Oluyimba 84: YESU WAALI! OKUFA Lyrics
OLUYIMBA 174: YESU, GGWE-OLI SSANYU LYAFFE
1
YESU,ggwe-oli ssanyu lyaffe,
Ggwe-oli musana gw’obulamu;
Twaleka-eby’omu nsi muno,
Ne tusanyukira mu ggwe.
2
-Amazima go gabeerera,
Olokola-abakwesiga,
Abakunoonya beesiima,
Abakulaba bakkuta.
3
Tulya ku mmere y’obulamu-,
Twettanira-okuliisibwa;
Tunywa ne ku musaayi gwo,
Gutuwonya-ennyonta yaffe.
4
Wonna tukyukira gyoli,
Ggwe-oli Kiwummulo kyaffe;
Bw’otusiima,tusanyuka,
Bw’obeera naffe tulama
5
Jangu-otubeesebeese ffe,
Tuleme-okubulubuuta,
Goba-ekizikiza-eky’ensi
Otwakize amaaso go.
Leave a Reply