Oluyimba 90: YASULA MU NTAANA, MUKAMA WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 18: BEERA NANGE,OBUDDE BUZIBYE
1
BEERA nange,obudde buzibye;
Enzikiza-ekwata,beera nange:
Sirina nze mubeezi mulala,
Ggwe-abeera-abanaku,nange mbeera.
2
Obudde bw’obulamu buziba,
Bwaka katono ne buwungeera;
Byonna eby’ensi bifuuka bidiba;
Ggwe-atadiba-,atafuuka,tondeka.
3
Nkwetaaga ggwe-emisana n’ekiro;
Kisa kyo kyokka Ssetaani ky’atya;
Katonda wange, bwe bijja-ebire;
-Omusana bwe gwaka,beera nange.
4
Siriiko kye ntya,Yesu nga wooli;
Beera nange ne mpangula-ebibi;
Owoomesa-amaziga n’ennaku:
Entaana nnafu,n’okufa kufu.
5
Nze bwe ndiba nga naatera-okufa:
Omasemasenga mu nzikiza:
Ondowoozese-essanyu n’engule:
Mu bulamu, mu kufa,tondeka
Leave a Reply