Oluyimba 61: AYI KITANGE,NKWESIGA Lyrics
OLUYIMBA 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE
1
ALERUUYA! mumwebaze
Yesu,Mukama waffe,
Aleruuya! Ye Kabaka,
Ye Muwanguzi yekka.
Bangi nnyo abaatusooka
Okuyita mu kufa,
Bagulumiza Mukama
Atununudde fenna.
2
Aleruuya! Ye Kitaffe
Tetuli bamulekwa
Bulijjo abeera naffe
Fenna-abamukkiriza.
Bwe yatwalibwa mu ggulu
N’ekitiibwa mu kire,
Yatusuubiriza ddala
Okubeeranga naffe.
3
Atusembeza-atuyita,
Okusseekimu naye,
Atuliisa ffe-abanafu
Emmere-ey’omu ggulu
Alyoke atuwe-amaanyi
Aganaamalangawo
Enkwe zonna-ez’omulabe,
N’okukemebwa kwonna.
4
Ka tutendereze Yesu
Eyajja mu nsi yaffe,
Eyayambala-omubiri
Ne yeetwalira-obuntu.
Ye Muwolereza waffe;
Ye Mununuzi yekka,
Yew Musuutwa, ye Mukama,
Ye Kabaka-ataggwaawo.
Leave a Reply