Hymn 86: ALERUUYA! ALERUUYA! ALEERUYA! Lyrics

Oluyimba 86: ALERUUYA! ALERUUYA! ALEERUYA! Lyrics

 

OLUYIMBA 176: OLWAZI LW’EDDA N’EDDA GWE
1
-OLWAZI lw’edda n’edda gwe,
Olwanjatikira nze;
Omwo mwe neekweka-,era
Omusaayi gwe mwe gwava.
Ebibi binzigyeko,
Mponya mu maanyi gaabyo.

2
Emirimu gy’engalo
N’okufuba kw’omwoyo
N’amaziga agajja-ennyo
Emisana n’ekiro;
Byonna tebiggyawo bibi;
Ggwe wekka Mulokozi.

3
Sirina nze bulungi
Nkwesize ggwe bwesizi;
Omwereere nnyambaza;
Omunaku mpa-ekisa;
Laba bwe ndi omubi,
Nnaaza Yesu,nfa bufi.

4
Nze nga nkyali mulamu,
Bwe ndituuka mu ggulu;
Bwe nidiraba ggwe,Yesu,
Emisango ng’osala,
Yesu-olwasi olwase,
Ka neekwekenga mu ggwe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *