Oluyimba Essala eyokweteka teka okusembera (pg. 85) Lyrics
KATONDA Ainza -byona, Kitawe wa Mukama
wafe Yesu Kristo,
Omutonzi webintu byona,
asala omusango gwabantu bona;
twatula tunakuwalira
ebibi byafe nokwonona kwafe okungi bwetwakakoze
obubi enyo mu bigambo byetwakalowozeza,
ne byetwakogede,
ne byetwakakoze,
nga tunyoma ekitibwa
Kyobwakatondabwo ;
kyetuvude tusanira enyo obusurigubwo
nekiruwikyo. Twenenyereza dala,
tunakuwade nyo olwebibi byafe ebyo ;
bwetubijukira emyoyo gyafe gituluma; obuzito bwabyo butulemye.
Otudiremu,Otudiremu,
Ayi Kitafe owekisa kyona ;
Kubwomwanawo Mukama wafe Yesu Kristo otusonyiwe byona
byotwakakoze ; Otuwe omukisa tukuwerezenga,
tukusanyusenga ma mpisa empya kakano nenaku zona,
Erinyalyo ligulumizibwe, litenderezebwe ;
Kubwa Yesu Kristo Mukama wafe. Amina.
Leave a Reply