Oluyimba 70: YESU FFE MU MAASO GO Lyrics
OLUYIMBA 161: LABA OMWANA-OMUTO
1
LABA Omwana-omuto
Yazaalibwa mu nsi
Mu nnyumba enjavu-ennyo,
Ente nga weeziri.
Naye Omwana-oyo y’ani?
Ye Yesu eyatonda-ensi.
2
Ekyo kitalo nnyo!
Katonda Omwana
-Okujja mu nsi muno
N’obuwombeefu-atyo;
Fenna tuyigire ku ye,
Okwewombeeka-obulungi.
3
Era bwe yakula,
N’afuuka-omubazzi
N’akola n’engalo,
Eyatonda ensi.
Emirirmu n’obwesiggwa,
Biweebwenga-omukisa gwe.
4
Ggwe Yesu eyajja
-Omulenzi ow’essanyu
-Otumulise fenna
-Omusana ogw’obulamu
Okwagala kwo okungi
Kwe kutuwalula gy’oli.
Leave a Reply