Hymn 75: TUSAASIRE FFE-ABANAKU Lyrics

Oluyimba 75: TUSAASIRE FFE-ABANAKU Lyrics

 

OLUYIMBA 166: TULINA-OMUBEEZI WAFFE
1
TULINA-Omubeezi waffe
Nga-atwagala!
Akira baganda baffe
Nga-atwagala!
Emikwano gyaffe ku nsi
Batutamwa,batuvaako:
Naye oyo tatukuusa,
Nga-atwagala!

2
Buno bwe balamu bwaffe
Nga-atwagala!
Yesu okumumanyanga
Nga-atwagala!
Yatunoonya mu likoola
N’atununula n’omu-wendo
N’atuleeta mu kisibo;
Nga-atwagala!

3
Kiki-ekimusanyusa-era,
Nga-atwagala!
Kwe kutuwa ffe-omukisa
Nga-atwagal!
Ka tugume-emyoyo gyaffe
Ka tutambule n’essanyu
Alitutuusa ewuwe,
Nga-atwagala!

4
Ku lw’erinnya lye-ery’amaanyi
Nga-atwagala!
Tuliwangula-abalabe
Nga-atwagala!
Kale nno tweyongeremga
Okuyimba nti Asinze
Asinze Mukama waffe;
Nga-atwagala!

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *