Oluyimba 89: ALERUUYA! ALERUUYA! ALERUUYA Lyrics
OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA
1
ENNAKU bwe zifumita
Omwoyo gw’omuntu
Omu,eyafumitibwa
Ye-anyita ekiwundu.
2
Omwoyo bwe gunyolwa-ennyo,
-Amaziga ne gajja,
Ayinza-omu,eyanyolwa,
Okugusanyusa.
3
-Ebibi bwe tubijjukira
Ebitanaazika;
Omugga gumu-,ogw’omusaayi,
Guyinza-okunaaza.
4
Ogwa Yesu gwe gunaaza
Gunaaliza ddala;
Era y’ayinza-okunyiga
N’okutusanyusa.
5
Kale,otusanyusa Yesu
-Otunyige-ebiwundu
-Otunaaze n’omusaayi gwo
Ogunaaza gwokka.
Leave a Reply