Oluyimba 91: ALERUUYA! ALERUUYA! Lyrics
OLUYIMBA 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA
1
YESU eyakubibwa-edda,
-Era eyafa ku lwaffe;
Laba-amaanyi n’ekitiibwa
Leero bwe bifaananye.
Ggwe mukulu,ggwe Kabaka,
Eyafiirira fenna.
2
Mulabe Yesu bw’ajja ng’ayambadde-
Ekitiibwa kye;
Ye ng’amaze okusinga
Abalabe be bonna.
Ggwe mukulu,ggwe Kabaka,
Eyafiirira fenna.
3
Eyalaba-ennaku-ennyingi,
Edda eyakaaba-ennyo;
Mulabe n’essanyu lingi
Bw’amasamasa leero.
Ggwe mukulu,ggwe Kabaka,
Eyafiirira fenna.
4
Kabaka wa bakabaka,
Alifuga-ensi zonna;
Abantu bonna-ab’oku nsi
Balimuvuunamira.
Ggwe mukulu,ggwe Kabaka,
Eyafiirira fenna.
5
Kale bulijjo enjiri,
Bonna tubabuulire;
Ayanguwe-ajje n’ebire,
Alye-obwakabaka bwe.
Ggwe mukulu,ggwe Kabaka,
Eyafiirira fenna.
Leave a Reply