Oluyimba 80: OKWAGALA OKWO Lyrics
OLUYIMBA 170: MUKAMA WAFFE MULOKOZI!
1
MUKAMA waffe Mulokozi!
Ggwe owummuza bonna-abakooye
Ggwe osanyusa-abalina-ennaku
Ggwe-asaasira-abali mu kabi.
2
Ggwe-osaasira anatera okufa
Yesu wekka, ggwe kkubo lyaffe,
Empeera yaffe eva gyoli,
Mukama waffe Mulokozi!
3
Bwe nnaabanga njagala-okugwa
Nnaakuyitanga-ombeere Yesu,
Ne bwe ndikyama tolindeka;
Mukama waffe Mulokozi!
4
Nkwatudde Yesu -Omulokozi,
Siirekenga kukweyanza nnyo;
Ggwe-osaatiidde ettendo lyonna
Mukama waffe Mulokozi!
Leave a Reply