Oluyimba 76: OWEEBWE NNYO-EKITIBWA Lyrics
OLUYIMBA 167: YESU,GGWE-EYANJAGALA
1
YESU,ggwe-eyanjagala
Ka nzirukire gy’oli,
Amayengo-ag’ennaku
Nga gankubira ddala;
Nkweka mu mikono gyo
Abannumba ba maanyi,
Sirina magezi nze,
Kkiriza-omwoyo gwange.
2
Tewali kiddukiro
Wabula mu mwoyoy gwo;
Tondeka nga nteetera
Nnaatera kugwa bugwi.
Essanyu lyange lyonna
Ndiggya mu kubeerwa kwo,
-Onsenseze-omutwe gwange
Wansi w’emikono gyo.
3
Ggwe wekka gwe neetaaga,
Tewali akwenkana;
Agudde-omuyimuse,
Vumula azirise;
Omulwadde-omuwonnye,
Zibula-eyazibwa
Nze njijudde ekibi,
Ggwe-oli Butuukirivu.
4
Gye ndi yaza-ekisa kyo
Sangula-ebibi byange,
Nnina-ennyota-,ondeetere,
Amazzi agamponya-ennyo;
Ggwe-oli nsulo z’obulamu
Ka nsene omwo mwokka,
-Omwoyo gwange gujjule
Amazzi-ag’obulamu.
Leave a Reply