Hymn Lyrics

Oluyimba Lyrics

 

KIKI KYENIA OKUKOLA OKULOKOLEBWA
1. olina okukiriza nti kitufu wayonona era okoze ebibi mu mamaso ga Katonda kulwesonga eyo osanide okulamulwa Katonda kulwebikolwa byo ebibi. Era nga singa Okwonnona kwo mumaso ga Katonda singa asalawo Okubonereza nga bwoba ogwanide oba oyina kutwaliba mu geyena ewali omuliro ogutagwawo nga era oyawudwa ku Katonda

Abarumi 3; 23 kubanga bonna baayonoona, ne bataruuka ku kitiibwa kya Katonda;
1 Yokaana 1:10 Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so aga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
Abarumi 6:23 23 Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya
Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.

2.Oyina okwenenya ebiibi byo, ekitegeza nti olina okukyuka mu mpisa ne mbeera zo ogoberere Mukama Katonda kubanda Katonda Atesetese olunaku kwali lamuala buli muntu
Makko 15:14-15 14 Awo Piraato n’abagamba nti Kazzi kibi ki ky’akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere. 15 Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n’abateera Balaba, n’awaayo Yesu okukomererwa ng’amaze okumukuba.
Ebikolwa BYabatume 17: 30-31 30 Kale Katonda ebiro ebyo eby’obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya, 31 kubanga yateekawo olunaku lw’agenda okusaliramu omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.

3.Oyina Okweddamu Ekisa no’kwagala kwa Katonda Kwasembezeza gyoli okununula mu biibi byo nga osa obwesige bwo, essubi nokukiriza mubutukirivu Mukama bwatuwerede Mu Yesu Kristo ne mu sadddaka ya Yesu etabulako wadde era nga seddaka eno kwekusasulila KWOKA okwawebwa yo olwokusonyiwa ebiibi byoli koola ne bye wali okoze byoona era nga saddaka eno gwe muwendo gwoka ogwasaulibwa Yesu Okutufuula abatukuvu mu maaso ga Katonda no kutereza enkolagana yaffe ne Katonda
Yokaana 3:16-18 16 Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme.okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo. 17 Kubanga Katonda. teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 18 Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.
Abarumi 10: 8-13 8 n’abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. 9 Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng’Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw’ataba na Mwoyogwa Kristo, oyo si, wuwe. 10 Era oba aga Kristo ali’mu mmwe, omubiri nga gufudde olw’ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw’obutuukirivu. 11 Naye oba nga Omwoyo gw’oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n’emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw’Omwoyo gwe atuula mu mmwe. 12 Kale nno, ab’oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja; okugobereranga omubiri: 13 kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by’omubiri olw’Omwoyo, muliba balamu.

4. Oyina Okukitegera era nokiriza nti newankubade nga ebikola byo ebirungi byagalibwa naye bino tebimaala era tebisobola kukutwala mu ggulu oba kukufula mutuvu mu maaso ga Katonda oba kujawo enjawukana wakati wo ne Katonda ebikolwa bino mulimu Okugenda mu Kanisa, ebikolwa ebyedini nga okusembeera, essala, Okuyamaba abanaku,obulungi ,pobwetowaze ne mpisa enungi nebirala bino byona tebimala WABULA Okukiriza mu yesu yekka ne saddaka gyeyakola kyekisoboola okutukuza mumasso ga Katonda, nokutuusa muggulu no kuwa obulamu, obugwawo Yesu yekka
Romans 4:4-5 4 Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng’ebbanja. 5 Naye atakola, kyokka n’akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.

5. Okukiriza mu mutima gwo era no Kwatula na kamwa ko nti Yesu ye Mulokozi wo era yafilila ebiibbi byo ku musalaba era nga ye saddaka yoka emalawo ebiibi byo Mu maaso ga Katonda era lye KKUboerikusa mu bulamu obutagwawo era nti Yesu ye mwana wa Katonda eyaffa era nazukira Era bwomukiiriza nga mukama wo oba olina Okugoberera mukama wo byagamba mu bayibuli ne mwoyo we bwaba akugambye
1 Yokaana Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omunru yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu: 2 n’oyo gwe mutango olw’ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n’olw’ensi zonna. 3 Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye. 4 Ayogera nti Mmutegedde, n’atakwata biragiro bye, ye mulimba, n’amazima tegali mu oyo; 5 naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye: 6 ayogera ng’abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula.
Mataayo 7:21-2321 Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 Bangi abaliŋŋmba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? 23 Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu.

Kakati saba Essala Eno
Mukama wange Yesu , Nenenya ebibi byange era nkyukira gwe olwa leero webaale kuffa kulwange no lwebibi byange nokomelelwa kulwange webaale onkunfiria no ku nsonyiwa ebibi byange byona nkyogera nti yegwe Katonda wange era nzikiriza nti oli mutabaani wa Katonda era nti wajawo ebiibi byange nga nasonyiyibwa , era nga wazukiira mu baffu nkutwala leero nga omulokozi wange jangu obeere munze nange mugwe webaale Yesu Kristu Amina

bayibuli, nga Osaba nokukungana na boluganda.
Bwoba nga Osabye essala eyo Okokukala mu Yesu wetaaga okwongera okumanya Ku Yesu ne Katonda No mwoyo Omutukuvu ne Katonda kyagaala Okole bino obiga nga osoma bayibuli, nga wegaase ku Kanisa ensomi ya bayibuli, nga Osaba nokukungana na boluganda.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *