Oluyimba 58: ESSANYU LINGI MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 150: TUKWEYANZA KITAFFE
1
TUKWEYANZA Kitaffe
Ggwe-atukumye-olw’ekisa
Mu budde-obw’emisana,
Ne mu mirimu gyaffe;
Tukuume,Ayi Mutonzi,
Mu nzikiza ya leero.
2
Tukusinza ggwe wekka,
Nga tusuuta-erinnya lyo;
Emikisa gyo-emingi,
Gy’otuwa mu kisa kyo.
Ffe abatasaanira;
Kyetuva tweyanza-ennyo.
3
Naye-okusinga byonna
Tweyanza-okwagala kwo,
Olw’Omwana wo Yesu,
Eyafiira ku muti,
Ku lwaffe aboonoonyi;
Tweyanza nnyo Kitaffe!
Leave a Reply