebwokola otya mu manyi go tosoboola kubeera mutukuvu mumaaso ga Katonda era engeri yokka gyosobola Okubeera Omutukuvu mu maaso gakatonda, no kusonyibwa ebibi byo byona , no kuzawo enkolagaana wakati wo ne Katonda era engeri eno kwe kuliliza mu Yesu Kristo nyi lwe yaffa kumusalaba yafirira ebiibi byona eranti saddaka ye yamalawo ebibi byo era nti Yesu mwana wa Katonda yaffa Nazukira. Mayivuli etugamba mu Abaruumi 10:9-10 : 9 kubanga bw’oyatula Yesu nga ye Mukama n’akamwa ko, n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka: 10 kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.
Okulokolebwa Oyina Okukyogera na kamwa ko no kikiriza mumtima gwo nti Yesu Ye Muakama wo era ye mwana wa Katonda era nti ku musalaba yafirira ebibi byo byona era nti bwe yaffa yazukira mu bafu eranda nga kati bwo mukiriza akuwawade omwoyo we era ebibi byo byona bisonyiyidwa kubanga oli mu Yesu Kristo era Kati Olokose oli Kitonde ekijya era ofunye Obulamu Obutagwawo
Kakati saba Essala Eno Okukiriza Yesu nga
Mukama wange Yesu , Nenenya ebibi byange era nkyukira gwe olwa leero webaale kuffa kulwange no lwebibi byange nokomelelwa kulwange webaale onkunfiria no ku nsonyiwa ebibi byange byona nkyogera nti yegwe Katonda wange era nzikiriza nti oli mutabaani wa Katonda era nti wajawo ebiibi byange nga nasonyiyibwa , era nga wazukiira mu baffu nkutwala leero nga omulokozi wange jangu obeere munze nange mugwe webaale Yesu Kristu Amina
Bwoba nga Osabye essala eyo Okokukala mu Yesu wetaaga okwongera okumanya Ku Yesu ne Katonda No mwoyo Omutukuvu ne Katonda kyagaala Okole bino obiga nga osoma bayibuli, nga wegaase ku Kanisa ensomi ya bayibuli, nga Osaba nokukungana na boluganda.
Leave a Reply