Oluyimba 62: TWEYANZIZA-EKISA KYO Lyrics
OLUYIMBA 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA
1
ESSANYU-eringi-eritakomezeka,
Era n’emirembe-egitabuulikika,
Byombi birirabika-eyo mu ggulu
Byateekerwawo abatukuvu bonna.
2
Mu bwakabaka bwonna-obw’ensi yonna
Teri kitiibwa-ekirifaanana ng’ekyo,
Katonda gy’ali eyatulokola ffe
Abatasaanira bulokozi obwo.
3
Abatuuka eyo singa bayinza
Okutegeeza-essanyu lyabwe bwe liri
Twandiyanguye-okusseekimu nabo,
Tetwandyesiimye na bigambo by’omu nsi
4
Yesu-Omugabe w’eggye lya Katonda,
Otusaanyize okuyitibwa kwaffe,
Otutuukirize,otuwe amaanyi,
Ffe-abakweyabiza ggwe Mukama waffe.
Leave a Reply