Hymn Lyrics

Oluyimba Lyrics

 

OLUYIMBA 98: AYI YESU GGWE ATUDDE
1
AYI Yesu ggwe atudde
Mu kitiibwa-ekingi,
-Omulimu nga guwedde
Gwe watukolere.
Tukwesiga ggwe wekka
Nga tukyatambula
Mu nsi muno.ggwe mwe wajja
Okutununula.

2
Tumanyi watugula,
Era watunaaza;
Tumanyi n’ekisa kyo
Kye kitutukuza.
Ewuwo mu ggulu
Okubeera bakabona
N’okukuweereza.

3
Yesu okwagala kwo
Tekukomezeka;
Tekuliiko kusooka,
So tekuliggwaawo;
Ebirowoozo byaffe
Biremwa-okugera
Ekisa kyo nga bwe kiri
Ekitenkanika.

4
Yesu,okwagala kwo
Tukwegayiridde,
Kutweweeseeyo gy’oli
Leero ne bulijjo
Tunooye kino kyokka,
Tunyiikire nnyini
-Okugulumiza erinnya
Ery’Omulokozi

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *