Oluyimba 74: EBYONOONO BYANGE BINKOOYESA Lyrics
OLUYIMBA 165: ERINNYA LYA YESU DDUNGI
1
ERINNYA lya Yesu ddungi
Eri akkiriza;
Lisangula-amaziga ge,
Limalamu-okutya.
2
Litereeza n’omwoyo gwe
Linyiga-ebiwundu;
Ye mmere y’omuyala-,era
Liwumuza-akooye.
3
Erinnya gganzi, lwe lwazi
Kwe nzimba-enju yange
Lye ggwanika-eritaggwaamu
Emirembe gyonna.
4
Musumba wange,nkwebaza,
Mulokozi wange;
Bulamu bwange,nkwebaza,
Era-ekkubo lyange.
5
Okufuba kwange kwonna
Tekuliimu maanyi;
Naye bwe ndikulabako,
Ndikutendereza.
6
Onteegeezenga bulijjo,
Ekisa kyo-ekingi
Erinnya lyo linsanyuse
Mu ntuuko-ez’okufa
Leave a Reply