Oluyimba 79: OMUTWE GWA MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 17: NGA TEBUNNABA KUZIBA
1
NGA tebunnaba kuziba,
Tusaba-Omutonzi w’ensi
Olw’ekisa kyo ekingi
Ba Mukuumi waffe leero.
2
Era bwe tuba twebase
Ebitutiisa biggyeewo;
Tuwanguze-obubi bwonna
Tubeerenga balongoofu.
3
Ggwe Kitaffe tukusaba,
Ku bwa Yesu Omwana wo
Naawe Mwoyo-Omutukuvu,
Ggwe-afuga-emirembe gyonna.
Leave a Reply